Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 39

Faayo ku Bakazi Abakristaayo

Faayo ku Bakazi Abakristaayo

“Abakazi abalangirira amawulire amalungi ggye ddene.”​—ZAB. 68:11.

OLUYIMBA 137 Abakyala Abeesigwa, Bannyinaffe Abakristaayo

OMULAMWA *

Bannyinaffe abanyiikivu, beenyigira mu nkuŋŋaana ne mu mulimu gw’okubuulira, bayambako mu kuddaabiriza Ebizimbe by’Obwakabaka, era bafaayo ku bakkiriza bannaabwe (Laba akatundu 1))

1. Bannyinaffe bawagira batya ekibiina, era kusoomooza ki bangi ku bo kwe boolekagana nakwo? (Laba ekifaananyi ku ddiba.)

TULI basanyufu nnyo okuba nti tulina bannyinaffe bangi abakola ennyo mu kibiina! Ng’ekyokulabirako, beenyigira mu nkuŋŋaana ne mu mulimu gw’okubuulira. Abamu bayambako mu kuddaabiriza Ebizimbe by’Obwakabaka era bafaayo nnyo ku bakkiriza bannaabwe. Kya lwatu nti boolekagana n’okusoomooza okutali kumu. Abamu balabirira bazadde baabwe abakaddiye. Abalala bayigganyizibwa ab’eŋŋanda zaabwe. Ate abalala nga bazadde abali obwannamunigina bakola nnyo okulabirira abaana baabwe.

2. Lwaki tusaanidde okufaayo ku bannyinaffe?

2 Lwaki tusaanidde okufaayo ku bannyinaffe? Kubanga abantu mu nsi tebatera kuwa bakazi kitiibwa kye bagwanidde kuweebwa. Ate era Bayibuli etukubiriza okubayamba. Ng’ekyokulabirako, omutume Pawulo yakubiriza ab’omu kibiina ky’e Rooma okwaniriza Feyibe n’okumuwa ‘obuyambi bwonna bwe yali ayinza okwetaaga.’ (Bar. 16:1, 2) Pawulo bwe yali akyali Mufalisaayo, yali omu ku bantu abaali batwala abakazi okuba aba wansi. Naye bwe yafuuka Omukristaayo, yakoppa Yesu n’atandika okuwa abakazi ekitiibwa n’okubayisa mu ngeri ey’ekisa.​—1 Kol. 11:1.

3. Yesu yayisanga atya abakazi, era yali atwala atya abakazi abaali bakola Katonda by’ayagala?

3 Yesu yayisanga bulungi abakazi, nga bonna abawa ekitiibwa. (Yok. 4:27) Yali tabatwala ng’abakulembeze b’eddiini y’Ekiyudaaya abaaliwo mu kiseera kye bwe baali babatwala. Ekitabo ekimu ekyogera ku Bayibuli kigamba nti: “Tewaliiwo kintu na kimu Yesu kye yayogera ekifeebya abakazi.” Naye okusingira ddala Yesu yali awa ekitiibwa abakazi abaali bakola Kitaawe by’ayagala. Yali abatwala nga bannyina era yaboogerako wamu n’abasajja be yali atwala nga baganda be.​—Mat. 12:50.

4. Kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino?

4 Bulijjo Yesu yabanga mwetegefu okuyamba bannyina mu by’omwoyo. Yabasiimanga era yabawolerezanga. Ka tulabe engeri gye tuyinza okukoppamu Yesu mu kufaayo ku bannyinaffe.

FAAYO KU BANNYINAFFE

5. Lwaki bannyinaffe abamu kiyinza obutabanguyira kubeerako wamu na balala?

5 Ffenna, ab’oluganda ne bannyinaffe, twetaaga okubeerako awamu n’abantu abalala. Naye oluusi bannyinaffe ekyo tekitera kubanguyira. Lwaki? Lowooza ku bigambo bya bannyinaffe bano. Mwannyinaffe ayitibwa Jordan * agamba nti, “Olw’okuba ndi bwannamunigina, emirundi mingi mpulira nga sirina kifo mu kibiina era mpulira nga sijaamu.” Kristen, payoniya eyagenda mu kitundu ekirala okugaziya ku buweereza bwe, agamba nti, “Bw’oba oli mupya mu kibiina, oyinza okuwulira ekiwuubaalo.” N’ab’oluganda abamu oluusi bwe batyo bwe bawulira. Abo abeera n’ab’omu maka abatasinza Yakuwa bayinza okuwulira nga tebalina nkolagana ya ku lusegere n’ab’omu maka awamu n’ab’oluganda mu kibiina. Abo abatasobola kuva waka awamu n’abo abalina ow’eŋŋanda zaabwe omulwadde gwe balabirira bayinza okuwulira ekiwuubaalo. Annette agamba nti, “Nnalinga sisobola kugenda kubeerako na balala olw’okuba nnalina okulabirira maama wange nga mulwadde.”

Okufaananako Yesu, tusobola okulaga nti tufaayo ku bannyinaffe abeesigwa (Laba katundu 6-9) *

6. Nga bwe kiragibwa mu Lukka 10:38-42, Yesu yayamba atya Maliyamu ne Maliza?

6 Yesu yabeerangako wamu ne bannyina mu by’omwoyo era yali mukwano gwabwe owa nnamaddala. Lowooza ku mukwano gwe yalina ne Maliyamu ne Maliza, bombi kirabika abaali obwannamunigina. (Soma Lukka 10:38-42.) Bye yayogeranga ne bye yakolanga byabaleetera okuwulira obulungi. Maliyamu teyatya kutuula kumpi n’ebigere bya Yesu okuyigirizibwa. * Ate ne Maliza bwe yawulira nga kimuluma Maliyamu obutamuyambako, teyatya kubuulira Yesu eky’amuli ku mutima. Ku olwo, Yesu alina ebintu ebikulu bye yayigiriza abakazi abo bombi. Ate era yalaga nti yali afaayo ku bakazi abo ne mwannyinaabwe ng’abakyalirako ne mu biseera ebirala. (Yok. 12:1-3) N’olwekyo tekyewuunyisa nti Laazaalo bwe yalwala, Maliyamu ne Maliza baali basobola okuyita Yesu okubayamba.​—Yok. 11:3, 5.

7. Emu ku ngeri gye tuyinza okuzzaamu bannyinaffe amaanyi y’eruwa?

7 Eri bannyinaffe abamu, akakisa ak’okubeerako awamu ne bakkiriza bannaabwe okusingira ddala bakafuna bazze mu nkuŋŋaana. N’olwekyo bwe bajja mu nkuŋŋaana, tusaanidde okubaaniriza obulungi, okunyumyako nabo, n’okukiraga nti tubafaako. Jordan, ayogeddwako waggulu agamba nti, “Kinzizaamu nnyo amaanyi abalala bwe bansiima olw’ebyo bye mba nzizeemu mu nkuŋŋaana, bwe bakola enteekateeka okubuulirako nange, oba bwe bakiraga mu ngeri endala nti banfaako.” Tulina okulaga bannyinaffe nti tubatwala nti ba muwendo. Kia agamba nti: “Bwe sibaawo mu nkuŋŋaana, mba nkimanyi nti wajja kubaawo ansindikira mesegi okulaba obanga ndi bulungi. Ekyo kindaga nti baganda bange ne bannyinaze banfaako.”

8. Mu ngeri ki endala gye tuyinza okukoppa Yesu?

8 Okufaananako Yesu, tusaanidde okufissaawo akadde okubeerako awamu ne bannyinaffe. Tuyinza okubayita okuliirako awamu naffe eky’okulya oba okusanyukirako awamu naffe. Bwe tubeera nabo tusaanidde okunyumya emboozi ezizimba. (Bar. 1:11, 12) Abakadde basaanidde okuba n’endowooza y’emu nga Yesu gye yalina. Yesu yali akimanyi nti abantu abamu abali obwannamunigina bandyolekaganye n’okusoomooza okutali kumu, naye era yakiraga nti okufumbirwa n’okuzaala si bye bireetera omuntu essanyu erya nnamaddala. (Luk. 11:27, 28) Essanyu erya nnamaddala liva mu kukulembeza kuweereza Yakuwa.​—Mat. 19:12.

9. Kiki abakadde kye basaanidde okukola okuyamba bannyinaffe?

9 Okusingira ddala abakadde basaanidde okuyisa abakazi Abakristaayo nga bannyinaabwe oba bamaama baabwe mu by’omwoyo. (1 Tim. 5:1, 2) Abakadde basaanidde okufissangawo akadde ng’enkuŋŋaana tezinnatandika oba nga ziwedde okwogerako ne bannyinaffe. Kristen agamba nti: “Omukadde omu yakiraba nti nnabanga n’obudde butono era n’ayagala okumanya engeri gye nnali nkozesaamu obudde bwange. Nnamusiima nnyo olw’okufaayo ku mbeera yange.” Abakadde bwe bawangayo akadde okwogerako ne bannyinaffe, baba balaga nti babafaako. * Annette, ayogeddwako waggulu, alaga emu ku nsonga lwaki kikulu okwogerangako n’abakadde. Agamba nti: “Nneeyongera okubamanya era nabo beeyongera okummanya. Era bwe nfuna ebizibu kinnyanguyira okubatuukirira okunnyamba.”

SIIMA BANNYINAFFE

10. Kiki ekiyinza okuleetera bannyinaffe okuwulira obulungi?

10 Ffenna, abasajja n’abakazi tuwulira bulungi abalala bwe balaba obusobozi bwe tulina era ne batusiima olw’ebyo bye tukola. Naye singa abalala tebasiima ngeri gye tukozesaamu busobozi bwaffe oba bye tukola, kitumalamu amaanyi. Payoniya ali obwannamunigina ayitibwa Abigail agamba nti oluusi awulira nti tewali amussaako birowoozo. Agamba nti: “Bantwala butwalizi nga muganda wa gundi ne gundi oba muwala wa gundi ne gundi. Oluusi ndaba ng’awatali muntu n’omu amanyi nti wendi.” Naye ate lowooza ku bigambo bya mwannyinaffe ayitibwa Pam ali obwannamunigina. Yaweereza ng’omuminsani okumala emyaka mingi. Oluvannyuma yaddayo ewaabwe okulabirira bazadde be. Kati ali mu myaka 70 era akyaweereza nga payoniya. Pam agamba nti: “Ekimu ku bintu ebinnyambye ennyo be balala okuŋŋamba nti basiima bye nkola.”

11. Yesu yakiraga atya nti yali asiima emirimu abakazi abeesigwa gye baamukoleranga?

11 Yesu yasiima nnyo ebyo abakazi abatya Katonda bye baamukoleranga “nga bakozesa ebintu byabwe.” (Luk. 8:1-3) Teyakoma ku kubawa nkizo eyo ey’okumuweereza naye era yabategeeza ebintu ebikulu ennyo. Ng’ekyokulabirako, yabategeeza nti yali ajja kufa era azuukire. (Luk. 24:5-8) Yayamba abakazi abo nga bwe yayamba abatume okweteekerateekera ebigezo bye baali bagenda okwolekagana nabyo. (Mak. 9:30-32; 10:32-34) Weetegereze nti wadde ng’abatume badduka nga Yesu akwatiddwa, abamu ku bakazi abaali bazze bamuweereza baali awo okumpi naye bwe yali ng’afiira ku muti ogw’okubonaabona.​—Mat. 26:56; Mak. 15:40, 41.

12. Buvunaanyizibwa ki obw’amaanyi Yesu bwe yakwasa abakazi abamu?

12 Yesu yakwasa abakazi obuvunaanyizibwa obw’amaanyi. Ng’ekyokulabirako, abakazi abatya Katonda be baasooka okulaba Yesu ng’azuukidde. Yabakwasa obuvunaanyizibwa obw’okutegeeza abatume nti yali azuukidde mu bafu. (Mat. 28:5, 9, 10) Ate era ku Pentekooti 33 E.E., abakazi bayinza okuba nga be bamu ku abo abaaliwo omwoyo omutukuvu bwe gwafukibwa ku bayigirizwa ba Yesu. Bwe kiba kityo, bannyinaffe abo abaali bafukiddwako amafuta baafuna obusobozi bw’okwogera mu nnimi era ne bategeeza abalala ‘ebintu bya Katonda eby’ekitalo.’​—Bik. 1:14; 2:2-4, 11.

13. Biki abakazi Abakristaayo bye bakola leero era tuyinza tutya okulaga nti tubasiima?

13 Bannyinaffe beetaaga okusiimibwa olw’ebyo byonna bye bakola nga baweereza Yakuwa. Mu bye bakola muzingiramu okuzimba n’okuddaabiriza ebizimbe by’Obwakabaka, okuwagira ebibinja ebyogera olulimi olulala, n’okuyambako ku mirimu egikolebwa ku Beseri. Bayambako mu kudduukirira abakoseddwa obutyabaga, mu kuvvuunula ebitabo byaffe, era baweereza nga bapayoniya oba abaminsani. Okufaananako ab’oluganda, bannyinaffe nabo bagenda mu ssomero lya bapayoniya, Essomero ly’Ababuulizi b’Enjiri y’Obwakabaka, n’Essomero lya Gireyaadi. Ate era abakyala bayamba abaami baabwe okutuukiriza obuvunaanyizibwa obw’amaanyi mu kibiina kya Yakuwa. Ab’oluganda abo tebandisobodde kuweereza mu bujjuvu ‘ng’ebirabo mu bantu’ singa bakyala baabwe baali tebabawagira. (Bef. 4:8) Olowoozezza ku ngeri gy’oyinza okuwagiramu bannyinaffe abo mu mirimu gye bakola?

14. Okusinziira ku ebyo ebiri mu Zabbuli 68:11, kiki abakadde ab’amagezi kye bakola?

14 Abakadde ab’amagezi bakimanyi nti bannyinaffe “ggye ddene” ery’abakozi abanyiikivu era nti batera okuba ababuulizi abalungi. (Soma Zabbuli 68:11.) N’olwekyo, abakadde bafuba okulaba engeri gye basobola okubayigirako. Abigail, ayogeddwako waggulu azzibwamu nnyo amaanyi ab’oluganda bwe bamugamba okubabuulira engeri esingayo obulungi gy’alabye ey’okutuukiriramu abantu mu kitundu mwe babuulira. Agamba nti, “Ekyo kinnyamba okukiraba nti nnina ekifo mu kibiina kya Yakuwa.” Ate era abakadde bakimanyi nti bannyinaffe abakulu basobola bulungi okuyamba bannyinaffe abato okwaŋŋanga ebibasoomooza. (Tit. 2:3-5) Mazima ddala bannyinaffe beetaaga okusiimibwa!

LWANIRIRA BANNYINAFFE

15. Ddi bannyinaffe lwe bayinza okwetaaga omuntu ow’okuboogerera?

15 Ebiseera ebimu bannyinaffe bayinza okwetaaga omuntu okubalwanirira nga boolekagana n’ekizibu ekimu. (Is. 1:17) Ng’ekyokulabirako, nnamwandu oba mwannyinaffe eyagattululwa n’omwami we ayinza okwetaaga omuntu okumwogerera oba okumuyambako okukola omulimu ogumu omwami we gwe yakolanga. Mwannyinaffe akaddiye ayinza okwetaaga omuntu okumuyambako okwogera eri abasawo. Oba mwannyinaffe aweereza nga payoniya naye ng’alina emirimu emirala egy’ekibiina kya Yakuwa gy’akola ayinza okwetaaga omuntu okumuwolereza bwe wabaawo abamukolokota olw’obutabeera nnyo mu mulimu gw’okubuulira nga bapayoniya abalala. Ngeri ki endala gye tuyinza okuyambamu bannyinaffe? Ka tuddemu twetegereze ekyokulabirako kya Yesu.

16. Yesu yalwanirira atya Maliyamu nga bwe kiragibwa mu Makko 14:3-9?

16 Yesu yayanguwanga okuwolereza bannyina mu by’omwoyo abalala bwe baabanga babategedde bubi. Ng’ekyokulabirako, yawolereza Maliyamu, Maliza bwe yali amuvunaana. (Luk. 10:38-42) Ate era ne ku mulundi omulala yawolereza Maliyamu abalala bwe baali bamukolokota nga balowooza nti yali tasazeewo mu ngeri ey’amagezi. (Soma Makko 14:3-9.) Yesu yali amanyi ensonga lwaki Maliyamu yali akoze ekintu ekyo era yamusiima ng’agamba nti: “Ankoledde ekintu ekirungi. . . . Akoze ky’asobola.” Ate era yagamba nti ekikolwa ekyo eky’ekisa Maliyamu kye yakola kyali kijja kwogerwako ‘yonna mu nsi amawulire amalungi gye gandibuuliddwa,’ era ekyo kyennyini akatundu kano ke tusoma kye kakola. Kyewuunyisa okuba nti Yesu yayogera ku mawulire amalungi okubuulirwa mu nsi yonna bwe yali ayogera ku ekyo Maliyamu kye yakola! Ebigambo ebyo nga biteekwa okuba nga byazzaamu nnyo Maliyamu amaanyi oluvannyuma lw’abalala okumutegeera obubi!

17. Emu ku mbeera eyinza okutwetaagisa okulwanirira mwannyinaffe y’eruwa?

17 Olwanirira bannyinaffe bwe baba nga beetaaga okulwanirirwa? Ng’ekyokulabirako, lowooza ku mbeera eno. Ababuulizi abamu bakiraba nti mwannyinaffe alina omwami ataweereza Yakuwa atera okutuuka ekikeerezi mu nkuŋŋaana ate n’agenda ng’enkuŋŋaana zaakaggwa. Bakiraba nti tetera kuleeta baana be mu nkuŋŋaana. N’olwekyo batandika okumukolokota nga bagamba nti alina okukalira mu mwami we. Naye ekituufu kiri nti mwannyinaffe oyo akola kyonna ky’asobola. Ebiseera bye tabirinaako buyinza bwa nkomeredde era n’abaana be tabalinaako buyinza bwa nkomeredde. Kiki ky’oyinza okukola? Bw’osiima mwannyinaffe oyo era n’obuulira abalala ku ebyo by’akola obulungi, bayinza okulekera awo okumukolokota.

18. Engeri endala gye tuyinza okuyamba bannyinaffe y’eruwa?

18 Tusobola okulaga bannyinaffe nti tubafaako nga tubaako ebintu bye tukola okubayamba. (1 Yok. 3:18) Annette, mwannyinaffe eyajjanjaba maama we bwe yali omulwadde, agamba nti: “Abamu ku mikwano gyange bajjanga ne bannyambako oba ne bandeetera emmere. Ekyo kyandeetera okuwulira nti njagalibwa era nti ndi wa mugaso mu kibiina.” Ne Jordan naye waliwo abaamuyamba. Ow’oluganda omu yamuwa amagezi ku ngeri y’okulabiriramu emmotoka ye. Agamba nti: “Kinsanyusa nnyo okukimanya nti baganda bange ne bannyinaze bafaayo ku bulamu bwange.”

19. Engeri endala abakadde gye bayinza okuyambamu bannyinaffe y’eruwa?

19 Abakadde era bafaayo ku byetaago bya bannyinaffe. Bakimanyi nti Yakuwa ayagala bannyinaffe bayisibwe bulungi. (Yak. 1:27) N’olwekyo, okufaananako Yesu, beewala okuba abakakanyavu, nga tebalemera ku nsonga ezimu bwe kiba nga ddala tekyetaagisa. (Mat. 15:22-28) Abakadde ababaako kye bakolawo okuyamba bannyinaffe baleetera bannyinaffe okuwulira nti tebali bokka. Omulabirizi w’ekibinja Kia mwe yali bwe yakitegeera nti Kia yali agenda kusengukira mu nnyumba endala, mangu ddala yakola enteekateeka okumuyamba. Kia agamba nti: “Ekyo kyannyamba okukendeeza ku kweraliikirira. Olw’okuba abakadde banzizaamu amaanyi era ne babaako kye bakolawo okunnyamba, kyandaga nti ndi wa mugaso mu kibiina era nti bwe mba njolekagana n’embeera enzibu siba nzekka.”

BANNYINAFFE BONNA TWETAAGA OKUBAFAAKO

20-21. Tuyinza tutya okulaga nti bannyinaffe mu kibiina tubatwala nga ba muwendo?

20 Mu bibiina bya Yakuwa mulimu bannyinaffe bangi nnyo abanyiikivu be twetaaga okuyamba n’okuwagira. Tusobola okukoppa Yesu nga tubeerako wamu nabo tusobole okubamanya. Tusaanidde okubasiima olw’ebyo bye bakola nga baweereza Yakuwa. Ate era tusaanidde okubalwanirira bwe kiba kyetaagisa.

21 Omutume Pawulo bwe yali afundikira ebbaluwa gye yawandiikira Abaruumi, yamenya amannya g’abakazi Abakristaayo mwenda. (Bar. 16:1, 3, 6, 12, 13, 15) Tewali kubuusabuusa nti abakazi abo bazzibwamu nnyo amaanyi Pawulo okubalamusa n’okubasiima. Naffe tusaanidde okufaayo ku bannyinaffe bonna abali mu kibiina. Bwe tukola tutyo tuba tulaga nti tubatwala nti ba muwendo nnyo mu kibiina kya Yakuwa.

OLUYIMBA 136 ‘Empeera Enzijuvu’ Yakuwa gy’Awa

^ lup. 5 Abakazi Abakristaayo boolekagana n’okusoomooza kungi. Mu kitundu kino tugenda kulaba engeri gye tuyinza okukoppamu Yesu nga tufaayo ku bannyinaffe Abakristaayo. Yesu yawangayo ebiseera okubeerako n’abakazi, yabasiimanga, era yabalwaniriranga. Tulina bingi bye tuyinza okumuyigirako.

^ lup. 5 Amannya agamu gakyusiddwa.

^ lup. 6 Ekitabo ekimu kigamba nti: ‘Abayigirizwa baatuulanga kumpi n’ebigere by’abo abaabanga babayigiriza. Ekyo baakikolanga nga beeteekateeka okufuuka abayigiriza. Naye abakazi tebakkirizibwanga kuba bayigiriza. N’olwekyo, kyandibadde kyewuunyisa nnyo abasajja Abayudaaya abasinga obungi okulaba nga Maliyamu atudde okumpi n’ebigere bya Yesu ng’amuwuliriza.’

^ lup. 9 Abakadde balina okwegendereza nga bayamba bannyinaffe. Ng’ekyokulabirako, omukadde tasaanidde kugenda yekka kukyalira mwannyinaffe.

^ lup. 65 EBIFAANANYI: Nga bakoppa engeri Yesu gye yafangayo ku bakazi, ow’oluganda omu ayambako bannyinaffe babiri okukyusa omupiira gw’emmotoka, omulala akyaliddeko mwannyinaffe aliko obulemu, ate omulala agenze ne mukyala we okufunira awamu okusinza kw’amaka ne mwannyinaffe omu ne muwala we.