OMUNAALA GW'OMUKUUMI—OGW'OKUSOMA MU KIBIINA Ssebutemba 2019

Magazini eno erimu ebitundu eby’okusoma okuva nga Okitobba 28–Ddesemba 1, 2019.

Yakuwa Ayagala Nnyo Abaweereza Be Abeetoowaze

Obwetoowaze y’emu ku ngeri enkulu ze tusaanidde okukulaakulanya. Embeera ezikyukakyuka ziyinza zitya okukifuula ekizibu gye tuli okuba obwetoowaze?

Amagedoni Mawulire Malungi!

Bintu ki ebikulu ebinaabaawo nga Amagedoni anaatera okutuuka? Tuyinza tutya okusigala nga tuli beesigwa ng’enkomerero egenda esembera?

Lwaki Tugondera Yakuwa era Ekyo Tukikola Tutya?

Abakadde, bataata, ne bamaama balina kinene kye basobola okuyigira ku Gavana Nekkemiya, Kabaka Dawudi, ne Maliyamu maama wa Yesu ku ngeri gye bayinza okukozesaamu obuyinza Yakuwa bwe yabawa.

“Mujje Gye Ndi, . . . Nange Nnaabawummuza”

Biki ebizingirwa mu kujja eri Yesu? Tujja kufuna ekiwummulo singa tukola ebintu bisatu.

“Laba! Ekibiina Ekinene”

Mu kwolesebwa Yokaana kwe yafuna, Yakuwa yalaga ab’ekibiina ekinene be baani, obungi bwabwe, ne gye bava. Ab’ekibiina ekinene bajja kubeera ku nsi emirembe gyonna.