Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 39

OLUYIMBA 125 “Balina Essanyu Abo Abasaasira Abalala!”

Funa Essanyu Erisingawo Eriva mu Kugaba

Funa Essanyu Erisingawo Eriva mu Kugaba

“Okugaba kulimu essanyu okusinga okuweebwa.”BIK. 20:35.

EKIGENDERERWA

Laba engeri gye tuyinza okugabiramu abalala era n’ensonga lwaki ekyo kituleetera essanyu.

1-2. Okuba nti Katonda yatutonda nga tufuna essanyu lingi mu kugaba okusinga lye tufuna mu kuweebwa, kituganyula kitya?

 YAKUWA yatutonda nga tufuna essanyu lingi bwe tubaako kye tugabira abalala okusinga lye tufuna nga tuliko kye tuweereddwa. (Bik. 20:35) Ekyo kitegeeza nti tetufuna ssanyu nga tuliko kye tuweereddwa? Nedda. Ffenna tusanyuka nnyo ng’omuntu aliko ky’atuwadde. Naye bwe tugabira abalala tufuna essanyu erisingawo. Mu butuufu, kirungi okuba nti Yakuwa yatutonda bw’atyo. Lwaki?

2 Olw’okuba Yakuwa yatutonda bw’atyo, tusobola okwongera ku ssanyu lye tulina. Tusobola okwongera ku ssanyu lye tulina bwe tulowooza ku ngeri gye tuyinza okugabiramu abalala era ne tubagabira. Mu butuufu, tuganyulwa nnyo okuba nti Yakuwa yatutonda bw’atyo.—Zab. 139:14.

3. Lwaki Yakuwa ayogerwako nga “Katonda omusanyufu”?

3 Ebyawandiikibwa biraga nti okugaba kulimu essanyu lingi. N’olwekyo tekyewuunyisa nti Bayibuli egamba nti Yakuwa ‘Katonda musanyufu.’ (1 Tim. 1:11) Ye yasookera ddala okugaba era y’asingayo okuba omugabi. Ng’omutume Pawulo bwe yagamba, ku bubwe “tuli balamu, tutambula, era weetuli.” (Bik. 17:28) Mu butuufu, “buli kirabo ekirungi na buli kitone ekituukiridde” kiva eri Yakuwa.—Yak. 1:17.

4. Kiki ekijja okutuyamba okufuna essanyu erisingawo?

4 Ffenna twagala okufuna essanyu erisingawo eriva mu kugaba. Tusobola okulifuna nga tukoppa Yakuwa omugabi. (Bef. 5:1) Nga twekenneenya engeri gye tuyinza okukoppamu Yakuwa, ka tulabe kye tusobola okukola singa tuwulira nti abalala tebasiima bye tubawa. Ekyo kijja kutuyamba okusigala nga tuli basanyufu era n’okwongera ku ssanyu lye tufuna mu kugaba.

BEERA MUGABI NGA YAKUWA

5. Bintu ki Yakuwa by’atuwa?

5 Ebimu ku bintu Yakuwa by’atuwa bye biruwa? Ka tulabeyo ebimu ku byo. Yakuwa atuwa ebintu bye twetaaga mu bulamu. Tuyinza obutaba na bintu byonna bye twagala, naye bulijjo Yakuwa akakasa nti tulina byonna bye twetaaga. Ng’ekyokulabirako, akakasa nti tufuna emmere, eby’okwambala, n’aw’okusula. (Zab. 4:8; Mat. 6:​31-33; 1 Tim. 6:​6-8) Yakuwa atuwa ebintu ebyo olw’okuba ateekeddwa okubituwa? Nedda! Kati olwo lwaki abituwa?

6. Kiki kye tuyiga mu Matayo 6:​25, 26?

6 Yakuwa atuwa ebintu bye twetaaga olw’okuba atwagala. Lowooza ku bigambo bya Yesu ebiri mu Matayo 6:​25, 26. (Soma.) Mu nnyiriri ezo Yesu yakozesa ekyokulabirako ky’ebitonde. Bwe yali ayogera ku binyonyi, yagamba nti: “Tebisiga, tebikungula, era tebitereka mu materekero.” Naye weetegereze ebigambo bino by’addako okwogera: “Kitammwe ali mu ggulu abiriisa.” Oluvannyuma Yesu abuuza nti: “Mmwe temuli ba muwendo nnyo okubisinga?” Kiki kye yali ayagala okutuyigiriza? Yakuwa abaweereza be abatwala nga ba muwendo nnyo okusinga ebinyonyi n’ebisolo. Bwe kiba nti Yakuwa alabirira ebinyonyi, tuli bakakafu nti naffe ajja kutulabirira! Okufaananako taata alabirira ab’omu maka ge, Yakuwa alabirira abaweereza be olw’okuba abaagala.—Zab. 145:16; Mat. 6:32.

7. Engeri emu gye tuyinza okuba abagabi nga Yakuwa y’eruwa? (Laba n’ekifaananyi.)

7 Okufaananako Yakuwa, naffe tusobola okugabira abalala bye beetaaga olw’okuba tubaagala. Ng’ekyokulabirako, olinayo mukkiriza munno gw’omanyi eyeetaaga emmere oba eby’okwambala? Yakuwa asobola okukukozesa okukola ku byetaago bya mukkiriza munno oyo. Abaweereza ba Yakuwa bamanyiddwa nnyo nti bayamba abalala nga waguddewo akatyabaga. Ng’ekyokulabirako, mu kiseera ky’ekirwadde kya COVID-19 abaweereza ba Yakuwa baagabiranga bannaabwe abaabanga mu bwetaavu emmere, engoye, n’ebintu ebirala bye baabanga beetaaga. Ate era bangi baawaayo ssente okuwagira omulimu gw’ensi yonna. Ekyo kyayamba ekibiina kya Yakuwa okudduukirira ab’oluganda mu nsi yonna abaali mu bwetaavu. Ab’oluganda abo abagabi baakolera ku bigambo bino ebiri mu Abebbulaniya 13:16: “Temwerabiranga kukola birungi n’okugabana n’abalala bye mulina, kubanga ssaddaaka ng’ezo zisanyusa Katonda.”

Ffenna tusobola okuba abagabi nga Yakuwa (Laba akatundu 7)


8. Tuganyulwa tutya mu maanyi Yakuwa g’atuwa? (Abafiripi 2:13)

8 Yakuwa agaba amaanyi. Yakuwa alina amaanyi agataliiko kkomo, era asanyuka nnyo okugagabirako abaweereza be abeesigwa. (Soma Abafiripi 2:13.) Oyinza okuba nga wali osabyeko Yakuwa akuwe amaanyi osobole okwewala okukola ekibi ng’okemeddwa oba osobole okugumira ekizibu eky’amaanyi. Oba oyinza okuba nga wamusaba akuwe amaanyi osobole okukola ebintu bye walina okukola mu lunaku. Essaala yo bw’eba nga yaddibwamu, oyinza okuba nga wakkiriziganya n’ekyo omutume Pawulo kye yayogera. Yagamba nti: “Nnyinza byonna olw’oyo ampa amaanyi.”—Baf. 4:13.

9. Tuyinza tutya okukoppa engeri Yakuwa gy’akozesaamu amaanyi ge? (Laba n’ekifaananyi.)

9 Wadde nga tetutuukiridde, tusobola okukoppa engeri Yakuwa gy’akozesaamu amaanyi ge. Kyo kituufu nti tetusobola kuwa balala maanyi butereevu. Naye tusobola okukozesa amaanyi gaffe okubayamba. Ng’ekyokulabirako, bakkiriza bannaffe abakaddiye oba abaliko obulemu tusobola okubayambako okubagulira ebintu bye beetaaga oba okubakolerako emirimu gy’awaka. Embeera bw’eba ng’etusobozesa, tusobola okuyambako mu kulongoosa n’okuddaabiriza Ekizimbe ky’Obwakabaka. Bwe tukozesa amaanyi gaffe mu ngeri eyo, kiganyula abalala abasinza Yakuwa.

Tusobola okukozesa amaanyi gaffe okuyamba abalala (Laba akatundu 9)


10. Tuyinza tutya okukozesa amaanyi g’ebigambo okuganyula abalala?

10 Ate era kikulu okukijjukira nti ebigambo birina amaanyi. Olinayo omuntu gw’omanyi ajja okuganyulwa ennyo bw’onoomugamba ebigambo ebiraga nti osiima by’akola? Olinayo gw’omanyi eyeetaaga okubudaabudibwa? Bwe kiba kityo, baako ky’okolawo okuyamba abantu ng’abo. Oyinza okubakyalira, okubakubira essimu, okubawandiikira akabaluwa, oba okubaweereza mesegi. Tosaanidde kweraliikirira ebyo by’onooyogera. Ebigambo ebitonotono by’onooyogera okuva ku mutima, biyinza okuba nga by’ebyo mukkiriza munno bye yeetaaga okusobola okusigala nga mwesigwa oba okusobola okufuna obuweerero.—Nge. 12:25; Bef. 4:29.

11. Yakuwa akozesa atya amagezi ge?

11 Yakuwa agaba amagezi. Omuyigirizwa Yakobo yagamba nti: “Bwe wabaawo omuntu yenna mu mmwe eyeetaaga amagezi, asabenga Katonda, kubanga agabira bonna nga talina gw’akambuwalira.” (Yak. 1:5; obugambo obuli wansi.) Ng’ekyawandiikibwa ekyo bwe kiraga, Yakuwa amagezi ge tageesigaliza yekka. Agagabirako abalala. Ate era weetegereze nti Yakuwa bw’agabira abalala amagezi, “talina gw’akambuwalira,” oba “gw’anoonyaamu nsobi.” Tayagala tuwulire bubi nga tumusaba amagezi oba obulagirizi. Mu butuufu, atukubiriza okumusaba amagezi.—Nge. 2:​1-6.

12. Kakisa ki ke tufuna okuyigiriza abalala bye tumanyi?

12 Ate kiri kitya gye tuli? Tusobola okukoppa Yakuwa nga tugabirako abalala amagezi ge tulina. (Zab. 32:8) Abaweereza ba Yakuwa emirundi mingi bafuna akakisa okubuulirako abalala ebyo bye baba bayize. Ng’ekyokulabirako, tutera okutendeka ababuulizi abapya. Abakadde bayamba abaweereza n’ab’oluganda abalala ababatize okumanya engeri y’okutuukirizaamu obuvunaanyizibwa bwabwe mu kibiina. Ate ab’oluganda ne bannyinaffe abalina obumanyirivu mu kuzimba n’okuddaabiriza ebizimbe, batendeka bakkiriza bannaabwe abatalina bumanyirivu okukola ku bizimbe ebikozesebwa ekibiina kya Yakuwa.

13. Bwe tuba tutendeka abalala, tuyinza tutya okukoppa engeri Yakuwa gy’agabiramu abalala amagezi?

13 Abo ababa batendeka abalala basaanidde okukoppa engeri Yakuwa gy’agabiramu abalala amagezi. Kijjukire nti Yakuwa bw’aba agabira abalala amagezi, agabagabira mu bungi. Naffe abo be tuba tutendeka, tusaanidde okubayigiriza byonna bye tuba tumanyi. Tetusaanidde kubaako bye twesigaliza nga tutya nti oluvannyuma bayinza okudda mu kifo kyaffe. Ate era tetusaanidde kuba na ndowooza egamba nti, ‘Nze tewali yantendeka! Naye k’ayige ku lulwe.’ Abantu ba Yakuwa tebalina kuba na ndowooza ng’eyo. Mu kifo ky’ekyo, abo be tutendeka twagala nnyo okubabuulira byonna bye tumanyi era n’okukola kyonna kye tusobola okubatendeka. (1 Bas. 2:8) Tuba tusuubira nti nabo bajja kuba ‘basobola okuba n’ebisaanyizo eby’okuyigiriza abalala.’ (2 Tim. 2:​1, 2) Bwe tuba abeetegefu okugabira abalala amagezi ge tulina, ffe awamu nabo tweyongera okufuna essanyu n’amagezi.

ABALALA BWE BALABIKA NG’ABATASIIMA BYE TUBAWA

14. Abantu abasinga obungi bakola ki nga tuliko kye tubawadde?

14 Bwe tugabira abalala nnaddala bakkiriza bannaffe, emirundi mingi bakyoleka nti basiimye. Bayinza okutuwandiikira akabaluwa akalimu ebigambo ebiraga nti basiimye oba bayinza okutusiima mu ngeri endala. (Bak. 3:15) Bwe tusiimibwa mu ngeri eyo, tweyongera okufuna essanyu.

15. Kiki kye tusaanidde okujjukira abalala bwe batalaga nti basiimye kye tubawadde?

15 Kyokka ekituufu kiri nti abamu bayinza obutalaga nti basiimye bye tubawadde. Emirundi egimu tuyinza okuwaayo ebiseera byaffe, amaanyi gaffe, oba ebintu byaffe okuyamba omuntu, naye n’alabika ng’atasiimye. Ekyo bwe kibaawo, tuyinza tutya okwewala okuggweebwako essanyu lyaffe oba okunyiiga? Tusaanidde okujjukira ebigambo ebiri mu Ebikolwa 20:​35, ekyawandiikibwa ekyesigamiziddwako ekitundu kino. Essanyu lye tufuna mu kugaba terisinziira ku ngeri oyo gwe tuba tugabidde gy’atwalamu ekyo kye tuba tumuwadde. Tusobola okusalawo okufuna essanyu mu kugaba abalala ne bwe balabika ng’abatasiima bye tubawa. Mu ngeri ki? Ka tulabe.

16. Kiki kye tusaanidde okulowoozaako nga tugabira abalala?

16 Kijjukire nti bw’ogabira abalala oba okoppa Yakuwa. Yakuwa awa abantu ebintu ebirungi ka babe nga babisiima oba nedda. (Mat. 5:​43-48) Yakuwa atusuubiza nti naffe bwe tugabira abalala ‘nga tetusuubira kusasulwa, empeera yaffe ejja kuba nnene.’ (Luk. 6:35) N’olwekyo abalala bwe batasiima ebyo by’oba obawadde, toggwaamu maanyi. Kijjukire nti bulijjo Yakuwa ajja kukuwa empeera olw’ebirungi by’okolera abalala n’olwokugabira abalala n’essanyu.—Nge. 19:17; 2 Kol. 9:7.

17. Kiki ekiyinza okutuyamba okufuna essanyu mu kugaba? (Lukka 14:​12-14)

17 Omusingi oguli mu Lukka 14:​12-14 (Soma.) gusobola okutuyamba okuba n’endowooza ennungi nga tugaba. Abo abatusembeza oba abaliko bye batuwa, si kikyamu naffe okubakolera kye kimu. Naye watya singa tukiraba nti tutera okugabira abalala nga tusuubira nti nabo bajja kubaako kye batuwa? Tusaanidde okukolera ku magezi Yesu ge yawa. Tusobola okusembeza oba okugabira omuntu gwe tumanyi nti talina busobozi bwa kutusembeza oba okubaako ky’atuwa. Bwe tukola tutyo, tuba basanyufu kubanga tuba tukoppa Yakuwa. Bwe tugabira abalala nga tetulina kye tusuubira kutuwa, tufuna essanyu eriva mu kugaba, abalala ne bwe balabika ng’abatasiima bye tubawa.

18. Kiki kye tusaanidde okwewala, era lwaki?

18 Weewale okulowooza nti abalala tebasiima. (1 Kol. 13:7) Abalala bwe batakyoleka nti basiimye kye tubakoledde, tusaanidde okwebuuza: ‘Ddala tebasiimye oba beerabidde bwerabizi okwebaza?’ Oboolyawo waliwo ensonga endala ebaleetedde obutooleka kusiima. Abamu bayinza okuba nga basiimye nnyo kye tubakoledde naye nga bazibuwalirwa okwoleka okusiima okwo. Bayinza okuba nga baswala okuweebwa obuyambi naddala bwe baba nga mu biseera eby’emabega be baayambanga abalala. Naye bwe tuba nga ddala twagala bakkiriza bannaffe, tetujja kubalowooleza kintu kibi era tujja kweyongera okugaba n’essanyu.—Bef. 4:2.

19-20. Lwaki kikulu okuba abagumiikiriza nga tuliko kye tuwadde abalala? (Laba n’ekifaananyi.)

19 Ba mugumiikiriza. Kabaka Sulemaani yagamba nti: “Suula omugaati gwo ku mazzi, kubanga oliddamu n’ogulaba nga wayiseewo ennaku nnyingi.” (Mub. 11:1) Ng’ebigambo ebyo bwe biraga, abamu bayinza okulaga nti baasiima kye twabakolera “nga wayiseewo ennaku nnyingi.” Lowooza ku kyokulabirako ekiraga obutuufu bw’ekyo.

20 Emyaka mingi emabega, mukyala w’omulabirizi akyalira ebibiina yawandiikira mwannyinaffe eyali yaakabatizibwa ebbaluwa ng’amukubiriza okusigala nga mwesigwa. Nga wayise emyaka nga munaana, mwannyinaffe oyo yawandiikira mukyala w’omulabirizi ebbaluwa n’amugamba nti: “Nkirabye nga nteekwa okukuwandiikira nkubuulire engeri gy’onnyambyemu emyaka bwe gizze giyitawo, naye nga ggwe tokimanyi.” Yagattako nti: “Ebigambo bye wampandiikira byali birungi nnyo, naye ekyawandiikibwa kye kyasinga okunkwatako ennyo era sikyerabiranga.” a Oluvannyuma lwa mwannyinaffe oyo okwogera ku kumu ku kusoomooza kwe yali ayolekagana nakwo, yagamba nti: “Waliwo ebiseera lwe mpulidde nga njagala kubivaako ndekere awo okuweereza Yakuwa. Naye buli lwe mbadde nzijukira ekyawandiikibwa ekyo, mbadde mumalirivu okusigala nga ndi mwesigwa.” Yagattako nti: “Mu myaka gino omunaana, ekyawandiikibwa n’ebigambo bye wampandiikira mu bbaluwa bye bisinze okunnyamba.” Lowooza ku ssanyu mukyala w’omulabirizi lye yafuna “nga wayiseewo ennaku nnyingi”! Naffe abalala bayinza okutusiima nga wayise ekiseera kiwanvu bukyanga tubaako kye tubakolera.

Abalala bayinza okukyoleka nti baasiima kye twabakolera nga wayise ekiseera kiwanvu bukyanga tukibakolera (Laba akatundu 20) b


21. Lwaki omaliridde okweyongera okukoppa Yakuwa ng’oba mugabi?

21 Nga bwe kyayogeddwako ku ntandikwa, Yakuwa yatutonda nga tufuna essanyu lingi mu kugaba okusinga lye tufuna mu kuweebwa. Tuwulira bulungi nnyo bwe tubaako kye tukolera bakkiriza bannaffe. Era tusanyuka bwe bakyoleka nti basiimye. Naye omuntu k’abe ng’akyolese nti asiimye oba nedda, tusobola okuba abasanyufu olw’okukola ekintu ekituufu. Tokyerabiranga nti ka kibe ki ky’owa abalala, “Yakuwa asobola okukuwa ekisingawo ennyo ku ekyo.” (2 Byom. 25:9) Bulijjo Yakuwa ajja kukuwanga bingi okusinga ebyo by’ogaba! Era empeera Yakuwa gy’agaba y’esingirayo ddala obulungi. N’olwekyo, ka tubeere bamalirivu okweyongera okukoppa Kitaffe ow’omu ggulu omugabi.

OLUYIMBA 17 “Njagala”

a Ekyawandiikibwa ekyo kyali 2 Yokaana 8, ekigamba nti: “Mwekuume muleme okufiirwa ebintu bye twateganira, wabula mufune empeera enzijuvu.”

b EBIFAANANYI : Ebifaananyi biraga ekyo mukyala w’omulabirizi akyalira ebibiina ayogeddwako mu katundu 20 kye yakola. Yawandiikira mwannyinaffe ebbaluwa eyamuzzaamu amaanyi. Nga wayise emyaka mingi, mwannyinaffe oyo yamutegeeza nti yasiima nnyo ebbaluwa eyo.