Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 36

Amagedoni Mawulire Malungi!

Amagedoni Mawulire Malungi!

“Ne bibakuŋŋaanya wamu mu . . . Amagedoni.”​—KUB. 16:16.

OLUYIMBA 150 Noonya Katonda Akununule

OMULAMWA *

1-2. (a) Lwaki Amagedoni mawulire malungi eri abantu? (b) Bibuuzo ki bye tugenda okwekenneenya mu kitundu kino?

ABANTU abamu bagamba nti Amagedoni kitegeeza olutalo olw’eby’okulwanyisa by’amaanyi ga nukiriya oba nti katyabaga akagenda okubaawo mu nsi yonna nga kava ku kwonoonebwa kw’obutonde. Naye okwawukana ku ekyo abantu abamu kye balowooza, Bayibuli eraga nti Amagedoni agenda kuleeta ebintu ebirungi n’essanyu! (Kub. 1:3) Olutalo lwa Amagedoni terugenda kusaanyaawo bantu wabula lugenda kubaviirako okulokolebwa! Mu ngeri ki?

2 Bayibuli eraga nti olutalo Amagedoni lujja kuviirako abantu okulokolebwa bwe lunaakomya obufuzi bw’abantu. Era lujja kuviirako abantu okulokolebwa nga lusaanyaawo abantu ababi ate abatuukirivu bawonewo. Ate era lujja kuviirako abantu okulokolebwa nga lusaanyaawo abo aboonoona ensi. (Kub. 11:18) Okusobola okutegeera obulungi ebintu ebyo ka twekenneenye ebibuuzo bino bina: Amagedoni kye ki? Biki ebinaabaawo nga tannatandika? Tuyinza tutya okuba abamu ku abo abanaawonawo ku Amagedoni? Tuyinza tutya okusigala nga tuli beesigwa nga Amagedoni agenda asembera?

AMAGEDONI KYE KI?

3. (a) Ekigambo “Amagedoni” kitegeeza ki? (b) Okusinziira ku Okubikkulirwa 16:14, 16, lwaki tuyinza okugamba nti Amagedoni si kifo ekiriwo ddala ku nsi?

3 Soma Okubikkulirwa 16:14, 16. Ekigambo “Amagedoni” kirabika omulundi gumu mu Byawandiikibwa era kiva mu kigambo ky’Olwebbulaniya ekitegeeza “Olusozi lw’e Megiddo.” (Kub. 16:16; obugambo obuli wansi) Megiddo kyali kibuga mu Isirayiri ey’edda. (Yos. 17:11) Naye Amagedoni si kifo ekiriwo ddala ku nsi. Amagedoni ye mbeera eneebaawo nga “bakabaka b’ensi yonna” bakuŋŋaanye wamu okulwanyisa Yakuwa. (Kub. 16:14) Naye mu kitundu kino era tugenda kukozesa ekigambo “Amagedoni” okutegeeza olutalo olugenda okubaawo amangu ddala nga bakabaka b’ensi bamaze okukuŋŋaana. Tumanya tutya nti Amagedoni kifo kya kabonero? Ekisooka, tewali lusozi luyitibwa Megiddo. Eky’okubiri, ekifo awaali Megiddo kitono nnyo ne kiba nti tekisobola kugyamu “bakabaka b’ensi yonna,” n’amagye gaabwe, awamu n’eby’okulwanyisa byabwe. Eky’okusatu, nga bwe tugenda okulaba, olutalo Amagedoni lujja kutandika “bakabaka” b’ensi bwe banaalumba abantu ba Katonda abali mu nsi yonna.

4. Lwaki Yakuwa yakwataganya olutalo olukulu olusembayo ne Megiddo?

4 Lwaki Yakuwa yakwataganya olutalo olukulu olusembayo ne Megiddo? Megiddo n’ekiwonvu kya Yezuleeri ekyali kiriranyeewo, byalwanirwamu entalo nnyingi. Emirundi egimu Yakuwa yabangako ky’akolawo okuyamba abantu be okuwangula entalo ezo. Ng’ekyokulabirako, “okumpi n’amazzi g’e Megiddo,” Katonda yayamba Omulamuzi wa Isirayiri Balaka okuwangula eggye ly’Abakanani eryali liduumirwa Sisera. Balaka ne nnabbi Debola beebaza Yakuwa olw’obuwanguzi bwe baatuukako mu ngeri ey’ekyamagero. Baayimba nti: “Emmunyeenye zaalwanira mu ggulu . . . zaalwanyisa Sisera. Akagga Kisoni kaabakuluggusa.”​—Balam. 5:19-21.

5. Mu ngeri ki olutalo Amagedoni gye lujja okwawukana ku lutalo Balaka lwe yalwana?

5 Balaka ne Debola baakomekkereza oluyimba lwabwe n’ebigambo bino: “Abalabe bo bonna ka bazikirire, Ai Yakuwa, naye abakwagala ka babe ng’enjuba bw’eba ng’evaayo mu kitiibwa kyayo.” (Balam. 5:31) Ne ku Amagedoni abalabe ba Katonda bajja kuzikirizibwa ate abo abaagala Katonda bajja kulokolebwa. Naye waliwo enjawulo wakati w’entalo zino ebbiri. Ku Amagedoni abantu ba Katonda tebajja kulwana era tebajja kuba na bya kulwanyisa! ‘Amaanyi gaabwe gajja kuba mu kusigala nga bakkakkamu era nga beesiga’ Yakuwa n’eggye lye ery’omu ggulu.​—Is. 30:15; Kub. 19:11-15.

6. Yakuwa ayinza kukozesa ki okuzikiriza abalabe be ku Amagedoni?

6 Katonda anaawangula atya abalabe be ku Amagedoni? Ayinza okukozesa ebintu eby’enjawulo. Ng’ekyokulabirako, ayinza okukozesa musisi, omuzira, ne laddu. (Yob. 38:22, 23; Ezk. 38:19-22) Ayinza okuleetera abalabe be buli omu okulwanyisa munne. (2 Byom. 20:17, 22, 23) Ate era ayinza okukozesa bamalayika be okutta ababi. (Is. 37:36) Ka kibe ki Katonda ky’anaakozesa, ajja kuwangulira ddala. Abalabe be bonna bajja kusaanawo. Ate abatuukirivu bonna bajja kulokolebwa.​—Nge. 3:25, 26.

BINTU KI EBINAABAAWO NG’OLUTALO LWA AMAGEDONI LUNAATERA OKUTANDIKA?

7-8. (a) Okusinziira ku 1 Abassessalonika 5:1-6, kiki abafuzi b’ensi kye bajja okulangirira? (b) Lwaki okulangirira okwo bujja kuba bulimba bwa mutawaana?

7 Wajja kubaawo okulangirira ‘emirembe n’obutebenkevu’ ‘ng’olunaku lwa Yakuwa’ lunaatera okutuuka. (Soma 1 Abassessalonika 5:1-6.) Mu 1 Abassessalonika 5:2, “olunaku lwa Yakuwa” lutegeeza ‘ekibonyoobonyo ekinene.’ (Kub. 7:14) Tunaamanya tutya nti ekibonyoobonyo ekinene kinaatera okutandika? Bayibuli etutegeeza nti wajja kubaawo okulangirira okutali kwa bulijjo. Okulangirira okwo kujja kuba ng’akabonero akalaga nti ekibonyoobonyo ekinene kigenda okutandika.

8 Okwo kujja kuba kulangirira Bayibuli kwe yayogerako ‘okw’emirembe n’obutebenkevu.’ Lwaki abafuzi b’ensi bajja kulangirira ebigambo ebyo? Abakulembeze b’amadiini nabo banaabegattako? Oboolyawo. Naye okulangirira okwo bujja kuba bulimba obuva eri badayimooni. Naye obulimba obwo bujja kuba bwa mutawaana nnyo kubanga bujja kuleetere abantu okulowooza nti batebenkedde, so ng’ate ekibonyoobonyo ekigenda okusingayo obunene mu byafaayo by’abantu kigenda kuba kituuse. ‘Okuzikiriza okw’amangu kugenda kubajjira ng’ebisa bwe bijjira omukazi ali olubuto.’ Ate bo abaweereza ba Yakuwa abeesigwa? Olw’okuba tebamanyidde ddala ddi ekibonyoobonyo ekinene lwe kigenda kutandika, bwe kinaatandika kiyinza okubeewuunyisa, naye bajja kuba bakyetegekedde.

9. Yakuwa agenda kuzikiriza ensi ya Sitaani omulundi gumu? Nnyonnyola.

9 Yakuwa tagenda kuzikiriza nsi ya Sitaani mulundi gumu nga bwe yakola mu kiseera kya Nuuwa. Mu kifo ky’ekyo, agenda kugizikiriza mu mitendera ebiri emikulu. Okusooka, agenda kuzikiriza Babulooni Ekinene, kwe kugamba, amadiini gonna ag’obulimba. Oluvannyuma, ku Amagedoni, agenda kuzikiriza ekitundu ekinaaba kisigaddewo eky’enteekateeka ya Sitaani, nga muno muzingiramu, eby’obufuzi, amagye, n’eby’obusuubuzi. Ka twekenneenye emitendera egyo ebiri.

10. Okusinziira ku Okubikkulirwa 17:1, 6 ne 18:24, lwaki Yakuwa agenda kuzikiriza Babulooni Ekinene?

10 “Omusango gwe basalidde malaaya omukulu.” (Soma Okubikkulirwa 17:1, 6; 18:24.) Babulooni Ekinene kireese ekivume kya maanyi ku linnya lya Katonda. Kiyigirizza ebintu eby’obulimba ku Katonda. Kikoze obwamalaaya mu by’omwoyo nga kiwagira gavumenti z’abantu. Kikozesezza amaanyi gaakyo n’obuyinza bwakyo okunyunyunta abagoberezi baakyo. Era kiyiye omusaayi mungi, omuli n’ogw’abaweereza ba Katonda. (Kub. 19:2) Yakuwa anaazikiriza atya Babulooni Ekinene?

11. “Ensolo emmyufu” ekiikirira ki, era Katonda anaagikozesa atya okutuukiriza omusango gw’asalidde Babulooni Ekinene?

11 Yakuwa ajja kuzikiriza “malaaya omukulu” ng’akozesa “amayembe ekkumi” ‘ag’ensolo emmyufu.’ Ensolo eyo emmyufu ekiikirira ekibiina ky’Amawanga Amagatte. Amayembe ekkumi gakiikirira gavumenti eziwagira ekibiina ekyo. Mu kiseera kya Katonda ekigereke, gavumenti ezo zijja kulumba Babulooni Ekinene. Zijja ‘kuzikiriza malaaya oyo era zimuleke bukunya’ nga zitwala eby’obugagga bye era nga zaanika ebikolwa bye ebibi. (Kub. 17:3, 16) Okuzikiriza okwo okw’amangu okunaaba ng’okubaddewo mu lunaku lumu kujja kwewuunyisa nnyo abo abawagira malaaya oyo. Ekyo kiri kityo kubanga amaze ebbanga ddene nga yeewaana nti: “Nfuga nga kabaka, siri nnamwandu, era sirikungubaga n’akatono.”​—Kub. 18:7, 8.

12. Kiki Yakuwa ky’atagenda kukkiriza mawanga kukola, era lwaki?

12 Katonda tajja kukkiriza mawanga kusaanyaawo bantu be. Bayitibwa erinnya lye era bagondedde ekiragiro kye eky’okufuluma mu Babulooni Ekinene. (Bik. 15:16, 17; Kub. 18:4) Ate era bafubye nnyo okuyamba abalala okukifulumamu. N’olwekyo, abaweereza ba Yakuwa tebagenda “kugabana ku bibonyoobonyo byakyo.” Wadde kiri kityo, okukkiriza kwabwe kujja kugezesebwa.

Ka wabe wa we banaaba ku nsi, abantu ba Katonda bajja kumwesiga okubakuuma nga balumbiddwa (Laba akatundu 13) *

13. (a) Googi y’ani? (b) Okusinziira ku Ezeekyeri 38:2, 8, 9, kiki ekinaaleetera Googi okulumba abantu ba Yakuwa?

13 Obulumbaganyi bwa Googi. (Soma Ezeekyeri 38:2, 8, 9.) Oluvannyuma lw’okuzikirizibwa kw’amadiini gonna, wajja kuba wasigaddewo eddiini emu yokka ku nsi. Abaweereza ba Yakuwa bokka be bajja okuba nga basigaddewo. Kya lwatu nti ekyo kijja kusunguwaza nnyo Sitaani. Ajja kwoleka obusungu bwe obwo ng’akozesa “ebigambo ebyaluŋŋamizibwa ebitali birongoofu,” nga buno bujja kuba bulimba obuva eri badayimooni obujja okuleetera amawanga okwegatta awamu okulwanyisa abaweereza ba Yakuwa. (Kub. 16:13, 14) Amawanga aganaaba geegasse awamu gonna awamu gayitibwa “Googi ow’omu nsi y’e Magoogi.” Amawanga bwe ganaalumba abantu ba Yakuwa, gajja kuba gatuuse mu kifo eky’akabonero ekiyitibwa Amagedoni.​—Kub. 16:16.

14. Kiki amawanga kye gajja okutegeera?

14 Googi ajja kwesiga ‘amaanyi g’abantu,’ kwe kugamba, amagye ge. (2 Byom. 32:8) Ffe tujja kwesiga Yakuwa Katonda waffe, era ekyo amawanga gajja kukiraba ng’ekintu eky’obusiru. Lwaki? Kubanga wadde nga Babulooni Ekinene kyali kya maanyi, bakatonda baakyo bajja kuba tebasobodde kukiwonya ng’ensolo n’amayembe gaayo ekkumi bikirumbye! (Kub. 17:16) N’olwekyo amawanga gajja kulowooza nti kijja kuganguyira okutusaanyaawo. Nga galinga “ekire ekibisse ensi,” gajja kulumba abantu ba Yakuwa. (Ezk. 38:16) Naye oluvannyuma amawanga gajja kukitegeera nti gagudde mu mutego. Okufaananako Falaawo ku Nnyanja Emmyufu, gajja kukitegeera nti gabadde galwanyisa Yakuwa.​—Kuv. 14:1-4; Ezk. 38:3, 4, 18, 21-23.

15. Kiki Yesu ky’ajja okukola ku lutalo Amagedoni?

15 Kristo n’eggye lye ery’omu ggulu bajja kulwanirira abantu ba Katonda era basaanyeewo amawanga n’amagye gaago. (Kub. 19:11, 14, 15) Ate ye Sitaani omulabe wa Yakuwa omukulu anaaba alimbyelimbye amawanga n’agaleetera okulumba abantu ba Yakuwa? Yesu ajja kumusuula mu bunnya awamu ne badayimooni be, era ajja kubasibira eyo okumala emyaka lukumi.​—Kub. 20:1-3.

OYINZA OTYA OKUWONAWO KU AMAGEDONI?

16. (a) Tukiraga tutya nti tumanyi Katonda? (b) Okumanya Katonda kinaatuyamba kitya ku Amagedoni?

16 Ka tube nga tumaze mu mazima emyaka mingi oba nedda, okusobola okuwonyezebwawo ku Amagedoni tulina okukiraga nti tumanyi Katonda era nti tugondera amawulire amalungi agakwata ku Mukama waffe Yesu. (2 Bas. 1:7-9) Bwe tumanya Katonda by’ayagala ne by’atayagala awamu n’emitindo gye, awo tuba tumanyi Katonda. Era tukiraga nti tumanyi Katonda bwe tumwagala, bwe tumugondera, era bwe tusinza ye yekka. (1 Yok. 2:3-5; 5:3) Bwe tukiraga nti tumanyi Katonda, ne Katonda ‘aba atumanyi,’ era ekyo kiba kijja kutusobozesa okuwonawo ku Amagedoni! (1 Kol. 8:3) Lwaki? Kubanga Katonda bw’aba atumanyi, kiba kitegeeza nti atusiima.

17. Kitegeeza ki okugondera ‘amawulire amalungi agakwata ku Mukama waffe Yesu’?

17 ‘Amawulire amalungi agakwata ku Mukama waffe Yesu’ gazingiramu amazima gonna Yesu ge yayigiriza agasangibwa mu Kigambo kya Katonda. Tugondera amawulire ago amalungi nga tugakolerako mu bulamu bwaffe. Okugondera amawulire ago kizingiramu okukulembeza Obwakabaka, okutambulira ku mitindo gya Katonda egy’obutuukirivu, n’okulangirira Obwakabaka bwa Katonda. (Mat. 6:33; 24:14) Ate era kuzingiramu okuwagira baganda ba Kristo nga batuukiriza obuvunaanyizibwa obw’amaanyi bwe balina.​—Mat. 25:31-40.

18. Baganda ba Kristo abaafukibwako amafuta banaasasula batya ‘ab’endiga endala’ abaabayamba nga bakyali ku nsi?

18 Mu kiseera ekitali kya wala, abaweereza ba Katonda abaafukibwako amafuta bajja kusasula ‘ab’endiga endala’ abaabayamba. (Yok. 10:16) Mu ngeri ki? Ng’olutalo Amagedoni terunnatandika, bonna 144,000 bajja kuba bamaze okutwalibwa mu ggulu. Bajja kuba bitonde bya mwoyo era nga balina obulamu obutasobola kuzikirizibwa. Bajja kuba mu ggye ery’omu ggulu erijja okusaanyaawo Googi era erijja okukuuma ‘ab’ekibiina ekinene’ abalinga endiga. (Kub. 2:26, 27; 7:9, 10) Mazima ddala, ab’ekibiina ekinene bajja kusanyuka nnyo okuba nti baayamba abaweereza ba Yakuwa abaafukibwako amafuta nga bakyali ku nsi!

TUYINZA TUTYA OKUSIGALA NGA TULI BEESIGWA NG’ENKOMERERO EGENDA ESEMBERA?

19-20. Wadde nga twolekagana n’ebigezo eby’amaanyi, tuyinza tutya okusigala nga tuli beesigwa nga Amagedoni agenda asembera?

19 Mu nnaku zino ez’enkomerero, abaweereza ba Yakuwa bangi boolekagana n’ebigezo eby’amaanyi. Wadde kiri kityo, tusobola okubigumira nga tuli basanyufu. (Yak. 1:2-4) Ekimu ku bintu ebisobola okutuyamba okubigumira kwe kunyiikirira okusaba. (Luk. 21:36) Ng’oggyeeko okusaba tulina n’okusoma Bayibuli buli lunaku n’okufumiitiriza ku bye tusoma, omuli n’obunnabbi obukwata ku kiseera kye tulimu. (Zab. 77:12) Bwe tukola ebintu ebyo era ne twenyigira mu mulimu gw’okubuulira, kituyamba okunyweza okukkiriza kwaffe n’essuubi lye tulina!

20 Lowooza ku ngeri gy’onoowuliramu nga Babulooni Ekinene kizikiriziddwa era ng’olutalo Amagedoni luwedde! Era lowooza ku ssanyu eringi ly’onooba nalyo nga buli omu assa ekitiibwa mu linnya lya Katonda era ng’atwala Katonda okuba Omufuzi we! (Ezk. 38:23) Mazima ddala, Amagedoni mawulire malungi eri abo abamanyi Katonda, abagondera Omwana we, era abagumiikiriza okutuuka ku nkomerero.​—Mat. 24:13.

OLUYIMBA 143 Weeyongere Okulindirira n’Obugumiikiriza

^ lup. 5 Abantu ba Yakuwa bamaze ekiseera kiwanvu nga balindirira Amagedoni. Mu kitundu kino tugenda kulaba Amagedoni ky’ategeeza, ebintu ebinaabaawo ng’anaatera okutuuka, n’engeri gye tusobola okusigala nga tuli beesigwa ng’enkomerero egenda esembera.

^ lup. 71 EBIFAANANYI: Ebintu ebikulu ebijja okubaawo mu kiseera kyaffe. (1) Tujja kwenyigira mu mulimu gw’okubuulira nga bwe kinaaba kisobose, (2) tujja kusigala nga tugoberera enteekateeka yaffe ey’okwesomesa, era (3) tujja kweyongera okwesiga Katonda nti ajja kutukuuma.

^ lup. 85 EBIFAANANYI: Abapoliisi nga bagenda okulumba amaka agamu Amakristaayo naye ng’abagalimu bakakafu nti Yesu ne bamalayika be balaba ekigenda mu maaso.