EKITUNDU EKY’OKUSOMA 39
Erinnya Lyo Liwandiikiddwa mu “Kitabo eky’Obulamu”?
“Ekitabo eky’okujjukiza ekikwata ku abo abatya Yakuwa n’abo abalowooza ku linnya lye ne kiwandiikibwa mu maaso ge.”—MAL. 3:16.
OLUYIMBA 61 Mugende mu Maaso, Mmwe Abajulirwa!
OMULAMWA *
1. Okusinziira ku Malaki 3:16, kitabo ki Yakuwa ky’azze awandiika, era biki ebikirimu?
OKUMALA emyaka nkumi na nkumi, Yakuwa abadde alina ekitabo ky’awandiika. Ekitabo ekyo kirimu enkalala z’amannya g’abantu, era ng’erinnya eryasooka okuwandiikibwamu lye lya Abbeeri, omujulirwa omwesigwa eyasooka. * (Luk. 11:50, 51) Ebyasa bwe bigenze biyitawo, Yakuwa azze ayongera amannya mu kitabo ekyo, era leero kirimu amannya bukadde na bukadde. Mu Bayibuli ekitabo ekyo kiyitibwa “ekitabo eky’okujjukiza,” ‘ekitabo eky’obulamu,’ oba ‘omuzingo ogw’obulamu.’ Mu kitundu kino tugenda kukiyita ‘ekitabo eky’obulamu.’—Soma Malaki 3:16; Kub. 3:5; 17:8.
2. Mannya ga baani agawandiikiddwa mu kitabo eky’obulamu, era kiki kye tusaanidde okukola amannya gaffe okusobola okuba mu kitabo ekyo?
2 Ekitabo kino kirimu amannya g’abo bonna abatya Yakuwa oba abamuwa ekitiibwa era abatwala erinnya lye nga kkulu nnyo. Balina essuubi ery’okufuna obulamu obutaggwaawo. Leero amannya gaffe gasobola okuwandiikibwa mu kitabo ekyo singa tufuna enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa, nga tusinziira ku ssaddaaka y’Omwana we Yesu Kristo. (Yok. 3:16, 36) Ka tube nga tulina ssuubi lya kugenda mu ggulu oba lya kubeera ku nsi, ffenna twagala amannya gaffe okubeera mu kitabo ekyo.
3-4. (a) Amannya gaffe bwe gaba nga gali mu kitabo eky’obulamu mu kiseera kino, ekyo kitegeeza nti mu buli ngeri tujja kufuna obulamu obutaggwaawo? Nnyonnyola. (b) Kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino n’ekiddako?
3 Ekyo kitegeeza nti abo bonna abawandiikiddwa mu kitabo ekyo mu buli ngeri bajja kufuna obulamu obutaggwaawo? Eky’okuddamu kisangibwa mu bigambo Yakuwa bye yagamba Musa ebiri mu Okuva 32:33. Yamugamba nti: “Buli ayonoonye mu maaso gange, gwe nja okusangula mu kitabo kyange.” N’olwekyo, amannya agawandiikiddwa mu kitabo ekyo gasobola okusangulwamu, oba okuggibwamu. Amannya ago Yakuwa alinga agawandiise mu kkalaamu enkalu. (Kub. 3:5, obugambo obuli wansi.) Tulina okufuba okukakasa nti amannya gaffe gasigala mu kitabo ekyo okutuusa lwe galiba ng’agawandiikiddwa mu bwino.
4 Waliwo ebibuuzo ebijjawo. Ng’ekyokulabirako, kiki Bayibuli ky’eyogera ku abo abawandiikiddwa mu kitabo ky’obulamu ne ku abo abatawandiikiddwa mu kitabo ekyo? Abo abaawandiikibwa mu kitabo ky’obulamu era amannya gaabwe ne gasigalamu balifuna ddi obulamu obutaggwaawo? Abo abaafa nga tebafunye kakisa kumanya Yakuwa amannya gaabwe gasobola okuwandiikibwa mu kitabo ekyo? Ebibuuzo ebyo bigenda kuddibwamu mu kitundu kino n’ekiddako.
MANNYA GA BAANI AGALI MU KITABO KY’OBULAMU?
5-6. (a) Okusinziira ku Abafiripi 4:3, mannya ga baani agawandiikiddwa mu kitabo eky’obulamu? (b) Ddi amannya gaabwe lwe gasigala mu kitabo eky’obulamu emirembe n’emirembe?
5 Mannya ga baani agawandiikiddwa mu kitabo eky’obulamu? Okusobola okuddamu ekibuuzo ekyo, tugenda kulabayo abantu ba biti bitaano. Abamu ku bantu abo bawandiikiddwa mu kitabo eky’obulamu, ate abalala tebawandiikiddwamu.
6 Ekiti ekisooka kye ky’abo abaalondebwa okufugira awamu ne Yesu mu ggulu. Mu kiseera kino amannya gaabwe gawandiikiddwa mu kitabo eky’obulamu? Yee. Okusinziira ku bigambo omutume Pawulo bye yawandiikira ‘bakozi banne’ ab’omu Firipi, amannya g’abaafukibwako amafuta gawandiikiddwa mu kitabo eky’obulamu. (Soma Abafiripi 4:3.) Naye amannya gaabwe okusobola okusigala mu kitabo ekyo eky’akabonero, balina okusigala nga beesigwa. Bwe bassibwako akabonero akasembayo, ng’ebula ekiseera kitono bafe, oba bwe banassibwako akabonero ako ng’ekibonyoobonyo ekinene kinaatera okutandika, olwo amannya gaabwe gajja kusigala mu kitabo eky’obulamu emirembe gyonna.—Kub. 7:3.
7. Okusinziira ku Okubikkulirwa 7:16, 17, ddi amannya g’ab’endiga endala lwe gajja okusigala mu kitabo ky’obulamu emirembe gyonna?
7 Ekiti eky’okubiri kye ky’ab’ekibiina ekinene ab’endiga endala. Mu kiseera kino amannya gaabwe gawandiikiddwa mu kitabo eky’obulamu? Yee. Amannya gaabwe ganaaba gakyali mu kitabo eky’obulamu oluvannyuma lw’okuwonawo ku lutalo lwa Amagedoni? Yee. (Kub. 7:14) Yesu yagamba nti abantu abo, abalinga endiga, bajja kugenda “mu bulamu obutaggwaawo.” (Mat. 25:46) Naye tebajja kufunirawo bulamu butaggwaawo nga baakamala okuyita mu Amagedoni. Amannya gaabwe gajja kusigala nga gali mu kitabo ky’obulamu naye nga galinga agawandiikiddwa mu kkalaamu enkalu. Mu kiseera eky’Obufuzi obw’Emyaka Olukumi, Yesu “alibatwala awali ensulo ez’amazzi ag’obulamu.” Abo abanaakolera ku bulagirizi bwa Kristo era ne basigala nga beesigwa eri Yakuwa, amannya gaabwe gajja kusigala mu kitabo ky’obulamu emirembe gyonna.—Soma Okubikkulirwa 7:16, 17.
8. Mannya ga baani agatawandiikiddwa mu kitabo eky’obulamu, era kiki ekijja okubatuukako?
8 Ekiti eky’okusatu kye ky’abantu abalinga embuzi, abajja okuzikirizibwa ku lutalo lwa Amagedoni. Amannya gaabwe tegawandiikiddwa mu kitabo eky’obulamu. Yesu yagamba nti “baligenda mu kufa okw’olubeerera.” (Mat. 25:46) Omutume Pawulo yaluŋŋamizibwa okuwandiika nti: “Abo balisalirwa omusango gw’okuzikirizibwa emirembe n’emirembe.” (2 Bas. 1:9; 2 Peet. 2:9) Ekyo bwe kityo bwe kiri n’eri abo bonna abazze bakola ebibi mu bugenderevu ne bavvoola omwoyo omutukuvu. Nabo tebajja kufuna bulamu butaggwaawo, wabula bajja kugenda mu kufa okw’olubeerera. Kya lwatu nti tebajja kuzuukira. (Mat. 12:32; Mak. 3:28, 29; Beb. 6:4-6) Kati ka tulabe ebiti bibiri eby’abantu abajja okuzuukizibwa ku nsi.
ABO ABANAAZUUKIZIBWA
9. Nga bwe kiragibwa mu Ebikolwa 24:15, bantu ki ab’ebiti ebibiri abajja okuzuukizibwa ku nsi, era njawulo ki eriwo wakati w’abantu abo?
9 Bayibuli eyogera ku bantu ba biti bibiri abajja okuzuukira nga balina essuubi ery’okubeera ku nsi emirembe gyonna, “abatuukirivu n’abatali batuukirivu.” (Soma Ebikolwa 24:15.) “Abatuukirivu” beebo abaliba baaweereza Yakuwa n’obwesigwa nga bakyali balamu. Ate “abatali batuukirivu” bo tebaaweereza Yakuwa. Mu butuufu, baakolanga ebintu ebitali bya butuukirivu. Okuva bwe kiri nti abantu abo ab’ebiti ebibiri bajja kuzuukizibwa, ekyo kitegeeza nti amannya gaabwe gawandiikiddwa mu kitabo eky’obulamu? Okusobola okuddamu ekibuuzo ekyo, ka tulabe buli kimu ku biti ebyo.
10. Lwaki “abatuukirivu” bajja kuzuukizibwa, era nkizo ki abamu ku bo gye banaafuna? (Ku bikwata ku kuzuukira okunaabaawo ku nsi, laba ‘n’Ebibuuzo Ebiva mu Basomi,’ mu magazini eno.)
10 Ekiti eky’okuna kye ky’abantu “abatuukirivu.” Bwe baali tebannafa, amanya gaabwe gaali gawandiikiddwa mu kitabo eky’obulamu. Bwe baafa amannya gaabwe gaggibwa mu kitabo ekyo? Nedda, kubanga eri Yakuwa bakyali “balamu.” Yakuwa “si Katonda wa bafu naye wa balamu, kubanga eri ye bonna balamu.” (Luk. 20:38) Ekyo kitegeeza nti abatuukirivu bwe banaazuukizibwa ku nsi, amannya gaabwe gajja kuba gakyali mu kitabo eky’obulamu, wadde nga mu kusooka gajja kuba ng’agaawandiikibwa mu kkalaamu enkalu. (Luk. 14:14) Kya lwatu nti abamu ku abo abanaazuukizibwa bajja kuba n’enkizo ey’okuweereza ‘ng’abaami mu nsi yonna.’—Zab. 45:16.
11. Kiki “abatali batuukirivu” kye bajja okwetaaga okukola, amannya gaabwe okusobola okuwandiikibwa mu kitabo eky’obulamu?
11 Kati ate lowooza ku kiti eky’okutaano eky’abo “abatali batuukirivu.” Oboolyawo olw’okuba baali tebamanyi mateeka ga Yakuwa, bwe baali bakyali balamu tebaakolanga bintu bya butuukirivu. N’olwekyo amannya gaabwe tegaawandiikibwa mu kitabo eky’obulamu. Naye Katonda bw’anaabazuukiza ajja kubawa akakisa ak’okuwandiikibwa mu kitabo eky’obulamu. “Abatali batuukirivu” bajja kwetaaga okuyambibwa ennyo. Abamu ku bo bwe baali tebannafa baakolanga ebintu ebibi ennyo. N’olwekyo bajja kwetaaga okuyigirizibwa engeri gye basobola okutambulira ku mitindo gya Yakuwa egy’obutuukirivu. Abantu abo okusobola okuyigirizibwa, Obwakabaka bwa Katonda bujja kussaawo enteekateeka ey’okuyigiriza etabangawo mu byafaayo by’abantu.
12. (a) Baani abanaayigiriza abatali batuukirivu? (b) Kiki ekinaatuuka ku abo abanaagaana okukolera ku ebyo bye banaayigirizibwa?
12 Baani abanaayigiriza abatali batuukirivu? Ab’ekibiina ekinene n’abatuukirivu abanaaba bazuukiziddwa be bajja okubayigiriza. Abatali batuukirivu okusobola okuwandiikibwa mu kitabo eky’obulamu, kijja kubeetaagisa okufuna enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa n’okwewaayo gy’ali. Nga Yesu Kristo n’abaafukibwako amafuta basinziira mu ggulu, bajja kuba beetegereza engeri abatali batuukirivu gye banaaba bakolera ku ebyo bye banaaba babayigiriza. (Kub. 20:4) Omuntu yenna anaagaana okukolera ku ebyo bye banaaba bamuyigirizza, ajja kuzikirizibwa ne bw’anaaba ng’aweza emyaka 100. (Is. 65:20) Yakuwa ne Yesu basobola okumanya ekyo ekiri ku mitima gy’abantu, era bajja kukakasa nti tewaba muntu n’omu ayonoona nsi mpya.—Is. 11:9; 60:18; 65:25; Yok. 2:25.
OKUZUUKIRIRA OBULAMU N’OKUZUUKIRIRA OMUSANGO
13-14. (a) Tubaddenga tutwala tutya ebigambo bya Yesu ebiri mu Yokaana 5:29? (b) Kiki kye tusaanidde okwetegereza ku bigambo Yesu bye yayogera?
13 Yesu era yayogera ku bantu abajja okuzuukira okubeera ku nsi. Ng’ekyokulabirako, yagamba nti: “Ekiseera kijja bonna abali mu ntaana lwe baliwulira eddoboozi lye ne bavaamu; abo abaakolanga ebintu ebirungi balizuukirira obulamu, n’abo abaakolanga ebintu ebibi balizuukirira omusango.” (Yok. 5:28, 29) Kiki Yesu kye yali ategeeza?
14 Tubaddenga tukitwala nti Yesu yali ayogera ku bikolwa abo abanaazuukira bye bajja okukola oluvannyuma lw’okuzuukizibwa, kwe kugamba, tubaddenga tugamba nti abamu bajja kuzuukira bakole ebintu ebirungi, ate nti abalala bajja kuzuukira bakole ebintu ebibi. Naye weetegereze nti Yesu teyagamba nti abo abanaaba baakazuukizibwa bajja kukola ebintu ebirungi, oba nti bajja kukola ebintu ebibi. Ebigambo bye biraga nti yali ayogera ku bintu ebinaaba byakolebwa mu biseera eby’emabega. Yayogera ku abo “abaakolanga ebintu ebirungi,” ne ku abo “abaakolanga ebintu ebibi.” Ekyo kiraga nti ebintu ebyo baabikola tebannafa. Mu butuufu ekyo kikola amakulu. Kubanga tewali muntu n’omu ajja kukkirizibwa kukola bintu bibi mu nsi mpya. Abatali batuukirivu ebintu ebibi bajja kuba baabikola tebannafa. Kati ebyo Yesu bye yayogera nti wajja kubaawo ‘abazuukirira obulamu n’abazuukirira omusango’ tusaanidde kubitwala tutya?
15. Baani ‘abajja okuzuukirira obulamu,’ era lwaki?
15 Abatuukirivu, abaakolanga ebintu ebirungi nga tebannafa, ‘bajja kuzuukirira obulamu’ olw’okuba amannya gaabwe gajja kuba gaawandiikibwa mu kitabo eky’obulamu. Ekyo kiraga nti okuzuukira kw’abo “abaakolanga ebintu ebirungi” okwogerwako mu Yokaana 5:29 kwe kumu n’okuzuukira ‘kw’abatuukirivu’ okwogerwako mu Ebikolwa 24:15. Ekyo kikwatagana n’ebigambo ebiri mu Abaruumi 6:7, awagamba nti: “Oyo afudde aba takyaliko musango gwa kibi.” Yakuwa ajja kuba yasonyiwa abatuukirivu abo ebibi byabwe bwe baafa, naye ajja kuba akyajjukira ebintu ebirungi bye baakola nga bakyali balamu. (Beb. 6:10) Kya lwatu nti amannya g’abatuukirivu abo okusobola okusigala mu kitabo ky’obulamu, kijja kubeetaagisa okusigala nga beesigwa.
16. ‘Okuzuukirira omusango’ kitegeeza ki?
16 Ate abo abaliba baakola ebintu ebibi nga tebannafa? Wadde nga bwe baafa ebibi byabwe byabasonyiyibwa, bajja kuba tebaweerezangako Yakuwa na bwesigwa. Amannya gaabwe gajja kuba tegali mu kitabo ky’obulamu. N’olwekyo okuzuukira kw’abo “abaakolanga ebintu ebibi” kwe kumu n’okuzuukira ‘okw’abatali batuukirivu’ okwogerwako mu Ebikolwa 24:15; bajja ‘kuzuukirira musango.’ * Ekyo kitegeeza nti Yesu ajja kuba abeekenneenya. (Luk. 22:30) Kijja kutwala ekiseera okusalawo obanga bagwanidde okuwandiikibwa mu kitabo eky’obulamu. Abatali batuukirivu abo bwe baneewala enneeyisa yaabwe ey’emabega, ne beewaayo eri Yakuwa, amannya gaabwe gajja kuwandiikibwa mu kitabo eky’obulamu.
17-18. Kiki abo bonna abanaazuukizibwa ku nsi kye bajja okwetaaga okukola, era “ebikolwa” ebyogerwako mu Okubikkulirwa 20:12, 13 bitegeeza ki?
17 Ka kibe nti abo abanaazuukizibwa banaaba batuukirivu oba si batuukirivu, kijja kubeetaagisa okugondera amateeka aganaaba mu mizingo emipya egijja okubikkulwa mu kiseera eky’emyaka 1,000. Ng’ayogera ku kwolesebwa kwe yafuna, omutume Yokaana yagamba nti: “Ne ndaba abafu, ab’ekitiibwa n’abatali ba kitiibwa, nga bayimiridde mu maaso g’entebe y’obwakabaka, emizingo ne gyanjuluzibwa. N’omuzingo omulala ne gwanjuluzibwa; gwe muzingo ogw’obulamu. Abafu ne balamulwa okusinziira ku ebyo ebyawandiikibwa mu mizingo ng’ebikolwa byabwe bwe byali.”—Kub. 20:12, 13.
18 ‘Bikolwa’ ki ebinaasinziirwako okulamula abo abanaazuukizibwa? Binaaba bikolwa bye baakola nga tebannafa? Nedda! Ebibi byabwe byonna bijja kuba byabaggibwako bwe baafa. N’olwekyo “ebikolwa byabwe” tebiyinza kuba nga bitegeeza ebyo bye baakola nga tebannafa. Biteekwa okuba nga bitegeeza ebyo bye bajja okukola oluvannyuma lw’okuyigirizibwa mu nsi empya. N’abaweereza ba Yakuwa abeesigwa gamba nga Nuuwa, Samwiri, Dawudi, ne Danyeri bajja kwetaaga okuyigirizibwa ebikwata ku Yesu Kristo n’okukkiririza mu ssaddaaka ye. Bwe kiba nti abo bajja kwetaaga okuyigirizibwa, ate olwo abo abatali batuukirivu!
19. Kiki ekinaatuuka ku abo abanaalaga nti tebasiimye nkizo enaaba ebaweereddwa?
19 Kiki ekinaatuuka ku abo abanaalaga nti tebasiimye nkizo enaaba ebaweereddwa? Okubikkulirwa 20:15 wagamba nti: “Buli eyasangibwa nga tawandiikiddwa mu kitabo eky’obulamu yasuulibwa mu nnyanja ey’omuliro.” Ekyo kiraga nti abantu abo bajja kuzikirizibwa. N’olwekyo kikulu nnyo okulaba nti amannya gaffe gawandiikibwa mu kitabo eky’obulamu n’okukakasa nti gasigalamu!
20. Mulimu ki ogujja okukolebwa mu kiseera eky’Obufuzi bw’Emyaka Olukumi? (Laba ekifaananyi ku ddiba.)
20 Mazima ddala wajja kubaawo ebintu bingi ebikolebwa mu kiseera ky’Obufuzi obw’Emyaka Olukumi! Wajja kubaawo enteekateeka y’okuyigiriza etabangawo ku nsi. Ate era mu kiseera ekyo enneeyisa y’abatuukirivu n’abatali batuukirivu ejja kuba yeekenneenyezebwa. (Is. 26:9; Bik. 17:31) Enteekateeka y’okuyigiriza okwo eneeba etya? Ekitundu ekiddako kijja kutuyamba okumanya ebikwata ku nteekateeka eyo n’okugisiima.
OLUYIMBA 147 Katonda Atusuubizza Obulamu Obutaggwaawo
^ Ekitundu kino kiraga enkyukakyuka ekoleddwa mu ngeri gye tubadde tutegeeramu ebigambo bya Yesu ebiri mu Yokaana 5:28, 29 ebikwata ku ‘kuzuukirira obulamu’ ne ku ‘kuzuukirira omusango.’ Tugenda kulaba okuzuukira okwo okw’emirundi ebiri kye kutegeeza, na baani abazingirwa mu kuzuukira okwo.
^ Ekitabo kino kyatandika okuwandiikibwa “ku ntandikwa y’ensi,” kwe kugamba, ensi y’abantu abasobola okulokolebwa okuva mu kibi. (Mat. 25:34; Kub. 17:8) Kirabika Abbeeri omutuukirivu ye yasooka okuwandiikibwa mu kitabo ekyo.
^ Emabegako tubaddenga tukitwala nti ekigambo “omusango” mu lunyiriri olwo kitegeeza okusalirwa ekibonerezo. Mu butuufu kiyinza okuba n’amakulu ago. Naye kirabika mu lunyiriri olwo ekigambo “omusango” kirina amakulu magazi, era nga kizingiramu okwetegereza omuntu okumala ekiseera okulaba obanga anaakyusaamu. Oba ng’ekitabo ekimu eky’Oluyonaani ekinnyonnyola amakulu g’ebigambo bwe kiraga, ekigambo ekyo kirina amakulu ag’okwekenneenya enneeyisa y’omuntu.