Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 37

Lwaki Tugondera Yakuwa era Ekyo Tukikola Tutya?

Lwaki Tugondera Yakuwa era Ekyo Tukikola Tutya?

“Tetwandisinzeewo nnyo okugondera Kitaffe?”​—BEB. 12:9.

OLUYIMBA 9 Yakuwa Ye Kabaka Waffe!

OMULAMWA *

1. Lwaki tulina okugondera Yakuwa?

TULINA okugondera * Yakuwa kubanga ye Mutonzi waffe. N’olwekyo, alina obuyinza okutulagira eky’okukola. (Kub. 4:11) Naye waliwo n’ensonga endala esaanidde okutuleetera okumugondera. Obufuzi bwe bwe busingayo obulungi. Okumala emyaka mingi, abantu bazze bafuga bannaabwe. Naye bwe tugeraageranya engeri gye bazze bafugamu n’engeri Yakuwa gy’afugamu, tukiraba nti Yakuwa ye Mufuzi asinga okuba ow’amagezi, ow’okwagala, ow’ekisa, era omusaasizi.​—Kuv. 34:6; Bar. 16:27; 1 Yok. 4:8.

2. Nsonga ki eziragibwa mu Abebbulaniya 12:9-11 ezandituleetedde okugondera Yakuwa?

2 Yakuwa ayagala tumugondere si lwa kuba nti tumutya kyokka, naye era olw’okuba nti tumwagala era nti tumutwala nga Kitaffe atwagala ennyo. Mu bbaluwa Pawulo gye yawandiikira Abebbulaniya, yalaga nti tulina okugondera ennyo Yakuwa.​—Soma Abebbulaniya 12:9-11.

3. (a) Tukiraga tutya nti tugondera Yakuwa? (b) Bibuuzo ki ebigenda okuddibwamu mu kitundu kino?

3 Tugondera Yakuwa nga tuba bawulize gy’ali mu bintu byonna era nga twewala okwesigama ku kutegeera kwaffe. (Nge. 3:5) Kitwanguyira okugondera Yakuwa bwe tweyongera okuyiga ku ngeri ze ennungi. Lwaki? Kubanga engeri ezo zeeyolekera mu bintu byonna Yakuwa by’akola. (Zab. 145:9) Gye tukoma okuyiga ebikwata ku Yakuwa gye tukoma okweyongera okumwagala. Ate bwe tuba nga twagala Yakuwa, tetwetaaga lukunkumuli lwa mateeka agatulaga bye tulina okukola na bye tutalina kukola. Tufuba okutuukanya endowooza yaffe n’enneewulira yaffe n’ebyo Katonda by’ayagala era ne twewala ekibi. (Zab. 97:10) Kyokka ebiseera ebimu, kiyinza obutatubeerera kyangu kugondera Yakuwa. Lwaki kiri bwe kityo? Biki abakadde mu kibiina, bataata, ne bamaama, bye bayinza okuyigira ku Gavana Nekkemiya; Kabaka Dawudi; ne Maliyamu, maama wa Yesu? Ebibuuzo ebyo bigenda kuddibwamu mu kitundu kino.

ENSONGA LWAKI OLUUSI KIYINZA OBUTATUBEERERA KYANGU KUGONDERA YAKUWA

4-5. Okusinziira ku Abaruumi 7:21-23, lwaki oluusi kiyinza obutatubeerera kyangu kugondera Yakuwa?

4 Ensonga emu lwaki oluusi kiyinza obutatubeerera kyangu kugondera Yakuwa eri nti twasikira ekibi era tetutuukiridde. N’olwekyo ebiseera ebimu tuba tetwagala kugondera Katonda. Adamu ne Kaawa bwe baajeemera Katonda ne balya ku kibala Katonda kye yabagaana okulyako, beeteerawo emitindo egyabwe ku bwabwe. (Lub. 3:22) Ne leero, abantu bangi tebaagala kugondera Yakuwa era beesalirawo ekituufu n’ekikyamu.

5 N’abo abamanyi Yakuwa era abamwagala oluusi kiyinza okubazibuwalira okumugondera. Omutume Pawulo yayolekaganako n’embeera ng’eyo. (Soma Abaruumi 7:21-23.) Okufaananako Pawulo, twagala okukola ekituufu mu maaso ga Yakuwa. Naye bulijjo tulina okulwanyisa okwegomba okubi.

6-7. Nsonga ki ey’okubiri eyinza okukifuula ekizibu gye tuli okugondera Yakuwa? Waayo ekyokulabirako.

6 Ensonga endala lwaki kiyinza okutubeerera ekizibu okugondera Yakuwa eri nti oluusi tutwalirizibwa obuwangwa n’endowooza z’abantu be twakuliramu. Endowooza z’abantu ezisinga obungi zikontana n’ebyo Yakuwa by’ayagala. N’olwekyo, kitwetaagisa okufuba ennyo okusobola okwewala okutwalirizibwa endowooza ezo. Lowooza ku kyokulabirako kino wammanga.

7 Abavubuka batera okupikirizibwa okumalira obulamu bwabwe mu kunoonya ssente ennyingi. Mwannyinaffe ayitibwa Mary * yayolekagana n’embeera ng’eyo. Bwe yali tannayiga bikwata ku Yakuwa, yasomera mu limu ku masomero ag’amaanyi mu nsi ye. Ab’eŋŋanda za Mary baagezaako nnyo okumupikiriza okufuna omulimu ogusasula ssente ennyingi abalala basobole okumussaamu ekitiibwa. Ekyo naye yali akyagala. Naye bwe yamala okuyiga ebikwata ku Yakuwa era n’amwagala, ebiruubirirwa bye byakyuka. Wadde kyali kityo, agamba nti: “Oluusi waliwo emirimu gye mba nsobola okukola ne nfuna ssente nnyingi naye nga gijja kutaataaganya enteekateeka zange ez’eby’omwoyo. Olw’embeera gye nnakuliramu, oluusi tekinnyanguyira kugaana mirimu egyo. Emirundi mingi kiba kinneetaagisa okusaba Yakuwa annyambe obutakkiriza mirimu gijja kunnemesa kumuweereza mu bujjuvu.”​—Mat. 6:24.

8. Kiki kye tugenda okulaba?

8 Bwe tugondera Yakuwa kituganyula. Ate abo Yakuwa b’akwasizza obuvunaanyizibwa, gamba ng’abakadde mu kibiina, bataata, ne bamaama, bwe bagondera Yakuwa kiganyula n’abalala. Kati ka tulabeyo ebyokulabirako okuva mu Bayibuli ebituyamba okulaba engeri gye tuyinza okukozesaamu obuyinza bwe tulina mu ngeri esanyusa Yakuwa.

ABAKADDE KYE BASOBOLA OKUYIGIRA KU NEKKEMIYA

Abakadde beenyigira mu mirimu egikolebwa ku Kizimbe ky’Obwakabaka nga Nekkemiya bwe yeenyigira mu kuddamu okuzimba Yerusaalemi (Laba akatundu 9-11) *

9. Kusoomooza ki Nekkemiya kwe yayolekagana nakwo?

9 Yakuwa akwasizza abakadde obuvunaanyizibwa obukulu ennyo obw’okulabirira abantu be. (1 Peet. 5:2) Abakadde balina kinene kye basobola okuyigira ku ngeri Nekkemiya gye yayisaamu abantu ba Yakuwa. Nekkemiya yali gavana wa Yuda era yalina obuyinza bungi. (Nek. 1:11; 2:7, 8; 5:14) Lowooza ku kusoomooza okumu kwe yayolekagana nakwo. Nekkemiya yakitegeerako nti abantu baali bakolera mu yeekaalu ebintu ebitali birungi era nti baali tebawa Baleevi mugabo gwabwe ng’Amateeka bwe gaali gabalagira okukola. Abayudaaya baali tebakyagondera tteeka lya Yakuwa erikwata ku Ssabbiiti, era abasajja abamu baali bawasizza abakazi abaali batasinza Yakuwa. Gavana Nekkemiya yalina okukola ku nsonga ezo ezitaali nnyangu.​—Nek. 13:4-30.

10. Nekkemiya yakwata atya embeera enzibu gye yayolekagana nayo?

10 Nekkemiya teyakozesa bubi buyinza bwe ng’akaka abantu okukolera ku ndowooza ze. Mu kifo ky’ekyo, yasaba Yakuwa amuwe obulagirizi, era yayigiriza abantu Amateeka ga Yakuwa. (Nek. 1:4-10; 13:1-3) Nekkemiya era yakolera wamu ne baganda be mu kuddamu okuzimba bbugwe wa Yerusaalemi.​—Nek. 4:15.

11. Okusinziira ku 1 Abassessalonika 2:7, 8, abakadde basaanidde kuyisa batya ab’oluganda mu kibiina?

11 Abakadde bayinza obutoolekagana na bizibu ng’ebyo Nekkemiya bye yayolekagana nabyo, naye balina bingi bye basobola okumuyigirako. Ng’ekyokulabirako, bakola nnyo okuyamba bakkiriza bannaabwe. Ate era tebakkiriza buyinza bwe balina kubaleetera kufuna malala. Mu kifo ky’ekyo, bayisa bulungi ekibiina. (Soma 1 Abassessalonika 2:7, 8.) Okwagala okungi n’obwetoowaze bye balina bibaleetera okwogera n’abalala mu ngeri ey’ekisa. Andrew, amaze ebbanga eddene ng’aweereza ng’omukadde agamba nti: “Nkirabye nti omukadde bw’aba nga wa kisa era ng’akolagana bulungi n’abalala kikwata nnyo ku b’oluganda mu kibiina. Engeri ezo zireetera ab’oluganda okwanguyirwa okukolagana obulungi n’abakadde.” Tony, naye amaze ebbanga eddene ng’aweereza ng’omukadde agamba nti: “Nfuba okukolera ku bigambo ebiri mu Abafiripi 2:3, era nfuba okutwala abalala nti bansinga. Ekyo kinnyamba obuteeyisa nga nnakyemalira.”

12. Lwaki abakadde balina okuba abeetoowaze?

12 Abakadde balina okuba abeetoowaze, kubanga Yakuwa naye mwetoowaze. Wadde nga Yakuwa ye Mufuzi w’Obutonde Bwonna, “akutama . . . n’ayimusa omunaku okumuggya mu nfuufu.” (Zab. 18:35; 113:6, 7) Mu butuufu, Yakuwa akyayira ddala abantu ab’amalala.​—Nge. 16:5.

13. Lwaki omukadde aba alina ‘okufuga olulimi lwe’?

13 Omukadde agondera Yakuwa aba alina ‘okufuga olulimi lwe.’ Bw’atakola bw’atyo, ayinza okwogera obubi n’omuntu aba tamusizzaamu kitiibwa. (Yak. 1:26; Bag. 5:14, 15) Andrew, ayogeddwako waggulu agamba nti: “Oluusi mba mpulira nga njagala kuddamu bubi ow’oluganda oba mwannyinaffe aba alaze nti tanzisizzaamu kitiibwa. Naye okufumiitiriza ku byokulabirako by’abaweereza ba Yakuwa abeesigwa aboogerwako mu Bayibuli, kinnyambye okulaba emiganyulo egiva mu kuba omwetoowaze n’okuba omuwombeefu.” Abakadde bakiraga nti bagondera Yakuwa nga boogera bulungi ne bakkiriza bannaabwe, nga muno mw’otwalidde ne bakadde bannaabwe.​—Bak. 4:6.

BATAATA KYE BAYINZA OKUYIGIRA KU KABAKA DAWUDI

14. Buvunaanyizibwa ki Yakuwa bwe yawa bataata, era kiki ky’abasuubiramu?

14 Yakuwa yawa taata obuvunaanyizibwa obw’okuba omutwe gw’amaka era amusuubira okutendeka, okuyigiriza, n’okuwabula abaana be. (1 Kol. 11:3; Bef. 6:4) Naye obuyinza bwa taata buliko ekkomo. Avunaanyizibwa eri Yakuwa, oyo buli kika kyonna kwe kiggya erinnya, olw’engeri gy’ayisaamu ab’omu maka ge. (Bef. 3:14, 15) Bataata balaga nti bagondera Yakuwa nga bakozesa obuyinza bwe yabawa mu ngeri emusanyusa. Balina bingi bye bayinza okuyigira ku Kabaka Dawudi.

Essaala za taata Omukristaayo zirina okukyoleka nti mwetoowaze (Laba akatundu 15-16) *

15. Kabaka Dawudi yateerawo atya bataata ekyokulabirako ekirungi?

15 Yakuwa yalonda Dawudi okuba omutwe gw’amaka ge n’okuba omutwe gw’eggwanga lya Isirayiri. Olw’okuba Dawudi yali kabaka, yalina obuyinza bungi. Waliwo ebiseera lwe yakozesa obubi obuyinza bwe n’akola ensobi ez’amaanyi. (2 Sam. 11:14, 15) Naye yakiraga nti agondera Yakuwa bwe yakkiriza okuwabulwa. Yasaba Yakuwa n’amutegeeza ebyamuli ku mutima. Era yafuba okukolera ku kuwabula Yakuwa kwe yamuwa. (Zab. 51:1-4) Okugatta ku ekyo, yali mwetoowaze ne kiba nti yakkirizanga amagezi amalungi agaamuweebwa abasajja awamu n’abakazi. (1 Sam. 19:11, 12; 25:32, 33) Dawudi yayigira ku nsobi ze era ne yeemalira ku kuweereza Yakuwa.

16. Biki bataata bye bayinza okuyigira ku Dawudi?

16 Biki bataata bye bayinza okuyigira ku Kabaka Dawudi? Temukozesa bubi buyinza Yakuwa bwe yabawa. Mukkirize ensobi zammwe, era mukkirize okuwabula okwesigamiziddwa ku Bayibuli abalala kwe babawa. Bwe mukola mutyo, ab’omu maka gammwe bajja kubassaamu ekitiibwa olw’obwetoowaze bwe mulina. Bwe muba musaba n’ab’omu maka gammwe, mutegeeze Yakuwa ebibali ku mutima. Ab’omu maka gammwe ka bakirabye nti mwetaaga Yakuwa okubayamba n’okubawa obulagirizi. N’ekisingira ddala obukulu, mwemalire ku kuweereza Yakuwa. (Ma. 6:6-9) Ekyokulabirako ekirungi kye mussaawo kye kirabo ekisingayo obulungi kye musobola okuwa ab’omu maka gammwe.

BAMAAMA BYE BAYINZA OKUYIGIRA KU MALIYAMU

17. Buvunaanyizibwa ki Yakuwa bwe yawa bamaama?

17 Yakuwa yawa maama obuvunaanyizibwa obukulu mu maka era yamuwa obuyinza obw’ekigero ku baana be. (Nge. 6:20) Mu butuufu, maama by’akola ne by’agamba abaana be biyinza okubakwatako obulamu bwabwe bwonna. (Nge. 22:6) Lowooza ku ebyo bamaama bye bayinza okuyigira ku Maliyamu, maama wa Yesu.

18-19. Biki bamaama bye bayinza okuyigira ku Maliyamu?

18 Maliyamu yali amanyi bulungi Ebyawandiikibwa. Yali assa nnyo ekitiibwa mu Yakuwa era yalina enkolagana ey’oku lusegere naye. Yali mwetegefu okukola ekyo Yakuwa kye yali ayagala, wadde ng’ekyo kyali kigenda kukyusa nnyo obulamu bwe.​—Luk. 1:35-38, 46-55.

Maama bw’aba ng’akooye oba ng’alina ebimunyiizizza kiyinza okumwetaagisa okufuba ennyo okulaga ab’omu maka ge okwagala (Laba akatundu 19) *

19 Bamaama, mulina bingi bye muyinza okuyigira ku Maliyamu. Bye biruwa ebyo? Ekisooka, nga mufuba okunyweza enkolagana yammwe ne Yakuwa okuyitira mu kwesomesa Bayibuli n’okusaba. Eky’okubiri, nga muba beetegefu okukola enkyukakyuka okusobola okusanyusa Yakuwa. Ng’ekyokulabirako, oyinza okuba nga wakuzibwa abazadde abaali basunguwala amangu era abaali bakuboggolera. Oyinza okuba nga wakula olowooza nti eyo ye ngeri entuufu ey’okukuzaamu abaana. N’oluvannyuma lw’okuyiga ebikwata ku Yakuwa, kiyinza okukubeerera ekizibu okusigala ng’oli mukkakkamu era ng’oli mugumiikiriza eri abaana bo, naddala singa beeyisa bubi ng’okooye. (Bef. 4:31) Mu biseera ng’ebyo, oba weetaaga nnyo okusaba Yakuwa akuyambe. Maama omu ayitibwa Lydia agamba nti: “Waliwo ebiseera ebimu lwe kinneetaagisa okusaba ennyo nneme kuboggolera mutabani wange ng’anjeemedde. Waliwo ne lwe nnalina okukomya ekigambo mu makkati ne nsaba Yakuwa mu kasirise annyambe. Okusaba kunnyamba okusigala nga ndi mukkakkamu.”​—Zab. 37:5.

20. Kusoomooza ki bamaama abamu kwe boolekagana nakwo, era bayinza batya okukuvvuunuka?

20 Ate bamaama abamu tekibanguyira kulaga baana baabwe kwagala. (Tit. 2:3, 4) Bamaama abamu bayinza okuba nga baakulira mu maka nga bazadde baabwe tebabalaga kwagala. Bw’oba nga bw’otyo bwe wakuzibwa tosaanidde kukola nsobi y’emu bazadde bo gye baakola. Maama agondera Yakuwa aba alina okuyiga okulaga abaana be okwagala. Kiyinza obutamubeerera kyangu okukyusa endowooza ye, enneewulira ye, n’engeri gy’akolamu ebintu. Naye asobola okukola enkyukakyuka ezo era bw’azikola ye kennyini aganyulwa awamu n’ab’omu maka ge.

WEEYONGERE OKUGONDERA YAKUWA

21-22. Okusinziira ku Isaaya 65:13, 14, miganyulo ki gye tufuna mu kugondera Yakuwa?

21 Kabaka Dawudi yali amanyi emiganyulo egiri mu kugondera Yakuwa. Yawandiika nti: “Ebiragiro bya Yakuwa bya butuukirivu, bisanyusa omutima; amateeka ga Yakuwa malongoofu, gawa ekitangaala. Era ebyo birabudde omuweereza wo; okubikolerako kulimu empeera nnene.” (Zab. 19:8, 11) Leero tulaba enjawulo eriwo wakati w’abo abagondera Yakuwa n’abo abatamugondera. Abo abagondera Yakuwa ‘boogerera waggulu n’essanyu, olw’essanyu eriba mu mitima gyabwe.’​—Soma Isaaya 65:13, 14.

22 Abakadde, bataata, ne bamaama bwe bagondera Yakuwa beeyongera okufuna essanyu mu bulamu, ab’omu maka gaabwe baba basanyufu, era ekibiina kyonna kyeyongera okuba obumu. N’ekisinga obukulu, basanyusa omutima gwa Yakuwa. (Nge. 27:11) Tewali kisinga ekyo bulungi!

OLUYIMBA 123 Okugoberera Enteekateeka Katonda gy’Ataddewo

^ lup. 5 Mu kitundu kino tugenda kulaba ensonga lwaki tulina okugondera Yakuwa. Era tugenda kulaba engeri abakadde, bataata, ne bamaama gye bayinza okukozesaamu obuyinza Yakuwa bwe yabawa. Balina kinene kye basobola okuyigira ku Gavana Nekkemiya; Kabaka Dawudi; ne Maliyamu maama wa Yesu.

^ lup. 1 EBIGAMBO EBINNYONNYOLWA: Abantu abamu bwe balowooza ku kigambo okugondera tebakitwala bulungi, naddala abo abakakibwa okugondera abalala. Naye abantu ba Katonda bo bagondera Katonda kyeyagalire, era ekyo tebakitwala nti kibanyigiriza.

^ lup. 7 Amannya agamu mu kitundu kino gakyusiddwa.

^ lup. 62 EBIFAANANYI: Omukadde ng’akolera wamu ne mutabani we mu kuddaabiriza Ekizimbe ky’Obwakabaka nga Nekkemiya bwe yeenyigira mu kuddamu okuzimba bbugwe wa Yerusaalemi.

^ lup. 64 EBIFAANANYI: Taata akulembeddemu ab’omu maka ge mu kusaba.

^ lup. 66 EBIFAANANYI: Omulenzi amaze ebiseera bingi ng’azannya emizannyo gy’oku kompyuta kyokka nga tannakola mirimu gy’awaka n’eby’amuweereddwa ku ssomero. Maama we akomyewo okuva ku mulimu nga mukoowu, naye yeewala okumukangavvula mu bukambwe oba ng’akozesa ebigambo ebivuma.