Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Faayo ku Balala era Beera wa Kisa nga Yakuwa

Faayo ku Balala era Beera wa Kisa nga Yakuwa

“Alina essanyu oyo afaayo ku munaku.”​—ZAB. 41:1.

ENNYIMBA: 130, 107

1. Abaweereza ba Yakuwa bakiraga batya nti baagalana?

ABAWEEREZA ba Yakuwa bonna abali mu nsi ba mu maka gamu. Balina oluganda olw’ensi yonna era baagalana. (1 Yok. 4:16, 21) Ebiseera ebimu okwagala okwo bakwoleka nga babaako ebintu ebinene bye beefiiriza okuyamba baganda baabwe. Naye era balina n’obuntu obutonotono bwe bakola okulaga baganda baabwe okwagala. Ng’ekyokulabirako, boogera ebigambo ebireetera baganda baabwe okuwulira obulungi era babayisa bulungi. Mu butuufu bwe tufaayo ku balala, tuba tukoppa Kitaffe ow’omu ggulu.​—Bef. 5:1.

2. Yesu yakoppa atya Kitaawe mu kwoleka okwagala?

2 Yesu yakoppa Kitaawe mu ngeri etuukiridde. Yesu yayisanga bulungi abalala. Yagamba nti: “Mujje gye ndi mmwe mmwenna abategana era abazitoowereddwa, nange nnaabawummuza.” (Mat. 11:28, 29) Bwe tukoppa Yesu ne tufaayo ku balala, tujja kusanyusa Yakuwa, era naffe tujja kuba basanyufu. (Zab. 41:1) Mu kitundu kino, tugenda kulaba engeri gye tuyinza okulaga nti tufaayo ku abo be tubeera nabo awaka, ku bakkiriza bannaffe, ne ku bantu be tusanga nga tubuulira.

FAAYO KU B’OBEERA NABO AWAKA

3. Omusajja ayinza atya okukiraga nti afaayo ku mukyala we? (Laba ekifaananyi ku lupapula 28.)

3 Abaami balina okussaawo ekyokulabirako ekirungi bwe kituuka ku ngeri gye bayisaamu ab’omu maka gaabwe. (Bef. 5:25; 6:4) Bayibuli egamba nti abasajja balina okufaayo ku bakyala baabwe era balina okubategeera obulungi. (1 Peet. 3:7) Omusajja ategeera mukyala we akimanya nti wadde nga ye ne mukyala we baawukana mu ngeri nnyingi, ekyo tekitegeeza nti mukyala we wa wansi ku ye. (Lub. 2:18) Afaayo ku nneewulira ya mukyala we, amuyisa bulungi, era amuwa ekitiibwa. Omukyala omu mu Canada yayogera bw’ati ku mwami we: “Enneewulira yange agitwala nga nkulu nnyo era ampuliriza bulungi. Ate era bw’aba annyamba okutereeza endowooza yange, akikola mu ngeri ey’ekisa.”

4. Omusajja akiraga atya nti afaayo ku nneewulira ya mukyala we mu ngeri gy’akolaganamu n’abakazi abalala?

4 Omusajja afaayo ku nneewulira ya mukyala we yeewala okuzannyirira n’abakazi abalala era yeewala okukolagana nabo mu ngeri etasaana ne bw’aba ng’akozesa emikutu emigatta bantu oba Intaneeti. (Yob. 31:1) Aba mwesigwa eri mukyala we mu mbeera zonna, kubanga ayagala mukyala we, ayagala Yakuwa, era akyawa ekibi.​—Soma Zabbuli 19:14; 97:10.

5. Omukyala ayinza atya okukiraga nti afaayo ku mwami we?

5 Omusajja bw’afuba okukoppa Yesu Kristo, omutwe gwe, kikifuula kyangu eri mukyala we, ‘okumussaamu ennyo ekitiibwa.’ (Bef. 5:22-25, 33) Omukyala bw’aba assaamu omwami we ekitiibwa, afuba okutegeera enneewulira ye era amulaga ekisa ng’aliko emirimu gy’ekibiina gy’akola oba ng’alina ebimweraliikiriza. Omwami omu mu Bungereza agamba nti: “Oluusi n’oluusi mukyala wange alaba endabika yange ku maaso n’akitegeera nti waliwo ekinsumbuwa. Era akolera ku musingi oguli mu Engero 20:5, ne bwe kiba nga kimwetaagisa okulinda ekiseera ekituufu asobole okumanya ekindi ku mutima, bwe kiba nga kituukirawo okukimugamba.”

6. Tuyinza tutya okuyamba abaana okuyiga okufaayo ku balala n’okubayisa obulungi, era ekyo kiganyula kitya abaana?

6 Taata ne maama buli omu bw’akiraga nti afaayo ku munne, bateerawo abaana baabwe ekyokulabirako ekirungi. Ate era abazadde balina okuyamba abaana baabwe okumanya ebintu bye bayinza okukola okulaga nti bafaayo ku balala. Ng’ekyokulabirako, abazadde bayinza okuyigiriza abaana baabwe obutaddukira mu Kizimbe ky’Obwakabaka. Oba bwe muba ku kabaga, musobola okugamba abaana bammwe okulindako abantu abakulu basooke bafune emmere oluvannyuma nabo balyoke bafune. Kya lwatu nti ffenna mu kibiina tusobola okuyambako abazadde mu kutendeka abaana baabwe. N’olwekyo, singa omwana akola ekintu ekiraga nti afaayo ku balala, gamba singa atuggulirawo oluggi, tusaanidde okumwebaza. Ekyo kijja kumuleetera okuwulira obulungi era kijja kumuyigiriza nti “okugaba kulimu essanyu okusinga okuweebwa.”​—Bik. 20:35.

FAAYO KU BALALA MU KIBIINA

7. Yesu yakiraga atya nti yali afaayo ku musajja eyali kiggala, era kiki kye tuyigira ku Yesu?

7 Lumu Yesu bwe yali mu kitundu ky’e Dekapoli, abantu ‘baamuleetera omusajja eyali kiggala era nga tasobola kwogera bulungi.’ (Mak. 7:31-35) Mu kifo ky’okuwonyeza omusajja oyo mu lujjudde, Yesu ‘yamuzza ebbali’ n’amuwonya. Lwaki? Olw’okuba omusajja oyo yali kiggala, ayinza okuba nga yali awulira nga teyeetaaya mu bantu abo abaali abangi. Yesu yategeera enneewulira y’omusajja oyo, era eyo ye nsonga lwaki yamuzza ebbali awataali bantu n’amuwonya. Kya lwatu nti ffe tetusobola kukola byamagero. Naye tusobola okulowooza ku byetaago bya bakkiriza bannaffe ne ku enneewulira zaabwe era ne tubaako kye tukolawo okubayamba. Omutume Pawulo yagamba nti: “Ka buli omu ku ffe alowoozenga ku munne, okumukubiriza okwagala n’okukola ebikolwa ebirungi.” (Beb. 10:24) Yesu yategeera engeri omusajja oyo eyali kiggala gye yali awuliramu era n’amuyisa mu ngeri eyali eraga nti amufaako. Mazima ddala Yesu yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi.

8, 9. Tuyinza tutya okulaga nti tufaayo ku bannamukadde ne ku abo abaliko obulemu? (Waayo ebyokulabirako.)

8 Faayo ku bannamukadde n’abo abaliko obulemu. Ekintu ekisinga okutwawulawo ng’Abakristaayo ab’amazima, si kwe kukola ebintu ebingi mu kiseera kitono, wabula kwe kwagalana. (Yok. 13:34, 35) Okwagala okwo kutuleetera okuyamba bakkiriza bannaffe abakaddiye n’abo abaliko obulemu okujja mu nkuŋŋaana n’okwenyigira mu kubuulira. Tubayamba ne bwe kiba nti si kyangu gye tuli oba ne bwe kiba nti bakola kitono. (Mat. 13:23) Michael, atambulira mu kagaali, asiima nnyo obuyambi obumuweebwa ab’omu maka ge n’ab’oluganda mu kibiina kye. Agamba nti: “Olw’okuba bannyamba, nsobola okubaawo mu nkuŋŋaana ezisinga obungi n’okubuulira obutayosa. Okusingira ddala nnyumirwa nnyo okubuulira mu bifo ebya lukale.”

9 Amaka ga Beseri mangi galimu ab’oluganda abakaddiye. Abalabirizi mu bitongole ebitali bimu ku Beseri bafaayo ku b’oluganda bano abeesigwa nga babakolera enteekateeka okubuulira nga bawandiika amabaluwa oba nga bakozesa essimu. Bill, alina emyaka 86 era abuulira ng’awandiikira abantu abali mu bitundu ebyesudde amabaluwa, agamba nti: “Tusiima nnyo enkizo eno ey’okuwandiikira abantu amabaluwa.” Nancy, anaatera okuweza emyaka 90, agamba nti: “Okuwandiika amabaluwa sikitwala ng’okuteeka obuteese empapula mu bbaasa. Mba nkola mulimu gwa kubuulira. Abantu beetaaga okumanya amazima.” Ethel, eyazaalibwa mu 1921, agamba nti: “Nnina obulumi mu mubiri obutasalako. Ennaku ezimu nkaluubirirwa n’okweyambaza.” Wadde kiri kityo, anyumirwa nnyo okubuulira ng’akozesa essimu era afunyeyo abantu abaagala okumanya ebisingawo. Barbara, alina emyaka 85, agamba nti: “Olw’okuba sikyalina maanyi, kinzibuwalira okubuulira nnyumba ku nnyumba. Naye nsobola okubuulira abalala nga nkozesa essimu. Weebale nnyo Yakuwa!” Mu bbanga eritawera na mwaka, ekibinja kya bannamukadde ekimu kyabuulira essaawa 1,228, kyawandiika amabaluwa 6,265, kyakubira abantu amasimu emirundi egisukka mu 2,000, era kyagaba ebitabo 6,315. Tewali kubuusabuusa nti ekyo kyasanyusa nnyo Yakuwa!​—Nge. 27:11.

10. Tuyinza tutya okukyoleka nti twagala baganda baffe okuganyulwa mu bujjuvu mu nkuŋŋaana?

10 Faayo ku balala mu nkuŋŋaana. Bwe tuba nga ddala tufaayo ku bakkiriza bannaffe tujja kufuba okubayamba okuganyulwa mu bujjuvu mu nkuŋŋaana. Mu ngeri ki? Ekisooka, twewala okutuuka ekikeerezi kibayambe obutawugulibwa. Kyo kituufu nti olumu n’olumu wayinza okugwaawo ebintu ebiyinza okutuviirako okukeerewa. Naye bwe tuba n’omuze ogw’okutuuka ekikeerezi tusaanidde okufuba okugulwanyisa tusobole okukyoleka nti tufaayo ku balala. Ate era kikulu okukijjukiranga nti Yakuwa ne Yesu be baba batuyise mu nkuŋŋaana. (Mat. 18:20) N’olwekyo tusaanidde okubassaamu ekitiibwa.

11. Lwaki abo ababa n’ebitundu mu nkuŋŋaana balina okukolera ku bulagirizi obuli mu 1 Abakkolinso 14:40?

11 Ate era okufaayo ku bakkiriza bannaffe kizingiramu okukolera ku kyawandiikibwa kino: “Ebintu byonna bikolebwe mu ngeri esaanira era entegeke obulungi.” (1 Kol. 14:40) Ab’oluganda ababa n’ebitundu mu nkuŋŋaana bakolera ku bulagirizi obwo nga tebasussa mu biseera biba bibaweereddwa. Bwe bakola batyo kiba kiraga nti bafaayo ku abo ababa balina ebitundu ebiddako era nti bafaayo ne ku b’oluganda bonna mu kibiina. Ab’oluganda abamu bayinza okuba nga babeera wala. Abalala bayinza okuba nga bakozesa ntambula eya lukale. Ate abamu bayinza okuba nga bannaabwe mu bufumbo si baweereza ba Yakuwa era nga baagala baddeyo mangu awaka.

12. Lwaki abakadde abakola ennyo tusaanidde ‘okubaagala ennyo n’okubalaga ekisa’? (Laba akasanduuko “ Laga nti Ofaayo ku Abo Abatwala Obukulembeze.”)

12 Ate era tusaanidde okufaayo ku bakadde abakola ennyo mu kibiina era abatwala obukulembeze mu mulimu gw’okubuulira. (Soma 1 Abassessalonika 5:12, 13.) Tewali kubuusabuusa nti osiima ebyo abakadde bye bakola. N’olwekyo kirage nti obasiima ng’obagondera era ng’obawagira. Kijjukire nti, “batunula ku [lulwo] ng’abo abaliwoza.”​—Beb. 13:7, 17.

FAAYO KU BALALA NG’OBUULIRA

13. Kiki kye tuyigira ku ngeri Yesu gye yayisaamu abantu?

13 Isaaya yayogera bw’ati ku Yesu: “Olumuli olwatiseyatise talirumenya, n’olutambi oluzimeera taliruzikiza.” (Is. 42:3) Olw’okuba Yesu yali ayagala abantu, yabalumirirwanga. Yali ategeera enneewulira y’abo abaayogerwako ng’olumuli olwatiseyatise oba olutambi olunaatera okuzikira. Ekyo kyamuleetera okubafaako, okubalaga ekisa, n’okubagumiikiriza. N’abaana baayagalanga okubeera w’ali. (Mak. 10:14) Kya lwatu nti tetusobola kutegeera bantu na kubayigiriza nga Yesu bwe yakola! Naye tusaanidde okukiraga nti tufaayo ku bantu abali mu kitundu kyaffe. Kino kizingiramu engeri gye twogeramu nabo, ddi lwe twogera nabo, na kiseera kyenkana wa kye tumala nga twogera nabo.

14. Lwaki tusaanidde okufaayo ku ngeri gye twogeramu n’abantu?

14 Tusaanidde kwogera tutya n’abantu? Leero bannabyabusuubuzi, bannabyabufuzi, n’abakulembeze b’amadiini abeefaako bokka, baviiriddeko abantu bangi okubonaabona. (Mat. 9:36) N’ekivuddemu leero abantu bangi tebakyesiga muntu yenna era tebalina ssuubi. N’olwekyo nga kikulu nnyo okuba nti ebigambo bye tukozesa n’eddoboozi lye tukozesa nga twogera n’abantu biraga nti tubafaako! Mu butuufu abantu bangi baagala okuwuliriza obubaka bwaffe si lwa kuba nti tunnyonnyola bulungi Bayibuli kyokka, naye n’olw’okuba nti tubafaako era tubassaamu ekitiibwa.

15. Tuyinza tutya okulaga nti tufaayo ku bantu be tubuulira?

15 Waliwo engeri nnyingi gye tuyinza okulaga nti tufaayo ku bantu be tubuulira. Ng’ekyokulabirako, okukozesa ebibuuzo kituyamba okuyigiriza obulungi. Naye tusaanidde okubuuza ebibuuzo mu ngeri ey’ekisa era eraga nti tussaamu abantu ekitiibwa. Payoniya omu eyali abuulira mu kitundu omuli abantu abatayogerayogera nnyo era ab’ensonyi yakiraba nti kyali kikulu okwewala okubuuza ebibuuzo ebiyinza okuleetera omuntu okuswala, naddala singa aba tamanyi kya kuddamu kituufu. Ng’ekyokulabirako, yeewala okubuuza ebibuuzo nga bino, ‘Omanyi erinnya lya Katonda?’ oba, ‘Obwakabaka bwa Katonda kye ki?’ Mu kifo ky’ekyo, yayogeranga n’abantu ng’akozesa ebigambo nga bino, “Nnayiga mu Bayibuli nti Katonda alina erinnya. Ndikulage?” Kyo kituufu nti obuwangwa bwawukana era n’abantu baawukana; n’olwekyo tetusobola kussaawo mateeka ku nsonga eno. Naye bulijjo tulina okufaayo ku bantu n’okubassaamu ekitiibwa, era nga kino okusobola okukikola, tulina okutegeera obulungi abantu b’omu kitundu kye tubuuliramu.

16, 17. Bwe tuba nga tufaayo ku abo be tubuulira (a) ddi lwe twandigenze mu maka gaabwe okubabuulira? (b) twandimaze biseera byenkana wa nga tubabuulira?

16 Ddi lwe twandigenze mu maka g’abantu okubabuulira? Bwe tugenda okubuulira nnyumba ku nnyumba, abantu baba tebatusuubira. N’olwekyo kikulu nnyo okugenda okubuulira mu maka g’abantu mu kiseera mwe kibanguyira okunyumya naffe! (Mat. 7:12) Ng’ekyokulabirako, abantu mu kitundu kyammwe balwawo okuzuukuka ku wiikendi? Bwe kiba kityo, oyinza okusooka okubuulira ku nguudo, mu bifo ebya lukale, oba okuddiŋŋana abantu b’omanyi nti ojja kubasanga nga bazuukuse era nga beetegefu okukuwuliriza.

17 Twandimaze biseera byenkana wa nga twogera n’omuntu? Abantu bangi balina eby’okukola bingi, n’olwekyo tetusaanidde kulwawo naddala ku mulundi ogusooka. Kirungi okwogera mu bumpimpi kituyambe obutalwawo. (1 Kol. 9:20-23) Abantu bwe bakiraba nti tufaayo ku mbeera zaabwe bayinza okwagala okutuwuliriza n’omulundi omulala. Tulina okwoleka ekibala ky’omwoyo ne bwe tuba nga tubuulira. Bwe tukyoleka, ddala tuba “tukolera wamu ne Katonda, “ era ayinza n’okutukozesa okuleeta omuntu mu mazima.​—1 Kol. 3:6, 7, 9.

18. Bwe tufaayo ku balala mikisa ki gye tujja okufuna?

18 N’olwekyo, ka tufube okukiraga nti tufaayo ku balala mu maka, mu kibiina, ne bwe tuba nga tubuulira. Bwe tukola tutyo, tujja kufuna emikisa mingi kati, ne mu biseera eby’omu maaso. Zabbuli 41:1, 2 wagamba nti: “Alina essanyu oyo afaayo ku munaku; Yakuwa alimununula ku lunaku olw’obuyinike. . . . Anaayitibwanga musanyufu mu nsi.”