Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

Yesu bwe yatandikawo eky’Ekiro kya Mukama Waffe, abayigirizwa 70 be yali yasindika okubuulira baali ludda wa? Baali baalekera awo okumugoberera?

Tetusaanidde kulowooza nti okuba nti abayigirizwa 70 tebaaliwo nga Yesu atandikawo omukolo ogw’eky’Ekiro kya Mukama Waffe yali takyabasiima oba nti baali baalekera awo okumugoberera. Ku mukolo ogwo Yesu yali ayagala kubeera n’abatume be.

Abatume 12 wamu n’abayigirizwa 70, bonna baali bayigirizwa ba Yesu. Yesu yalina abayigirizwa bangi era mu abo mwe yalonda 12 be yayita abatume. (Luk. 6:​12-16) Yali mu Ggaliraaya we yalondera “abayigirizwa be Ekkumi n’Ababiri” era “n’abatuma okubuulira Obwakabaka bwa Katonda era n’okuwonya.” (Luk. 9:​1-6) Oluvannyuma bwe yali mu Buyudaaya, ‘yalonda abalala 70, n’abatuma babiri babiri.’ (Luk. 9:51; 10:1) N’olwekyo, Yesu yalina abagoberezi mu bitundu ebitali bimu obubaka bwe gye bwabuulirwanga.

Abayudaaya oluvannyuma abaafuuka abagoberezi ba Yesu baali bakyakwata omukolo gw’Embaga ey’Okuyitako oboolyawo nga bali wamu n’ab’eŋŋanda zaabwe. (Kuv. 12:​6-11, 17-20) Yesu bwe yali anaatera okufa, ye wamu n’abatume be baagenda mu Yerusaalemi. Naye teyayita bayigirizwa be bonna okuva mu Buyudaaya, Ggaliraaya, ne Pereya okujja okukwatira awamu naye Embaga ey’Okuyitako. Kyeyoleka lwatu nti Yesu yali ayagala kubeera n’abatume be ku mukolo ogwo. Yabagamba nti: “Njagadde nnyo okulya nammwe Okuyitako kuno nga sinnaba kubonyaabonyezebwa.”—Luk. 22:15.

Yesu yalina ensonga okukola bw’atyo. Yali anaatera okufa ‘ng’Omwana gw’Endiga owa Katonda, aggyawo ebibi by’ensi!’ (Yok. 1:29) Yali wa kufiira mu Yerusaalemi, era okumala ekiseera kiwanvu abantu eyo gye baaweerangayo ssaddaaka. Endiga eyaliibwanga ku Mbaga ey’Okuyitako yajjukizanga Abayisirayiri nti Yakuwa yali yabanunula mu buddu e Misiri. Yesu bwe yandiwaddeeyo obulamu bwe nga ssaddaaka, yandibadde akola ekisingawo. Yandinunudde abantu okuva mu kibi n’okufa. (1 Kol. 5:​7, 8) Olwa ssaddaaka Yesu gye yali agenda okuwaayo, abatume 12 bandifuuse abamu ku abo abakola omusingi gw’ekibiina Ekikristaayo. (Bef. 2:​20-22) Ate era Bayibuli eraga nti Yerusaalemi ekibuga ekitukuvu kirina “amayinja g’omusingi 12” agawandiikiddwako “amannya 12 ag’abatume 12 ab’Omwana gw’Endiga.” (Kub. 21:​10-14) Ekyo kiraga nti abatume ba Yesu abeesigwa bandibadde n’ekifo ekikulu mu kutuukirizibwa kw’ekigendererwa kya Katonda. N’olwekyo kituukirawo okuba nti Yesu Kristo yali ayagala okubeera n’abatume be ku Mbaga ey’Okuyitako eyasembayo ate n’oluvannyuma ku mukolo ogw’Eky’Ekiro kya Mukama Waffe.

Abayigirizwa ba Yesu 70 awamu n’abayigirizwa abalala tebaali wamu ne Yesu ku mukolo ogwo. Wadde kiri kityo, abayigirizwa ba Yesu abandisigadde nga beesigwa bandiganyuddwa nnyo mu mukolo ogw’Eky’Ekiro kya Mukama Waffe Yesu gwe yali agenda okutandikawo. Abayigirizwa ba Yesu bonna oluvannyuma abandifukiddwako omwoyo omutukuvu bandiyingidde mu ndagaano ey’obwakabaka Yesu gye yayogerako ng’ali wamu n’abatume be ekiro ekyo.—Luk. 22:​29, 30.