Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 36

Oli Mwetegefu Okuba Omuvubi w’Abantu?

Oli Mwetegefu Okuba Omuvubi w’Abantu?

“Totya. Okuva leero ojja kuvubanga bantu.”​—LUK. 5:10.

OLUYIMBA 73 Tuwe Obuvumu

OMULAMWA *

1. Abavubi abana Yesu yabayita kukola ki, era kiki kye baakola ng’abayise?

ABAYIGIRIZWA Peetero, Andereya, Yakobo, ne Yokaana baali bakola omulimu gw’okuvuba n’okutunda ebyennyanja. Bateekwa okuba nga beewuunya nnyo bwe baawulira nga Yesu abagamba nti: “Mungoberere, nja kubafuula abavubi b’abantu.” * Kiki kye baakola? Bayibuli egamba nti: “Amangu ago ne baleka awo obutimba bwabwe ne bamugoberera.” (Mat. 4:18-22) Ekyo kye baasalawo kyali kigenda kukyusa nnyo obulamu bwabwe. Mu kifo ky’okuvuba ebyennyanja baali bagenda “kuvubanga bantu.” (Luk. 5:10) Ne leero Yesu ayita abantu ab’emitima emirungi era abaagala amazima okuba abavubi b’abantu. (Mat. 28:19, 20) Okkirizza okuyitibwa okwo n’ofuuka omuvubi w’abantu?

2. Baani abasaanidde okulowooza ku ky’okufuuka abavubi b’abantu, era kiki ekinaabayamba okusalawo okufuuka abavubi b’abantu?

2 Oyinza okuba ng’omaze ekiseera ng’oyigirizibwa Bayibuli era ng’olina enkyukakyuka z’okoze. Kati oyinza okuba ng’olowooza ku ky’okufuuka omubuulizi. Bw’oba olinamu enkenyera okufuuka omubuulizi, toggwaamu maanyi. Okuba nti otiddemu kiyinza okuba kiraga nti okimanyi nti okusalawo okwo kukulu nnyo. Kyo kituufu nti Bayibuli egamba nti Peetero ne banne baaleka obutimba bwabwe “amangu ago.” Naye Peetero ne muganda we ekyo tebaakikola nga tebasoose kukifumiitirizaako. Baali baamanya Yesu era ne bakkiriza nti ye Masiya emyezi egisukka mu mukaaga emabega. (Yok. 1:35-42) Naawe oyinza okuba ng’oyize bingi ebikwata ku Yakuwa ne Yesu era ng’oyagala kweyongera kukulaakulana mu by’omwoyo. Naye okusalawo okwo tosaanidde kukukola nga tosoose kukufumiitirizaako n’obwegendereza. Kiki ekyayamba Peetero, Andereya, n’abalala okusalawo okufuuka abavubi b’abantu?

3. Ngeri ki ezijja okukuleetera okwagala okukola omulimu gw’okuvuba abantu?

3 Abayigirizwa ba Yesu abaasooka baali baagala nnyo okubuulira, baali bamanyi engeri y’okukolamu omulimu ogwo, baali bavumu, era baali beefuga. Engeri ezo zaabasobozesa okukola obulungi omulimu gw’okuvuba abantu. Ekitundu kino kigenda kulaga engeri gy’oyinza okukulaakulanyaamu engeri ezo osobole okukola obulungi omulimu gw’okuvuba abantu.

WEEYONGERA OKWAGALA OKUBUULIRA

Peetero n’abalala baafuuka bavubi b’abantu. Omulimu guno omukulu gukyagenda mu maaso ne mu kiseera kyaffe (Laba akatundu 4-5)

4. Lwaki Peetero yayagalanga nnyo omulimu gw’okuvuba ebyennyanja?

4 Peetero yavubanga ebyennyanja okusobola okulabirira ab’omu maka ge, naye eyo si ye nsonga yokka eyamuleetera okukola omulimu ogwo. Kirabika Peetero yali anyumirwa nnyo okuvuba ebyennyanja. (Yok. 21:3, 9-15) Omulimu gw’okuvuba abantu nagwo Peetero yayiga okugunyumirwa. Yakuwa yayamba Peetero okukola obulungi omulimu gw’okubuulira n’okuyigiriza abantu.​—Bik. 2:14, 41.

5. Okusinziira ku Lukka 5:8-11, lwaki Peetero yatya, era kiki ekiyinza okutuyamba okuvvuunuka okutya ng’okwo?

5 Ensonga esinga obukulu etuleetera okubuulira kwe kwagala kwe tulina eri Yakuwa. Okwagala okwo kutuleetera okubuulira abalala ne bwe tuba nga tuwulira nti tetuli babuulizi balungi. Yesu bwe yayita Peetero okufuuka omuvubi w’abantu yamugamba nti: “Totya.” (Soma Lukka 5:8-11.) Peetero yali tatya ebyo ebyali biyinza okubaawo ng’afuuse omuyigirizwa wa Kristo. Wabula yatya olw’ebyennyanja ebingi Yesu bye yabasobozesa okukwata mu ngeri ey’ekyamagero, era yawulira nga yali tagwanidde kukolera wamu ne Yesu. Okufaananako Peetero, naawe oyinza okutya bw’olowooza ku bizingirwa mu kubeera omugoberezi wa Kristo. Bwe kiba kityo, yongera ku kwagala kw’olina eri Yakuwa, eri Yesu, n’eri bantu banno. Ekyo kijja kukuleetera okwagala okuba omuvubi w’abantu.​—Mat. 22:37, 39; Yok. 14:15.

6. Kiki ekirala ekituleetera okwagala okubuulira?

6 Lowooza ku nsonga endala etuleetera okwagala okubuulira. Twagala okugondera ekiragiro kino Yesu kye yatuwa: “Mugende mufuule abantu . . . abayigirizwa.” (Mat. 28:19, 20) Ate era tubuulira olw’okuba abantu ‘babonaabona era basaasaanye’ era beetaaga nnyo okuyiga amazima agakwata ku Bwakabaka. (Mat. 9:36) Yakuwa ayagala abantu aba buli ngeri okutegeera amazima basobole okulokolebwa.​—1 Tim. 2:4.

7. Abaruumi 10:13-15 walaga watya nti omulimu gw’okubuulira mukulu nnyo?

7 Bwe tulowooza ku ngeri omulimu gw’okubuulira gye guganyulamu abantu nakyo kituleetera okwagala okubuulira. Obutafaananako omuvubi atunda oba alya ebyennyanja by’aba avubye, ffe ‘tuvuba’ abantu okusobola okuwonyaawo obulamu bwabwe.​—Soma Abaruumi 10:13-15; 1 Tim. 4:16.

YONGERA KU KUMANYA KW’OLINA

8-9. Kiki omuvubi ky’alina okumanya, era lwaki?

8 Mu kiseera kya Yesu, omuvubi Omuyisirayiri yalina okumanya ekika ky’ebyennyanja bye yabanga ayagala okuvuba. (Leev. 11:9-12) Ate era yalina okumanya we yali asobola okusanga ebyennyanja ebyo. Ebyennyanja bitera kubeera mu kitundu awali amazzi ge byagala era awali emmere ennyingi. Ekiseera omuvubi w’agendera okuvuba nakyo kikulu. Lowooza ku ekyo ow’oluganda omu ow’oku kizinga ekimu kye yagamba omuminsani gwe yali ateesezza naye okugenda okuvuba. Omuminsani oyo yagamba ow’oluganda nti, “Tusisinkane enkya ku ssaawa ssatu ez’oku makya.” Ow’oluganda yamuddamu nti, “Ky’oyogerako tokimanyi. Tugenda okuvuba mu kiseera ekituufu eky’okuvubiramu, so si mu kiseera ffe we tuba twagalidde okuvuba.”

9 Abavubi b’abantu mu kyasa ekyasooka nabo baagendanga mu bifo we baali basobola okusanga abantu era mu kiseera we baali basobolera okubasangayo. Ng’ekyokulabirako, abagoberezi ba Yesu baabuuliranga mu yeekaalu, mu makuŋŋaaniro, nju ku nju, ne mu butale. (Bik. 5:42; 17:17; 18:4) Naffe tusaanidde okumanya wa we tuyinza okusanga abantu mu kitundu kyaffe na ddi lwe tuyinza okubasanga.​—1 Kol. 9:19-23.

ABAVUBI ABALUNGI . . . 1. bavuba mu kiseera ne mu kifo we basobola okusanga ebyennyanja (Laba akatundu 8-9)

10. Bintu ki ekibiina kya Yakuwa bye kituwadde?

10 Omuvubi aba alina okuba n’eby’okukozesa ebituufu era ng’amanyi okubikozesa. Naffe tulina okuba n’eby’okukozesa ebituufu mu mulimu gw’okubuulira. Ate era tulina n’okumanya engeri y’okubikozesaamu. Yesu yawa abayigirizwa be obulagirizi obutegeerekeka obulungi ku ngeri y’okuvubamu abantu. Yababuulira bye basaanidde okugenda nabyo, we basaanidde okubuulira, na biki bye basaanidde okwogera. (Mat. 10:5-7; Luk. 10:1-11) Leero, ekibiina kya Yakuwa kituwadde Ebintu Bye Tukozesa Okuyigiriza, ebitusobozesa okukola obulungi omulimu ogwo. * Ate era tulagibwa engeri y’okukozesaamu ebintu ebyo. Okutendekebwa okwo kutuyamba obutatya nga tubuulira era kutuyamba okuyigiriza obulungi abantu.​—2 Tim. 2:15.

ABAVUBI ABALUNGI . . . 2. bakozesa eby’okukozesa ebituufu era baba bamanyi okubikozesa (Laba akatundu 10)

WEEYONGERE OKUBA OMUVUMU

11. Lwaki abavubi kibeetaagisa okuba abavumu?

11 Abavubi kibeetaagisa okuba abavumu. Oluusi boolekagana n’embeera ezitali nnyangu ku nnyanja. Batera kuvuba kiro ate ennyanja esobola okufuukuuka ekiseera kyonna. Abavubi b’abantu nabo kibeetaagisa okuba abavumu. Bwe tutandika okubuulira era ne twemanyisa nti tuli Bajulirwa ba Yakuwa, ab’eŋŋanda zaffe bayinza okutuyigganya, ab’emikwano bayinza okutujerega, ate abantu abamu bayinza obutaagala kuwuliriza bubaka bwaffe. Naye ekyo tekitwewuunyisa. Yesu yagamba nti abagoberezi be bandibadde babuulira mu bantu abatali bangu kubuuliramu.​—Mat. 10:16.

12. Okusinziira ku Yoswa 1:7-9, kiki ekiyinza okutuyamba okuba abavumu?

12 Oyinza otya okuba omuvumu? Ekisooka, osaanidde okuba omukakafu nti Yesu alabirira omulimu gw’okubuulira ng’asinziira mu ggulu. (Yok. 16:33; Kub. 14:14-16) Eky’okubiri, weesige Yakuwa nti ajja kukulabirira nga bwe yasuubiza. (Mat. 6:32-34) Okukkiriza kwo gye kukoma okuba okunywevu, gy’okoma okuba omuvumu. Peetero ne banne baayoleka okukkiriza okw’amaanyi bwe baaleka omulimu ogwali gubayimirizaawo ne bagoberera Yesu. Naawe wayoleka okukkiriza okw’amaanyi bwe wategeeza mikwano gyo n’ab’eŋŋanda zo nti wali otandise okuyiga Bayibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa n’okugendanga mu nkuŋŋaana zaabwe! Kya lwatu nti okoze enkyukakyuka ez’amaanyi okusobola okutuukanya obulamu bwo n’emitindo gya Yakuwa egy’obutuukirivu. Ekyo nakyo kyali kyetaagisa okukkiriza n’obuvumu. Bwe weeyongera okuba omuvumu, ojja kweyongera okuba omukakafu nti ‘Yakuwa Katonda wo aba naawe yonna gy’ogenda.’​—Soma Yoswa 1:7-9.

ABAVUBI ABALUNGI . . . 3. booleka obuvumu ne bakola omulimu ne mu mbeera enzibu (Laba akatundu 11-12)

13. Okufumiitiriza n’okusaba biyinza bitya okukuyamba okuba omuvumu?

13 Kiki ekirala ekiyinza okukuyamba okuba omuvumu? Saba Yakuwa akuyambe okuba omuvumu. (Bik. 4:29, 31) Yakuwa ajja kuddamu okusaba kwo era tayinza kukwabulira. Bulijjo w’ali okukuyamba. Ate era fumiitiriza ku ngeri Yakuwa gye yayambamu abantu be mu biseera eby’emabega. Lowooza ne ku ngeri gy’akuyambyemu okuvvuunuka ebizibu n’okukola enkyukakyuka mu bulamu bwo. Mazima ddala, Oyo eyayisa abantu be mu Nnyanja Emmyufu asobola okukuyamba okuba omuyigirizwa wa Kristo. (Kuv. 14:13) Ba n’obwesige nga buno omuwandiisi wa zabbuli bwe yalina bwe yagamba nti: “Yakuwa ali ku ludda lwange; siityenga. Omuntu ayinza kunkola ki?”​—Zab. 118:6.

14. Kiki ky’oyigira ku Masae ne Tomoyo?

14 Ekintu ekirala ekisobola okukuyamba okuba omuvumu kwe kumanya engeri Yakuwa gye yayambamu abantu abaalina ensonyi okuba ababuulizi abavumu. Lowooza ku mwannyinaffe Masae. Yalina ensonyi era yali takirowooza nti asobola okubuulira. Okulowooza obulowooza ku ky’okwogera n’omuntu gw’atamanyi kyamutyemulanga omutima. Bwe kityo yafuba okwongera ku kwagala kw’alina eri Yakuwa n’eri bantu banne. Ate era yafumiitiriza ku bukulu bw’ebiseera bye tulimu era n’asaba Yakuwa amuyambe okwagala okubuulira. Yavvuunuka okutya kwe yalina era n’aweereza nga payoniya owa bulijjo. Yakuwa asobola n’okuyamba ababuulizi abapya okuba abavumu. Lowooza ku mwannyinaffe ayitibwa Tomoyo. Ku mulundi gwe yasooka okugenda okubuulira nnyumba ku nnyumba, omuntu gwe yasooka okubuulira yamuboggolera nti: “Nze saagala Bajulirwa ba Yakuwa!” era n’aggalawo oluggi n’obusungu. Nga tatidde Tomoyo yagamba mubuulizi munne nti: “Ekyo okiwulidde? Wadde nga mbadde sinnayogera kigambo kyonna, ategeereddewo nti ndi Mujulirwa wa Yakuwa. Ekyo kinsanyusizza nnyo!” Kati Tomoyo aweereza nga payoniya owa bulijjo.

YIGA OKWEFUGA

15. Okwefuga kye ki, era lwaki Abakristaayo beetaaga okwefuga?

15 Abavubi abalungi beefuga. Abamu bagamba nti okwefuga “kwe kwereetera okukola ekyo ekirina okukolebwa.” Abavubi balina okwefuga okusobola okuzuukuka mu kiro, okusigala ku nnyanja okutuusa nga bamaliriza omulimu, n’okugumira embeera y’obudde embi. Naffe twetaaga okwefuga okusobola okukola omulimu gwaffe n’obugumiikiriza okutuusa lwe tunaagumaliriza.​—Mat. 10:22.

16. Kiki ekiyinza okutuyamba okuyiga okwefuga?

16 Tetuzaalibwa nga tumanyi okwefuga. Emirundi mingi tuba twagala okukola ebintu mu ngeri ennyangu. Naye emirundi egimu ebintu ebisinga obukulu tebiba byangu kukola. N’olwekyo twetaaga okuyiga okwefuga. Yakuwa asobola okutuyamba ng’akozesa omwoyo gwe omutukuvu.​—Bag. 5:22, 23.

17. Mu 1 Abakkolinso 9:25-27, kiki Pawulo kye yagamba nti yalina okukola okusobola okwefuga?

17 Omutume Pawulo yali yeefuga. Yagamba nti yali ‘akuba’ omubiri gwe asobole okukola ekituufu. (Soma 1 Abakkolinso 9:25-27.) Yakubiriza abalala okwefuga n’okukola ebintu byonna “mu ngeri esaanira era entegeke obulungi.” (1 Kol. 14:40) Twetaaga okwefuga okusobola okunywerera ku nteekateeka ennungi ey’eby’omwoyo, ezingiramu n’okwenyigira obutayosa mu mulimu gw’okubuulira n’okuyigiriza abantu.​—Bik. 2:46.

TOLONZALONZA

18. Kiki ekireetera Yakuwa okututwala nti tuli bawanguzi?

18 Omuvubi obuwanguzi bwe abupimira ku byennyanja bimeka by’aba avubye. Naye ffe obuwanguzi bwaffe tetubupimira ku muwendo gw’abantu be tuba tuyambye okufuuka abaweereza ba Yakuwa. (Luk. 8:11-15) Bwe tweyongera okubuulira n’okuyigiriza bantu amawulire amalungi, Yakuwa atutwala ng’abawanguzi. Lwaki? Kubanga tuba tumugondera awamu n’Omwana we.​—Mak. 13:10; Bik. 5:28, 29.

19-20. Nsonga ki enkulu etukubiriza okubuulira?

19 Mu nsi ezimu abavubi bakkirizibwa kuvuba myezi gimu na gimu. Mu nsi ng’ezo, omuvubi yeeyongera okukola n’obunyiikivu ng’ekiseera eky’okuvuba kinaatera okuggwaako. Naffe Abakristaayo tulina ensonga eno etukubiriza okunyiikirira okubuulira: Enkomerero y’enteekateeka eno esembedde nnyo! Ekiseera ekisigaddeyo okukola omulimu guno oguwonya obulamu kitono ddala. N’olwekyo tolinda buli kimu mu bulamu bwo kusooka kutereera olyoke weenyigire mu mulimu guno omukulu ennyo.​—Mub. 11:4.

20 Kino kye kiseera okwongera okwagala okubuulira, okwongera ku kumanya okukwata ku Bayibuli, okwongera okuba omuvumu, n’okuyiga okwefuga. Weegatte ku bavubi b’abantu abasukka mu bukadde omunaana osobole okufuna essanyu lya Yakuwa. (Nek. 8:10) Ba mumalirivu okwenyigira mu bujjuvu mu mulimu guno okutuusa lwe gunaggwa. Ekitundu ekiddako kijja kulaga ebintu bisatu ebisobola okutuyamba okuba abamalirivu okweyongera okukola omulimu gw’okubuulira.

OLUYIMBA 66 Buulira Amawulire Amalungi

^ lup. 5 Yesu yayita abavubi abaali abakozi abanyiikivu era abeetoowaze okuba abagoberezi be. Ne leero Yesu akyeyongera okuyita abantu abalina engeri ezo okuba abavubi b’abantu. Ekitundu kino kigenda kulaga ekyo abayizi ba Bayibuli abalonzalonza okukolera ku kuyitibwa okwo kye beetaaga okukola.

^ lup. 1 EBIGAMBO EBINNYONNYOLWA: “Abavubi b’abantu” b’ebo bonna ababuulira amawulire amalungi era abayigiriza abalala bafuuke abayigirizwa ba Kristo.

^ lup. 10 Laba ekitundu “Okuyigiriza Amazima” mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Okitobba 2018, lup. 11-16.