Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abakristaayo Abakaddiye—Yakuwa Abasiima olw’Obwesigwa Bwe Mwolese

Abakristaayo Abakaddiye—Yakuwa Abasiima olw’Obwesigwa Bwe Mwolese

ABAKADDE mu kibiina kya Yakuwa okwetooloola ensi bagitwala nga nkizo okuweereza abantu ba Katonda. Mazima ddala abakadde birabo gye tuli! Naye gye buvuddeko awo waliwo enkyukakyuka eyakolebwa. Abakadde abakuze mu myaka baasabibwa okukwasa abakadde abato obumu ku buvunaanyizibwa obw’amaanyi bwe baalina.

Okusinziira ku nkyukakyuka eyo, abalabirizi abakyalira ebibiina n’ab’oluganda abasomesa ekiseera kyonna mu masomero g’ekibiina balekera awo obuweereza obwo bwe baweza emyaka 70. Ate era abakadde abawezezza emyaka 80 bakwasa abakadde abato obumu ku buvunaanyizibwa bwe babadde nabwo, gamba ng’okuba omukwanaganya w’Akakiiko k’Ettabi oba omukwanaganya w’akakiiko k’abakadde. Abakadde abakuze mu myaka beeyisa batya nga wazzeewo enkyukakyuka eyo? Baakiraga nti beesigwa eri Yakuwa n’eri ekibiina kye!

Ow’oluganda Ken eyali amaze emyaka nga 49 ng’aweereza ng’omukwanaganya w’Akakiiko k’Ettabi, agamba nti: “Nnasiima nnyo enkyukakyuka eyo. Mu butuufu ku olwo ku makya we nnamanyira ku nkyukakyuka eyo nnali nsabye Yakuwa nga njagala ow’oluganda omuto y’aba atandika okuweereza ng’omukwanaganya w’Akakiiko k’Ettabi.” Okwetooloola ensi ab’oluganda bangi abakuze mu myaka balina endowooza ng’eya Ken. Kyo kituufu nti olw’okuba baali baagala nnyo okuweereza bakkiriza bannaabwe, enkyukakyuka eyo mu kusooka yabanyigamuko.

Esperandio eyali aweereza ng’omukwanaganya w’akakiiko k’abakadde mu kibiina kye agamba nti: “Ekyo mu kusooka kyannakuwazaamuko.” Kyokka era agamba nti: “Nnali nneetaaga ebiseera ebisingawo okufaayo ku bulamu bwange.” Esperandio akyeyongera okuweereza Yakuwa n’obwesigwa era wa mugaso nnyo eri ekibiina kye.

Ate bo abalabirizi abakyalira ebibiina abaalina okulekera awo obuweereza obwo? Allan eyali amaze emyaka 38 ng’aweereza ng’omulabirizi akyalira ebibiina agamba nti: “Bwe nnamanya ku nkyukakyuka eyo mu kusooka ebigambo byambula.” Naye Allan yalaba emiganyulo egiri mu kutendeka ab’oluganda abato era akyeyongera okuweereza n’obwesigwa.

Russell, eyamala emyaka 40 ng’akyalira ebibiina era ng’asomesa mu masomero g’ekibiina, agamba nti mu kusooka ye ne mukyala we enkyukakyuka eyo teyabasanyusa. Agamba nti: “Twali twagala nnyo obuweereza bwaffe era nga tuwulira nti tukyasobola okuweereza mu ngeri eyo.” Kati Russell ne mukyala we bakozesa obumanyirivu bwe balina okutendeka ab’oluganda mu kibiina kyabwe era ekyo kisanyusa nnyo ab’oluganda abo.

Ne bwe kiba nti ggwe toyitangako mu mbeera ng’eyo, waliwo ekintu ekyogerwako mu 2 Samwiri ekisobola okukuyamba okutegeera embeera y’ab’oluganda abo.

OMUSAJJA EYALI OMWETOOWAZE

Lowooza ku kiseera Abusaalomu bwe yagezaako okwezza obwakabaka bwa kitaawe, Dawudi. Dawudi yadduka mu Yerusaalemi n’agenda e Makanayimu ebuvanjuba w’Omugga Yoludaani. Nga bali eyo, Dawudi n’abo be yali nabo baali mu bwetaavu. Ojjukira ekyaliwo?

Abasajja basatu okuva mu kitundu ekyo baabaleetera eby’okwebakako, emmere, n’ebintu ebirala ebyali byetaagisa. Baluzirayi yali omu ku basajja abo. (2 Sam. 17:27-29) Abusaalomu bwe yawangulwa, Dawudi yakwata ekkubo okuddayo e Yerusaalemi era Baluzirayi yamuwerekerako okutuuka ku Mugga Yoludaani. Dawudi yagamba Baluzirayi agende naye e Yerusaalemi. Dawudi yamugamba nti yali agenda kumuwanga emmere wadde nga Baluzirayi “yali musajja mugagga nnyo” nga teyeetaaga kuweebwa mmere. (2 Sam. 19:31-33) Naye kirabika Dawudi yali ayagala Baluzirayi abe kumpi naye asobole okumwebuuzangako olw’obumanyirivu bwe yalina. Tewali kubuusabuusa nti yandibadde nkizo ya maanyi eri Baluzirayi okubeera mu lubiri n’okukolerayo.

Olw’okuba Baluzirayi yali mwetoowaze era ng’amanyi obusobozi bwe we bukoma, yagamba Dawudi nti kati yalina emyaka 80. Era yagattako nti: “Nkyayinza okwawula ekirungi n’ekibi?” Kiki kye yali ategeeza? Ku myaka gye yalina, Baluzirayi ateekwa okuba nga yalina amagezi mangi. Era yali asobola okuwa Dawudi amagezi amalungi ‘ng’abasajja abakadde’ bwe baawa Kabaka Lekobowaamu amagezi amalungi. (1 Bassek. 12:6, 7; Zab. 92:12-14; Nge. 16:31) N’olwekyo Baluzirayi okugamba nti yali takyayinza kwawula kirungi na kibi, ayinza okuba nga yali ategeeza obunafu bwe yalina mu mubiri olw’obukadde. Yagamba nti yali takyasobola kuwoomerwa kintu kyonna era nti amatu ge gaali tegakyawulira bulungi olw’okuba yali akaddiye. (Mub. 12:4, 5) Bwe kityo Baluzirayi yagamba Dawudi atwale Kimamu e Yerusaalemi. Kimamu yali akyali omuto era ayinza okuba nga yali mutabani wa Baluzirayi.—2 Sam. 19:35-40.

OKULOWOOZA KU BISEERA EBY’OMU MAASO

Enkyukakyuka ekwata ku b’oluganda abakuze mu myaka eyakolebwa, ekwatagana n’endowooza Baluzirayi gye yalina. Naye mu kiseera kyaffe tebaalowooza ku mbeera ya muntu omu yekka nga bwe kyali ku Baluzirayi. Ab’oluganda baalowooza ku ekyo ekyandiganyudde abakadde bonna mu kibiina abaweereza Yakuwa okwetooloola ensi.

Ab’oluganda abo abakaddiye baakiraba nti bwe bandikwasizza ab’oluganda abato egimu ku mirimu gye baali bamaze ebbanga nga bakola kyandinywezezza ekibiina, ne kyeyongera okukulaakulana. Emirundi mingi ab’oluganda abakulu be baba baatendeka ab’oluganda abato, nga Baluzirayi bw’ayinza okuba nga yatendeka mutabani we era nga Pawulo bwe yatendeka Timoseewo. (1 Kol. 4:17; Baf. 2:20-22) Ab’oluganda abo abato bakyolese nti ‘birabo mu bantu’ era nti basobola okuyambako mu ‘kuzimba omubiri gwa Kristo.’—Bef. 4:8-12; geraageranya ne Okubala 11:16, 17, 29.

EMIRIMU EMIRALA GYE BASOBOLA OKUKOLA

Bangi ku b’oluganda abakaddiye abakwasizza ab’oluganda abato obuvunaanyizibwa basobodde okwenyigira mu mirimu emirala mu kibiina kya Yakuwa.

Marco eyamala emyaka 19 ng’aweereza ng’omulabirizi akyalira ebibiina agamba nti: “Enkyukakyuka eyo yansobozesa okufuna obudde okuyamba abaami abatali bakkiriza aba bannyinaffe mu kibiina kyange.”

Geraldo eyamala emyaka 28 ng’akola omulimu ogw’okukyalira ebibiina agamba nti: “Kati tufuba okuyamba abo abatakyajja mu nkuŋŋaana n’okuyigiriza abantu bangi Bayibuli. Agamba nti ye ne mukyala we balina abayizi ba Bayibuli 15 era nti bayambye abantu abawerako okuddamu okujja mu nkuŋŋaana.”

Allan eyayogeddwako waggulu agamba nti: “Kati tusobola okwenyigira mu bujjuvu mu mulimu gw’okubuulira. Tunyumirwa nnyo okubuulira mu bifo ebya lukale, ebifo omukolerwa bizineesi, n’okubuulira baliraanwa baffe, era babiri ku bo bajjako mu nkuŋŋaana.”

Bw’oba ng’oli wa luganda eyaggibwako obuvunaanyizibwa obumu, waliwo engeri endala gy’oyinza okuyambamu abantu ba Katonda. Osobola okuwagira omulimu gwa Yakuwa ng’obumanyirivu bw’olina obukozesa okutendeka ab’oluganda abato mu kibiina. Russell ayogeddwako waggulu agamba nti: “Yakuwa atendeka ab’oluganda abato okukola emirimu gye. Ab’oluganda okwetooloola ensi baganyulwa nnyo ng’ab’oluganda abo abakyalina amaanyi babayigiriza era nga babakyalira okubazzaamu amaanyi.”—Laba akasanduuko “ Yamba Ab’oluganda Abakyali Abato Okuweereza mu Bujjuvu.”

YAKUWA ASIIMA OBWESIGWA BWO

Bw’oba nga waggibwako obuvunaanyizibwa obumu, sigala ng’olina endowooza ennuŋŋamu. Olina abantu bangi b’oyambye era okyasobola okuyamba abalala bangi. Bakkiriza banno bakwagala nnyo era bajja kweyongera okukwagala.

N’ekisinga obukulu, obuweereza bwo Yakuwa abutwala nga bukulu nnyo. Bayibuli egamba nti: ‘Yakuwa tayinza kwerabira mulimu gwo n’okwagala kwe walaga erinnya lye, bwe waweereza abatukuvu era ng’okyeyongera okuweereza.’ (Beb. 6:10) Ekyawandiikibwa ekyo kiraga nti ng’oggyeeko okuba nti Yakuwa yasiima ebyo bye wakola mu biseera eby’emabega, asiima n’ebyo bye weeyongera okukola kati.

Naye watya singa ggwe tewafuna nkyukakyuka ezo ezoogeddwako waggulu? Ensonga eno naawe ekukwatako. Mu ngeri ki?

Bwe kiba nti mu kibiina kyammwe mulimu ow’oluganda akaddiye era omwesigwa eyaggibwako obuvunaanyizibwa obumu, osobola okuganyulwa mu bumanyirivu bw’alina. Mwebuuzeeko. Era weetegereze engeri gy’akozesaamu obumanyirivu bw’alina okutuukiriza obuweereza bwe.

K’obe ng’oli wa luganda akuze mu myaka kati aweereza mu ngeri endala, oba ng’oli wa luganda oba mwannyinaffe aganyulwa mu bumanyirivu bw’ab’oluganda abakaddiye kijjukire nti Yakuwa asiima nnyo abo abamaze ekiseera ekiwanvu nga bamuweereza n’obwesigwa era abakyeyongera okumuweereza.