Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 38

OLUYIMBA 25 Ekintu kya Katonda Ekiganzi

Okolera ku Kulabula?

Okolera ku Kulabula?

“Omu alitwalibwa omulala alirekebwa.”MAT. 24:40.

EKIGENDERERWA

Tugenda kulabayo engero ssatu Yesu ze yagera era tulabe n’engeri gye zikwata ku kiseera eky’okusala omusango ekijja okubaawo ku nkomerero y’enteekateeka y’ebintu eno.

1. Kiki Yesu ky’anaatera okukola?

 TULI mu kiseera nga wanaatera okubaawo enkyukakyuka ez’amaanyi ku nsi. Mu kiseera ekitali kya wala, Yesu ajja kulamula buli muntu anaaba ku nsi. Yesu yayogera ku bintu ebyandibaddewo mu nsi ng’anaatera okujja okulamula. Yawa abayigirizwa be ‘akabonero’ akandiraze okubeerawo kwe ‘n’amafundikira g’enteekateeka y’ebintu.’ (Mat. 24:3) Ebyo bye yayogera bisangibwa mu Matayo essuula 24 ne 25, mu Makko essuula 13, ne mu Lukka essuula 21.

2. Biki bye tugenda okulaba mu kitundu kino era tunaaganyulwa tutya?

2 Yesu yagera engero ssatu okutuyamba okweteekateeka. Engero ezo era zirimu okulabula. Engero ezo ze zino, olw’endiga n’embuzi, olw’abawala embeerera ab’amagezi n’abasirusiru, n’olwa ttalanta. Buli lumu ku ngero ezo, lutuyamba okutegeera engeri enneeyisa y’omuntu gy’ejja okukwata ku ngeri gy’agenda okulamulwamu. Nga twekenneenya engero ezo, tugenda kulaba ebyo bye tuyigamu era n’engeri gye tuyinza okubikolerako. Olugero olusooka lwe tugenda okulaba lwelwo olukwata ku ndiga n’embuzi.

ENDIGA N’EMBUZI

3. Ddi Yesu lw’anaalamula abantu?

3 Mu lugero olukwata ku ndiga n’embuzi, Yesu yalaga engeri gy’ajja okulamulamu abantu ng’asinziira ku ngeri gye baatwalamu amawulire amalungi, ne ku kuba nti baawagira baganda be abaafukibwako amafuta oba tebaabawagira. (Mat. 25:​31-46) Okulamula abantu okwo kujja kubaawo mu kiseera ‘ky’ekibonyoobonyo ekinene,’ ng’olutalo lwa Amagedoni lunaatera okutandika. (Mat. 24:21) Ng’omusumba bw’ayawula endiga ku mbuzi, ne Yesu ajja kwawulawo abo abawagira baganda be abaafukibwako amafuta ku abo abatabawagira.

4. Okusinziira ku Isaaya 11:​3, 4, lwaki tuli bakakafu nti Yesu ajja kulamula abantu mu bwenkanya? (Laba ku ddiba.)

4 Obunnabbi bwa Bayibuli bulaga nti Yesu, oyo Yakuwa gwe yalonda okuba omulamuzi, ajja kulamula mu butuukirivu. (Soma Isaaya 11:​3, 4.) Yeetegereza ebyo abantu bye bakola, bye balowooza, ne bye boogera, nga mw’otwalidde n’engeri gye bayisaamu baganda be abaafukibwako amafuta. (Mat. 12:​36, 37; 25:40) Yesu ajja kuba amanyi abo abaawagira baganda be abaafukibwako amafuta n’omulimu gwe bakola. a Emu ku ngeri enkulu abo abalinga endiga gye bawagiramu baganda ba Kristo, kwe kubayambako mu mulimu gw’okubuulira. Abo abayamba baganda ba Kristo mu ngeri eyo bajja kulamulwa nti ‘batuukirivu’ era bajja kufuna ‘obulamu obutaggwaawo’ ku nsi. (Mat. 25:46; Kub. 7:​16, 17) Eyo ng’ejja kuba nkizo ya maanyi nnyo! Bwe banaasigala nga beesigwa mu kiseera ky’ekibonyoobonyo ekinene n’oluvannyuma nga kiwedde, amannya gabwe gajja kusigala mu “kitabo eky’obulamu.”—Kub. 20:15.

Mu kiseera ekitali kya wala, Yesu agenda kulamula abantu asobole okwawulawo abo abalinga endiga n’abo abalinga embuzi (Laba akatundu 4)


5. Bya kuyiga ki ebiri mu lugero olukwata ku ndiga n’embuzi, era baani abaganyulwa mu by’okuyiga ebyo?

5 Sigala ng’oli mwesigwa. Olugero lwa Yesu olukwata ku ndiga n’embuzi, okusingira ddala lukwata ku abo abalina essuubi ery’okubeera ku nsi. Bakiraga nti beesigwa nga bayamba baganda ba Kristo mu mulimu gw’okubuulira era nga bagoberera obulagirizi obubaweebwa “omuddu omwesigwa era ow’amagezi.” (Mat. 24:45) Naye n’abo abalina essuubi ery’okugenda mu ggulu balina okukolera ku kulabula okuli mu lugero olwo. Lwaki? Kubanga Yesu yeetegereza bye bakola, bye balowooza ne bye boogera. Nabo balina okusigala nga beesigwa. Mu butuufu, Yesu yagera engero endala bbiri ezirimu okulabula okukwata ku baafukibwako amafuta. Engero ezo era zisangibwa mu Matayo essuula 25. Kati ka tulabe olugero olukwata ku bawala embeerera ab’amagezi n’abasirusiru.

ABAWALA EMBEERERA AB’AMAGEZI N’ABASIRUSIRU

6. Abawala abataano embeerera baakiraga batya nti b’amagezi? (Matayo 25:​6-10)

6 Mu lugero olukwata ku bawala embeerera, Yesu yayogera ku bawala embeerera kkumi, abaagenda okwaniriza omugole omusajja. (Mat. 25:​1-4) Bonna baali basuubira okuwerekera omugole omusajja ku kijjulo ky’embaga ey’obugole. Yesu yagamba nti bataano ku bo baali ba ‘b’amagezi’ ate abataano abalala baali “basirusiru.” Ab’amagezi baali beeteeseteese bulungi. Baali beetegefu okulindirira omugole omusajja ekiseera kyonna we yandijjidde, ne bwe yandituuse ekiro mu ttumbi. N’olwekyo baaleeta ettaala okusobola okubamulisa ekiro. Baaleetayo n’amafuta ge bandibadde bakozesa omugole omusajja bwe yandiruddewo okutuuka. Bwe batyo ettaala zaabwe baali baziteeseteese okusigala nga zaaka. (Soma Matayo 25:​6-10.) Omugole omusajja bwe yatuuka, abawala ab’amagezi baagenda naye ku kijjulo ky’embaga ey’obugole. Mu ngeri y’emu, abaafukibwako amafuta abanaakiraga nti beeteeseteese nga basigala beesigwa okutuuka ku kujja kwa Kristo, bajja kuweebwa empeera ey’okubeera awamu ne Yesu, Omugole Omusajja mu bwakabaka obw’omu ggulu. b (Kub. 7:​1-3) Ate bo abawala abasirusiru?

7. Kiki ekyatuuka ku bawala abataano abasirusiru, era lwaki?

7 Obutafaananako abawala ab’amagezi, omugole we yatuukira abawala abataano abasirusiru bo baali tebeetegese. Ettaala zaabwe zaali zinaatera okuzikira ate nga baali tebaleeseeyo mafuta malala. Bwe baakitegeera nti omugole omusajja anaatera okutuuka, baalina okugenda okugulayo amafuta. Omugole omusajja we yatuukira baali tebannada. Mu kiseera ekyo, ‘abawala abaali beetegese baayingira naye mu nnyumba omwali ekijjulo ky’embaga ey’obugole, era oluggi ne luggalwawo.’ (Mat. 25:10) Oluvannyuma abawala abasirusiru bwe baakomawo era nga baagala okuyingira, omugole omusajja yabagamba nti: “Sibamanyi.” (Mat. 25:​11, 12) Abawala abo baali tebeetegese kulindirira omugole omusajja ekiseera kyonna we yandijjidde. Ekyo abaafukibwako amafuta bakiyigirako ki?

8-9. Kiki abaafukibwako amafuta kye bayigira ku lugero olukwata ku bawala embeerera? (Laba n’ekifaananyi.)

8 Beera nga weeteeseteese. Yesu yali tagamba nti wandibaddewo ebiti by’abaafukibwako amafuta bibiri. Eky’abo abandibadde beetegese okulindirira okutuukira ddala ku nkomerero y’enteekateeka eno ey’ebintu n’eky’abo abandibadde tebeetegese. Wabula yali alaga ekyo ekyandibaddewo abaafukibwako amafuta bwe batandibadde beetegefu kugumiikiriza n’obwesigwa okutuukira ddala ku nkomerero. Tebandifunye mpeera yaabwe. (Yok. 14:​3, 4) Okwo kulabula kwa maanyi! Ka tube nga tulina ssuubi lya kugenda mu ggulu oba lya kusigala ku nsi, ffenna tusaanidde okukolera ku kulabula okuli mu lugero olukwata ku bawala embeerera. Buli omu ku ffe alina okusigala ng’ali bulindaala era nga mwetegefu okugumiikiriza okutuukira ddala ku nkomerero.—Mat. 24:13.

9 Oluvannyuma lw’okugera olugero olukwata ku bawala embeerera, olulaga obukulu bw’okusigala nga tweteeseteese bulungi, Yesu yagera olugero olukwata ku ttalanta. Olugero olwo lulaga obukulu bw’okubeera abakozi abanyiikivu.

Buli omu ku ffe asaanidde okukolera ku kulabula okuli mu lugero olukwata ku bawala embeerera nga yeeteekateeka era ng’agumiikiriza okutuuka ku nkomerero (Laba akatundu 8-9)


TTALANTA

10. Abaddu ababiri baakiraga batya nti baali beesigwa? (Matayo 25:​19-23)

10 Mu lugero olukwata ku ttalanta, Yesu yayogera ku baddu babiri abaali abeesigwa eri mukama waabwe, ne ku muddu omu ataali mwesigwa gy’ali. (Mat. 25:​14-18) Abaddu ababiri baakiraga nti baali beesigwa nga bakola nnyo okufunira mukama waabwe amagoba. Mukama waabwe bwe yali tannagenda mu nsi ey’ewala, yabakwasa ttalanta, era nga zino zaali ssente nnyingi nnyo. Abaddu ababiri baali bakozi banyiikivu era baakozesa ssente ezo mu ngeri ey’amagezi. Biki ebyavaamu? Mukama waabwe bwe yakomawo, ssente ze yabalekera baali bazikubisizzaamu emirundi ebiri. Mukama waabwe yabasiima nnyo, kwe kugamba, ‘baasanyukira wamu naye.’ (Soma Matayo 25:​19-23.) Ate ye omuddu ow’okusatu? Kiki kye yakola mu ssente mukama we ze yamulekera?

11. Kiki ekyatuuka ku muddu “omugayaavu,” era lwaki?

11 Omuddu ow’okusatu yafuna ttalanta emu naye yali ‘mugayaavu.’ Mukama we yali amusuubira okukozesa ttalanta eyo mu ngeri ey’amagezi. Kyokka yagiziika mu ttaka. Mukama we bwe yakomawo, yasanga tewali muddu oyo ky’akoze mu ttalanta eyo. Endowooza y’omuddu oyo teyali nnungi. Mu kifo ky’okwetondera mukama we olw’okulemererwa okukola amagoba mu ssente ze yamulekera, yamuyita “muntu muzibu.” Omuddu oyo mukama we teyamusiima. N’ekisinga obubi, ttalanta gye yali aweereddwa yamuggibwako era n’agobebwa mu nnyumba ya mukama we.—Mat. 25:​24, 26-30.

12. Abaddu ababiri abeesigwa bakiikirira baani leero?

12 Abaddu ababiri abeesigwa bakiikirira Abakristaayo abaafukibwako amafuta abeesigwa. Mukama waabwe Yesu, abayita okusanyukira awamu naye. Bafuna empeera yaabwe ey’omu ggulu, nga kwe kuzuukira okusooka. (Mat. 25:​21, 23; Kub. 20:5b) Ku luuyi olulala, ekyokulabirako ekibi eky’omuddu omugayaavu kirimu okulabula eri abaafukibwako amafuta. Kulabula ki?

13-14. Kiki abaafukibwako amafuta kye bayiga mu lugero olukwata ku ttalanta? (Laba n’ekifaananyi.)

13 Beera munyiikivu. Okufaananako olugero olukwata ku bawala embeerera, ne mu lugero olukwata ku ttalanta Yesu yali tategeeza nti abaafukibwako amafuta bandibadde bagayaavu. Wabula, yali alaga ekyandibaddewo bwe bandirekedde awo okuba abanyiikivu. Bandibadde tebasigala nga “beesigwa ng’abo abaayitibwa era abaalondebwa,” era tebandikkiriziddwa kuyingira mu Bwakabaka obw’omu ggulu.—2 Peet. 1:10.

14 Engero za Yesu ebbiri, olwo olukwata ku bawala embeerera n’olwo olukwata ku ttalanta, zikyoleka bulungi nti Abakristaayo bonna abaafukibwako amafuta balina okusigala nga beeteeseteese era nga banyiikivu. Naye waliwo ekirala Yesu kye yayogera okulabula abaafukibwako amafuta? Yee. Ebyo Yesu bye yayogera ebiri mu Matayo 24:​40, 41 era bikwata ku kusala omusango okusembayo okw’abaafukibwako amafuta.

Yesu ayagala abaafukibwako amafuta babe banyiikivu okutuukira ddala ku nkomerero (Laba akatundu 13-14) d


ANI “ALITWALIBWA”?

15-16. Ebyo ebiri mu Matayo 24:​40, 41 biraga bitya nti abaafukibwako amafuta balina okusigala nga bali bulindaala?

15 Yesu bwe yali tannagera ngero essatu, yasooka kwogera ku kusala omusango okusembayo okw’abaafukibwako amafuta okwandibadde kulaga baani abasiimibwa. Yayogera ku basajja babiri abakola mu nnimiro y’emu n’abakazi babiri abasa ku lubengo lwe lumu. Abasajja balabika nga bakola omulimu gwe gumu, n’abakazi balabika nga bakola omulimu gwe gumu. Naye Yesu yagamba nti “omu alitwalibwa omulala alirekebwa.” (Soma Matayo 24:​40, 41.) Oluvannyuma yagamba abagoberezi be nti: “Mubeere bulindaala, kubanga temumanyi lunaku Mukama wammwe lw’alijjirako.” (Mat. 24:42) Yesu yayogera ekintu ekifaananako bwe kityo oluvannyuma lw’okugera olugero olukwata ku bawala embeerera. (Mat. 25:13) Bye yayogera birina akakwate? Kirabika yee. Abakristaayo abaafukibwako amafuta abeesigwa bokka be bajja ‘okutwalibwa’ babeere ne Yesu mu Bwakabaka obw’omu ggulu.—Yok. 14:3.

16 Beera bulindaala. Abakristaayo abaafukibwako amafuta abatasigala nga bali bulindaala mu by’omwoyo tebajja kubalibwa mu abo “abalonde.” (Mat. 24:31) Ate era, abaweereza ba Yakuwa bonna ka babe na balina ssuubi ki, balina okussaayo omwoyo ku kulabula Yesu kwe yawa basigale nga bali bulindaala era nga beesigwa.

17. Lwaki tekisaanidde kutweraliikiriza Yakuwa bw’afuka amafuta ku bamu ku Bakristaayo mu kiseera kyaffe?

17 Olw’okuba tumanyi bulungi Yakuwa, twesiga ebyo by’asalawo. Bw’asalawo okufuka amafuta abamu ku Bakristaayo mu kiseera kino, ekyo tekitweraliikiriza. c Tujjukira ekyo Yesu kye yayogera ku bakozi abajja okukola mu nnimiro y’emizabbibu ku ssaawa ey’ekkumi n’emu. (Mat. 20:​1-16) Abo abaayitibwa okujja okukola mu nnimiro y’emizabbibu ng’obudde bugenze, baafuna empeera y’emu n’abo abaakeera okukola. Mu ngeri y’emu, abaafukibwako amafuta ka babe nga balondeddwa ddi, bajja kufuna empeera ey’omu ggulu bwe banaasigala nga beesigwa.

KOLERA KU KULABULA

18-19. Kiki kye tuyize mu ngero za Yesu?

18 Biki bye tulabye? Eri abo abalina essuubi ery’okubeera ku nsi emirembe gyonna, olugero olukwata ku ndiga n’embuzi lulaga obukulu bw’okusigala nga beesigwa eri Yakuwa mu kiseera kino ne mu kiseera eky’ekibonyoobonyo ekinene. Mu kiseera eky’omu maaso, abo abanaasigala nga beesigwa Yesu ajja kubatwala nti basaanidde okufuna ‘obulamu obutaggwaawo.’—Mat. 25:46.

19 Ate era tulabye engero bbiri ezirimu okulabula okukwata ku baafukibwako amafuta. Mu lugero lwa Yesu olukwata ku bawala embeerera ab’amagezi n’abasirusiru, bataano ku bawala abo baali ba magezi. Baali beeteeseteese okulinda omugole omusajja ekiseera kyonna we yandijjidde. Naye abawala abasirusiru bo baali tebeeteeseteese. N’olw’ekyo, omugole omusajja yabagaana okujja ku kijjulo ky’embaga ey’obugole. Naffe tusaanidde okuba nga tuli beetegefu okulindirira okutuusa Yesu lw’anaazikiriza enteekateeka y’ebintu eno. Ate era mu lugero lwa Yesu olukwata ku ttalanta, tulabye abaddu abeesigwa babiri abaali abakozi abanyiikivu. Baakola n’obunyiikivu okufunira mukama waabwe amagoba era yabasiima. Kyokka ye omuddu omugayaavu teyasiimibwa. Kiki kye tuyigamu? Tulina okukola omulimu gwa Yakuwa n’obunyiikivu okutuukira ddala ku nkomerero. Ate era tulabye nti abaafukibwako amafuta balina okusigala nga bali bulindaala okusobola ‘okutwalibwa’ okufuna empeera yaabwe. Abaafukibwako amafuta abo beesunga nnyo ‘okukuŋŋaanyizibwa’ babeere ne Yesu mu ggulu. Oluvannyuma lw’olutalo Amagedoni, be bajja okuba omugole wa Yesu ku mbaga ey’obugole ey’Omwana gw’Endiga.—2 Bas. 2:1; Kub. 19:9.

20. Kiki Yakuwa ky’ajja okukolera abo abakolera ku kulabula kw’awa?

20 Wadde ng’ekiseera eky’okusala omusango kinaatera okutuuka, tetusaanidde kutya. Bwe tusigala nga tuli beesigwa, kitaffe ow’omu ggulu atwagala ajja kutuwa ‘amaanyi agasinga ku ga bulijjo tusobole okuyita mu bintu ebyo n’okuyimirira mu maaso g’Omwana w’omuntu.’ (2 Kol. 4:7; Luk. 21:36) Ka tube nga tulina ssuubi lya kugenda mu ggulu oba lya kubeera ku nsi, tujja kusanyusa Kitaffe ow’omu ggulu singa tukolera ku kulabula okuli mu ngero za Yesu. Olw’okuba Yakuwa wa kisa nnyo gye tuli, amannya gaffe gajja kusangibwa nga gawandiikiddwa mu kitabo ky’obulamu.—Dan. 12:1; Kub. 3:5.

OLUYIMBA 26 Mwabikolera Nze

a Laba ekitundu “Kiki Kye Tumanyi ku Misango Yakuwa gy’Agenda Okusala mu Biseera eby’Omu Maaso?” mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Maayi 2024.

b Okumanya ebisingawo, laba ekitundu “Onoosigala ng’Oli ‘Bulindaala’?” mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Maaki 15, 2015.

[Obugambo obuli wansi]

d EBIFAANANYI: Mwannyinaffe eyafukibwako amafuta ayigiriza Bayibuli omukazi gwe yasanga ng’abuulira.