Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ssaawa Mmeka?

Ssaawa Mmeka?

BW’OBA oyagala okumanya essaawa, kiki ky’okola? Oboolyawo otunula ku ssaawa yo ey’oku mukono oba ey’oku kisenge. Ate era omuntu bw’akubuuza essaawa, oba osobola okuzimubuulira. Naye omugamba otya? Waliwo engeri ez’enjawulo z’oyinza okumubuuliramu essaawa.

Ka tugambe nti essaawa ziri musanvu n’eddakiika asatu ez’omu ttuntu. Okusinziira wa w’obeera, omuntu oyinza okumuddamu ng’omugamba nti, essaawa ziri musanvu n’ekitundu, oba kkumi na ssatu n’ekitundu. Oba oyinza okugamba omuntu nti ebula eddakiika asatu okuwera essaawa omunaana.

Abantu mu biseera by’edda baayogeranga batya obudde? Nabo baalina engeri ezitali zimu ez’okwogeramu obudde. Ebyawandiikibwa eby’Olwebbulaniya bikozesa ebigambo, gamba nga, “ku makya,” “mu ttuntu,” ne ‘akawungeezi.’ (Lub. 8:11; 19:27; 43:16; Ma. 28:29; 1 Bassek. 18:26) Kyokka emirundi egimu, obudde obwo bweyongera okumenyebwamenyebwamu.

Mu biseera by’edda, kyalinga kya bulijjo okukozesa abakuumi, naddala ekiro. Ng’ebula ebyasa ebiwerako Yesu azaalibwe, Abayisirayiri obudde obw’ekiro baabwawulangamu ebitundu bisatu bye baayitanga ebisisimuka. (Zab. 63:6) Ekyabalamuzi 7:19 woogera ku ‘kisisimuka eky’omu ttumbi.’ Ekiseera kya Yesu we kyatuukira, Abayudaaya baali baatandika okukozesa enkola y’Abayonaani n’Abaruumi, ng’ekiro bakyawulamu ebisisimuka bina.

Mu bitabo by’Enjiri, ebisisimuka byogerwako emirundi egiwera. Ng’ekyokulabirako, “ekiro mu kisisimuka eky’okuna” Yesu yatambulira ku mazzi n’agenda eri abayigirizwa be abaali mu lyato. (Mat. 14:25) Mu lugero olumu olukwata ku baddu abaali balindirira mukama waabwe, Yesu yagamba nti: “[Mukama waabwe] bw’atuuka mu kisisimuka eky’okubiri, wadde eky’okusatu n’abasanga nga batunula, abaddu abo baba n’essanyu.”—Luk. 12:38.

Yesu yayogera ku bisisimuka byonna ebina bwe yagamba abayigirizwa be nti: “Mubeere bulindaala, kubanga temumanyi kiseera nnyini nnyumba w’alijjira, oba kawungeezi, oba kiro mu ttumbi, oba awo enkoko we zikookolimira, oba ku makya ennyo.” (Mak. 13:35) Ekisisimuka ekisooka, ‘akawungeezi,’ kyatandikanga ng’enjuba egwa okutuusa ssaawa nga ssatu ez’ekiro. Ekisisimuka eky’okubiri, ‘ekiro mu ttumbi,’ kyatandikanga ku ssaawa nga ssatu ez’ekiro okutuusa ssaawa mukaaga ez’ekiro. Ekisisimuka eky’okusatu, “enkoko we zikookolimira,” kyatandikanga ku ssaawa mukaaga ez’ekiro okutuusa ssaawa nga mwenda ez’ekiro. Kiyinzika okuba nti mu kisisimuka kino, enkoko mwe yakookolimira mu kiro Yesu mwe baamukwatira. (Mak. 14:72) Ekisisimuka eky’okuna, “ku makya ennyo,” kyatandikanga ku ssaawa nga mwenda ez’ekiro okutuusa ku makya ng’enjuba evaayo.

N’olwekyo, wadde ng’abantu mu biseera by’edda tebaalina masaawa nga ge tulina leero, baalina engeri gye baayogerangamu obudde.