Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 39

“Laba! Ekibiina Ekinene”

“Laba! Ekibiina Ekinene”

“Laba! ekibiina ekinene omuntu yenna ky’atayinza kubala, . . . nga bayimiridde mu maaso g’entebe y’obwakabaka ne mu maaso g’Omwana gw’Endiga.”​—KUB. 7:9.

OLUYIMBA 60 Tutaase Obulamu Bwabwe

OMULAMWA *

1. Omutume Yokaana yali mu mbeera ki ku nkomerero y’ekyasa ekyasooka E.E.?

KU NKOMERERO y’ekyasa ekyasooka E.E., omutume Yokaana yali mu mbeera nzibu nnyo. Yali akaddiye, ng’asibiddwa ku kizinga ekiyitibwa Patumo, era kirabika ye mutume yekka eyali akyasigaddewo nga mulamu. (Kub. 1:9) Yali akimanyi nti abalabe baali babuzaabuza ebibiina era nga baleetawo enjawukana. Abakristaayo ab’amazima baalabika ng’abaali banaatera okusaanawo.​—Yud. 4; Kub. 2:15, 20; 3:1, 17.

Omutume Yokaana yalaba “ekibiina ekinene” nga bambadde ebyambalo ebyeru era nga bakutte amatabi g’enkindu (Laba ekitundu eky’okusoma 39, akatundu 2)

2. Okusinziira ku Okubikkulirwa 7:9-14, kwolesebwa ki okwewuunyisa Yokaana kwe yafuna? (Laba ekifaananyi ku ddiba.)

2 Nga Yokaana ali mu mbeera eyo, yafuna okwolesebwa okwewuunyisa okukwata ku biseera eby’omu maaso. Mu kwolesebwa okwo, bamalayika baalagirwa okukwata empewo z’ekibonyoobonyo ekinene okutuusa ng’ekibinja ekimu eky’abaddu kimaze okuteekebwako akabonero. (Kub. 7:1-3) Ekibinja ekyo kirimu abantu 144,000 abajja okufugira awamu ne Yesu mu ggulu. (Luk. 12:32; Kub. 7:4) Oluvannyuma Yokaana yayogera ne ku kibinja ekirala. Ekibinja ekyo kinene nnyo ne kiba nti Yokaana bwe yali akyogerako yagamba nti “Laba!” ekiraga nti yeewuunya nnyo kye yalaba. Kiki Yokaana kye yalaba? Yalaba “ekibiina ekinene omuntu yenna ky’atayinza kubala, nga bava mu buli ggwanga n’ebika n’abantu n’ennimi nga bayimiridde mu maaso g’entebe y’obwakabaka ne mu maaso g’Omwana gw’Endiga.” (Soma Okubikkulirwa 7:9-14.) Yokaana ateekwa okuba nga yasanyuka nnyo okukimanya nti mu biseera eby’omu maaso abantu bangi nnyo bandibadde basinza Yakuwa mu ngeri entuufu!

3. (a) Lwaki okwolesebwa Yokaana kwe yafuna kunyweza okukkiriza kwaffe? (b) Biki bye tugenda okulaba mu kitundu kino?

3 Okwolesebwa okwo kuteekwa okuba nga kwanyweza nnyo okukkiriza kwa Yokaana. Okwolesebwa okwo ffe kutuzzaamu amaanyi n’okusingawo kubanga kutuukirizibwa mu kiseera kyaffe! Mu kiseera kyaffe abantu bukadde na bukadde batandise okuweereza Yakuwa nga balina essuubi ery’okubeera ku nsi emirembe gyonna. Mu kitundu kino tugenda kulaba engeri Yakuwa gye yayambamu abantu be okumanya ab’ekibiina ekinene be baani, emyaka egisukka mu 80 emabega. Ate era tugenda kulaba ebintu bibiri ebikwata ku kibiina ekinene: (1) obunene bwakyo ne (2) abakirimu okuba nti bava mu mawanga gonna. Ekyo kijja kunyweza okukkiriza kw’abo bonna abalina essuubi ery’okuba mu kibiina ekyo.

AB’EKIBIINA EKINENE BANAABEERA WA?

4. Mazima ki agali mu Bayibuli amadiini ga Kristendomu ge gatategeera, naye Abayizi ba Bayibuli bo baayawukana batya ku Kristendomu?

4 Okutwalira awamu, amadiini ga Kristendomu tegayigiriza mazima agali mu Bayibuli agagamba nti abantu abawulize bajja kubeera ku nsi emirembe gyonna. (2 Kol. 4:3, 4) Leero, amadiini ga Kristendomu agasinga obungi gayigiriza nti abantu abalungi bonna bwe bafa bagenda mu ggulu. Naye Abayizi ba Bayibuli abaali bafulumya magazini ya Watch Tower okuva mu mwaka gwa 1879 bo si bwe batyo bwe baali bayigiriza. Baali bakimanyi nti Katonda ajja kuzzaawo Olusuku lwe ku nsi era nti obukadde n’obukadde bw’abantu abawulize bajja kubeera wano ku nsi, so si mu ggulu. Naye kyabatwalira ekiseera okutegeerera ddala bantu ki abawulize abandibadde bagwa mu kiti ekyo.​—Mat. 6:10.

5. Kiki ekikwata ku bantu 144,000 Abayizi ba Bayibuli kye baali bamanyi?

5 Ate era Abayizi ba Bayibuli baali bakimanyi nti Ebyawandiikibwa biraga nti wandibaddewo abantu ‘abagulibwa ku nsi’ okugenda mu ggulu okufugira awamu ne Yesu. (Kub. 14:3) Abantu abo bonna awamu bandibadde 144,000, era bandibadde Bakristaayo abanyiikivu abaaweereza Katonda n’obwesigwa nga bakyali ku nsi. Ate bo ab’ekibiina ekinene?

6. Biki Abayizi ba Bayibuli bye baali balowooza ku b’ekibiina ekinene?

6 Mu kwolesebwa, Yokaana yalaba ab’ekibiina ekinene “nga bayimiridde mu maaso g’entebe y’obwakabaka ne mu maaso g’Omwana gw’Endiga.” (Kub. 7:9) Ebigambo ebyo byaleetera Abayizi ba Bayibuli okukitwala nti okufaananako 144,000, ab’ekibiina ekinene nabo bandibadde babeera mu ggulu. Bwe kiba nti 144,000 n’ab’ekibiina ekinene bonna bandibadde babeera mu ggulu, kati olwo njawulo ki eyandibaddewo wakati w’ebibinja ebyo ebibiri? Abayizi ba Bayibuli baalowooza nti ekibiina ekinene kyandibaddemu Abakristaayo abataagondera Katonda mu bujjuvu nga bali ku nsi. Era nti wadde nga bandibadde baagoberera emitindo gya Bayibuli egy’empisa, oboolyawo abamu ku bo bandibadde baasigala mu madiini ga Kristendomu. Abayizi ba Bayibuli baali balowooza nti ab’ekibiina ekinene bandibadde baakyoleka nti baagala Katonda, naye si ku kigero ekyandibasobozesezza okufugira awamu ne Yesu. Era nti olw’okuba okwagala kwe baalina eri Katonda tekwali kwa maanyi nnyo, ab’ekibiina ekinene bandibadde bayimirira mu maaso g’entebe y’obwakabaka, so si kutuula ku ntebe z’obwakabaka.

7. Okusinziira ku Bayizi ba Bayibuli, baani abandibadde babeera ku nsi mu kiseera ky’Obufuzi bwa Kristo obw’Emyaka Olukumi, era kiki kye baali balowooza ku basajja abeesigwa ab’edda?

7 Kati olwo baani abandibadde babeera ku nsi? Abayizi ba Bayibuli baali balowooza nti oluvannyuma lwa 144,000 n’ab’ekibiina ekinene okutwalibwa mu ggulu, abantu abalala bukadde na bukadde bandibadde babeera wano ku nsi nga bafugibwa Obufuzi bwa Kristo obw’Emyaka Olukumi. Abayizi ba Bayibuli baali balowooza nti abo abandibadde ku nsi bandibadde batandika okuweereza Yakuwa oluvannyuma lw’Obufuzi bwa Kristo obw’Emyaka Olukumi okutandika. Baali balowooza nti abantu abo abandibadde ku nsi bandibadde bayigirizibwa ebikwata ku Yakuwa mu kiseera ky’Obufuzi bwa Kristo obw’Emyaka Olukumi. Era baali balowooza nti oluvannyuma, abo abandibadde bakolera ku bye bayiga bandibadde bafuna obulamu obutaggwaawo ku nsi, ate abo abandijeemye bandibadde bazikirizibwa. Ate era Abayizi ba Bayibuli baali balowooza nti oboolyawo abamu ku abo abandibadde baweereza ‘ng’abaami’ mu nsi mu kiseera ekyo, nga mu bano mwandibaddemu abasajja abeesigwa ab’edda abaafa nga Kristo tannajja ku nsi, bandibadde baweebwa obulamu mu ggulu ku nkomerero y’Obufuzi bwa Kristo obw’Emyaka Olukumi.​—Zab. 45:16.

8. Bibinja ki ebisatu Abayizi ba Bayibuli bye baali balowooza nti biri mu kigendererwa kya Yakuwa?

8 N’olwekyo, Abayizi ba Bayibuli baali balowooza nti waliwo ebibinja bya mirundi esatu: (1) 144,000, abandibadde bafugira awamu ne Yesu mu ggulu; (2) ab’ekibiina ekinene, Abakristaayo abataali banyiikivu nnyo, abandiyimiridde mu maaso g’entebe ya Yesu ey’obwakabaka mu ggulu; ne (3) obukadde n’obukadde bw’abantu abandibadde bayigirizibwa amakubo ga Yakuwa mu Bufuzi bwa Kristo obw’Emyaka Olukumi. * Kyokka mu kiseera kya Yakuwa ekituufu, ekitangaala kyeyongera okwaka ku bikwata ku nsonga eno.​—Nge. 4:18.

EKITANGAALA EKY’AMAZIMA KYEYONGERA OKWAKA

Ku lukuŋŋaana olwaliwo mu 1935 abantu bangi nnyo abaalina essuubi ery’okubeera ku nsi baabatizibwa (Laba akatundu 9)

9. (a) Mu ngeri ki ab’ekibiina ekinene ababeera ku nsi gye bayimirira “mu maaso g’entebe y’obwakabaka ne mu maaso g’Omwana gw’Endiga”? (b) Lwaki engeri eyo gye tutegeeramu Okubikkulirwa 7:9 ekola amakulu?

9 Mu 1935 Abajulirwa ba Yakuwa baategeera bulungi ab’ekibiina ekinene be baani. Baakitegeera nti ab’ekibiina ekinene tekibeetaagisa kubeera mu ggulu okusobola okuyimirira “mu maaso g’entebe y’obwakabaka ne mu maaso g’Omwana gw’Endiga.” Okuyimirira okwo kwa kabonero. Wadde ng’ab’ekibiina ekinene ba kubeera ku nsi, bandiyimiridde mu “mu maaso g’entebe y’obwakabaka” nga bakkiriza nti Yakuwa ye Mufuzi w’obutonde bwonna era nga bamugondera. (Is. 66:1) Era bandiyimiridde “mu maaso g’Omwana gw’Endiga” nga bakkiririza mu ssaddaaka Yesu gye yawaayo. Matayo 25:31, 32, walaga nti “amawanga gonna,” nga mw’otwalidde n’abantu ababi, bajja ‘kukuŋŋaanyizibwa mu maaso’ ga Yesu ng’ali ku ntebe ye ey’obwakabaka ey’ekitiibwa. Kyeyoleka lwatu nti amawanga ago tegajja kuba mu ggulu, wabula gajja kuba ku nsi. Enkyukakyuka eyo eyakolebwa mu 1935 ekola amakulu. Etuyamba okutegeera ensonga lwaki Bayibuli tekiraga nti ab’ekibiina ekinene bazuukizibwa ne bagenda mu ggulu. Ekibinja kimu kyokka kye kisuubizibwa okufunira obulamu obutaggwaawo mu ggulu, nga bano b’ebo 144,000, ‘abajja okufuga ensi nga bakabaka’ nga bali wamu ne Yesu.​—Kub. 5:10.

10. Lwaki kyetaagisa ab’ekibiina ekinene okuyigirizibwa amakubo ga Yakuwa ng’obufuzi obw’emyaka Olukumi tebunnatandika?

10 N’olwekyo okuva mu 1935, Abajulirwa ba Yakuwa babadde bakimanyi nti ekibiina ekinene Yokaana kye yalaba mu kwolesebwa be Bakristaayo abeesigwa abalina essuubi ery’okubeera ku nsi emirembe gyonna. Okusobola okuwonawo mu kibonyoobonyo ekinene, ab’ekibiina ekinene balina okuba nga baayigirizibwa amakubo ga Yakuwa ng’Obufuzi bwa Kristo obw’Emyaka Okukumi tebunnatandika. Kibeetaagisa okuba n’okukkiriza okw’amaanyi ‘okusobola okuyita mu bintu byonna ebigenda okubaawo’ ng’Obufuzi bwa Kristo obw’Emyaka Okukumi tebunnatandika.​—Luk. 21:34-36.

11. Lwaki Abayizi ba Bayibuli abamu bayinza okuba nga baalowooza nti abantu abamu banditwaliddwa mu ggulu oluvannyuma lw’Emyaka Olukumi?

11 Ate yo endowooza eyali egamba nti abamu ku bantu abeesigwa bandibadde batwalibwa mu ggulu oluvannyuma lw’Emyaka Olukumi? Endowooza eyo yafulumira mu Watch Tower eya Febwali 15, 1913. Kyali kityo kubanga kyali kyebuuzibwa nti, ‘Lwaki abantu abeesigwa ab’edda bandifunye busika bwa ku nsi ate bo Abakristaayo abataalina kukkiriza kwa maanyi ne baweebwa obulamu mu ggulu?’ Endowooza eyo yali yeesigamiziddwa ku bintu bino ebibiri ebitaali bituufu: (1) nti ab’ekibiina ekinene bandibadde babeera mu ggulu (2) nti ab’ekibiina ekinene bandibadde Bakristaayo abataali beesigwa nnyo.

12-13. Kiki abaafukibwako amafuta n’ab’ekibiina ekinene kye bamanyi ku mpeera gye bajja okufuna?

12 Nga bwe tulabye, okuva mu 1935, Abajulirwa ba Yakuwa babadde bakimanyi bulungi nti abo abanaawonawo ku Amagedoni be b’ekibina ekinene Yokaana be yalaba mu kwolesebwa. Bajja ‘kuyita mu kibonyoobonyo ekinene’ nga bali wano ku nsi, era bajja kwogera “n’eddoboozi eddene nga bagamba nti: ‘Obulokozi bwaffe buva eri Katonda waffe atudde ku ntebe ey’obwakabaka n’eri Omwana gw’Endiga.’” (Kub. 7:10, 14) Ate era Ebyawandiikibwa biraga nti abo abazuukizibwa ne bagenda mu ggulu bafuna ekintu “ekisinga obulungi” ku ekyo abasajja abeesigwa ab’edda kye bajja okufuna. (Beb. 11:40) Okumanya okupya okwafunibwa mu 1935 kwaleetera baganda baffe okubuulira n’obunyiikivu nga bayita abantu baweereze Yakuwa basobole okufuna essuubi ery’okubeera ku nsi emirembe gyonna.

13 Ab’ekibiina ekinene basanyukira nnyo essuubi lye balina. Bakimanyi nti Yakuwa y’asalawo wa abaweereza be abeesigwa we banaamuweerereza, mu ggulu oba ku nsi. Bombi abaafukibwako amafuta n’ab’ekibiina ekinene bakimanyi nti empeera gye bajja okufuna bajja kugifuna olw’ekisa kya Yakuwa eky’ensusso kye yatulaga okuyita mu ssaddaaka ya Yesu Kristo.​—Bar. 3:24.

BANGI NNYO

14. Oluvannyuma lwa 1935, lwaki bangi baali beebuuza engeri obunnabbi obukwata ku b’ekibiina ekinene gye bwandituukiriziddwamu?

14 Oluvannyuma lw’abantu ba Yakuwa okutegeera obulungi ab’ekibiina ekinene mu 1935, bangi baali beebuuza engeri abo abalina essuubi ery’okubeera ku nsi gye bandifuuseemu ekibiina ekinene. Ng’ekyokulabirako, Ronald Parkin yalina emyaka 12, abantu ba Yakuwa we baategeerera ab’ekibiina ekinene. Agamba nti: “Mu kiseera ekyo, waaliwo ababuulizi nga 56,000 bokka, ate ng’abasinga obungi ku bo baali baafukibwako amafuta. N’olwekyo ekibiina ekinene kyalabika ng’ekitali kinene.”

15. Ekibiina ekinene kizze kikuŋŋaanyizibwa kitya?

15 Mu myaka egyaddirira, abaminsani baasindikibwa mu nsi nnyingi era omuwendo gw’Abajulirwa ba Yakuwa ne gugenda nga gulinnya. Mu 1968, enteekateeka ey’okuyigiriza abantu Bayibuli mu katabo The Truth That Leads to Eternal Life yatandikibwawo. Engeri ennyangu akatabo ako gye kaali kannyonnyolamu amazima agali mu Bayibuli yaleetera bangi okuyiga amazima. Mu myaka ena gyokka abantu abasukka mu 500,000 baabatizibwa. Ekkereziya Katolika bwe yakendeera amaanyi mu nsi za Amerika ow’ebukiikaddyo era n’omulimu gwaffe ne gulekera awo okukugirwa mu nsi ezimu eza Bulaaya ne mu bitundu ebimu ebya Afirika, abantu mitwalo na mitwalo baabatizibwa. (Is. 60:22) Mu myaka egiyise, ekibiina kya Yakuwa kifulumizza ebintu bingi ebiyamba abantu okuyiga amazima agali mu Bayibuli. Tewali kubuusabuusa nti ekibiina ekinene kati ekirimu abantu abasukka mu bukadde omunaana kikuŋŋaanyiziddwa.

BAVA MU MAWANGA GONNA

16. Ab’ekibiina ekinene bakuŋŋaanyizibwa kuva wa?

16 Yokaana bwe yali awandiika bye yalaba mu kwolesebwa yagamba nti ab’ekibiina ekinene “bava mu buli ggwanga n’ebika n’abantu n’ennimi.” Emabegako, ne nnabbi Zekkaliya yali yayogera ekintu ekifaananako n’ekyo. Yagamba nti: “Mu nnaku ezo abantu kkumi okuva mu nnimi zonna ez’amawanga balikwata ku kyambalo ky’Omuyudaaya ne bakinyweza nga bagamba nti: ‘Twagala kugenda nammwe kubanga tuwulidde nti Katonda ali nammwe.’”​—Zek. 8:23.

17. Kiki ekikolebwa okuyamba abantu okuva mu mawanga gonna n’ennimi okuyiga amazima?

17 Abajulirwa ba Yakuwa bakimanyi nti abantu okuva mu mawanga gonna okusobola okukuŋŋaanyizibwa, amawulire amalungi galina okubuulirwa mu nnimi nnyingi. Tumaze emyaka egisukka mu 130 nga tuvvuunula ebitabo ebinnyonnyola Bayibuli, era omulimu ogw’okuvvuunula ebitabo mu nnimi ezitali zimu gwe tukola gwe gukyasinzeeyo obunene mu byafaayo. Mazima ddala, Yakuwa akoze ekyamagero mu kiseera kyaffe. Akuŋŋaanya ekibiina ekinene okuva mu mawanga gonna. Olw’okuba emmere ey’eby’omwoyo efunibwa mu nnimi nnyingi nnyo, ab’ekibiina ekinene basinza Yakuwa nga bali bumu wadde nga bava mu mawanga gonna. Era Abajulirwa ba Yakuwa bamanyiddwa olw’okubuulira n’obunyiikivu n’olw’okwagalana. Mazima ddala ekyo kinyweza nnyo okukkiriza kwaffe!​—Mat. 24:14; Yok. 13:35.

OKWOLESEBWA OKWO KUTUKWATAKO KUTYA?

18. (a) Okusinziira ku Isaaya 46:10, 11, lwaki tekitwewuunyisa nti Yakuwa atuukirizza obunnabbi obukwata ku kibiina ekinene? (b) Lwaki abo abalina essuubi ery’okubeera ku nsi tebawulira nti balina kye basubwa?

18 Obunnabbi obukwata ku kibiina ekinene butuleetera essanyu lingi! Eky’okuba nti Yakuwa atuukirizza obunnabbi obwo mu ngeri ey’ekitalo tekitwewuunyisa. (Soma Isaaya 46:10, 11.) Ab’ekibiina ekinene basanyufu nnyo olw’essuubi Yakuwa ly’abawadde. Tebawulira nti balina kye basubwa olw’obutafukibwako mwoyo gwa Katonda kufuga wamu na Yesu mu ggulu. Mu Byawandiikibwa tusoma ku basajja n’abakazi abaalina okukkiriza okw’amaanyi era abaali bakulemberwa omwoyo omutukuvu kyokka nga tebali mu abo 144,000. Ng’ekyokulabirako, Yokaana omubatiza tali mu abo abagenda mu ggulu. (Mat. 11:11) Dawudi naye tali mu abo abagenda mu ggulu. (Bik. 2:34) Abasajja abo awamu n’abalala bangi bajja kuzuukizibwa bafunire obulamu obutaggwaawo mu Lusuku lwa Katonda ku nsi. Bonna awamu n’ab’ekibiina ekinene bajja kufuna akakisa okukyoleka nti beesigwa eri Yakuwa era nti bawagira obufuzi bwe.

19. Okutuukirizibwa kw’okwolesebwa okukwata ku kibiina ekinene Yokaana kwe yafuna kulaga kutya nti enkomerero eri kumpi?

19 Kibadde tekibangawo mu byafaayo, Yakuwa okugatta awamu obukadde n’obukadde bw’abantu okuva mu mawanga gonna okumusinza. Ka tube nga tulina ssuubi lya kugenda mu ggulu oba lya kubeera ku nsi, tulina okufuba okuyamba abantu bangi nga bwe kisoboka okwegatta ku kibiina ekinene ‘eky’ab’endiga endala.’ (Yok. 10:16) Mu kiseera ekitali kya wala, Yakuwa ajja kuleeta ekibonyoobonyo ekinene azikirize gavumenti z’ensi n’amadiini ebibonyaabonyezza ennyo abantu. Ab’ekibina ekinene nga balina enkizo ya kitalo nnyo! Bajja kuweereza Yakuwa ku nsi emirembe gyonna!​—Kub. 7:14.

OLUYIMBA 139 Weerabe nga Byonna Bizziddwa Buggya

^ lup. 5 Ekitundu kino kigenda kwogera ku kwolesebwa Yokaana kwe yafuna okukwata ku kukuŋŋaanya ‘ab’ekibiina ekinene.’ Tewali kubuusabuusa nti ekyo kijja kuzzaamu nnyo amaanyi abo abalina essuubi ery’okubeera mu kibiina ekyo.

^ lup. 8 Laba ekitabo Jehovah’s Witnesses​—Proclaimers of God’s Kingdom, lup. 159-163.