Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Weeyongere Okwoleka Okwagala Kubanga Kuzimba

Weeyongere Okwoleka Okwagala Kubanga Kuzimba

“Okwagala kuzimba.”​—1 KOL. 8:1.

ENNYIMBA: 109, 121

1. Nsonga ki enkulu Yesu gye yayogerako mu kiro ekyasembayo amale attibwe?

MU KIRO ekyasembayo amale attibwe, Yesu yayogera ku kwagala emirundi nga 30. Yesu yagamba nti abayigirizwa be balina ‘okwagalana.’ (Yok. 15:12, 17) Abayigirizwa be bandibadde baagalana nnyo ne kiba nti ekyo kyandibaawuddewo ng’abagoberezi ba Yesu ab’amazima. (Yok. 13:34, 35) Okwagala okwo kwandibadde tekukoma mu nneewulira. Okwagala Yesu kwe yali ayogerako kwe kwagala okw’okwefiiriza. Yagamba nti: “Tewali alina kwagala kusinga kw’oyo awaayo obulamu bwe ku lwa mikwano gye. Bwe mukwata bye mbalagira, muba mikwano gyange.”​—Yok. 15:13, 14.

2. (a) Kiki ekimanyiddwa ku bantu ba Yakuwa? (b) Bibuuzo ki ebigenda okuddibwamu mu kitundu kino?

2 Okwagala okwa nnamaddala n’obumu obuli mu bantu ba Yakuwa leero bukakafu obulaga nti be baweereza ba Katonda ab’amazima. (1 Yok. 3:10, 11) Kitusanyusa nnyo okulaba nti abaweereza ba Yakuwa baagalana wadde nga bava mu mawanga ga njawulo, boogera ennimi za njawulo, era baakulira mu mbeera za njawulo! Naye tuyinza okwebuuza: ‘Lwaki kikulu nnyo leero okwoleka okwagala? Yakuwa ne Yesu batuzimba batya mu kwagala? Buli omu ku ffe ayinza atya okwoleka okwagala “okuzimba”?’​—1 Kol. 8:1.

ENSONGA LWAKI KIKULU LEERO OKWOLEKA OKWAGALA

3. Ennaku zino ez’enkomerero zikoze ki ku bantu?

3 Olw’okuba obulamu mu nnaku zino ez’enkomerero ‘bujjudde ebizibu n’ennaku,’ abantu bangi bennyamivu. (Zab. 90:10; 2 Tim. 3:1-5) Abantu bangi bawulira nga beetamiddwa obulamu. Kigambibwa nti abantu abasukka mu 800,000 betta buli mwaka, kwe kugamba, omuntu omu yetta buli luvannyuma lw’obutikitiki 40. Kya nnaku nti n’abamu ku baweereza ba Yakuwa besse olw’okuwulira nti ebizibu bibayitiriddeko.

4. Bantu ki aboogerwako mu Bayibuli abaawulira nga baagala bafe?

4 N’abamu ku baweereza ba Yakuwa ab’edda ebizibu byabayitirirako ne bawulira nga beetamiddwa obulamu. Ng’ekyokulabirako, Yobu bwe yali mu bulumi obw’amaanyi yagamba nti: “Nneetamiddwa obulamu; sikyayagala kweyongera kuba mulamu.” (Yob. 7:16; 14:13) Yona yawulira bubi nnyo olw’ebyo ebyali bibaddewo mu buweereza bwe n’agamba nti: “Ai Yakuwa, nkwegayiridde nzigyaako obulamu bwange, kubanga kirungi nfe okusinga okuba omulamu.” (Yon. 4:3) Ne nnabbi Eriya embeera yamuyitirirako n’asaba Yakuwa amuggyeko obulamu. Yagamba nti: “Kimala! Kaakano Ai Yakuwa, ggyawo obulamu bwange.” (1 Bassek. 19:4) Naye Yakuwa yali atwala abaweereza be abo nga ba muwendo era yali ayagala basigale nga balamu. Mu kifo ky’okubanenya olw’okuba n’enneewulira eyo, yabayamba okugivvuunuka basobole okweyongera okumuweereza n’obwesigwa.

5. Lwaki leero kikulu nnyo okulaga bakkiriza bannaffe okwagala?

5 Ne bwe kiba nti baganda baffe tebawulira nti obulamu bubatamye, bangi ku bo boolekagana n’embeera enzibu ennyo era beetaaga okuzzibwamu amaanyi. Abamu bayigganyizibwa era basekererwa. Abalala bakozi bannaabwe babageya oba baboogerako bubi. Abalala baba bakoowu olw’okuba bamala essaawa nnyingi nga bakola oba emirimu gye bakola gibateeka ku bunkenke. Ate abalala boolekagana n’ebizibu mu maka, oboolyawo nga bavumibwa munnaabwe mu bufumbo atali muweereza wa Yakuwa. Ebizibu ng’ebyo bireetedde bangi mu kibiina okuwulira nga bakoowu mu mubiri ne mu nneewulira. Ani ayinza okuyamba abantu ng’abo?

OKWAGALA KWA YAKUWA KUTUZZAAMU AMAANYI

6. Yakuwa azzaamu atya abaweereza be amaanyi?

6 Yakuwa azzaamu abaweereza be amaanyi ng’abakakasa nti abaagala. Abayisirayiri abeesigwa bateekwa okuba nga baddamu nnyo amaanyi Yakuwa bwe yabagamba nti: “Wafuuka wa muwendo gye ndi, waweebwa ekitiibwa, era nkwagala. . . . Totya, kubanga ndi wamu naawe”! (Is. 43:4, 5) Bw’oba oweereza Yakuwa, ba mukakafu nti Yakuwa akwagala nnyo. * Ekigambo kya Katonda kigamba nti: “Ajja kukulokola ng’omulwanyi omuzira. Ajja kukusanyukira era ajja kujaganya nnyo.”​—Zef. 3:16, 17.

7. Okwagala Yakuwa kw’alaga abaweereza be kufaananako kutya okwa maama? (Laba ekifaananyi ku lupapula 12.)

7 Abaweereza ba Yakuwa ka babe nga boolekagana na bizibu ki, Yakuwa asuubiza okubayamba n’okubabudaabuda. Abagamba nti: “Muliyonka era muliweekebwa, mulibuusibwabuusibwa ku maviivi. Nga maama bw’abudaabuda omwana we, nange bwe ntyo bwe ndibabudaabuda.” (Is. 66:12, 13) Lowooza ku ngeri omwana gy’awuliramu nga maama we amusitudde oba ng’amubuusabuusa ku maviivi! Mu kukozesa ekyokulabirako ekyo, Yakuwa akiraga nti ayagala nnyo abaweereza be ab’amazima era abafaako nnyo. Ba mukakafu nti oli wa muwendo nnyo eri Yakuwa.​—Yer. 31:3.

8, 9. Okwagala kwa Kristo kutuzzaamu kutya amaanyi?

8 Ensonga endala ekakasa Abakristaayo nti ddala Katonda abaagala eri nti: “Katonda yayagala nnyo ensi n’awaayo Omwana we eyazaalibwa omu yekka, buli muntu yenna amukkiririzaamu aleme okuzikirira, wabula afune obulamu obutaggwaawo.” (Yok. 3:16) Ne Yesu yatulaga okwagala kungi bwe yawaawo obulamu bwe ku lwaffe! Okwagala Yakuwa ne Yesu kwe baatulaga kutuzzaamu nnyo amaanyi. Ekigambo kya Katonda kitukakasa nti tewali kintu kyonna, ka kube ‘kubonaabona oba kulumwa’ kisobola “kutwawukanya ku kwagala kwa Katonda okuli mu Kristo Yesu.”​—Bar. 8:35, 38, 39.

9 Oluusi twolekagana n’ebizibu ebitunafuya mu mubiri, ebikosa enneewulira yaffe, oba ebitumalako essanyu mu buweereza bwaffe. Naye bwe tukijjukira nti Kristo atwagala nnyo, kituzzaamu amaanyi era ne kituyamba okugumiikiriza. (Soma 2 Abakkolinso 5:14, 15.) Okwagala Yesu kw’alina gye tuli kutuyamba obutaggwaamu maanyi ne bwe tuba nga twolekagana n’ebizibu, gamba ng’obutyabaga, okuyigganyizibwa, oba ebizibu ebirala eby’amaanyi.

TULINA OKULAGA BAGANDA BAFFE OKWAGALA

Okwekenneenya ekyokulabirako kya Yesu kisobola okukuyamba okuzzaamu abalala amaanyi (Laba akatundu 10, 11)

10, 11. Baani abalina obuvunaanyizibwa okuzzaamu amaanyi baganda baffe abaweddemu amaanyi? Nnyonnyola.

10 Ate era Yakuwa atulaga okwagala era atuzzaamu amaanyi ng’ayitira mu kibiina Ekikristaayo. Naffe tusobola okulaga nti twagala Yakuwa nga twagala bakkiriza bannaffe era nga tufuba okubazzaamu amaanyi mu by’omwoyo ne mu by’omubiri. (1 Yok. 4:19-21) Omutume Pawulo yagamba Abakristaayo nti: “Muzziŋŋanengamu amaanyi era muzimbaganenga, nga bwe mukola.” (1 Bas. 5:11) Ffenna mu kibiina tusobola okukoppa Yakuwa ne Yesu nga tubudaabuda baganda baffe era nga tubazzaamu amaanyi.​—Soma Abaruumi 15:1, 2.

11 Abamu mu kibiina balina obulwadde obw’okwennyamira era bayinza okwetaaga okufuna obujjanjabi. (Luk. 5:31) Abakadde n’abalala mu kibiina bakimanyi nti si basawo batendeke mu nsonga eyo. Wadde kiri kityo abakadde n’abalala mu kibiina basobola “okubudaabuda abennyamivu, okuyamba abanafu, n’okugumiikiriza bonna.” (1 Bas. 5:14) Abakristaayo bonna balina okulumirirwa n’okugumiikiriza abo abaweddemu amaanyi, nga bababudaabuda basobole okubazzaamu amaanyi. Ofuba okubudaabuda abalala n’okubazzaamu amaanyi? Biki by’osobola okukola okusobola okweyongera okubudaabuda abalala n’okubazzaamu amaanyi.

12. Mwannyinaffe omu bakkiriza banne bamuzizzaamu batya amaanyi?

12 Okwagala kwaffe kuyinza kutya okuzimba abo abalina obuzibu obw’okwennyamira? Mwannyinaffe omu abeera mu Bulaaya agamba nti: “Oluusi nfuna ekirowoozo ky’okwetta. Naye nfuna obuyambi. Ab’oluganda mu kibiina kyange bataasizza obulamu bwange. Bulijjo baganda bange ne bannyinaze banzizaamu amaanyi era bandaga okwagala. Wadde nga batono abakimanyi nti nnina obulwadde bw’okwennyamira, ab’oluganda bonna mu kibiina bulijjo bannyamba. Ow’oluganda omu ne mukyala we balinga bazadde bange. Banfaako nnyo era bannyamba wonna we mbeetaagira.” Kyo kituufu nti ekyo buli omu ky’asobola okukola okuyamba abalala tekyenkanankana. Wadde kiri kityo, buli omu ku ffe alina ky’asobola okukolawo okuzzaamu baganda baffe ne bannyinaffe amaanyi. *

ENGERI GYE TUYINZA OKUZIMBA ABALALA MU KWAGALA

13. Kiki kye tusaanidde okukola bwe tuba ab’okuzimba abalala?

13 Wuliriza bulungi. (Yak. 1:19) Bw’owuliriza abalala obulungi kiba kiraga nti obaagala. Mu ngeri ey’amagezi era ey’ekisa, oyinza okubuuza ebibuuzo oyo alina ennyiike kikuyambe okumanya engeri gye yeewuliramu. Ekyo kijja kukusobozesa okulumirirwa mukkiriza munno n’okumuzzaamu amaanyi. Endabika yo ey’oku maaso nayo esaanidde okukiraga nti ddala omufaako. Mukkiriza munno bw’aba aliko by’akutegeeza, ba mugumiikiriza era weewale okumusala ekirimi. Bw’owuliriza n’obugumiikiriza kisobola okukuyamba okutegeera enneewulira ya mukkiriza munno. Ekyo kisobola okumuleetera okukwesiga n’okuwuliriza ebyo by’omugamba okusobola okumuzzaamu amaanyi. Abalala bwe bakiraba nti obafaako, kibabudaabuda nnyo.

14. Lwaki tulina okwewala okukolokota abalala?

14 Weewale okukolokota abalala. Omuntu omwennyamivu bw’omukolokota, ekyo kimwongera ennaku era byonna by’oyogera okumuzzaamu amaanyi biyinza obutamuyamba. Bayibuli egamba nti: “Ayogera nga tasoose kulowooza, ebigambo bye bifumita ng’ekitala, naye ebigambo by’ab’amagezi biwonya.” (Nge. 12:18) Mu mbeera eza bulijjo tetugenderera ‘kufumita’ bantu bennyamivu na bigambo birumya. Naye ne bwe kiba nti omuntu tetumufumise mu bugenderevu, alumwa. Okusobola okuzimba abalala mu kwagala, tusaanidde okubalumirirwa, kwe kugamba, okweteeka mu mbeera yaabwe.​—Mat. 7:12.

15. Kintu ki ekikulu ekisobola okutuyamba okubudaabuda abalala?

15 Budaabuda abalala ng’okozesa Ekigambo kya Katonda. (Soma Abaruumi 15:4, 5.) Mu Bayibuli mulimu ebyawandiikibwa bingi bye tusobola okukozesa okubudaabuda abalala n’okubazzaamu amaanyi. Ekyo kiri kityo kubanga Bayibuli yava eri “Katonda awa obugumiikiriza n’okubudaabuda.” Ate era tulina ne Watch Tower Publications Index awamu n’Ekitabo Ekiyamba Abajulirwa ba Yakuwa Okunoonyereza. Ebintu ebyo bisobola okutuyamba okuzuula ebyawandiikibwa n’ebitabo bye tusobola okukozesa okubudaabuda bakkiriza bannaffe n’okubazzaamu amaanyi.

16. Ngeri ki gye tusaanidde okwoleka nga tuzzaamu Omukristaayo omwennyamivu amaanyi?

16 Ba musaasizi. Yakuwa ye “Kitaffe ow’okusaasira era Katonda ow’okubudaabuda kwonna.” (Soma 2 Abakkolinso 1:3-6; Luk. 1:78; Bar. 15:13) Pawulo yakoppa Yakuwa n’assaawo ekyokulabirako ekirungi mu nsonga eno. Yagamba Bakristaayo banne nti: “Bwe twali mu mmwe twabakwata n’obwegendereza nga maama ayonsa bw’alabirira abaana be. N’olwekyo, olw’okuba twali tubaagala nnyo, twali bamalirivu okubabuulira amawulire amalungi aga Katonda n’okuwaayo obulamu bwaffe okusobola okubayamba.” (1 Bas. 2:7, 8) Bwe tulaga abalala obusaasizi, Yakuwa ayinza okuba ng’atukozesa okuddamu essaala y’omuntu omwennyamivu.

17. Ndowooza ki gye tusaanidde okuba nayo ku bakkiriza bannaffe eneetuyamba okubazimba?

17 Tosuubira baganda bo kukola bintu mu ngeri etuukiridde. Ba n’endowooza ennuŋŋamu ku bakkiriza banno. Okusuubira nti baganda bo tebajja kukola nsobi tekiba kya magezi era kisobola okukumalako essanyu. (Mub. 7:21, 22) Kijjukire nti Yakuwa tasuubira baweereza be kukola bye batasobola. Bwe tukoppa Yakuwa tujja kugumiikiriza obunafu bwa bakkiriza bannaffe. (Bef. 4:2, 32) Mu kifo ky’okubaleetera okulowooza nti tebakola kimala, basiime olw’ebyo bye bakola. Ekyo kisobola okubazzaamu amaanyi. Okusiima abalala mu bwesimbu kibazimba era kisobola okubayamba okufuna essanyu mu buweereza bwabwe. Nga kiba kirungi okusiima abalala mu kifo ky’okubageraageranya n’abalala.​—Bag. 6:4.

18. Kiki ekitukubiriza okuzimba baganda baffe mu kwagala?

18 Buli omu ku baweereza wa Yakuwa wa muwendo nnyo eri Yakuwa n’eri Yesu. (Bag. 2:20) Twagala nnyo bakkiriza bannaffe era twagala okubalaga obusaasizi. Okusobola okuzzaamu abalala amaanyi, ka bulijjo “tukole ebyo ebireeta emirembe era ebituyamba okuzimbagana.” (Bar. 14:19) Twesunga nnyo ensi empya, omutaabe bintu bitumalamu maanyi! Tewajja kubaawo nate bulwadde, ntalo, kufa, kuyigganyizibwa, ebizibu mu maka, n’ebintu ebirala ebibi. Obufuzi bwa Yesu obw’Emyaka Olukumi we bunaggweerako abantu bajja kuba bafuuse abatuukiridde. Abo abanaayita mu kugezesebwa okusembayo bajja kufuuka baana ba Yakuwa Katonda era bajja kufuna “eddembe ery’ekitiibwa ery’abaana ba Katonda.” (Bar. 8:21) N’olwekyo, ka ffenna tweyongera okwoleka okwagala okuzimba, kitusobozese okuwonawo tutuuke mu nsi ya Katonda empya.

^ lup. 12 Amagezi agasobola okuyamba omuntu alina ekirowoozo eky’okwetta gasangibwa mu Awake! eya Apuli 2014, eya Jjanwali 2012, n’eya Okitobba 22, 2001.