Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 35

Yakuwa Ayagala Nnyo Abaweereza Be Abeetoowaze

Yakuwa Ayagala Nnyo Abaweereza Be Abeetoowaze

“Yakuwa . . . alowooza ku beetoowaze.”​—Zab. 138:6.

OLUYIMBA 48 Okutambula ne Yakuwa Buli Lunaku

OMULAMWA *

1. Yakuwa atwala atya abantu abeetoowaze? Nnyonnyola.

YAKUWA ayagala abantu abeetoowaze. Abantu abeetoowaze bokka be basobola okuba n’enkolagana ennungi naye. Kyokka bo “ab’amalala abeesamba.” (Zab. 138:6) Olw’okuba ffenna twagala okusanyusa n’okwagalibwa Yakuwa, tusaanidde okukulaakulanya obwetoowaze.

2. Kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino?

2 Mu kitundu kino tugenda kulaba eby’okuddamu mu bibuuzo bino bisatu: (1) Obwetoowaze kye ki? (2) Lwaki tusaanidde okukulaakulanya obwetoowaze? (3) Bintu ki ebiyinza okukifuula ekizibu gye tuli okuba abeetoowaze? Nga bwe tugenda okulaba, bwe tufuba okuba abeetoowaze, kisanyusa Yakuwa era naffe kituganyula.​—Nge. 27:11; Is. 48:17.

KITEGEEZA KI OKUBA OMWETOOWAZE?

3. Kitegeeza ki okuba omwetoowaze?

3 Omuntu omwetoowaze aba teyeetwala nti wa waggulu ku balala era taba wa malala. Bayibuli ekiraga nti omuntu omwetoowaaze aba akimanyi nti Yakuwa amusinga era aba amanyi n’engeri gy’asaanidde okutwalamu abantu abalala. Omuntu omwetoowaze aba akimanyi nti buli muntu alina ky’amusinga mu ngeri emu oba endala.​—Baf. 2:3, 4.

4-5. Lwaki omuntu alabika ng’omwetoowaze ayinza obutaba mwetoowaze?

4 Abantu abamu balabika ng’abeetoowaze naye nga si beetoowaze. Bayinza okuba nga basirise oba nga ba nsonyi. Oba bayinza okuba nga bawa abalala ekitiibwa oba nga babayisa bulungi olw’obuwangwa bwabwe oba olw’engeri gye baakuzibwamu. Naye munda mu mutima bayinza okuba nga balina amalala mangi. Ekiseera kituuka ne booleka ekyo kye bali mu mutima.​—Luk. 6:45.

5 Ku luuyi olulala, abantu abalabika nti beekakasa era nga bakalukalu bayinza obutaba ba malala. (Yok. 1:46, 47) Kyokka abantu ng’abo balina okwegendereza baleme kwesigama ku busobozi bwabwe. Ka tube nga tuli bakalukalu oba nga tuli ba nsonyi, ffenna tulina okufuba okukulaakulanya obwetoowaze.

Omutume Pawulo yali mwetoowaze, era yali teyeetwala nti wa waggulu (Laba akatundu 6) *

6. Nga bwe kiragibwa mu 1 Abakkolinso 15:10, kiki kye tuyigira ku mutume Pawulo?

6 Lowooza ku mutume Pawulo. Yakuwa yamukozesa nnyo okutandikawo ebibiina ebipya mu bibuga eby’enjawulo. Ayinza okuba nga ye mutume wa Yesu Kristo eyasinga okukola ennyo mu buweereza. Naye Pawulo teyeetwala nti yali asinga bakkiriza banne. Yagamba nti: “Nze nsembayo mu batume era sisaanira kuyitibwa mutume, kubanga nnayigganya ekibiina kya Katonda.” (1 Kol. 15:9) Pawulo yakyoleka nti enkolagana ennungi gye yalina ne Yakuwa yagifuna olw’ekisa kya Katonda eky’ensusso so si olw’engeri ze oba olw’ebintu bye yakola. (Soma 1 Abakkolinso 15:10.) Pawulo yassaawo ekyokulabirako ekirungi mu kuba omwetoowaze. Bwe yawandiikira Abakristaayo ab’omu kibiina ky’e Kkolinso ebbaluwa, teyeewaana wadde nga mu kibiina ekyo mwalimu abaali bamuvumirira!​—2 Kol. 10:10.

Karl F. Klein, ow’oluganda eyali omwetoowaze eyaweerezaako ku Kakiiko Akafuzi (Laba akatundu 7)

7. Ab’oluganda abamu mu kiseera kyaffe abamanyifu boolese batya obwetoowaze? Waayo ekyokulabirako.

7 Abaweereza ba Yakuwa bangi bakwatibwako nnyo bwe basoma ku byafaayo by’Ow’oluganda Karl F. Klein, eyaweerezaako ku Kakiiko Akafuzi. Bwe yali attottola ebyafaayo bye, Ow’oluganda Klein yayogera ku bunafu bwe yalina n’obuzibu obutali bumu bwe yayolekagana nabwo mu bulamu bwe. Ng’ekyokulabirako, bwe yabuulira nnyumba ku nnyumba omulundi gwe ogusooka mu myaka gya 1920 yawulira ng’akaluubiriddwa nnyo, bw’atyo n’ataddamu kubuulira okumala emyaka ebiri. Ate oluvannyuma bwe yali aweereza ku Beseri, yawabulwa naye n’asiba ekiruyi okumala ekiseera. Ate era yafunako ekizibu ky’okwennyamira naye oluvannyuma n’atereera. Kyokka era yafuna enkizo nnyingi mu buweereza. Okuba nti Ow’oluganda Klein yali amanyiddwa nnyo, kyokka n’ayogera kyere ku bunafu bwe, kiraga nti yali mwetoowaze nnyo! Ab’oluganda ne bannyinaffe bangi bakwatibwako nnyo bwe bajjukira Ow’oluganda Klein n’ebyafaayo bye. *

LWAKI TUSAANIDDE OKUKULAAKULANYA OBWETOOWAZE?

8. Okusinziira ku 1 Peetero 5:6, lwaki tugamba nti obwetoowaze busanyusa Yakuwa?

8 Ensonga esinga obukulu lwaki tusaanidde okukulaakulanya obwetoowaze eri nti bwe tuba abeetoowaze kisanyusa Yakuwa. Kino omutume Peetero yakyoleka bulungi. (Soma 1 Peetero 5:6.) Akatabo “Come Be My Follower” koogera bwe kati ku bigambo bya Peetero ebyo: “Amalala gali ng’obutwa. Gavaamu ebintu ebibi ennyo. Galeetera omuntu alina obusobozi bw’okukola ebintu ebitali bimu okuba atali wa mugaso eri Katonda. Ku luuyi olulala, obwetoowaze buleetera omuntu atalina nnyo busobozi okuba ow’omugaso eri Yakuwa. . . . [Yakuwa] . . . ajja kukuwa empeera olw’okuba omwetoowaze.” * Mazima ddala ekintu ekisingayo obulungi kye tusobola okukola kwe kusanyusa omutima gwa Yakuwa.​—Nge. 23:15.

9. Lwaki bwe tuba abeetoowaze abalala baba baagala okubeera naffe?

9 Ng’oggyeeko okuba nti bwe twoleka obwetoowaze kisanyusa Yakuwa, era kirimu emiganyulo mingi. Bwe tuba abeetoowaze kiviirako abantu abalala okunyumirwa okubeera naffe. Okusobola okutegeera ekyo, weeteeke mu bigere by’abalala. (Mat. 7:12) Tetutera kwagala kubeera na bantu abakalambira ku ekyo kye baba baagala era abatawuliriza magezi balala ge babawa. Ku luuyi olulala, tunyumirwa okukolagana ne bakkiriza bannaffe bwe baba nga ‘balumirirwa abalala, baagala abalala, basaasira abalala, era nga beetoowaze.’ (1 Peet. 3:8) Bwe tuba nga twagala okubeera n’abantu ng’abo, nabo baba baagala okubeera naffe kasita tuba nga tuli beetoowaze.

10. Obwetoowaze butuyamba butya okugumira ebizibu ebibaawo mu bulamu?

10 Obwetoowaze butuyamba okugumira ebizibu. Waliwo ebintu bye tulaba mu bulamu ebiyinza okulabika ng’ebitali bituufu oba ebitali bya bwenkanya. Kabaka Sulemaani yagamba nti: “Ndabye abaweereza nga beebagadde embalaasi, kyokka ng’abakungu batambuza bigere ng’abaweereza.” (Mub. 10:7) Oluusi abantu abalina obusobozi obw’enjawulo tebaweebwa kitiibwa. Ate abo abatalina nnyo busobozi oluusi be baweebwa ekitiibwa. Wadde kiri kityo, Kabaka Sulemaani yagamba nti kiba kya magezi okukkiriza ebintu nga bwe biba mu kifo ky’okuggwebwako essanyu olw’okuba biri bityo. (Mub. 6:9) Bwe tuba abeetoowaze kijja kutubeerera kyangu okukkiriza ebintu bye tutaagala ebibaawo mu bulamu.

BINTU KI EBIYINZA OKUKIFUULA EKIZIBU GYE TULI OKUBA ABEETOOWAZE?

Embeera ng’eno eyinza etya okugezesa obwetoowaze bwaffe? (Laba akatundu 11-12) *

11. Kiki kye tusaanidde okukola nga tuwabuddwa?

11 Buli lunaku twolekagana n’embeera ezitali zimu ezituwa akakisa okwoleka obwetoowaze. Lowooza ku mbeera zino. Bwe tuba nga tuwabuddwa. Tusaanidde okukijjukira nti omuntu bw’awaayo obudde okutuwabula, tuyinza okuba nga tuba tuwabye nnyo okusinga bwe tulowooza. Omuntu bw’atuwabula mu kusooka tuyinza okuwulira nga tetwagala kukolera ku ky’atugamba. Tuyinza okumunoonyamu ensobi oba okuginoonya mu ngeri gy’aba atuwabuddemu. Naye bwe tuba abeetoowaze tujja kufuba okwoleka endowooza ennungi.

12. Okusinziira ku Engero 27:5, 6, lwaki tusaanidde okusiima omuntu atuwabula? Waayo ekyokulabirako.

12 Omuntu omwetoowaze asiima okuwabula okumuweebwa. Lowooza ku kino: Ka tugambe nti ozze mu nkuŋŋaana. Oluvannyuma lw’okunyumyako ne bakkiriza banno abawerako, mu ngeri ey’amagezi omu ku bo akuzza ku bbali n’akugamba nti olina akamere akakukwatidde ku mannyo. Kya lwatu nti owulira ng’oswadde. Wadde kiba kityo, mukkiriza munno oyo omusiima nnyo. Mu butuufu, muli ogamba nti “Singa waliwo eyaŋŋambye nga bukyali! Mu ngeri y’emu, tusaanidde okusiima mukkiriza munnaffe afuna obuvumu n’atuwabula we tuba twetaaga okuwabulibwa. Omuntu oyo tusaanidde okumutwala nga mukwano gwaffe so si nga mulabe waffe.​—Soma Engero 27:5, 6; Bag. 4:16.

Lwaki tusaanidde okuba abeetoowaze ng’abalala baweereddwa enkizo? (Laba akatundu 13-14) *

13. Tuyinza tutya okwoleka obwetoowaze ng’abalala baweereddwa enkizo?

13 Abalala bwe baweebwa enkizo. Omukadde omu ayitibwa Jason agamba nti: “Bwe ndaba abalala nga baweereddwa enkizo, oluusi nneebuuza ensonga lwaki nze siweebwa nkizo.” Naawe wali owuliddeko bw’otyo? Si kikyamu ‘okuluubirira’ enkizo mu kibiina. (1 Tim. 3:1) Naye tusaanidde okwegendereza endowooza gye tulina. Bwe tutaba beegendereza tuyinza okufuna amalala mu mitima gyaffe. Ng’ekyokulabirako, ow’oluganda ayinza okutandika okulowooza nti y’asinga okuba n’ebisaanyizo okukola omulimu ogumu mu kibiina. Oba mwannyinaffe ayinza okutandika okulowooza nti, ‘Omwami wange asingira wala gundi!’ Bwe tuba abeetoowaze tujja kwewala okulowooza mu ngeri ng’eyo.

14. Kiki kye tuyigira ku ngeri Musa gye yeeyisaamu ng’abalala baweereddwa enkizo?

14 Tulina kye tuyigira ku ngeri Musa gye yeeyisaamu ng’abalala baweereddwa enkizo. Musa yali asiima nnyo enkizo gye yalina ey’okukulembera eggwanga lya Isirayiri. Naye Yakuwa bwe yakkiriza abalala okukola egimu ku mirimu Musa gye yali akola, kiki Musa kye yakola? Teyakwatibwa buggya. (Kubal. 11:24-29) Yali mwetoowaze era yakkiriza abalala okumuyambako okukola omulimu gw’okulamula abantu. (Kuv. 18:13-24) Kino kyasobozesa Abayisirayiri okufuna abalamuzi bangi ne kiba nti kyali tekikyabeetaagisa kulindirira kumala kiseera kiwanvu okusobola okulamulwa. Kino kiraga nti Musa yali afaayo nnyo ku ekyo ekyandiyambye abalala okusinga okubeera n’enkizo ennyingi. Mazima ddala yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi. Tusaanidde okukijjukira nti bwe tuba twagala okuba ab’omugaso eri Yakuwa, tulina okuba ng’obwetoowaze tubutwala nga kikulu nnyo gye tuli okusinga obusobozi bwe tulina. “Wadde nga Yakuwa wa waggulu nnyo, alowooza ku beetoowaze.”​—Zab. 138:6.

15. Bangi baayolekagana na nkyukakyuka ki?

15 Bwe waggyawo enkyukakyuka. Mu myaka egiyise, bakkiriza bannaffe bangi abaali bamaze ebbanga eggwanvu nga baweereza mu buweereza obw’ekiseera kyonna, baafuna enkukakyuka mu buweereza bwabwe. Ng’ekyokulabirako, mu 2014, abalabirizi ba disitulikiti ne bakyala baabwe baaweebwa obuweereza obulala obw’ekiseera kyonna. Okutandika n’omwaka ogwo, kyasalibwawo nti abalabirizi abakyalira ebibiina bwe baweza emyaka 70, baba balina okulekera awo obuweereza obwo. Ate ab’oluganda abaweza emyaka 80 n’okusukkawo, tebakyaweereza ng’abakwanaganya akakiiko k’abakadde. Ate era mu myaka egiyise, ab’oluganda bangi abaali baweereza ku Beseri, baasindikibwa okuweereza nga bapayoniya. Abalala baalekera awo obuweereza obw’ekiseera kyonna olw’obulwadde, obuvunaanyizibwa bw’amaka, oba olw’embera endala.

16. Ab’oluganda ne bannyinaffe baayoleka batya obwetoowaze bwe baafuna enkyukakyuka mu buweereza bwabwe?

16 Bangi ku baganda baffe abo tekyababeerera kyangu kwolekagana na nkyukakyuka ezo. Baali baagala nnyo obuweereza bwabwe, era ng’abamu ku bo baali babubaddemu emyaka mingi. Baawulira ennaku nnyingi okulekayo obuweereza bwabwe obwo. Naye ekiseera bwe kyagenda kiyitawo baamanyiira obuweereza bwabwe obupya. Lwaki? Kubanga baali baagala nnyo Yakuwa. Baali bakimanyi nti beewaayo eri Yakuwa so si eri omulimu oba obuweereza. (Bak. 3:23) Basanyufu okuweereza Yakuwa mu buweereza bwonna. ‘Bamukwasa byonna ebibeeraliikiriza,’ nga bakimanyi nti abafaako.​—1 Peet. 5:6, 7.

17. Lwaki tusiima nnyo okuba nti Ekigambo kya Katonda kitukubiriza okukulaakulanya obwetoowaze?

17 Mazima ddala tusiima nnyo okuba nti Ekigambo kya Katonda kitukubiriza okukulaakulanya obwetoowaze. Bwe tukulaakulanya engeri eno ennungi, ffe ffenyini tuganyulwa era kiganyula n’abalala. Kituyamba okwaŋŋanga ebizibu bye tufuna mu bulamu. N’ekisinga obukulu, twongera okunyweza enkolagana yaffe ne Kitaffe ow’omu ggulu. Tuli basanyufu nnyo okukimanya nti wadde nga Yakuwa ‘y’Oyo Ali Waggulu era Agulumidde,’ ayagala abaweereza be abeetoowaze era abatwala nga ba muwendo!​—Is. 57:15.

OLUYIMBA 45 Okufumiitiriza kw’Omutima Gwange

^ lup. 5 Emu ku ngeri ezisinga obukulu gye tusaanidde okukulaakulanya bwe bwetoowaze. Kitegeeza ki okuba omwetoowaze? Lwaki tusaanidde okukulaakulanya obwetoowaze? Era embeera ezikyukakyuka ziyinza zitya okukifuula ekizibu gye tuli okuba obwetoowaze? Ebibuuzo ebyo bigenda kuddibwamu mu kitundu kino.

^ lup. 7 Laba Watchtower eya Okitobba 1, 1984, lup. 21-28.

^ lup. 8 Laba sul. 3, kat. 23.

^ lup. 53 EBIFAANANYI: Omutume Pawulo ng’ali mu maka g’ow’oluganda omu ng’anyumirwa okubeerako awamu n’abalala nga mw’otwalidde n’abaana abato.

^ lup. 57 EBIFAANANYI: Ow’oluganda ng’akkiriza okuwabulwa okwesigamiziddwa ku Bayibuli okumuweebwa ow’oluganda omuto.

^ lup. 59 EBIFAANANYI: Ow’oluganda omukulu, takwatirwa buggya ow’oluganda omuto eyaweebwa enkizo mu kibiina.