Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 36

OLUYIMBA 89 Wulira, Ssa mu Nkola, Oweebwe Emikisa

“Mubeere Bakozi ba Kigambo”

“Mubeere Bakozi ba Kigambo”

“Mubeere bakozi ba kigambo so si abawulira obuwulizi.”YAK. 1:22.

EKIGENDERERWA

Ekitundu kino kigenda kutuyamba okweyongera okwagala okusoma Ekigambo kya Katonda buli lunaku n’okufumiitiriza ku ebyo bye tusoma era n’okubikolerako.

1-2. Kiki ekireetera abaweereza ba Katonda okuba abasanyufu? (Yakobo 1:​22-25)

 YAKUWA n’Omwana we gw’ayagala ennyo baagala tube basanyufu. Omuwandiisi wa Zabbuli 119:2 yagamba nti: “Balina essanyu abo abakolera ku ebyo by’atujjukiza, abo abamunoonya n’omutima gwabwe gwonna.” Yesu naye yagamba nti: “Abalina essanyu beebo abawulira ekigambo kya Katonda ne bakikolerako!”Luk. 11:28.

2 Abaweereza ba Yakuwa tuli bantu basanyufu. Lwaki? Waliwo ensonga nnyingi ezituleetera okuba abasanyufu, naye emu ku nsonga esinga obukulu eri nti tusoma Ekigambo kya Katonda obutayosa era ne tufuba okukolera ku ebyo bye tuyiga.—Soma Yakobo 1:​22-25.

3. Tuganyulwa tutya bwe tukolera ku ebyo bye tusoma mu Kigambo kya Katonda?

3 Tuganyulwa nnyo bwe ‘tubeera abakozi b’ekigambo.’ Bwe tukolera ku ebyo bye tusoma tusanyusa Yakuwa era ekyo naffe kituleetera essanyu. (Mub. 12:13) Ate era bwe tukolera ku magezi agali mu Kigambo kya Katonda, enkolagana yaffe n’abo be tubeera nabo mu maka awamu ne bakkiriza bannaffe mu kibiina yeeyongera okulongooka. Ekyo oyinza okuba ng’okirabye mu bulamu bwo. Ate era twewala ebizibu bingi abo abatakolera ku bulagirizi bwa Katonda bye bafuna. Mazima ddala tukkiriziganya n’ekyo Kabaka Dawudi kye yagamba. Oluvannyuma lw’okwogera ku mateeka ga Yakuwa, ebiragiro bye, awamu n’emisango gy’asala, yagamba nti: “Okubikolerako kulimu empeera nnene.”—Zab. 19:​7-11.

4. Lwaki oluusi kiyinza obutatubeerera kyangu okubeera abakozi b’Ekigambo kya Katonda?

4 Okusobola okukolera ku Kigambo kya Katonda, tulina okwesomesa Bayibuli obutayosa tusobole okutegeera ebyo Yakuwa by’ayagala tukole. Naye ekyo kiyinza obutaba kyangu olw’okuba tulina eby’okukola bingi. N’olwekyo, tulina okufuba okufuna ebiseera eby’okusoma Ekigambo kya Katonda. Mu kitundu kino tugenda kulaba ebimu ku ebyo ebisobola okutuyamba okwesomesa Bayibuli obutayosa. Ate era tugenda kulaba ebisobola okutuyamba okufumiitiriza ku ebyo bye tusoma n’okulaba engeri gye tuyinza okubikolerako mu bulamu bwaffe.

SSAAWO EKISEERA EKY’OKWESOMESA EKIGAMBO KYA KATONDA

5. Ebimu ku bintu bye tulina okukola bye biruwa?

5 Abaweereza ba Yakuwa abasinga obungi balina eby’okukola bingi nnyo. Tumala ebiseera bingi nga tukola ebintu Bayibuli by’eraga nti bikulu nnyo. Ng’ekyokulabirako, abasinga obungi ku ffe tukola emirimu egituyamba okweyimirizaawo awamu n’ab’omu maka gaffe. (1 Tim. 5:8) Abakristaayo bangi balabirira ab’eŋŋanda zaabwe abalwadde oba abakaddiye. Ate era ffenna tulina okufaayo ku bulamu bwaffe, era ekyo kyetaagisa ebiseera. Ng’oggyeeko ebyo, waliwo n’obuvunaanyizibwa bwe tulina okutuukiriza mu kibiina. Obumu ku buvunaanyizibwa obukulu ennyo bwe tulina okutuukiriza kwe kubuulira amawulire amalungi n’obunyiikivu. Oyinza otya okufuna ebiseera okusoma Bayibuli obutayosa, okugifumiitirizaako, n’okukolera ku ebyo by’osoma wadde ng’olina obuvunaanyizibwa bungi bw’olina okutuukiriza?

6. Oyinza otya okukakasa nti osoma Bayibuli obutayosa? (Laba n’ekifaananyi.)

6 Okusoma Bayibuli kye kimu ku ‘bintu ebisinga obukulu’ Abakristaayo bye tulina okukola. (Baf. 1:10) Zabbuli esooka eyogera bw’eti ku muntu omusanyufu: “Amateeka ga Yakuwa ge gamusanyusa, era asoma amateeka ge n’agafumiitirizaako emisana n’ekiro.” (Zab. 1:​1, 2) Ekyo kiraga nti tusaanidde okussaawo ekiseera okusoma Bayibuli. Kiseera ki ekisinga obulungi eky’okusomeramu Bayibuli? Buli omu alina ekiseera ekimwanguyira. Ekikulu kwe kuba nti tulonda ekiseera ekinaatusobozesa okusoma Bayibuli obutayosa. Ow’oluganda ayitibwa Victor agamba nti: “Bayibuli ngisoma ku makya. Wadde nga siri muntu ayagala okukeera, nkiraba nti ku makya ebintu ebiwugula biba bitono. Ate era mba nsobola okussaayo omwoyo ku ebyo bye nsoma.” Oboolyawo naawe bw’otyo bw’oli. Weebuuze: ‘Kiseera ki ekisinga obulungi kye nsaanidde okusomeramu Bayibuli?’

Kiseera ki ekirungi ky’osaanidde okusomeramu Bayibuli? Oyinza otya okugisoma obutayosa? (Laba akatundu 6)


FUMIITIRIZA KU EBYO BY’OSOMA

7-8. Kiki ekiyinza okutulemesa okuganyulwa mu bujjuvu mu ebyo bye tusoma? Waayo ekyokulabirako.

7 Kyokka ekituufu kiri nti tuyinza okusoma ebintu bingi naye nga tetubifumiitirizaako. Wali osomyeko ku kintu ekimu naye oluvannyuma n’oba ng’ojjukira kitono nnyo oba nga tojjukira by’osomye? Ekyo ffenna kyali kitutuuseeko. Eky’ennaku, kiyinza okuba bwe kityo ne bw’oba ng’osoma Bayibuli. Oboolyawo weeteerawo ekiruubirirwa eky’okusoma essuula eziwerako mu Bayibuli buli lunaku. Ekyo kirungi. Tusaanidde okweteerawo ebiruubirirwa era ne tufuba okubituukako. (1 Kol. 9:26) Naye osaanidde okukola ekisingawo ku kusoma obusomi Bayibuli bw’oba ow’okuganyulwa mu bujjuvu mu ebyo by’osoma.

8 Lowooza ku kino: Ebimera byetaaga enkuba okusobola okukula obulungi. Naye enkuba ennyingi bw’etonnya mu kiseera kitono, ettaka liyinza okubaamu amazzi mangi. Enkuba bwe yeeyongera okutonnya, eba tegasa kubanga amazzi gaba tegagenda mu ttaka era ebimera tebigaganyulwamu. Kiba kirungi enkuba okutonnya empolampola kubanga awo amazzi gaba gagenda mu ttaka ne gayamba ebimera okukula. Mu ngeri y’emu, tusaanidde okwewala okusoma Bayibuli nga twanguyiriza ne tulema okufumiitiriza, okujjukira, n’okukolera ku ebyo bye tuba tusoma.—Yak. 1:24.

Ng’ettaka bwe lyetaaga ekiseera okusobola okuyingiza amazzi g’enkuba etonnya, twetaaga ekiseera ekimala okufumiitiriza n’okukolera ku ebyo bye tusoma mu Bayibuli (Laba akatundu 8)


9. Bwe tuba nga tusoma Bayibuli nga twanguyiriza, kiki kye tusaanidde okukola?

9 Oluusi weesanga ng’osoma Bayibuli ng’oyanguyiriza? Bwe kiba kityo, kiki ky’osaanidde okukola? Kendeeza ku sipiidi. Fuba okufumiitiriza ku ebyo by’osoma oba ebyo bye waakamala okusoma. Ekyo si kizibu kukola. Osobola okusalawo okwongera ku kiseera ky’omala nga weesomesa osobole okufuna obudde okufumiitiriza. Ku luuyi olulala, oyinza okusalawo okusoma ennyiriri ntono, ekiseera ekisigaddeyo n’okikozesa okufumiitiriza ku ebyo by’oba osomye. Victor ayogeddwako waggulu agamba nti: “Bwe mba nsoma Bayibuli sisoma bintu bingi. Nsoma essuula ng’emu. Olw’okuba Bayibuli ngisoma ku makya, ebyo bye mba nsomye mbifumiitirizaako olunaku lwonna.” K’obe ng’osazeewo kusoma bintu byenkana wa, kikulu okusomera ku sipiidi eneekusobozesa okufumiitiriza ku ebyo by’oba osoma.—Zab. 119:97; laba akasanduuko “ Ebibuuzo by’Oyinza Okulowoozaako.”

10. Waayo ekyokulabirako ekiraga engeri gy’oyinza okukolera ku ebyo by’oyiga. (1 Abassessalonika 5:​17, 18)

10 Ka bube budde ki bw’osomeramu Bayibuli, oba ka kibe kiseera kyenkana wa ky’omala ng’osoma, fuba okulowooza ku ngeri gy’oyinza okukolera ku ebyo by’osoma. Bw’oba ng’osoma Ekigambo kya Katonda, weebuuze, ‘Bye nsoma nnyinza ntya okubikolerako kati oba nnyinza ntya okubikolerako mu kiseera eky’omu maaso?’ Ng’ekyokulabirako, ka tugambe nti osomye 1 Abassessalonika 5:​17, 18. (Soma.) Oluvannyuma lw’okusoma ennyiriri ezo, oyinza okusiriikiriramu n’ofumiitiriza ku mirundi emeka gy’osaba era n’engeri gy’osabamu. Oba oyinza okusalawo okufumiitiriza ku bintu Katonda by’akukoledde by’osiima ennyo. Oboolyawo oyinza okulondayo ebintu bisatu by’oneebaza Yakuwa. Ne bw’omala eddakiika ntono ng’ofumiitiriza ku ebyo by’oyiga mu Bayibuli, kijja kukuyamba okutegeera Ekigamba kya Katonda n’okukikolerako. Bw’okola bw’otyo buli lunaku ng’osoma Bayibuli, ojja kusobola okukola ebyo Katonda by’ayagala. Naye watya singa okiraba nti olina ebintu bingi nnyo bye weetaaga okulongoosaamu?

WEETEEREWO EBIRUUBIRIRWA BY’OSOBOLA OKUTUUKAKO

11. Lwaki oluusi bw’oba osoma Bayibuli oyinza okuwulira ng’oweddemu amaanyi? Waayo ekyokulabirako.

11 Bw’oba osoma Bayibuli oluusi oyinza okuwulira ng’oweddemu amaanyi, kubanga oyinza okukiraba nti waliwo ebintu bingi nnyo bye weetaaga okulongoosaamu. Lowooza ku kyokulabirako kino: Ka tugambe nti leero osomye ku kubuulirira okuli mu Bayibuli okukwata ku butasosola balala. (Yak. 2:​1-8) Okiraba nti weetaaga okulongoosa mu ngeri gy’oyisaamu abalala era osalawo okukola enkyukakyuka. Ekyo kirungi! Olunaku oluddako osoma ku byawandiikibwa ebiraga obukulu bw’okufuga olulimi. (Yak. 3:​1-12) Okiraba nti oluusi oyogera ebintu ebitali bya kisa oba ebimalamu abalala amaanyi. Bwe kityo osalawo nti ojja kwogera mu ngeri ey’ekisa era ezimba abalala. Ku lunaku oluddako ebyo by’osoma mu Bayibuli biraga nti kya kabi okuba mukwano gw’ensi. (Yak. 4:​4-12) Okiraba nti weetaaga okweyongera okwegendereza eby’okwesanyusaamu by’olondawo. Olunaku olw’okuna we lutuukira, oyinza okuwulira nti by’olina okulongoosaamu biyitiridde obungi.

12. Lwaki tosaanidde kuggwaamu maanyi singa bw’oba osoma Bayibuli okiraba nti waliwo bingi bye weetaaga okulongoosaamu? (Laba n’obugambo obuli wansi.)

12 Bw’oba nga weetaaga okulongoosa mu bintu bingi, toggwaamu maanyi. Ekyo kiraga nti omutima gwo mulungi. Omuntu omwetoowaze era omwesimbu bw’aba asoma Ebyawandiikibwa, anoonya we yeetaaga okulongoosaamu. a Ate era kijjukire nti ‘okwambala omuntu omuggya’ kintu kye tulina okukola awatali kulekera awo. (Bak. 3:10) Kiki ekinaakuyamba okweyongera okukolera ku Kigambo kya Katonda?

13. Engeri ennungi ey’okukolera ku ebyo by’oba osomye mu Bayibuli y’eruwa? (Laba n’ekifaananyi.)

13 Ebyo by’osoma mu kifo ky’okugezaako okubikolerako byonna mu kiseera kye kimu, kolako kimu oba bibiri. (Nge. 11:2) Gezaako kino: Kola olukalala lw’ebintu bye weetaaga okukolako oluvannyuma olondemu kimu oba bibiri by’onoosooka okukolako, ebirala obikoleko oluvannyuma. Kiki ky’osaanidde okutandikirako?

Mu kifo ky’okugezaako okukolera ku buli kimu ky’osoma mu Bayibuli mu kiseera kye kimu, ssaawo ebiruubirirwa by’osobola okutuukako. Oboolyawo oyinza okulondayo kimu oba bibiri n’osooka okukola ku ebyo (Laba akatundu 13-14)


14. Bintu ki by’oyagala okutandikirako okulongoosaamu?

14 Oyinza okusalawo okutandikira ku kintu ekisinga obwangu okukolako. Oba oyinza okusalawo okutandikira ku ekyo ky’owulira nti ky’osinga okwetaaga okulongoosaamu. Bw’omala okusalawo ekyo ky’ogenda okukolako, noonyereza mu bitabo byaffe, oboolyawo ng’okozesa Watch Tower Publications Index oba Ekitabo Ekiyamba Abajulirwa ba Yakuwa Okunoonyereza. Tegeeza Yakuwa ku ekyo ky’oyagala okukolako omusabe ‘akuwe amaanyi era akwagazise okukikola.’ (Baf. 2:13) Oluvannyuma kolera ku ebyo by’oyize. Bw’omala okulongoosa mu ekyo ky’osoose okulondako, ojja kuwulira ng’oyagala okulongoosa ne mu kirala. Mu butuufu, bw’omala okulongoosa mu ngeri emu ey’Ekikristaayo, kiyinza okukwanguyira okulongoosa ne mu ngeri endala ez’Ekikristaayo.

EKIGAMBO KYA KATONDA KA ‘KIKOLERE MU GGWE’

15. Abantu ba Yakuwa baawukana batya ku bantu bangi abasoma Bayibuli? (1 Abassessalonika 2:13)

15 Abantu abamu bagamba nti basomye Bayibuli enfunda n’enfunda. Naye ddala bakkiririza mu ebyo by’eyigiriza? Babikoleddeko mu balamu bwabwe? Nedda. Abantu abasinga obungi tebakolera ku kubuulirira okuli mu Bayibuli. Naye si bwe kiri eri abantu ba Yakuwa! Okufaananako Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka, Bayibuli tugitwala “ng’ekigambo kya Katonda.” Ate era tufuba nnyo okukolera ku kubuulirira okugirimu.—Soma 1 Abassessalonika 2:13.

16. Kiki ekiyinza okutuyamba okukolera ku Kigambo kya Katonda?

16 Oluusi tekiba kyangu okusoma Ekigambo kya Katonda n’okukikolerako. Tuyinza okuzibuwalirwa okufuna ebiseera eby’okukisoma. Oba tuyinza okukisoma nga twanguyiriza ne tulema okufumiitiriza ku ebyo bye tusoma. Oba tuyinza okuwulira nga tuweddemu amaanyi olw’okuba tulina bintu bingi bye twetaaga okulongoosaamu. Ka kube kusoomooza ki kw’oyinza okuba nakwo, osobola okukuvvuunuka. Yakuwa asobola okukuyamba okukuvvuunuka. Ka tube beetegefu okukkiriza obuyambi bw’atuwa nga tetuba bawulizi abeerabira wabula nga tuba bakozi ba Kigambo. Tewali kubuusabuusa nti gye tukoma okusoma Ekigambo kya Katonda ne tukikolerako, gye tukoma okuba abasanyufu.—Yak. 1:25.

OLUYIMBA 94 Tusiima Ekigambo kya Katonda