Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 41

OLUYIMBA 13 Kristo, Ekyokulabirako Kyaffe

Bye Tuyigira ku Yesu mu Nnaku 40 Ezaasembayo ng’Ali ku Nsi

Bye Tuyigira ku Yesu mu Nnaku 40 Ezaasembayo ng’Ali ku Nsi

“Baamulaba okumala ennaku 40, era yayogeranga ku Bwakabaka bwa Katonda.”—BIK. 1:3.

EKIGENDERERWA

Engeri gye tuyinza okukoppa ekyokulabirako Yesu kye yassaawo mu nnaku 40 ezaasembayo ng’ali ku nsi.

1-2. Kiki ekyaliwo nga babiri ku bayigirizwa ba Yesu batambula okugenda mu Emawo?

 OLUNAKU lwa Nisaani 16, omwaka gwa 33 E.E.; abayigirizwa ba Yesu balina obulumi bungi era bali mu kutya kwa maanyi. Babiri ku bo bava mu Yerusaalemi ne batambula okugenda mu Emawo, ekyalo ekyesudde mayiro nga musanvu okuva e Yerusaalemi. Abasajja abo baweddemu nnyo amaanyi kubanga Yesu gwe baali bagoberera yattiddwa ennaku ntono emabega. Baali basuubira nti Masiya yandikoledde Abayudaaya ebintu ebirungi naye yattiddwa. Naye ebigenda okuddirira bigenda kubeewuunyisa nnyo.

2 Bwe baba batambula, wabaawo omuntu ajja n’abeegattako. Abayigirizwa abo bamunyumiza ebintu ebibi ennyo ebyatuuse ku Yesu. Omusajja oyo atandika okubabuulira ebintu bye batagenda kwerabira. “Ng’atandikira ku ebyo ebyawandiikibwa Musa ne bannabbi bonna,” abannyonnyola ensonga lwaki Masiya yalina okubonaabona era n’okufa. Bwe batuuka mu Emawo, bakitegeera nti omusajja oyo ye Yesu eyazuukidde! Lowooza ku ssanyu abayigirizwa abo lye baafuna bwe baakitegeera nti Masiya yali mulamu!—Luk. 24:​13-35.

3-4. Kiki ekyaliwo ku bayigirizwa ba Yesu era kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino? (Ebikolwa 1:3)

3 Yesu yalabikira abayigirizwa be emirundi egiwerako mu nnaku 40 ze yasembayo okubeera ku nsi. (Soma Ebikolwa 1:3.) Mu kiseera ekyo, yazzaamu amaanyi abayigirizwa be abaali mu nnaku era abaali batidde. Baafuna essanyu lingi era baafuna obuvumu okubuulira n’okuyigiriza abantu amawulire amalungi agakwata ku Bwakabaka bwa Katonda. a

4 Waliwo bingi bye tusobola okuyiga bwe twekenneenya ebyo Yesu bye yakola mu kiseera ekyo. Mu kitundu kino, tugenda kulaba engeri Yesu gye yakozesa ekiseera ekyo (1) okuzzaamu abayigirizwa be amaanyi, (2) okubayamba okutegeera Ebyawandiikibwa, ne (3) okubatendeka okusobola okutuukiriza obuvunaanyizibwa obw’amaanyi bwe yabakwasa. Mu buli emu ku nsonga ezo, tugenda kulaba engeri gye tuyinza okukoppa Yesu.

ZZAAMU ABALALA AMAANYI

5. Lwaki abayigirizwa ba Yesu baali beetaaga okuzzibwamu amaanyi?

5 Abayigirizwa ba Yesu baali beetaaga okuzzibwamu amaanyi. Lwaki? Abamu baali baaleka amaka gaabwe, ab’eŋŋanda zaabwe, ne bizineesi zaabwe, okusobola okugoberera Yesu ekiseera kyonna. (Mat. 19:27) Abalala baali baboolebwa olw’okuba baali bafuuse abayigirizwa ba Yesu. (Yok. 9:22) Beefiiriza ebintu ebyo olw’okuba baali bakkiriza nti Yesu ye Masiya eyasuubizibwa. (Mat. 16:16) Naye Yesu bwe yattibwa, ebyo bye baali basuubira byalabika ng’ebyali bitatuukiridde era baggwaamu nnyo amaanyi.

6. Kiki Yesu kye yakola oluvannyuma lw’okuzuukira?

6 Kya lwatu Yesu yali akimanyi nti abayigirizwa be okunakuwala kyali tekiraga nti baali banafuye mu by’omwoyo, wabula baali banakuwadde olw’okuba baali bafiiriddwa Mukama waabwe. N’olwekyo, okuviira ddala ku lunaku lwe yazuukira yatandikirawo okuzzaamu mikwano gye amaanyi. Ng’ekyokulabirako, yalabikira Maliyamu Magudaleena bwe yali ku ntaana we baamuziika. (Yok. 20:​11, 16) Yalabikira n’abayigirizwa ababiri aboogeddwako ku ntandikwa. Era yalabikira n’omutume Peetero. (Luk. 24:34) Kiki kye tuyigira ku Yesu? Lowooza ku ebyo ebyaliwo ku mulundi gwe yasooka okulabikira Maliyamu Magudaleena.

7. Nga bwe kiragibwa mu Yokaana 20:​11-16, kiki Yesu kye yalaba Maliyamu ng’akola ku makya ennyo nga Nisaani 16, era ekyo kyamuleetera kukola ki? (Laba n’ekifaananyi.)

7 Soma Yokaana 20:​11-16. Ku makya ennyo nga Nisaani 16, abakazi abeesigwa abawerako baagenda ku ntaana Yesu mwe yali aziikiddwa. (Luk. 24:​1, 10) Omu ku bakazi abo yali Maliyamu Magudaleena. Maliyamu bwe yatuuka ku ntaana yakiraba nti yali njereere. Yadduka n’agenda ategeezaako Peetero ne Yokaana era oluvannyuma n’abagoberera nga badduka okugenda ku ntaana. Oluvannyuma lwa Peetero ne Yokaana okukakasa nti entaana yali njeere, baddayo eka. Naye Maliyamu ye teyaddayo. Yasigala awo ng’akaaba. Yali takimanyi nti Yesu yali amulaba. Yesu yalaba amaziga omukyala oyo ge yali akaaba era yakwatibwako nnyo. Bwe kityo yamulabikira n’amugamba ekintu ekyamuzzaamu ennyo amaanyi. Yayogera naye era n’amuwa obuvunaanyizibwa okutegeeza abayigirizwa abalala nti yali azuukidde.—Yok. 20:​17, 18.

Koppa Yesu nga weetegereza abo abaweddemu amaanyi era ng’okyoleka nti obalumirirwa (Laba akatundu 7)


8. Tuyinza tutya okukoppa Yesu?

8 Tuyinza tutya okukoppa Yesu? Tulina kye tusobola okukolawo okuyamba baganda baffe okweyongera okuweereza Yakuwa, singa naffe okufaananako Yesu, tumanya obulumi bwe babaamu era ne twogera nabo mu ngeri eraga nti tubalumirirwa. Lowooza ku mwannyinaffe Jocelyn, eyalina muganda we eyafiira mu kabenje. Agamba nti: “Okumala emyezi mingi, nnali mu bulumi bwa maanyi.” Naye ow’oluganda omu ne mukyala we baamukyaza awaka waabwe, ne bamuwuliriza bulungi ng’ababuulira engeri gye yali awuliramu, era ne bamukakasa nti wa muwendo mu maaso ga Katonda. Jocelyn agamba nti: “Muli nnawulira nga Yakuwa eyali akozesezza baganda bange abo okunsika mu mazzi g’ennyanja eyali efuukuuse mwe nnali ngudde ne banteeka mu lyato. Bannyamba okuddamu okwagala okuweereza Yakuwa.” Naffe tusobola okuzzaamu abalala amaanyi nga tubawuliriza bulungi nga batubuulira ebibeeraliikiriza, era nga twogera nabo mu ngeri eraga tubalumirirwa. Bwe tukola bwe tutyo tusobola okubayamba okweyongera okuweereza Yakuwa.—Bar. 12:15.

YAMBA ABALALA OKUTEGEERA EKIGAMBO KYA KATONDA

9. Kizibu ki abayigirizwa ba Yesu kye baalina era Yesu yabayamba atya?

9 Abayigirizwa ba Yesu bakkiriza Ekigambo kya Katonda, era ne bafuba nnyo okukikolerako mu bulamu bwabwe. (Yok. 17:6) Wadde kyali kityo, baali tebategeera nsonga lwaki Yesu yafa ng’omumenyi w’amateeka. Yesu yali akimanyi nti okubuusabuusa kwe baalina tekwava ku kuba nti baalina omutima omubi, wabula kwava ku kuba nti baali tebategeera bulungi Byawandiikibwa. (Luk. 9:​44, 45; Yok. 20:9) Bwe kityo yabayamba okutegeera amakulu g’ebyo bye baali basoma mu Byawandiikibwa. Ka tulabe engeri ekyo gye yakikolamu bwe yalabikira abayigirizwa babiri nga bali mu kkubo bagenda mu Emawo.

10. Yesu yayamba atya abayigirizwa be okukitegeera nti ddala ye yali Masiya? (Lukka 24:​18-27)

10 Soma Lukka 24:​18-27. Weetegereze nti Yesu teyabuulirirawo bayigirizwa be abo nti ye yali ye. Mu kifo ky’ekyo, yababuuza ebibuuzo. Lwaki? Oboolyawo yali ayagala boogere ekyabali ku mutima era baakyogera. Baamugamba nti baali basuubira Yesu okununula Abayisirayiri mu bufuzi bw’Abaruumi obwali bubanyigiriza. Oluvannyuma lw’okwogera ekyabali ku mutima, Yesu yakozesa Ebyawandiikibwa okubayamba okutegeera ebyo ebyali bibaddewo. b Oluvannyuma akawungeezi ako, Yesu yalabikira abayigirizwa abalala era nabo n’abannyonnyola amakulu g’Ebyawandiikibwa. (Luk. 24:​33-48) Kiki kye tuyigira ku ebyo ebyaliwo?

11-12. (a) Kiki kye tuyigira ku ngeri Yesu gye yayigirizaamu abalala amazima agali mu Bayibuli? (Laba n’ebifaananyi.) (b) Eyali ayigiriza Nortey Bayibuli yamuyamba atya?

11 Tuyinza tutya okukoppa Yesu? Ekisooka, bw’oba oyigiriza abayizi ba Bayibuli, babuuze ebibuuzo mu ngeri ey’amagezi ebisobola okubayamba okwogera ekibali ku mutima. (Nge. 20:5) Oluvannyuma lw’okutegeera ekibali ku mutima, balage engeri gye bayinza okuzuula ebyawandiikibwa ebiyinza okubayamba mu mbeera yaabwe. Weewale okubabuulira eky’okukola. Mu kifo ky’ekyo, bayambe okufumiitiriza ku Byawandiikibwa n’okulaba engeri gye bayinza okukolera ku misingi gya Bayibuli mu bulamu bwabwe. Lowooza ku w’oluganda Nortey abeera mu Ghana.

12 Nortey bwe yali nga wa myaka 16, yatandika okuyiga Bayibuli. Kyokka mangu ddala ab’ewaabwe baatandika okumuyigganya. Kiki ekyamuyamba okunywera? Eyali amuyigiriza Bayibuli yali yakozesa ebyo ebiri mu Matayo essuula 10 okumuyamba okukitegeera nti Abakristaayo ab’amazima balina okuyigganyizibwa. Nortey agamba nti: “N’olwekyo bwe baatandika okunjigganya nnali mukakafu nti nnali nzudde amazima.” Omusomesa we era yakozesa ebyo ebiri mu Matayo 10:16 okumuyamba okuba omwegendereza ng’ayogera ku ebyo by’ayize mu Bayibuli n’ab’ewaabwe, kyokka ng’abassaamu ekitiibwa. Nortey bwe yamala okubatizibwa, yali ayagala kutandika kuweereza nga payoniya, kyokka taata we yali ayagala agenda ku yunivasite. Mu kifo ky’omusomesa we okumubuulira eky’okukola, yamubuuza ebibuuzo ebitali bimu era n’amuyamba okufumiitiriza ku misingi gya Bayibuli. Biki ebyavaamu? Nortey yasalawo okuweereza nga payoniya, era taata we yamugoba awaka. Nortey awulira atya bw’alowooza ku ebyo ebyaliwo? Agamba nti: “Ndi mukakafu nti nnasalawo mu ngeri ey’amagezi.” Naffe bwe tuyamba abalala okufumiitiriza ku byawandiikibwa, tusobola okubayamba okuba Abakristaayo abanywevu mu by’omwoyo.—Bef. 3:​16-19.

Koppa Yesu ng’oyamba abalala okufumiitiriza ku Byawandiikibwa (Laba akatundu 11) e


YAMBA AB’OLUGANDA OKUFUUKA ‘EBIRABO MU BANTU’

13. Kiki Yesu kye yakola okukakasa nti omulimu gwa Kitaawe gweyongera okukolebwa? (Abeefeso 4:8)

13 Yesu bwe yali ku nsi, yakolera ddala omulimu Kitaawe gwe yali amutumye okukola. (Yok. 17:4) Naye teyalina ndowooza egamba nti, ‘Bw’oba oyagala ekintu kikolebwe mu ngeri entuufu, ggwe olina okukyekolera.’ Mu myaka esatu n’ekitundu egy’obuweereza bwe, yatendeka abalala okukola omulimu gw’okubuulira. Bwe yali tannaddayo mu ggulu, yakwasa abayigirizwa be obuvunaanyizibwa obw’okulabirira endiga za Yakuwa n’okuwoma omutwe mu mulimu gw’okubuulira n’okuyigiriza. Abamu ku bayigirizwa abo baali tebannaweza myaka 30. (Soma Abeefeso 4:8.) Abasajja abo baali bakoledde wamu ne Yesu era baali beesigwa gyali. Naye mu nnaku 40 ezaasembayo ng’ali ku nsi yayongera okubatendeka basobole okufuuka ‘ebirabo mu bantu.’ Yabatendeka atya?

14. Yesu yayamba atya abayigirizwa be okweyongera okukula mu by’omwoyo mu nnaku 40 ze yasembayo okubeera ku nsi? (Laba n’ekifaananyi.)

14 Yesu yawabula butereevu abayigirizwa be, naye mu ngeri ey’okwagala. Ng’ekyokulabirako, yakiraba nti abamu ku bo baalinamu okubuusabuusa era bw’atyo n’abatereeza. (Luk. 24:​25-27; Yok. 20:27) Yabayamba okumanya obukulu bw’okukulembeza okuyamba abantu ba Katonda mu kifo ky’okukulembeza emirimu gyabwe. (Yok. 21:15) Yabajjukiza nti kikulu obuteegeraageranya na balala nga baweereza Yakuwa. (Yok. 21:​20-22) Yabayamba okutereeza ezimu ku ndowooza enkyamu ze baalina ku Bwakabaka, era yabayamba n’okwemalira ku mulimu gw’okubuulira. (Bik. 1:​6-8) Biki abakadde bye bayigira ku Yesu?

Koppa Yesu ng’oyamba ab’oluganda okuluubirira okuweebwa obuvunaanyizibwa mu kibiina (Laba akatundu 14)


15-16. (a) Abakadde bayinza batya okukoppa Yesu? Nnyonnyola. (b) Patrick yaganyulwa atya mu kuwabula okwamuweebwa?

15 Abakadde bayinza batya okukoppa Yesu? Basaanidde okutendeka n’okuyamba ab’oluganda, omuli n’abo abakyali abato, okusobola okuweebwa obuvunaanyizibwa obusingawo. c Tebasaanidde kusuubira nti abo be batendeka batuukiridde. Basaanidde okuwabula ab’oluganda abo mu ngeri ey’okwagala basobole okufuna obumanyirivu n’okukitegeera nti kikulu nnyo okuba abeetoowaze, okuba abeesigwa, n’okuba abeetegefu okuweereza abalala.—1 Tim. 3:1; 2 Tim. 2:2; 1 Peet. 5:5.

16 Lowooza ku ngeri ow’oluganda ayitibwa Patrick gye yaganyulwa mu kuwabulwa okwamuweebwa. Bwe yali akyali mutiini, yamalanga googera era teyayisanga balala mu ngeri ey’ekisa, nga mw’otwalidde ne bannyinaffe. Omukadde omu yalaba obunafu bwa Patrick n’amuwabula butereevu naye mu ngeri ey’ekisa. Patrick agamba nti: “Ndi musanyufu nti yampabula. Oluusi nnawuliranga nga mpeddemu amaanyi bwe nnalabanga ab’oluganda abalala nga baweebwa enkizo ze nnali njagala. Naye ow’oluganda oyo bwe yampabula, kyannyamba okukiraba nti kikulu okussa ebirowoozo byange ku kuweereza bakkiriza bannange mu bwetoowaze mu kifo ky’okuweebwa enkizo mu kibiina.” Ekyavaamu Patrick, yakulaakulana era n’alondebwa okuweereza ng’omukadde ng’alina emyaka 23.—Nge. 27:9.

17. Yesu yakiraga atya nti yali yeesiga abayigirizwa be?

17 Yesu yawa abayigirizwa be obuvunaanyizibwa obw’okubuulira n’okuyigiriza. (Mat. 28:20) Abayigirizwa be bayinza okuba nga baawulira nti tebasobola kutuukiriza buvunaanyizibwa obwo. Naye Yesu yali mukakafu nti baali basobola okubutuukiriza. Yabagamba nti: “Nga Kitange bwe yantuma nange mbatuma.”—Yok. 20:21.

18. Abakadde bayinza batya okukoppa Yesu?

18 Abakadde bayinza batya okukoppa Yesu? Abakadde abalina obumanyirivu bawa abalala obuvunaanyizibwa. (Baf. 2:​19-22) Ng’ekyokulabirako, bayamba abavubuka okwenyigira mu kuyonja n’okuddaabiriza ebizimbe by’Obwakabaka. Oluvannyuma lw’okubaako omulimu gwe bakwasa abalala okukola, babatendeka okugukola era ne babeesiga nti bajja kugukola bulungi. Ow’oluganda Matthew eyaakalondebwa okuba omukadde agamba nti asiima nnyo abakadde abamutendeka ng’aliko omulimu ogumu gw’akola, era abamwesiga nti ajja kusobola okugukola obulungi. Agamba nti: “Bwe nkola ensobi bannyamba okulaba engeri gye nnyinza okuyigira ku nsobi ezo, era ekyo kinnyamba okulongoosaamu.” d

19. Kiki kye tusaanidde okuba abamalirivu okukola?

19 Ennaku 40 Yesu ze yasembayo okubeera ku nsi yazikozesa okuzzaamu abalala amaanyi, okubayigiriza, n’okubatendeka. Naffe ka tufube okumukoppa. (1 Peet. 2:21) Ajja kutuyamba nga tufuba okumukoppa. Yagamba nti: “Ndi wamu nammwe ennaku zonna okutuusa ku mafundikira g’enteekateeka y’ebintu.”—Mat. 28:20.

OLUYIMBA 15 Tendereza Omwana wa Yakuwa Omubereberye!

a Ebitabo by’Enjiri n’ebitabo bya Bayibuli ebirala byogera ku mirundi Yesu gye yalabikira abayigirizwa abalala gamba nga Maliyamu Magudaleena (Yok. 20:​11-18); abakazi abalala (Mat. 28:​8-10; Luk. 24:​8-11); abayigirizwa ababiri (Luk. 24:​13-15); Peetero (Luk. 24:34); abatume ng’oggyeeko Tomasi (Yok. 20:​19-24); abatume nga ne Tomasi kw’ali (Yok. 20:26); abayigirizwa omusanvu (Yok. 21:​1, 2); abayigirizwa abasukka mu 500 (Mat. 28:16; 1 Kol. 15:6); muganda we Yakobo (1 Kol. 15:7); abatume bonna (Bik. 1:4); n’abatume nga bali okumpi ne Bessaniya. (Luk. 24:​50-52) Emirundi emirala gye yabalabikira tegyogerwako.—Yok. 21:25.

b Okusobola okumanya obunnabbi obukwata ku Masiya laba ku jw.org/lg ekitundu ekirina omutwe, “Obunnabbi Obukwata ku Masiya Bukakasa nti Yesu Ye Masiya?

c Mu mbeera ezimu, ab’oluganda abatuukiriza ebisaanyizo abali wakati w’emyaka 25-30, basobola okulondebwa okukola ng’abalabirizi abakyalira ebibiina. Kyokka ab’oluganda abo balina okusooka okufuna obumanyirivu nga baweereza ng’abakadde.

d Okusobola okumanya ebisingawo ku ngeri y’okuyambamu ab’oluganda abakyali abavubuka okutuukiriza ebisaanyizo by’okuweereza ng’abaweereza oba abakadde, laba Omunaala gw’Omukuumi ogwa Agusito 2018, lup. 11-12, kat. 15-17, n’Omunaala gw’Omukuumi ogwa Apuli 15, 2015, lup. 3-13.

e EBIFAANANYI: Oluvannyuma lw’oyo amuyigiriza okumuyamba okufumiitiriza ku Byawandiikibwa, omuyizi wa Bayibuli asalawo okweggyako ebintu ebitimbibwa ku Ssekukkulu.