Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Omuyinza w’Ebintu Byonna Afaayo ku Balala

Omuyinza w’Ebintu Byonna Afaayo ku Balala

“[Yakuwa] amanyi bulungi bwe twakolebwa, ajjukira nti tuli nfuufu.”​—ZAB. 103:14.

ENNYIMBA: 30, 10

1, 2. (a) Engeri Yakuwa gy’ayisaamu abalala eyawukana etya ku ngeri abantu abasinga obungi abali mu buyinza gye bayisaamu abalala? (b) Kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino?

ABANTU bangi abali mu buyinza batera ‘okukajjala’ ku abo be balinako obuyinza. (Mat. 20:25; Mub. 8:9) Naye ye Yakuwa tali bw’atyo! Wadde nga ye Muyinza w’Ebintu byonna afaayo nnyo ku bantu abatatuukiridde. Wa kisa era afaayo ku nneewulira zaffe ne ku ebyo bye twetaaga. Olw’okuba “ajjukira nti tuli nfuufu,” tatugamba kukola bye tutasobola.​—Zab. 103:13, 14.

2 Mu Bayibuli mulimu ebyokulabirako bingi ebiraga engeri Yakuwa gye yalaga nti afaayo ku baweereza be. Mu kitundu kino tugenda kulabayo ebyokulabirako bisatu. Ekisooka, engeri Yakuwa gye yalagamu Samwiri eyali akyali omuto ekisa ng’amuyamba okutegeeza Eli, kabona asinga obukulu, omusango gwe yali amusalidde; eky’okubiri, engeri Yakuwa gye yagumiikirizaamu Musa nga Musa agezaako okugaana obuvunaanyizibwa obw’okukulembera Abayisirayiri; n’eky’okusatu, engeri Yakuwa gye yalagamu Abayisirayiri ekisa ng’abaggya e Misiri. Nga tulaba ebyokulabirako ebyo, ka twetegereze kye bituyigiriza ku Yakuwa n’engeri gye tuyinza okumukoppamu.

YAFAAYO KU MWANA OMUTO

3. Lumu ekiro Samwiri bwe yali yeebase, kintu ki ekitali kya bulijjo ekyabaawo, era ekyo kireetawo kibuuzo ki? (Laba ekifaananyi ku lupapula 23.)

3 Samwiri yatandika ‘okuweereza’ Yakuwa ku weema entukuvu ng’akyali muto nnyo. (1 Sam. 3:1) Lumu ekiro Samwiri bwe yali yeebase, waliwo ekintu ekitali kya bulijjo ekyabaawo. * (Soma 1 Samwiri 3:2-10.) Yawulira eddoboozi nga limuyita. Olw’okuba Samwiri yali alowooza nti eddoboozi eryo lyali lya Eli, kabona asinga obukulu, yaddukka n’agenda gy’ali n’amugamba nti: “Nzuuno, kubanga ompise.” Eli yamugamba nti yali tamuyise. Ekintu ekyo bwe kyabaawo emirundi emirala ebiri, Eli yakitegeera nti Katonda ye yali ayita Samwiri. Bwe kityo yabuulira Samwiri kye yalina okwogera era Samwiri n’akola bw’atyo. Lwaki Yakuwa ng’ayitira mu malayika teyategeerezaawo Samwiri nti ye yali amuyita? Ekyo Bayibuli tekitubuulira, naye ebyo ebyaddirira biraga nti Yakuwa ayinza okuba nga yakola bw’atyo olw’okuba yali afaayo ku nneewulira ya Samwiri eyali akyali omuto. Lwaki tugamba tutyo?

4, 5. (a) Samwiri yakola ki nga Katonda aliko obubaka bw’amuwadde abutegeeze Eli, era ebintu byatambula bitya enkeera ku makya? (b) Ebyo bye tulabye ebikwata ku Samwiri bituyigiriza ki ku Yakuwa?

4 Soma 1 Samwiri 3:11-18. Amateeka ga Yakuwa gaalagira abaana okussa ekitiibwa mu bantu abakulu, naddala abo abali mu bifo eby’obuvunaanyizibwa. (Kuv. 22:28; Leev. 19:32) N’olwekyo, kiteekwa okuba nga tekyali kyangu eri omwana Samwiri okugenda eri Eli ku makya okumubuulira omusango Yakuwa gwe yali amusalidde. Bayibuli egamba nti Samwiri “yali atya okubuulira Eli ebyo bye yali ayoleseddwa.” Naye Yakuwa yakyoleka kaati eri Eli nti ye yali ayita Samwiri. Bwe kityo, Eli yagamba Samwiri amubuulire Katonda kye yali amugambye. Yamugamba nti: ‘Tonkisa kigambo kyonna ku ebyo byonna bye yakugambye.’ Samwiri ‘yamubuulira byonna.’

5 Ebyo Samwiri bye yayogera biteekwa okuba nga tebyewuunyisa Eli. Ebyo bye yamugamba byali bikwatagana bulungi n’ebyo “omusajja wa Katonda” Bayibuli gw’etayogera linnya bye yali agambye Eli emabegako. (1 Sam. 2:27-36) Ebyo bye tusoma ku Samwiri ne Eli biraga nti Yakuwa afaayo ku baweereza be era akwata ensonga mu ngeri ey’amagezi.

6. Biki bye tuyigira ku ngeri Katonda gye yayambamu Samwiri?

6 Oli mwana muto? Bwe kiba kityo, ebyo bye tusoma ku Samwiri bwe yali ng’akyali muto bisobola okukuyamba okukiraba nti Yakuwa ategeera bulungi okusoomooza kw’oyolekagana nakwo n’engeri gye weewuliramu. Oyinza okuba ng’olina ensonyi era nga tekikwanguyira kubuulira bantu bakulu oba okuba ow’enjawulo ku baana banno. Ba mukakafu nti Yakuwa ayagala okukuyamba. N’olwekyo, musabe akuyambe. (Zab. 62:8) Fumiitiriza ku byokulabirako by’abaana aboogerwako mu Bayibuli, gamba nga Samwiri. Yogerako ne bakkiriza banno, abakulu oba abato, oboolyawo abaayitako mu mbeera gy’oyolekagana nayo. Bw’oyogerako nabo bayinza okukubuulira ku ngeri Yakuwa gye yabayambamu, oboolyawo mu ngeri gye baali batasuubira.

YALAGA NTI AFAAYO KU MUSA

7, 8. Yakuwa yakiraga atya nti yali afaayo nnyo ku Musa?

7 Musa bwe yali wa myaka 80, Yakuwa yamukwasa obuvunaanyizibwa obutaali bwangu. Musa yali agenda kuggya Abayisirayiri mu buddu e Misiri. (Kuv. 3:10) Okuva bwe kiri nti yali amaze emyaka 40 ng’alunda ndiga mu Midiyaani, Musa ateekwa okuba nga yeewuunya nnyo okuweebwa obuvunaanyizibwa obwo. Yagamba nti: “Nze ani agenda eri Falaawo okuggya Abayisirayiri e Misiri?” Yakuwa yagamba Musa nti: “Nja kubeera naawe.” (Kuv. 3:11, 12) Ate era yamugamba nti: Abakadde ba Isirayiri “bajja kuwuliriza eddoboozi lyo.” Wadde kyali kityo, Musa yagamba Yakuwa nti: ‘Watya singa tebawuliriza?’ (Kuv. 3:18; 4:1) Musa yalinga agamba nti ebyo Yakuwa bye yali amugamba tebyali bituufu! Naye Yakuwa yamugumiikiriza. Mu butuufu, Yakuwa yakola n’ekisingako awo. Yawa Musa amaanyi okukola ebyamagero, era Musa ye muntu eyasooka okwogerwako mu Bayibuli eyaweebwa amaanyi okukola ebyamagero.​—Kuv. 4:2-9, 21.

8 Musa era yagezaako okwekwasa ensonga endala ng’agamba nti teyali mwogezi mulungi. Katonda yamugamba nti: “Nja kuba naawe ng’oyogera, era nja kukuyigiriza by’onooyogera.” Ekyo kyamatiza Musa? Nedda, kubanga yasaba Katonda atumemu omuntu omulala. Ekyo kyaleetera Yakuwa okusunguwala. Naye Yakuwa teyali mukakanyavu. Yakuwa yeeyongera okukiraga nti yali afaayo ku nneewulira ya Musa bwe yalonda Alooni abeere omwogezi wa Musa.​—Kuv. 4:10-16.

9. Okuba nti Yakuwa yagumiikiriza Musa era n’akiraga nti amufaako, kyayamba kitya Musa mu buweereza bwe?

9 Ebyo bye tusoma ku Musa bituyigiriza ki ku Yakuwa? Olw’okuba Yakuwa ye Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna yali asobola okutiisatiisa Musa, n’akola by’ayagala mu bwangu. Naye Yakuwa yayoleka obugumiikiriza n’ekisa, era n’afuba okugumya omuweereza we oyo eyali omwetoowaze. Ekyo kyavaamu ebirungi? Yee! Musa yafuuka omukulembeze omulungi ennyo, eyafaayo ku balala nga Yakuwa bwe yali amufuddeko.​—Kubal. 12:3.

Okoppa Yakuwa ng’okolagana n’abalala? (Laba akatundu 10)

10. Birungi ki ebivaamu bwe tufaayo ku balala nga Yakuwa bw’akola?

10 Ekyo kituyigiriza ki? Oli ssemaka, muzadde, oba mukadde mu kibiina? Bwe kiba kityo olina obuyinza obw’ekigero. Nga kiba kikulu nnyo okukoppa Yakuwa ng’ofaayo ku abo b’olinako obuyinza, ng’obalaga ekisa, era ng’obagumiikiriza! (Bak. 3:19-21; 1 Peet. 5:1-3) Bw’ofuba okukoppa Yakuwa ne Yesu Kristo, ojja kuba muntu atuukirikika era azzaamu abalala amaanyi. (Mat. 11:28, 29) Ate era ojja kuteerawo abalala ekyokulabirako ekirungi.​—Beb. 13:7.

OMUNUNUZI OW’AMAANYI AFAAYO KU BALALA

11, 12. Yakuwa bwe yali aggya Abayisirayiri e Misiri, yabayamba atya okuwulira nti baalina obukuumi?

11 Abayisirayiri bwe baali baava e Misiri mu 1513 E.E.T., bayinza okuba nga baali basukka mu bukadde obusatu. Mu bo mwalimu abaana abato, bannamukadde, era muteekwa okuba nga mwalimu n’abaaliko obulemu. Okusobola okukulembera ekibiina ekinene bw’ekityo okuva mu Misiri, kyali kyetaagisa omukulembeze afaayo ku balala era alina okwagala. Okuyitira mu Musa, Yakuwa yakyoleka nti yali afaayo ku Bayisirayiri era nti yali abaagala nnyo. Ekyo kyayamba Abayisirayiri okuva e Misiri nga tebeeraliikirira kintu kyonna.​—Zab. 78:52, 53.

12 Yakuwa yayamba atya abantu be okuwulira nti balina obukuumi ne baba nga tebeeraliikirira kintu kyonna? Ekisooka, Yakuwa yabaggya mu Misiri mu ngeri entegeke obulungi, nga bali “ng’ebibinja by’abasirikale.” (Kuv. 13:18) Okuba nti yabaggyayo mu ngeri entegeka obulungi, kyabaleetera okuba abakakafu nti Yakuwa kennyini ye yali abakulembeddemu. Ate era Yakuwa yakiraga nti yali wamu nabo bwe yabateerawo ‘ekire emisana ate ekiro n’abateerawo ekitangaala eky’omuliro.’ (Zab. 78:14) Yakuwa yalinga abagamba nti: “Temutya. Ndi wamu nammwe okubakulembera n’okubakuuma.” Ekyo Abayisirayiri baali bakyetaaga nnyo, naddala bw’olowooza ku ebyo ebyaddirira!

Kiki Yakuwa kye yakola ku Nnyanja Emmyufu ekyalaga nti yali afaayo ku Bayisirayiri? (Laba akatundu 13)

13, 14. (a) Bintu ki Yakuwa bye yakolera Abayisirayiri ku Nnyanja Emmyufu ebiraga nti yali abafaako? (b) Yakuwa yayoleka atya amaanyi ge ku Bamisiri?

13 Soma Okuva 14:19-22. Kuba akafaananyi ng’oli mu kibinja ky’Abayisirayiri abali wakati w’eggye lya Falaawo n’Ennyanja Emmyufu. Naye mu kiseera ekyo, Katonda abaako ky’akolawo. Empagi y’ekire edda emabega w’olusiisira lwammwe, n’esiikiriza Abamisiri ne baba nga bali mu nzikiza. Kyokka ku ludda lwammwe waliyo ekitangaala! Oluvannyuma olaba Musa ng’agolola omukono ku nnyanja, era omuyaga ogw’amaanyi okuva ebuvanjuba gukola ekkubo eddene mu nnyanja erigguka emitala. Mu ngeri entegeke obulungi, ggwe, ab’omu maka go, n’ensolo zammwe, awamu n’abantu abalala mutambulira ku ntobo y’ennyanja. Okiraba nti entobo y’ennyanja teriimu ttosi era teseerera. Nkalu bulungi era nnyangu okutambulirako. Bwe kityo, n’abantu abasingayo okutambula empola bayitamu ne bagguka emitala.

14 Soma Okuva 14:23, 26-30. Mu kiseera ekyo Falaawo ow’amalala era omusirusiru ayingira mu nnyanja okubawondera. Musa addamu okugolola omukono gwe ku nnyanja. Amazzi agabadde gakoze ekisenge erudda n’erudda gakomawo. Gabuutikira Falaawo n’eggye lye era tewali n’omu awonawo!​—Kuv. 15:8-10.

15. Ebyo bye tulabye ebikwata ku Bayisirayiri bikuyigiriza ki ku Yakuwa?

15 Ebyo bye tulabye ebikwata ku Bayisirayiri biraga nti Yakuwa ye Katonda ow’entegeka. Ekyo kituleetera okuwulira nti tulina obukuumi. (1 Kol. 14:33) Okufaananako omusumba omulungi Yakuwa abaako ky’akolawo okuyamba abantu be. Abalabirira era abanunula okuva mu mikono gy’abalabe baabwe. Ekyo kituzzaamu nnyo amaanyi, nnaddala mu kiseera kino ng’enkomerero eneetera okutuuka.​—Nge. 1:33.

16. Okufumiitiriza ku ngeri Yakuwa gye yanunulamu Abayisirayiri kituganyula kitya?

16 Ne leero Yakuwa afaayo ku baweereza be ng’ekibiina, mu by’omwoyo ne mu by’omubiri. Yakuwa ajja kweyongera okubalabirira mu kiseera ky’ekibonyoobonyo ekinene ekinaatera okutuuka. (Kub. 7:9, 10) N’olwekyo, abaweereza ba Katonda, ka babe bato oba bakulu, ka babe balamu oba nga baliko obulemu, tebajja kuba na kutya kwonna mu kiseera ky’ekibonyoobonyo ekinene. * Mu kiseera ekyo bajja kujjukira ebigambo bya Yesu bino: “Muyimiriranga busimba ne muyimusa emitwe gyammwe, kubanga okununulibwa kwammwe kuliba kunaatera okutuuka.” (Luk. 21:28) Bajja kusigala nga bagumu ne bwe banaaba balumbiddwa Googi, kwe kugamba, amawanga ag’amaanyi n’okusinga Falaawo. (Ezk. 38:2, 14-16) Lwaki abantu ba Katonda bajja kuba bagumu? Bakimanyi nti Yakuwa takyuka. Ne ku olwo Yakuwa ajja kukyoleka nti ye Mununuzi afaayo ku bantu be.​—Is. 26:3, 20.

17. (a) Tuyinza tutya okuganyulwa mu kwetegereza ebyokulabirako ebiri mu Bayibuli ebiraga nti Yakuwa afaayo ku bantu be? (b) Kiki kye tujja okulaba mu kitundu ekiddako?

17 Ebyokulabirako bye tulabye mu kitundu kino bye bimu ku ebyo ebiraga nti Yakuwa afaayo ku bantu be, abawa obulagirizi, era abanunula. Ng’osoma ku byokulabirako ng’ebyo, fuba okubaako ekintu ekipya ky’oyiga ku Yakuwa oboolyawo ng’ofuba okufumiitiriza ku bintu ebirala by’obadde tossaako nnyo mutima. Bwe weeyongera okutegeera engeri za Yakuwa, ojja kweyongera okumwagala n’okumwesiga. Mu kitundu ekiddako tujja kulaba engeri gye tuyinza okukoppa Yakuwa nga tufaayo ku balala, mu maka, mu kibiina, ne mu buweereza.

^ lup. 3 Munnabyafaayo Omuyudaaya ayitibwa Josephus agamba nti mu kiseera ekyo Samwiri yalina emyaka 12.

^ lup. 16 Tekiba kikyamu kusuubira nti abamu ku abo abanaawonawo ku Amagedoni bajja kubaako obulemu. Yesu bwe yali ku nsi yawonya abantu “endwadde eza buli kika,” bwe kityo n’alaga ekyo ky’ajja okukolera abo abanaawonawo ku Amagedoni, so si abo abanaazuukizibwa. (Mat. 9:35) Abantu abanaazuukizibwa, bajja kuzuukizibwa nga balamu bulungi.