Ebibuuzo Ebiva mu Basomi
Baani abajja okuzuukizibwa ku nsi, era banaazuukizibwa mu biti ki?
Weetegereze engeri Bayibuli gy’eddamu ekibuuzo ekyo.
Ebikolwa 24:15 walaga nti wagenda kubaawo “okuzuukira kw’abatuukirivu n’abatali batuukirivu.” Abatuukirivu beebo abaali bagondera Katonda nga tebannafa, era amannya gaabwe gawandiikiddwa mu kitabo eky’obulamu. (Mal. 3:16) Abatali batuukirivu beebo abaafa nga tebafunye kakisa kamala kuyiga bikwata ku Yakuwa, era amannya gaabwe tegawandiikiddwa mu kitabo eky’obulamu.
Abantu aboogerwako mu Yokaana 5:28, 29 be bamu n’abo aboogerwako mu Ebikolwa 24:15. Yesu yagamba nti “abo abaakolanga ebintu ebirungi balizuukirira obulamu,” ate abo “abaakolanga ebintu ebibi balizuukirira omusango.” Abatuukirivu baakolanga ebintu ebirungi nga tebannafa. Bajja kuzuukirira obulamu olw’okuba amannya gaabwe gakyali mu kitabo eky’obulamu. Kyokka abatali batuukirivu baakolanga ebintu ebibi nga tebannafa. Bajja kuzuukirira omusango. Amannya gaabwe tegawandiikibwanga mu kitabo eky’obulamu, era wajja kusooka wayitewo ekiseera ng’enneeyisa yaabwe yeetegerezebwa. Mu kiseera ekyo bajja kufuna akakisa okuyiga ebikwata ku Yakuwa amannya gaabwe okusobola okuwandiikibwa mu kitabo eky’obulamu.
Okubikkulirwa 20:12, 13 walaga nti abo bonna abanaazuukizibwa kijja kubeetaagisa okugondera “ebyo ebyawandiikibwa mu mizingo,” kwe kugamba, amateeka amapya agajja okuweebwa abantu mu nsi empya. Abo abataagondere mateeka ago bajja kuzikirizibwa.—Is. 65:20.
Danyeri 12:2 walaga nti abamu ku bantu abaafa bajja kuzuukira bafune ‘obulamu obutaggwaawo, ate abalala bajja kuzuukirira okunenyezebwa n’okunyoomebwa emirembe gyonna.’ Olunyiriri olwo lulaga ekyo ekinaabaawo oluvannyuma lw’okuzuukira, kwe kugamba, abantu abamu bajja kufuna “obulamu obutaggwaawo” ate abalala bajja ‘kunyoomebwa emirembe gyonna,’ oba okuzikirizibwa. Ekyo kijja kubaawo ku nkomerero y’Obufuzi obw’Emyaka 1,000.—Kub. 20:15; 21:3, 4.
Lowooza ku kyokulabirako kino. Ebiti ebibiri eby’abantu abagenda okuzuukizibwa tuyinza okubigeraageranya ku bantu abaagala okugenda okubeera mu nsi endala. Abatuukirivu balinga abantu abafuna viza ebasobozesa okukolera mu nsi endala, oba okubeerayo. Era bwe baba ne viza eyo baba n’eddembe okukola ebintu ebitali bimu mu nsi eyo. Ate abatali batuukirivu bayinza okugeraageranyizibwa ku bantu abafuna viza ebakkiriza okubeera mu nsi endala akaseera obuseera oba okubeerayo ng’abagenyi. Abantu abo okusobola okukkirizibwa okweyongera okubeera mu nsi eyo balina okusooka okukyoleka mu nneeyisa yaabwe nti ddala bagwanira okubeerayo. Mu ngeri y’emu, abatali batuukirivu kijja okubeetaagisa okugondera amateeka ga Yakuwa n’okukiraga nti batuukirivu okusobola okusigala mu nsi empya. Abantu ab’ebiti ebibiri aboogeddwako mu kyokulabirako ka babe nga bafunye viza ki ebakkiriza okuyingira mu nsi endala, oluvannyuma abamu bayinza okuweebwa obutuuze ate abalala bayinza okuzzibwayo mu nsi gye baava. Okuweebwa obutuuze oba obutaweebwa butuuze kisinziira ku ngeri gye beeyisaamu nga bali mu nsi gye baba bagenzeemu. Bwe kityo bwe kijja okuba n’eri abantu abanaazuukizibwa. Okusigala mu nsi empya oba obutagisigalamu kijja kusinziira ku bwesigwa bwabwe n’enneeyisa yaabwe.
Yakuwa Katonda musaasizi era mwenkanya. (Ma. 32:4; Zab. 33:5) Ajja kwoleka okwagala kwe ng’azuukiza abatuukirivu n’abatali batuukirivu. Kyokka mu kiseera kye kimu ajja kunywerera ku mitindo gye egya waggulu egikwata ku mpisa. Abo bokka abanaakiraga nti bamwagala era abanaatambulira ku mitindo gye, be bajja okukkirizibwa okubeera mu nsi empya.