Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

Omubuulizi 5:8 woogera ku bafuzi abantu, oba ne Yakuwa azingirwamu?

Ekyawandiikibwa ekyo kigamba nti: “Bw’olabanga ow’obuyinza ng’anyigiriza omwavu era ng’akola ebitali bya bwenkanya n’ebitali bya butuukirivu mu ssaza lyo, teweewuunyanga. Kubanga ow’obuyinza oyo wabaawo amusingako amutunuulidde, era abo bombi wabaawo ababasingako.”​—Mub. 5:8.

Abantu abamu bayinza okulowooza nti ekyawandiikibwa ekyo kyogera ku bantu abalina obuyinza mu gavumenti z’ensi bokka. Naye bwe tukyetegereza obulungi, kirina ekintu kye kituyigiriza ku Yakuwa, ekitubudaabuda era ekituzzaamu ennyo amaanyi.

Omubuulizi 5:8 woogera ku mufuzi anyigiriza abaavu era atabalaga bwenkanya. Omufuzi oyo aba alina okukijjukira nti waliwo ayinza okuba ng’amulaba alina ekifo ekya waggulu oba obuyinza mu gavumenti okumusinga. Mu butuufu, wayinza okubaawo n’abalala abalina obuyinza obusingako. Kya nnaku nti mu gavumenti z’abantu abafuzi abo bonna bayinza obutaba benkanya, era abantu aba bulijjo banyigirizibwa ku mitendera egy’enjawulo.

Naye ne bwe tulabika ng’abatasobola kufuna bwenkanya wantu wonna, kitubudaabuda nnyo okukimanya nti Yakuwa ‘atunuulira n’ab’obuyinza aba waggulu’ mu gavumenti z’abantu. Tusobola okusaba Katonda ne tumutikka emigugu gyaffe. (Zab. 55:22; Baf. 4:6, 7) Tukimanyi nti “amaaso ga Yakuwa gatambulatambula mu nsi yonna okulaga amaanyi ge ku lw’abo abalina omutima ogutuukiridde gy’ali.”​—2 Byom. 16:9.

N’olwekyo, Omubuulizi 5:8 walagira ddala embeera bw’eri mu gavumenti z’abantu; buli omu abaako amusingako obuyinza. N’ekisinga obukulu, olunyiriri olwo lulaga nti Yakuwa y’asingayo okuba waggulu, kwe kugamba, y’alina obuyinza obw’oku ntikko. Kati afuga okuyitira mu Mwana we, Yesu Kristo, Kabaka w’Obwakabaka. Omuyinza w’Ebintu Byonna alaba buli kintu na buli muntu, mwenkanya era n’Omwana we mwenkanya.