Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 37

OLUYIMBA 118 “Twongere Okukkiriza”

Ebbaluwa Etuyamba Okugumiikiriza n’Obwesigwa Okutuuka ku Nkomerero

Ebbaluwa Etuyamba Okugumiikiriza n’Obwesigwa Okutuuka ku Nkomerero

“Tunyweza obukakafu bwe twalina olubereberye okutuukira ddala ku nkomerero.”BEB. 3:14.

EKIGENDERERWA

Ebbaluwa Pawulo gye yawandiikira Abebbulaniya erimu amagezi agasobola okutuyamba okugumiikiriza n’obwesigwa okutuukira ddala ku nkomerero y’enteekateeka eno ey’ebintu.

1-2. (a) Embeera mu Buyudaaya yali etya omutume Pawulo we yawandiikira Abebbulaniya ebbaluwa? (b) Lwaki ebbaluwa eyo yajjira mu kiseera ekituufu?

 ABAKRISTAAYO Abebbulaniya abaali babeera mu Yerusaalemi ne mu Buyudaaya baafuna ebizibu eby’amaanyi mu myaka egyaddako oluvannyuma lwa Yesu okufa. Oluvannyuma lw’ekiseera kitono ng’ekibiina Ekikristaayo kitandikiddwawo, Abakristaayo baatandika okuyigganyizibwa ennyo. (Bik. 8:1) Ate oluvannyuma nga wayise emyaka nga 20, Abakristaayo baabonaabona nnyo olw’obwavu n’olw’enjala ey’amaanyi eyagwa mu kitundu ekyo. (Bik. 11:​27-30) Kyokka awo nga mu mwaka gwa 61 E.E., Abakristaayo baafuna emirembe emisaamusaamu naddala bw’olowooza ku ebyo ebyali bijja mu maaso. Mu kiseera ekyo baafuna ebbaluwa okuva eri omutume Pawulo, era ebbaluwa eyo yajjira mu kiseera ekituufu.

2 Ebbaluwa Pawulo gye yawandiikira Abebbulaniya yajjira mu kiseera ekituufu kubanga emirembe Abakristaayo abo gye baalina gyali tegigenda kumala kiseera kiwanvu. Mu bbaluwa eyo, Pawulo yawa Abakristaayo abo amagezi agandibayambye okugumiikiriza okubonaabona kwe baali banaatera okwolekagana nakwo. Okuzikirizibwa kw’enteekateeka y’Ekiyudaaya Yesu kwe yayogerako kwali kunaatera okutuuka. (Luk. 21:20) Kya lwatu nti Pawulo n’Abakristaayo abo abaali babeera mu Buyudaaya, baali tebamanyidde ddala kiseera kyennyini okuzikiriza okwo lwe kwandibaddewo. Wadde kiri kityo, Abakristaayo abo baali basobola okukozesa ekiseera ekyali kisigaddeyo okweteekateeka nga bakulaakulanya engeri gamba ng’okukkiriza n’obugumiikiriza.—Beb. 10:25; 12:​1, 2.

3. Lwaki Abakristaayo leero basaanidde okussaayo ennyo omwoyo ku ebyo ebiri mu bbaluwa y’Abebbulaniya?

3 Tunaatera okwolekagana n’okubonaabona okusingira ewala okwo Abakristaayo Abebbulaniya kwe baayolekagana nakwo. (Mat. 24:21; Kub. 16:​14, 16) N’olwekyo, ka tulabe agamu ku magezi Yakuwa ge yawa Abakristaayo abo naffe agasobola okutuyamba.

“KA TUFUBE OKUKULA”

4. Kusoomooza ki Abakristaayo Abayudaaya kwe baayolekagana nakwo? (Laba n’ekifaananyi.)

4 Abakristaayo Abayudaaya baali boolekagana n’okusoomooza okw’amaanyi. Edda Abayudaaya be baali abantu Yakuwa be yali alonze. Okumala emyaka mingi, Yerusaalemi kyali kifo kikulu nnyo. Bakabaka abaali bakiikirira Yakuwa baali bafuga nga basinziira mu kibuga ekyo, era mwe mwali ne yeekaalu abantu gye baagendanga okusinza Yakuwa. Abayudaaya bonna abeesigwa baagonderanga Amateeka ga Musa abakulembeze b’eddiini ge baabannyonnyolanga. Amateeka ago gaali gakwata ku bintu gamba ng’eby’okulya, okukomolebwa, n’engeri gye baalina okukolaganamu n’ab’amawanga. Kyokka oluvannyuma lw’okufa kwa Yesu, Yakuwa yali takyakkiriza ssaddaaka Abayudaaya ze baawangayo. Eyo yali nkyukakyuka ya maanyi eri Abakristaayo Abayudaaya abaali bamanyidde okukwata Amateeka ga Musa. (Beb. 10:​1, 4, 10) N’Abakristaayo abaali abakulu mu by’omwoyo gamba ng’omutume Peetero, baakisanga nga kizibu okutuukana n’enkyukakyuka eyo. (Bik. 10:​9-14; Bag. 2:​11-14) Olw’okuba Abakristaayo abo baali tebakyagoberera Mateeka ga Musa mu kusinza kwabwe, baayigganyizibwa nnyo abakulembeze b’eddiini y’Ekiyudaaya.

Abakristaayo baalina okunywerera ku mazima nga beewala endowooza enkyamu ez’abakulembeze b’eddiini y’Ekiyudaaya abaali babayigganya (Laba akatundu 4-5)


5. Lwaki Abakristaayo baalina okwegendereza?

5 Abakristaayo Abebbulaniya baali bawakanyizibwa ebibinja by’abantu bibiri. Ekibinja ekisooka kyali kya bakulembeze b’eddiini y’Ekiyudaaya abaali babatwala nga bakyewaggula. Ekibinja eky’okubiri kyali kya bamu ku Bakristaayo abaali bagamba nti abagoberezi ba Kristo baali balina okweyongera okukwata Amateeka ga Musa oboolyawo okusobola okwewala okuyigganyizibwa. (Bag. 6:12) Kiki ekyandiyambye Abakristaayo abeesigwa okunywerera ku mazima?

6. Kiki Pawulo kye yakubiriza bakkiriza banne okukola? (Abebbulaniya 5:14–6:1)

6 Mu bbaluwa gye yawandiikira Abebbulaniya, Pawulo yakubiriza bakkiriza banne okwesomesa Ekigambo kya Katonda n’okukifumiitirizaako. (Soma Abebbulaniya 5:14–6:1.) Pawulo yakozesa Ebyawandiikibwa eby’Olwebbulaniya okunnyonnyola bakkiriza banne ensonga lwaki engeri Abakristaayo gye baali basinzaamu yali esingira wala engeri Abayudaaya gye baali basinzaamu. a Pawulo yali akimanyi nti okweyongera okutegeera amazima kyandiyambye Abakristaayo abo okumanya endowooza ez’obulimba basobole okuzeewala.

7. Kusoomooza ki kwe twolekagana nakwo leero?

7 Ne leero abantu basaasaanya ebintu eby’obulimba ebikontana n’emitindo gya Yakuwa egy’obutuukirivu. Abantu abamu bavumirira Abajulirwa ba Yakuwa olw’okunywerera ku mitindo gya Bayibuli egikwata ku mpisa, era bagamba nti basosoze olw’okugoba mu kibiina aboonoonyi abateenenya. Endowooza y’abantu mu nsi n’engeri gye batunuuliramu ebintu buli lukya yeeyongera kukontana n’engeri Yakuwa gy’atunuuliramu ebintu. (Nge. 17:15) N’olwekyo, kikulu nnyo okutegeera endowooza ezo ez’obulimba n’okuzeewala, era n’obutakkiriza abo abatuziyiza okutuleetera okulekera awo okuweereza Yakuwa.—Beb. 13:9.

8. Tuyinza tutya okweyongera okukula mu by’omwoyo?

8 Naffe tusaanidde okufuba okukula mu by’omwoyo ng’omutume Pawulo bwe yakubiriza Abakristaayo Abebbulaniya. Ekyo kitegeeza nti tusaanidde okusoma Bayibuli n’obwegendereza tusobole okweyongera okumanya endowooza ya Yakuwa. Ekyo tulina okweyongera okukikola n’oluvannyuma lw’okwewaayo n’okubatizibwa. Ka tube nga tumaze bbanga ki mu mazima, ffenna tulina okwesomesa Ekigambo kya Katonda obutayosa. (Zab. 1:2) Okuba n’enteekateeka ennungi ey’okwesomesa kijja kutuyamba okweyongera okukulaakulanya okukkiriza, engeri omutume Pawulo gye yayogerako ennyo mu bbaluwa gye yawandiikira Abebbulaniya.—Beb. 11:​1, 6.

‘BEERA N’OKUKKIRIZA OKUSOBOLA OKUWONYAAWO OBULAMU’

9. Lwaki Abakristaayo Abebbulaniya baali beetaaga okuba n’okukkiriza okw’amaanyi?

9 Abakristaayo Abebbulaniya baali beetaaga okuba n’okukkiriza okw’amaanyi okusobola okuwonawo ng’ekibonyoobonyo ekinene kitandise mu Buyudaaya. (Beb. 10:​37-39) Yesu yali yagamba abagoberezi be nti bwe bandirabye nga Yerusaalemi kyetooloddwa amagye bandibadde balina okuddukira mu nsozi. Okubuulirira okwo kwali kukwata ku Bakristaayo bonna ka babe abo abaali babeera mu kibuga ekyo, oba abaali babeera mu byalo bya Buyudaaya. (Luk. 21:​20-24) Mu kiseera ekyo, amagye bwe gaalumbanga ekitundu, abantu baddukiranga mu kibuga nga Yerusaalemi ekyabanga kyetooloddwa bbugwe. Okuddukira mu nsozi kyalabika ng’ekitaali kya magezi era kyali kyetaagisa okukkiriza okw’amaanyi okukolera ku bulagirizi obwo.

10. Okukkiriza okw’amaanyi kwandiyambye kutya Abakristaayo? (Abebbulaniya 13:17)

10 Abakristaayo Abebbulaniya era baalina okwesiga abo Yesu be yali akozesa okuwa ekibiina obulagirizi. Abo abaali batwala obukulembeze bayinza okuba nga balina obulagirizi bwe baawa kisobozese bonna mu kibiina okukolera ku bulagirizi bwa Yesu mu kiseera ekituufu era mu ngeri entegeke obulungi. (Soma Abebbulaniya 13:17.) Ekigambo ky’Oluyonaani ekivvuunulwa “muwulirenga” mu Abebbulaniya 13:​17, kitegeeza nti omuntu agondera obulagirizi olw’okuba aba yeesiga oyo abumuwa. Ekyo kisingawo ku kumugondera obugondezi olw’okuba alina obuyinza okumuwa obulagirizi. N’olwekyo, Abakristaayo abo baalina okuyiga okwesiga abo abaali batwala obukulembeze ng’ekibonyoobonyo ekinene tekinnatandika. Bwe bandigondedde abo abaali batwala obukulembeze mu kiseera eky’emirembe, kyandibabeeredde kyangu okubagondera mu kiseera eky’akazigizigi.

11. Lwaki Abakristaayo leero basaanidde okuba n’okukkiriza okw’amaanyi?

11 Okufaananako Abakristaayo Abebbulaniya, leero naffe twetaaga okuba n’okukkiriza okw’amaanyi. Mu kiseera kye tulimu, abantu abasinga obungi tebakkiriza nti enkomerero eneetera okujja, era batusekerera olw’okuba ffe tukkiriza nti eneetera okujja. (2 Peet. 3:​3, 4) Ate era wadde nga Bayibuli eyogera ku bintu bingi ebinaabaawo mu kiseera ky’ekibonyoobonyo ekinene, waliwo ebintu bingi mu kiseera kino bye tutamanyi. Tulina okuba n’okukkiriza okw’amaanyi okusobola okukikkiriza nti enkomerero eneetera okutuuka era nti Yakuwa ajja kutulabirira.—Kab. 2:3.

12. Kiki ekinaatuyamba okuwonawo mu kibonyoobonyo ekinene?

12 Ate era tusaanidde okwesiga “omuddu omwesigwa era ow’amagezi,” omukutu leero Yakuwa gw’akozesa okutuwa obulagirizi. (Mat. 24:45) Ekibonyoobonyo ekinene bwe kinaatandika, tuyinza okuweebwa obulagirizi obunaawonyaawo obulamu bwaffe ng’Abakristaayo Abebbulaniya bwe bayinza okuba nga baafuna ng’Abaruumi balumbye Yerusaalemi. Kino kye kiseera okweyongera okwesiga obulagirizi bwe tufuna okuva eri abo abatwala obukulembeze mu kibiina. Tekijja kutubeerera kyangu kugoberera bulagirizi bwabwe bwe tuba nga tuzibuwalirwa okubugoberera mu kiseera kino.

13. Lwaki okubuulirira okuli mu Abebbulaniya 13:5 kwali kutuukirawo?

13 Abakristaayo Abebbulaniya bwe baali balindirira akabonero kwe bandirabidde nti ekiseera kyali kituuse badduke, baali balina okwewala ‘okwagala ssente’ era baalina okwemalira ku kuweereza Yakuwa. (Soma Abebbulaniya 13:5.) Abamu baali bayise mu kubonaabona olw’enjala n’obwavu. (Beb. 10:​32-34) Wadde ng’edda baali beetegefu okubonaabona olw’amawulire amalungi, abamu bayinza okuba nga baali batandise okumalira ebirowoozo byabwe ku kunoonya ssente nga balowooza nti zandibayambye obutabonaabona nga wazzeewo enjala n’obwavu. Naye ssente tezandiwonyezzaawo bulamu bwabwe nga Yerusaalemi kizikirizibwa. (Yak. 5:3) Mu butuufu, abo abaali baagala ssente kyandibabeeredde kizibu okudduka ne baleka amaka gaabwe n’ebintu byabwe.

14. Okukkiriza okw’amaanyi kunaatuyamba kutya okusalawo obulungi bwe kituuka ku by’obugagga?

14 Bwe tuba nga tukkiriza nti Yakuwa anaatera okuzikiriza ensi ya Sitaani eno embi, tetujja kulowooza nti okuba ne ssente kye kintu ekisinga obukulu. Mu kiseera ky’ekibonyoobonyo ekinene, ssente tezijja kuba na mugaso gwonna. Bayibuli eraga nti abantu “bajja kusuula ffeeza waabwe mu nguudo” kubanga bajja kukiraba nti “ffeeza waabwe ne zzaabu tebijja kusobola kubawonya ku lunaku olw’obusungu bwa Yakuwa.” (Ezk. 7:19) Mu kifo ky’okwemalira ku kunoonya ssente, tusaanidde okusalawo mu ngeri eneetusobozesa okwerabirira n’okulabirira ab’omu maka gaffe nga bwe tuweereza Yakuwa. Ekyo kizingiramu okwewala okufuna amabanja agateetaagisa oba okumala ebiseera bingi nga tulabirira eby’obugagga byaffe. Ate era kizingiramu okwewala okwagala ennyo ebintu bye tulina. (Mat. 6:​19, 24) Ng’enkomerero egenda esembera, tusaanidde okusalawo obanga tuneesiga Yakuwa oba eby’obugagga.

“MWETAAGA OKUGUMIIKIRIZA”

15. Lwaki Abakristaayo Abebbulaniya baali beetaaga nnyo okuba abagumiikiriza?

15 Abakristaayo Abebbulaniya baalina okugumira ebintu ebyagezesa okukkiriza kwabwe ng’embeera mu Buyudaaya egenda yeeyongera okwonooneka. (Beb. 10:36) Wadde ng’abamu ku bo baali baagumira okuyigganyizibwa okw’amaanyi, bangi baali baafuuka Abakristaayo mu kiseera we waabeererawo emirembe emisaamusaamu. Pawulo yabajjukiza nti baalina okweteekerateekera okuyigganyizibwa n’okuba abeetegefu okusigala nga beesigwa okutuukira ddala okufa nga Yesu bwe yakola. (Beb. 12:4) Kyokka Obukristaayo bwe bwagenda busaasaana, Abayudaaya abaali batayagala Bakristaayo beeyongera okusunguwala n’okubakolako ebikolwa eby’obukambwe. Ng’ekyokulabirako, emyaka mitono emabega, Pawulo bwe yalabikako mu Yerusaalemi kyaviiirako Abayudaaya okwegugunga. Abayudaaya abasukka mu 40 “beerayirira nga bagamba nti bakolimirwe singa balya oba banywa nga tebannatta Pawulo.” (Bik. 22:22; 23:​12-14) Wadde ng’embeera yali bw’etyo, Abakristaayo abo baalina okukuŋŋaananga awamu okusinza, okubuulira amawulire amalungi, n’okweyongera okunyweza okukkiriza kwabwe.

16. Ebyo ebiri mu bbaluwa y’Abebbulaniya biyinza bitya okutuyamba okuba n’endowooza ennungi ku kuyigganyizibwa? (Abebbulaniya 12:7)

16 Kiki ekyandiyambye Abakristaayo abo okugumira okuyigganyizibwa? Pawulo yabayamba okulaba emiganyulo egyandivudde mu kugumira ebigezo bye baali boolekagana nabyo. Yabannyonnyola nti Katonda ayinza okuleka abaweereza be okuyita mu kugezesebwa basobole okutendekebwa. (Soma Abebbulaniya 12:7.) Okutendekebwa okwo kusobola okuyamba omuntu okweyongera okukulaakulanya engeri z’Ekikristaayo. Abakristaayo abo bwe bandirowoozezza ku ebyo ebyandivudde mu bigezo bye baali boolekagana nabyo, kyandibabeeredde kyangu okugumira ebigezo ebyo.—Beb. 12:11.

17. Kiki Pawulo kye yayamba Abakristaayo okutegeera bwe kituuka ku kuyigganyizibwa?

17 Pawulo yakubiriza Abakristaayo Abebbulaniya okuba abavumu n’obutaggwaamu maanyi nga boolekagana n’ebigezo. Yali asobola okubawa amagezi amalungi agakwata ku kugumira okuyigganyizibwa. Olw’okuba edda yali yayigganyanga Abakristaayo yali amanyi bulungi engeri embi gye baali bagenda okuyisibwamu. Ate era olw’okuba Pawulo yayigganyizibwa mu ngeri nnyingi oluvannyuma lw’okufuuka Omukristaayo, yali amanyi kye kitegeeza okugumira okuyigganyizibwa. (2 Kol. 11:​23-25) N’olwekyo, yali amanyi ekyetaagisa okusobola okugumiikiriza. Yajjukiza Abakristaayo abo nti bwe bandibadde boolekagana n’ebigezo bandibadde balina okwesiga Yakuwa so si kwesiga busobozi bwabwe. Pawulo yali asobola okugamba nti: “Yakuwa ye muyambi wange; Siityenga.”—Beb. 13:6.

18. Kiki kye tusaanidde okumanya ekinaabaawo mu biseera eby’omu maaso ekinaatuyamba okugumira okuyigganyizibwa?

18 Mu kiseera kino abamu ku bakkiriza bannaffe bayigganyizibwa. Tusobola okubayamba nga tubasabira, oba okubaako bye tubakolera. (Beb. 10:33) Kyokka Bayibuli ekyoleka bulungi nti, “abo bonna abaagala okutambulira mu bulamu obw’okwemalira ku Katonda ng’abagoberezi ba Kristo Yesu, bajja kuyigganyizibwanga.” (2 Tim. 3:12) N’olwekyo, ffenna twetaaga okweteekerateekera ebijja mu maaso. Ka tweyongere okwesigira ddala Yakuwa nga tuli bakakafu nti ajja kutuyamba okugumira ekigezo kyonna kye tuyinza okufuna. Mu kiseera kye ekituufu ajja kuggyawo ebintu byonna ebiviirako abaweereza be okubonaabona.—2 Bas. 1:​7, 8.

19. Biki ebinaatuyamba okweteekerateekera ekibonyoobonyo ekinene? (Laba n’ekifaananyi.)

19 Tewali kubuusabuusa nti ebbaluwa Pawulo gye yawandiikira Abebbulaniya yayamba Abakristaayo abaaliwo mu kyasa ekyasooka okweteekerateekera okubonaabona kwe baali bagenda okuyitamu. Pawulo yakubiriza bakkiriza banne okweyongera okusoma Ebyawandiikibwa n’okubitegeera. Ekyo kyandibayambye okumanya enjigiriza ezandibadde zinafuya okukkiriza kwabwe era ne bazeewala. Yabakubiriza okweyongera okunyweza okukkiriza kwabwe basobole okukolera mu bwangu ku bulagirizi bwa Yesu, ne ku bw’abo abaali batwala obukulembeze mu kibiina. Ate era yayamba bakkiriza banne okweyongera okukulaakulanya obugumiikiriza nga batunuulira ebigezo ng’ebyali bibawa akakisa okutendekebwa Kitaabwe abaagala. Naffe ka tufube okukolera ku kubuulirira okwo okwaluŋŋamizibwa. Ekyo kijja kutuyamba okugumiikiriza n’obwesigwa okutuukira ddala ku nkomerero.—Beb. 3:14.

Abakristaayo abeesigwa baaweebwa emikisa olw’okugumiikiriza. Oluvannyuma lw’okudduka mu Buyudaaya beeyongera okukuŋŋaananga awamu. Kiki kye tubayigirako? (Laba akatundu 19)

OLUYIMBA 126 Tunula, Beeranga wa Maanyi

a Mu ssuula esooka yokka, Pawulo ajuliza mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya emirundi musanvu okulaga nti engeri Abakristaayo gye basinzaamu esingira wala engeri Abayudaaya gye baali basinzaamu.—Beb. 1:​5-13.