Ebibuuzo Ebiva mu Basomi
Kiki omutume Pawulo kye yali ategeeza bwe yagamba nti yali ‘mwana musowole’? (1 Abakkolinso 15:8)
Mu 1 Abakkolinso 15:8, Pawulo yagamba nti: “Oluvannyuma lwa bonna, nange n’andabikira ng’omwana omusowole.” Emabega tubaddenga tugamba nti kirabika Pawulo yali ayogera ku ebyo bye yayitamu, bwe yalaba Yesu mu kwolesebwa ng’ali mu kitiibwa eky’omu ggulu. Tubaddenga tukitwala nti, Pawulo yalinga aweereddwa enkizo ey’okuzaalibwa oba ey’okuzuukira ng’ekitonde eky’omwoyo ng’ekyabula ebyasa bingi okuzuukira okw’engeri eyo kutandike okubaawo. Kyokka bwe tweyongedde okwekenneenya olunyiriri olwo, tukirabye nti twetaaga okukyusa mu ngeri gye tubadde tulutegeeramu.
Kyo kituufu nti mu lunyiriri olwo Pawulo yali ayogera ku ekyo ekyaliwo ku lunaku lwe yafuuka Omukristaayo. Naye kiki kye yali ategeeza bwe yagamba nti yali ‘mwana musowole’? Waliwo ebintu ebitali bimu ebirowoozebwa okuba nti bye yali ategeeza.
Okufuuka Omukristaayo kyaliwo mbagirawo era mu ngeri ya ntiisa. Emirundi mingi omwana okuzaalibwa nga musowole oba nga tannatuuka, kigwawo bugwi nga tekisuubirwa. Sawulo, (oluvannyuma eyamanyibwa nga Pawulo) bwe yali agenda e Ddamasiko okuyigganya Abakristaayo abaaliyo, yali tasuubira kufuna kwolesebwa kwa Yesu eyazuukizibwa. Mu butuufu Pawulo okufuuka Omukristaayo kyamwewuunyisa nnyo, era kyewuunyisa n’Abakristaayo be yali agenda okutulugunya. Ate era ekyo ekyaliwo kyali kya ntiisa nnyo ne kiba nti yaziba n’amaaso okumala ennaku.—Bik. 9:1-9, 17-19.
Yafuuka Omukristaayo mu “kiseera ekikyamu.” Ekigambo ky’Oluyonaani ekyavvuunulwa nga “omwana omusowole” era kiyinza okuvvuunulwa nga “omwana azaaliddwa mu kiseera ekikyamu.” Enkyusa ya Jerusalem Bible evvuunula bw’eti ebigambo ebyo: “Nnalinga azaaliddwa nga tewali n’omu akisuubira.” Pawulo we yafuukira Omukristaayo, Yesu yali yaddayo dda mu ggulu. Okwawukana ku abo Pawulo be yayogerako mu nnyiriri ez’emabega, ye yali talabye ku Yesu nga tannaddayo mu ggulu oluvannyuma lw’okuzuukizibwa. (1 Kol. 15:4-8) Yesu okulabikira Pawulo nga tekisuubirwa kyasobozesa Pawulo okufuna akakisa okumulaba ng’amaze okuzuukizibwa wadde nga kiringa ekyaliwo mu “kiseera ekikyamu.”
Yali yeeyogerako ng’eyali tagwana ekyo ekyamukolerwa. Okusinziira ku banoonyereza abamu, ebigambo Pawulo bye yakozesa mu lunyiriri olwo byali bisobola okuba n’amakulu ag’okwenyooma. Bwe kiba nti ekyo Pawulo kye yalina mu birowoozo, yali akiraga nti yali tagwana nkizo eyo eyamuweebwa. Mu butuufu yagamba nti: “Nze nsembayo mu batume era sisaanira kuyitibwa mutume, kubanga nnayigganya ekibiina kya Katonda. Naye olw’ekisa kya Katonda eky’ensusso, ndi ekyo kye ndi.”—1 Kol. 15:9, 10.
N’olwekyo Pawulo bwe yagamba nti yali ng’omwana omusowole, ayinza okuba nti yali ayogera ku ngeri ey’embagirawo Yesu gye yamulabikiramu, ku ngeri gye yafuuka Omukristaayo mu ngeri etasuubirwa, oba ayinza okuba nga yali ategeeza nti yali tagwana kufuna kwolesebwa okwo okw’ekitalo. Ka kibe ki Pawulo kye yali ategeeza, yasiima nnyo okwolesebwa kwe yafuna. Okwolesebwa okwo kwamuyamba obutaba na kubuusabuusa kwonna nti Yesu yali yazuukizibwa. Tekyewuunyisa nti emirundi mingi yayogeranga ku kwolesebwa okwo bwe yabanga abuulira abalala ebikwata ku kuzuukira kwa Yesu.—Bik. 22:6-11; 26:13-18.