Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 38

Kirage nti Weesigika

Kirage nti Weesigika

“Omwesigwa akuuma ebyama.”​—NGE. 11:13.

OLUYIMBA 101 Okukolera Awamu nga Tuli Bumu

OMULAMWA *

1. Tuyinza tutya okumanya obanga omuntu yeesigika?

 OMUNTU eyeesigika aba afuba okutuukiriza ebyo by’asuubiza era ayogera amazima. (Zab. 15:4) Abantu baba bakimanyi nti basobola okumwesiga. Twagala bakkiriza bannaffe batutwale bwe batyo. Kiki ekiyinza okutuyamba okuba abantu abeesigika?

2. Kiki kye tulina okukola okusobola okuba abantu abeesigika?

2 Tetuyinza kuwaliriza balala kutwesiga. Abalala okusobola okutwesiga, tulina okukikolerera. Okuba omuntu eyeesigika kiyinza okugeraageranyizibwa ku ssente. Kyetaagisa okufuba ennyo okusobola okuzifuna, naye ate kyangu nnyo okuzifiirwa. Yakuwa akiraze nti yeesigika. Bulijjo tusobola okumwesiga kubanga “buli ky’akola kyesigika.” (Zab. 33:4) Naffe atusuubira okumukoppa. (Bef. 5:1) Tugenda kulabayo abamu ku baweereza be abaamukoppa ne bakiraga nti beesigika. Ate era tugenda kulaba engeri ttaano ezisobola okutuyamba okuba abantu abeesigika.

YIGIRA KU BAWEEREZA BA YAKUWA ABAALI BEESIGIKA

3-4. Nnabbi Danyeri yakiraga atya nti yali yeesigika, era ekyo kyandituleetedde kwebuuza ki?

3 Nnabbi Danyeri yassaawo ekyokulabirako ekirungi ennyo eky’okuba omuntu eyeesigika. Wadde nga yali atwaliddwa mu buwambe e Babulooni, yakiraga nti yali yeesigika. Abantu beeyongera okumwesiga, Yakuwa bwe yamuyamba okubuulira Nebukadduneeza kabaka wa Babulooni amakulu g’ebirooto bye yaloota. Lumu Danyeri yagamba kabaka oyo nti Yakuwa yali tasanyukira by’akola, era ng’obwo si bwe bubaka kabaka oyo bwe yali ayagala okuwulira. Ekyo kyali kyetaagisa obuvumu kubanga Nebukadduneeza yali amanyiddwa ng’omuntu ow’obusungu obungi! (Dan. 2:12; 4:20-22, 25) Nga wayise emyaka mingi, Danyeri yaddamu okukiraga nti yali yeesigika bwe yategeeza abalala amakulu g’ebigambo ebyawandiikibwa ku kisenge mu lubiri lw’e Babulooni. (Dan. 5:5, 25-29) Ate era oluvannyuma Daliyo Omumeedi n’abakungu be nabo baakiraba nti Danyeri “yalina omwoyo ogw’enjawulo.” Baagamba nti “yali mwesigwa, teyali mulagajjavu, era [nti] teyali mukumpanya.” (Dan. 6:3, 4) Mu butuufu, n’abafuzi abo abataali baweereza ba Yakuwa baakiraba nti Danyeri yali yeesigika!

4 Bwe tulowooza ku kyokulabirako Danyeri kye yassaawo, tusaanidde okwebuuza nti: ‘Abantu abatali baweereza ba Yakuwa bantwala batya? Mmanyiddwa ng’omuntu atuukiriza obuvunaanyizibwa bwe era abalala gwe bayinza okwesiga?’ Lwaki ebyokuddamu mu bibuuzo ebyo bikulu nnyo? Kubanga bwe tuba abantu abeesigika, kireetera Yakuwa ettendo.

Nekkemiya yakwasa abasajja abaali beesigika obuvunaanyizibwa obw’amaanyi (Laba akatundu 5)

5. Lwaki Kananiya yali amanyiddwa ng’omuntu eyeesigika?

5 Mu mwaka gwa 455 E.E.T., Gavana Nekkemiya bwe yamala okuddamu okuzimba bbugwe wa Yerusaalemi, yanoonya abasajja abaali beesigika abandibadde balabirira obulungi ekibuga ekyo. Mu abo Nekkemiya be yalonda mwe mwali omukulu w’Ekigo eyali ayitibwa Kananiya. Bayibuli egamba nti Kananiya “yali musajja mwesigwa era ng’atya Katonda ow’amazima okusinga abalala bangi.” (Nek. 7:2) Okwagala Kananiya kwe yalina eri Yakuwa n’okuba nti yali atya okumunyiiza bye byamuleetera okukola n’obunyiikivu omulimu gwonna gwe yaweebwanga. Engeri ezo naffe zijja kutuyamba okuba abantu abeesigika mu buweereza bwaffe eri Yakuwa.

6. Tukiko yakiraga atya nti yali mukwano gw’omutume Pawulo eyeesigika?

6 Lowooza ku Tukiko eyali akolera awamu n’omutume Pawulo, era Pawulo gwe yali atwala nti yeesigika. Pawulo bwe yali asibiddwa mu nnyumba, yassa obwesige bwe mu Tukiko, era yamwogerako nga “omuweereza omwesigwa.” (Bef. 6:21, 22) Olw’okuba Pawulo yali amwesiga, yamuwa amabaluwa okugatwalira ab’oluganda mu Efeso ne mu Kkolosaayi, era yali akimanyi nti yali ajja kubazzaamu amaanyi era ababudeebude. Tukiko atuleetera okulowooza ku b’oluganda abeesigwa abatufaako mu by’omwoyo leero.​—Bak. 4:7-9.

7. Abakadde n’abaweereza mu kibiina kyo obayigirako ki ku bikwata ku kuba omuntu eyeesigika?

7 Leero tusiima nnyo ab’oluganda abeesigika abaweereza ng’abakadde oba abaweereza. Okufaananako Danyeri, Kananiya, ne Tukiko, bafuba okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe. Ng’ekyokulabirako, bwe tubaawo mu nkuŋŋaana eza wakati mu wiiki, tuba bakakafu nti ebitundu byonna biriko abagenda okubikubiriza oba okubiwa. Era abakadde basiima nnyo, abo ababa baweereddwa ebitundu eby’okukolako mu lukuŋŋaana bwe babiteekateeka obulungi era ne babaawo okubiwa! Ate era tetulonzalonza kuyita bayizi baffe aba Bayibuli kubaawo mu nkuŋŋaana nga tutya nti wayinza obutabaawo anaawa mboozi. Era tetuba na kutya kwonna nti ebitabo bye tukozesa mu kubuulirira biyinza obutabaawo. Ab’oluganda abo abeesigwa batulabirira bulungi nnyo mu by’omwoyo, era twebaza Yakuwa olw’okubatuwa! Naye ffe tuyinza tutya okukiraga nti twesigika?

BEERA MUNTU EYEESIGIKA NG’OKUUMA EBYAMA

8. Wadde nga kikulu okufaayo ku balala, kiki kye tusaanidde okwegendereza? (Engero 11:13)

8 Olw’okuba twagala nnyo bakkiriza bannaffe, tufaayo nnyo okumanya ebibakwatako. Wadde kiri kityo, tetulina kweyingiza mu nsonga zaabwe ezitatukwatako. Abakristaayo abamu mu kyasa ekyasooka ‘baalina olugambo, baali beeyingiza mu nsonga z’abalala, era nga boogera ebintu bye batasaanidde kwogera.’ (1 Tim. 5:13) Tetwandyagadde kuba nga bo. Naye watya singa omuntu abaako ekintu ky’atugamba era n’atusaba nti tuleme kukibuulirako balala. Ng’ekyokulabirako, mwannyinaffe ayinza okutubuulira ku bulwadde bw’alina oba ku kizibu ekirala ky’ayolekagana nakyo era n’atusaba tuleme kubaako gwe tubuulira. Tusaanidde okukola ekyo ky’aba atusabye. * (Soma Engero 11:13.) Kati ka tulabeyo embeera endala mwe kitwetaagisiza okukuuma ebyama.

9. Ab’omu maka bayinza batya okukiraga nti beesigika?

9 Mu maka. Buli omu mu maka tasaanidde kulaalaasa bintu bikwata ku maka abalala bya batalina kumanya. Ng’ekyokulabirako, omukyala Omukristaayo ayinza okuba ng’alina ekintu ky’atera okukola ekisesa omwami kyokka ate nga kiswaza. Kya lwatu nti omwami we teyandibuulidde balala ku kintu ekyo, kubanga kireetera mukyala we okuswala. Ayagala nnyo mukyala we era teyandyagadde kukola kintu kyonna kimulumya. (Bef. 5:33) Abavubuka baagala okuyisibwa mu ngeri etabaweebuula. Ekyo abazadde basaanidde okukimanya. Tebasaanidde kuswaza baana baabwe nga babuulira abalala ensobi ze baba bakoze. (Bak. 3:21) Abaana basaanidde okuyiga obutamala gabuulira balala bintu ebikwata ku b’omu maka ebiyinza okubaswaza. (Ma. 5:16) Buli omu mu maka bw’atamala googera bintu ebifa mu maka abalala bye batalina kumanya, kyongera okunyweza enkolagana yaabwe.

10. Kiki ekizingirwa mu kuba ow’omukwano owa nnamaddala? (Engero 17:17)

10 Emikwano. Abasinga obungi ku ffe waliwo ekiseera lwe tuwulira nti twagala okubaako ow’omukwano gwe tubuulira ekituli ku mutima. Oluusi ekyo kiyinza obutaba kyangu. Tuyinza okuba nga tetwamanyiira kubaako gwe tubuulira kituli ku mutima. Era singa tubaako ow’omukwano gwe tubuulira ekituli ku mutima ate n’abaako abalala b’akibuulira, ekyo kituyisa bubi nnyo. Ku luuyi olulala, bwe tubuulirako mukwano gwaffe ebituli ku mutima era n’atabibuulirako balala, kitusanyusa nnyo! Mu butuufu, omuntu oyo aba ‘wa mukwano owa nnamaddala.’​—Soma Engero 17:17.

Abakadde tebabuulira ba mu maka gaabwe byama bya balala (Laba akatundu 11) *

11. (a) Abakadde ne bakyala baabwe bakiraga batya nti beesigika? (b) Kiki kye tuyigira ku ngeri omukadde omu gy’akwatamu ensonga z’ekibiina n’ez’ab’omu maka ge? (Laba ekifaananyi.)

11 Mu kibiina. Abakadde abakuuma ebyama ebikwata ku bakkiriza bannaabwe baba “ng’ekifo eky’okwekwekamu okuwona embuyaga, [era] ng’ekifo eky’okweggamamu.” (Is. 32:2) Tusobola okubuulira abakadde ekintu kyonna kye tuwulira nti twagala okubabuulira, kubanga tubeesiga nti tebajja kukibuulirako balala. Tetusaanidde kubapikiriza kutubuulira bintu bye balina okukuuma nga bya kyama. Ate era tusiima nnyo bakyala b’abakadde kubanga tebagezaako kusendasenda baami baabwe kubabuulira bintu bye batateekeddwa kubabuulira. Mu butuufu, kikulu nnyo omukadde obutabuulira mukyala we bintu ebikwata ku bakkiriza banne. Omukyala w’omukadde omu yagamba bw’ati: “Nsiima nnyo okuba nti omwami wange tambuulira bikwata ku bantu ababa beetaaga obuyambi bw’abakadde, era tambuulira na bantu abo. Ekyo kinnyamba obuteetikka bizibu bye sirina kye nnyinza kukolawo kubigonjoola. Era kinnyamba okukolagana obulungi na buli omu mu kibiina. Ate era omwami wange mmwesiga nti bwe mmubuulira ebiba bindi ku mutima oba ebizibu bye mba nnina, talina gw’ajja kubibuulirako.” Kya lwatu nti ffenna twandyagadde okumanyibwa ng’abantu abeesigika. Naye ngeri ki ezinaatuyamba okuba abantu abeesigika? Ka tulabeyo ttaano.

KULAAKULANYA ENGERI EZINAAKUSOBOZESA OKUBA OMUNTU EYEESIGIKA

12. Lwaki tuyinza okugamba nti okusingira ddala okwagala kwe kutuleetera okuba abantu abeesigika? Waayo ekyokulabirako.

12 Okusingira ddala okwagala kwe kutuleetera okuba abantu abeesigika. Yesu yagamba nti amateeka abiri agasinga obukulu kwe kwagala Yakuwa n’okwagala bantu bannaffe. (Mat. 22:37-39) Okwagala kwe tulina eri Yakuwa kutuleetera okumukoppa naffe ne tuba nga twesigika. Ng’ekyokulabirako, okwagala kwe tulina eri bakkiriza bannaffe kutuleetera obutabuulira balala bintu bibakwatako abalala bye batasaanidde kumanya. Tetusaanidde kubuulira balala bintu biyinza kuleetera bakkiriza bannaffe okuwulira obuswavu oba obulumi.​—Yok. 15:12.

13. Obwetoowaze butuyamba butya okuba abantu abeesigika?

13 Obwetoowaze nabwo butuyamba okuba abantu abeesigika. Omukristaayo omwetoowaze tasaanidde kuba nga y’ayagala okusooka okubuulira abalala ebintu ebikwata ku nsonga emu. (Baf. 2:3) Tagezaako kuleetera balala kulowooza nti waliwo ebintu eby’ekyama by’amanyi by’atayinza kubabuulira. Ate era obwetoowaze butuleetera okwewala okugenda nga tubuulira abalala endowooza gye tulina ku nsonga emu eteyogerwako mu Bayibuli oba mu bitabo byaffe.

14. Okutegeera kutuyamba kutya okuba abantu abeesigika?

14 Okutegeera kuyamba Omukristaayo okumanya “ekiseera eky’okusirika n’ekiseera eky’okwogera.” (Mub. 3:7) Waliwo enjogera egamba nti, “Okwogera kyuma kya ffeeza, ate okusirika kyuma kya zzaabu.” Ekyo kiraga nti ebiseera ebimu okusirika kusinga okwogera. Eyo ye nsonga lwaki Engero 11:12 wagamba nti: “Omuntu omutegeevu asirika.” Lowooza ku kyokulabirako kino. Ow’oluganda omu amaze ekiseera ekiwanvu ng’aweereza ng’omukadde atera okusabibwa okuyambako ebibiina ebiba byolekagana n’ebizibu. Ow’oluganda omulala naye aweereza ng’omukadde ayogera bw’ati ku w’oluganda oyo: “Bulijjo yeegendereza obutoogera byama ebikwata ku bibiina ebirala.” Ekyo kiviiriddeko ab’oluganda omukadde oyo b’aweereza nabo ku kakiiko k’abakadde okumwesiga. Tebaliimu kubuusabuusa kwonna nti bwe bamubuulira ebyama byabwe abikuuma.

15. Waayo ekyokulabirako ekiraga nti bwe tuba abeesimbu abalala batwesiga.

15 Obwesimbu nabwo butuyamba okuba abantu abeesigika. Omuntu omwesimbu tumwesiga olw’okuba tuba tukimanyi nti bulijjo ayogera mazima. (Bef. 4:25; Beb. 13:18) Ng’ekyokulabirako, ka tugambe nti oyagala kulongoosa mu ngeri gy’oyigirizaamu. Obaako omuntu gw’osaba okuwuliriza emboozi yo era n’omugamba abeeko amagezi g’akuwa ku ngeri gy’oyinza okulongoosaamu. Ani gw’oyinza okwesiga nti ajja kukubuulira ekituufu? Aba oyo akubuulira by’oyagala okuwulira, oba oyo akubuulira amazima? Kya lwatu nti y’oyo akubuulira amazima. Bayibuli egamba nti: “Okunenya mu lwatu kusinga okwagala okukisiddwa. Ow’omukwano omwesigwa akuwabula wadde nga kiyinza obutakusanyusa.” (Nge. 27:5, 6) Wadde nga mu kusooka tuyinza obutaagala kuwulira ebyo omuntu omwesimbu by’atugamba, ebyo by’atugamba bye bituganyula.

16. Engero 10:19 walaga watya obukulu bw’okwefuga?

16 Bwe tuba nga twagala abalala okutwesiga, kikulu nnyo okwefuga. Okwefuga kutuyamba okusirika singa twesanga mu mbeera eyinza okutuleetera okwogera ebyama. (Soma Engero 10:19.) Oluusi tekiba kyangu kwefuga nga tukozesa emikutu emigattabantu. Bwe tuteegendereza, tuyinza okwesanga nga tubuulidde abantu bangi ebintu bye batateekeddwa kumanya. Era bwe tubaako ebintu bye tusindika nga tukozesa ssimu oba kompyuta, tuba tetulina kye tuyinza kukolawo ku ngeri gye binaakozesebwamu, oba ku kabi ke biyinza okuleetawo. Ate era okwefuga kutuyamba okusirika ng’abatuyigganya bagezaako okutuleetera okwogera ebintu ebiyinza okussa baganda baffe mu buzibu. Ekyo kiyinza okubaawo ng’abapoliisi balina ebibuuzo bye batubuuza mu nsi omulimu gwaffe gye gwawerebwa oba gye gukugirwa. Mu mbeera ng’ezo awamu n’endala, kikulu okukolera ku musingi ogulaga nti kya magezi ‘okusiba emimwa gyaffe.’ (Zab. 39:1) Ka tube nga tukolagana na ba mu maka gaffe, mikwano gyaffe, bakkiriza bannaffe, oba abantu abalala, kikulu okuba abantu abeesigika. Era okusobola okuba abeesigika tulina okuba nga twefuga.

17. Kiki buli omu mu kibiina ky’asaanidde okukola okulaba nti ffenna twesigaŋŋana?

17 Twebaza nnyo Yakuwa olw’okutuleeta mu kibiina kye omuli bakkiriza bannaffe abalina okwagala era abeesigika! Ffenna tulina okufuba okulaba nti tuba bantu abeesigika. Era kinnoomu bwe tufuba okukulaakulanya okwagala, obwetoowaze, okutegeera, obwesimbu, n’okwefuga, kitusobozesa ffenna mu kibiina okuba nga twesigaŋŋana. Bulijjo tulina okweyongeranga okukola ebintu ebituyamba okuba abantu abeesigika. Ka bulijjo tufube okukoppa Yakuwa Katonda waffe nga tufuba okuba abantu abeesigika.

OLUYIMBA 123 Okugoberera Enteekateeka Katonda gy’Ataddewo

^ Bwe tuba nga twagala abalala okutwesiga, tulina okusooka okukiraga nti twesigika. Mu kitundu kino tugenda kulaba ensonga lwaki kikulu nnyo okuba abantu abeesigika, era n’engeri eziyinza okutuyamba okubeera abantu abeesigika.

^ Bwe tukimanyaako nti omuntu omu kibiina yakoze ekibi eky’amaanyi, tusaanidde okumukubiriza okutuukirira abakadde. Ekyo bw’atakikola, olw’okuba tuli beesigwa eri Yakuwa n’eri ekibiina kye, ffe tusaanidde okutegeeza abakadde ensonga eyo.

^ EBIFAANANYI: Omukadde tabuulirako ba mu maka ge ekintu eky’ekyama mwannyinaffe kye yabuulidde abakadde.