EKITUNDU EKY’OKUSOMA 42
OLUYIMBA 103 Abasumba Birabo
Siima Abo Yakuwa ne Yesu Be Batuwadde “ng’Ebirabo”
“Bwe yalinnya waggulu . . . , yagaba abantu ng’ebirabo.”—BEF. 4:8.
EKIGENDERERWA
Tugenda kulaba engeri abaweereza, abakadde, n’abalabirizi abakyalira ebibiina gye batuyambamu, n’engeri gye tusobola okukiraga nti tusiima ebyo abasajja abo abeesigwa bye bakola.
1. Ebimu ku bintu Yesu by’akoledde abantu bye biruwa?
TEWALI muntu eyali asinze Yesu mu kuyamba abalala. Bwe yali ku nsi, yakola eby’amagero bingi okuyamba abalala. (Luk. 9:12-17) Yatuwa ekirabo ekikyasinzeeyo okuba ekirungi bwe yawaayo obulamu bwe ku lwaffe. (Yok. 15:13) Okuva Yesu bwe yazuukira, akyeyongera okutuyamba. Nga bwe yasuubiza, yasaba Kitaawe okutuwa omwoyo omutukuvu okutuyigiriza n’okutubudaabuda. (Yok. 14:16, 17, obugambo obuli wansi; 16:13) Era ng’ayitira mu nkuŋŋaana zaffe, akyeyongera okutuwa bye twetaaga okusobola okufuula abantu abayigirizwa mu nsi yonna.—Mat. 28:18-20.
2. Baani abazingirwa mu ‘ebirabo mu bantu’ aboogerwako mu Abeefeso 4:7, 8?
2 Lowooza ku kintu ekirala Yesu ky’atukoledde. Omutume Pawulo yagamba nti oluvannyuma lwa Yesu okugenda mu ggulu “yagaba abantu ng’ebirabo.” (Soma Abeefeso 4:7, 8.) Pawulo yagamba nti Yesu yagaba ebirabo ebyo okusobola okuyamba ekibiina mu ngeri ezitali zimu. (Bef. 1:22, 23; 4:11-13) Leero ebirabo mu bantu bazingiramu abaweereza mu kibiina, abakadde, n’abalabirizi abakyalira ebibiina. a Kya lwatu nti abasajja abo tebatuukiridde era bakola ensobi. (Yak. 3:2) Naye Mukama waffe Yesu abakozesa okutuyamba. Mu butuufu, birabo by’atuwadde.
3. Waayo ekyokulabirako ekiraga engeri ffenna gye tuyinza okuwagira omulimu ogukolebwa ‘ebirabo mu bantu.’
3 Yesu yassaawo ebirabo ebyo mu bantu okuzimba ekibiina. (Bef. 4:12) Naye ffenna tusobola okuyamba ab’oluganda abo nga batuukiriza obuvunaanyizibwa obwo obw’amaanyi. Ng’ekyokulabirako, abamu ku ffe twenyigira butereevu mu kuzimba Ebizimbe by’Obwakabaka. Abalala bawagira omulimu ogwo nga baleeta eby’okulya, nga bagula ebintu ebyetaagisa, oba nga bayambako mu ngeri endala. Mu ngeri y’emu, ffenna tusobola okuwagira abaweereza mu kibiina, abakadde, n’abalabirizi abakyalira ebibiina, okuyitira mu bye twogera ne bye tukola. Ka tulabe engeri gye tuganyulwa mu mirimu gye bakola, era n’engeri gye tuyinza okukyoleka nti tubasiima era nti tusiima ne Yesu eyabatuwa “ng’ebirabo.”
ABAWEEREZA MU KIBIINA BAKOLA EMIRIMU EGITUYAMBA
4. Ebimu ku bintu abaweereza mu kibiina bye bayinza okuba nga baali bakola mu kyasa ekyasooka bye biruwa?
4 Mu kyasa ekyasooka, abamu ku b’oluganda baalondebwa okukola ng’abaweereza mu kibiina. (1 Tim. 3:8) Kirabika beebo Pawulo be yayogerako nti baali ‘bayamba abantu.’ (1 Kol. 12:28) Kya lwatu, abaweereza mu kibiina baakolanga emirimu egyetaagisa, kisobozese abakadde okwemalira ku kuyigiriza n’okuzzaamu abalala amaanyi. Ng’ekyokulabirako, bayinza okuba nga baayambangako mu kukoppolola Ebyawandiikibwa oba okugula ebintu ebyali bikozesebwa mu kubikoppolola.
5. Ebimu ku bintu eby’omuganyulo abaweereza bye bakola bye biruwa?
5 Lowooza ku bintu ebimu abaweereza bye bakola mu kibiina kyammwe. (1 Peet. 4:10) Bayinza okuba nga bakola ku by’embalirira y’ekibiina, ebitundu ekibiina bye kirina okubuuliramu, okulagiriza ebitabo n’okubiwa ababuulizi, okukola ku by’amaloboozi ne vidiyo, okwaniriza abagenyi, oba okuyambako mu kuddaabiriza Ekizimbe ky’Obwakabaka. Ebintu ebyo byonna byetaagisa ekibiina okusobola okutambula obulungi. (1 Kol. 14:40) Ate era abamu ku baweereza baba n’ebitundu mu Lukuŋŋaana lw’Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe oba bawa emboozi za bonna. Oluusi omuweereza ayinza okulondebwa okuyambako ow’oluganda akubiriza ekibinja ky’obuweereza. Ebiseera ebimu, abaweereza abalina ebisaanyizo bawerekerako abakadde nga bagenda okuzzaamu ab’oluganda amaanyi.
6. Ezimu ku nsonga ezituleetera okusiima abaweereza mu kibiina ze ziruwa?
6 Ebyo abaweereza bye bakola biganyula bitya ekibiina? Mwannyinaffe Beberly b abeera mu Bolivia agamba nti: “Nsiima nnyo abaweereza kubanga ŋŋanyulwa mu bujjuvu mu nkuŋŋaana. Olw’omulimu gwe bakola, nsobola okuyimba, okubaako kye nziramu mu nkuŋŋaana, okuwuliriza emboozi eziweebwa, n’okuganyulwa mu vidiyo n’ebifaananyi. Bakakasa nti abo ababaawo mu nkuŋŋaana tebatuusibwako kabi, era bayamba abo abatasobodde kujja mu nkuŋŋaana mu buntu okuzeeyungako nga bali waka. Oluvannyuma lw’enkuŋŋaana, bawoma omutwe mu kuyonja, bakola ku ssente eziba ziteekeddwa mu busanduuko, era bakakasa nti tuba n’ebitabo bye twetaaga. Mbasiima nnyo!” Leslie, abeera mu Colombia era ng’omwami we mukadde mu kibiina agamba nti: “Omwami wange yeetaaga nnyo obuyambi bw’abaweereza okusobola okutuukiriza obuvunaanyizibwa obutali bumu. Singa tebaaliwo, yandibadde n’eby’okukola bingi nnyo. N’olw’ekyo mbasiima olw’obunyiikivu bwabwe, n’olw’okuba abeetegefu okuyamba abalala.” Tewali kubuusabuusa nti ffenna tusiima nnyo ebyo abaweereza bye bakola.—1 Tim. 3:13.
7. Tuyinza tutya okukiraga nti tusiima abaweereza? (Laba n’ekifaananyi.)
7 Wadde nga tuyinza okuwulira nti tusima nnyo abaweereza, Bayibuli etukubiriza ‘okulaga nti tusiima.’ (Bak. 3:15) Ow’oluganda ayitibwa Krzysztof abeera mu Finland era ng’aweereza ng’omukadde, akiraga nti asiima abaweereza. Agamba nti: “Mbawandiikirayo akabaluwa oba mbasindikira mesegi omuli ekyawandiikibwa, oba njogera ku kintu omuweereza kye yayogedde oba kye yakoze ekyanzizizzaamu amaanyi, era n’ensonga lwaki nsiima nnyo by’akola.” Ow’oluganda Pascal ne mukyala we Jael ababeera mu New Caledonia, basabira abaweereza olw’ebyo bye bakola. Pascal agamba nti: “Gye buvuddeko awo tubadde tusabira abaweereza nga twebaza Yakuwa olw’okubatuwa, era nga tumusaba abeere nabo era abayambe.” Yakuwa awulira essaala ezo era ekibiina kyonna kiganyulwa.—2 Kol. 1:11.
ABAKADDE MU KIBIINA “ABAKOLA ENNYO MU MMWE”
8. Lwaki Pawulo yagamba nti abakadde ab’omu kyasa ekyasooka baali ‘bakola nnyo’? (1 Abassessalonika 5:12, 13)
8 Abakadde mu kyasa ekyasooka baakolanga nnyo okuyamba ekibiina. (Soma 1 Abassessalonika 5:12, 13; 1 Tim. 5:17) Baalabiriranga ekibiina nga bakubiriza enkuŋŋaana era nga babaako bye basalawo ng’akakiiko k’abakadde. ‘Baabuuliriranga’ bakkiriza bannaabwe era baabawabulanga ku nsonga ezitali zimu okusobola okukuuma ekibiina. (1 Bas. 2:11, 12; 2 Tim. 4:2) Kya lwatu nti abasajja abo era baakolanga nnyo okusobola okusigala nga banywevu mu kukkiriza, era n’okulabirira ab’omu maka gaabwe.—1 Tim. 3:2, 4; Tit. 1:6-9.
9. Egimu ku mirimu abakadde gye bakola leero gye giruwa?
9 Ne leero abakadde bakola nnyo. Babuulizi ba njiri. (2 Tim. 4:5) Babuulira n’obunyiikivu, bateekateeka omulimu gw’okubuulira mu kitundu omuli ekibiina kyabwe, era batendeka abalala basobole okubuulira n’okuyigiriza obulungi. Era bakola ng’abalamuzi abasaasizi era abatalina kyekubiira. Omukristaayo bw’akola ekibi eky’amaanyi, abakadde bafuba okumuyamba asobole okuzzaawo enkolagana ye ne Yakuwa. Mu kiseera kye kimu, bafuba okulaba nti ekibiina kisigala nga kiyonjo. (1 Kol. 5:12, 13; Bag. 6:1) Okusingira ddala, abakadde bakola ng’abasumba. (1 Peet. 5:1-3) Bawa emboozi ze baba bateeseteese obulungi, bafuba okumanya buli omu mu kibiina, era bakyalira bakkiriza bannaabwe basobole okubazzaamu amaanyi. Abakadde abamu bayambako mu kuzimba n’okuddaabiriza Ebizimbe by’Obwakabaka, okuteekateeka enkuŋŋaana ennene, bakola ne ku bukiiko obukwanaganya eby’eddwaliro n’obwo obukola ku kukyalira abalwadde, era balina n’emirimu emirala mingi. Mazima ddala bakola nnyo ku lwaffe!
10. Ezimu ku nsonga lwaki tusiima nnyo abakadde mu kibiina ze ziruwa?
10 Yakuwa yagamba nti abasumba bandibadde batulabirira bulungi era nti twandibadde ‘tetweraliikirira wadde okutya.’ (Yer. 23:4) Mwannyinaffe ayitibwa Johanna abeera mu Finland, yalaba obutuufu bw’ebigambo ebyo maama we bwe yalwala obulwadde obw’amaanyi. Agamba nti: “Wadde nga nzibuwalirwa okubuulira abantu abalala engeri gye nneewuliramu, omukadde gwe nnali simanyi bulungi yaŋŋumiikiriza, yasabira wamu nange, era yankakasa nti Yakuwa anjagala. Sijjukira bulungi bigambo byennyini bye yayogera, naye nzijukira nti nnawulira nga nzikakkanye. Ndi mukakafu nti Yakuwa ye yamusindika okujja okunnyamba mu kiseera ekituufu.” Biki abakadde mu kibiina kyo bye bakoze okukuyamba?
11. Tuyinza tutya okukyoleka nti tusiima abakadde? (Laba n’ekifaananyi.)
11 Yakuwa ayagala tukirage nti tusiima abakadde “olw’omulimu gwe bakola.” (1 Bas. 5:12, 13) Henrietta naye abeera mu Finland, agamba nti: “Abakadde bayamba abalala kyeyagalire, naye ekyo tekitegeeza nti balina ebiseera bingi oba amaanyi mangi okusinga abalala, oba nti bo tebaba na bizibu mu bulamu. Oluusi mbagamba bugambi nti: ‘Oli mukadde mulungi nnyo. Ekyo kye njagadde omanye.’” Mwannyinaffe ayitibwa Sera, abeera mu Butuluuki agamba nti: “Abakadde beetaaga okuzzibwamu amaanyi basobole okweyongera okukola omulimu gwe bakola. N’olw’ekyo tusobola okubawandiikirayo akabaluwa, tuyinza okubayita okuliirako wamu naffe, oba okubuulirako awamu nabo.” Waliwo omukadde mu kibiina kyo gw’osiima ennyo olw’ebyo by’akola? Noonya engeri gy’oyinza okukyolekamu nti osiima.—1 Kol. 16:18.
ABALABIRIZI ABAKYALIRA EBIBIINA BATUZIMBA
12. Nteekateeka ki eyanyweza ebibiina mu kyasa ekyasooka? (1 Abassessalonika 2:7, 8)
12 Kristo Yesu era yalonda abasajja abamu okuyamba ekibiina mu ngeri endala. Nga bakolera ku bulagirizi bwe, abakadde mu Yerusaalemi baatuma Pawulo, Balunabba, n’abalala okukola ng’abalabirizi abakyalira ebibiina. (Bik. 11:22) Lwaki? Olw’ensonga y’emu eyateekesaawo abaweereza n’abakadde: okunyweza ebibiina. (Bik. 15:40, 41) Abasajja abo beefiiriza ebintu bingi okusobola okukola omulimu ogwo era oluusi bassa n’obulamu bwabwe mu kabi okusobola okuyigiriza n’okuzzaamu abalala amaanyi.—Soma 1 Abassessalonika 2:7, 8.
13. Egimu ku mirimu abalabirizi bakyalira ebibiina gye bakola gye giruwa?
13 Abalabirizi abakyalira ebibiina buli kiseera baba batambula. Abamu batambula mayiro nnyingi nnyo okuva mu kibiina ekimu okudda mu kirala. Buli wiiki, omulabirizi awa emboozi eziwerako, agenda okuzzaamu ab’oluganda amaanyi, akubiriza olukuŋŋaana lwa bapayoniya, olw’abakadde, n’enkuŋŋaana z’okugenda okubuulira. Ateekateeka emboozi, awamu n’enkuŋŋaana ez’olunaku olumu n’ez’ennaku essatu. Asomesa mu masomero ga bapayoniya, ateekateeka olukuŋŋaana lwa bapayoniya ababa mu kitundu ky’alabirira, ate era akola ne ku nsonga endala offisi y’ettabi z’eba emugambye okukolako, era ng’ezimu zeetaagisa okukolwako mu bwangu.
14. Ezimu ku nsonga lwaki tusiima abalabirizi abakyalira ebibiina ze ziruwa?
14 Ebibiina biganyulwa bitya mu mirimu emirungi abalabirizi abakyalira ebibiina gye bakola? Ng’ayogera ku balabirizi abakyalira ebibiina, ow’oluganda abeera mu Butuluuki agamba nti: “Buli lumu ku lukyala lwabwe, lundeetera okuwulira nga njagala okukola ekisingawo okuyamba bakkiriza bannange. Nsisinkanye abalabirizi abakyalira ebibiina bangi, naye tewali n’omu ku bo eyali andeeteddeko okulowooza nti alina eby’okukola bingi oba nti si mwangu wa kutuukirira.” Johanna ayogeddwako waggulu, lumu yabuulirako wamu n’omulabirizi akyalira ebibiina naye tebaasanga muntu n’omu waka. Agamba nti: “Wadde kyali kityo, olunaku olwo sirirwerabira. Baganda bange bombi baali baakasengukira mu kitundu ekirala, era nnali mpulira ekiwuubaalo eky’amaanyi. Omulabirizi oyo yanzizaamu amaanyi era yannyamba okukitegeera nti okwawukana ne bannaffe ababa bagenze okuweereza mu kitundu ekirala kwa kaseera buseera. Mu nsi empya tujja kubeera n’ebiseera bingi okubeerako awamu ne bannaffe.” Bangi ku ffe tusiima nnyo abalabirizi abakyalira ebibiina n’engeri gye batuyambamu.—Bik. 20:37–21:1.
15. (a) Nga bwe kiragibwa mu 3 Yokaana 5-8, tuyinza tutya okukiraga nti tusiima abalabirizi abakyalira ebibiina? (Laba n’ekifaananyi.) (b) Tuyinza tutya okukiraga nti tufaayo ku bakyala b’ab’oluganda abalina obuvunaanyizibwa mu kibiina? (Laba akasanduuko “ Jjukira Bakyala Baabwe.”)
15 Omutume Yokaana yakubiriza Gayo okusembeza ab’oluganda abajjanga okuzzaamu ebibiina amaanyi era yamusaba ‘abasiibule mu ngeri esiimibwa Katonda.’ (Soma 3 Yokaana 5-8.) Engeri emu naffe gye tuyinza okukolamu ekyo kwe kuyita omulabirizi akyalira ebibiina okuliirako awamu naffe. Engeri endala kwe kuwagira enteekateeka y’okubuulira mu wiiki gy’aba akyalidde ekibiina kyaffe. Leslie ayogeddwako waggulu, alina engeri endala gy’ayolekamu okusiima. Agamba nti: “Nsaba Yakuwa abayambe okufuna ebyo bye beetaaga. Ate era nze n’omwami wange tubawandiikira amabaluwa, nga tubategeeza engeri gye tuba tuganyuddwa ennyo mu kukyala kwabwe.” Kijjukire nti abalabirizi abakyalira ebibiina nabo bafuna ebizibu era bakoowa nga ffe. Oluusi balwala, bafuna ebibeeraliikiriza, era n’ebibamalamu amaanyi. Oboolyawo omulabirizi akyalira ebibiina ajja kukiraba nti Yakuwa azzeemu okusaba kwe okuyitira mu bigambo eby’ekisa by’onoomugamba, oba ekintu ekirungi ky’onoomukolera.—Nge. 12:25.
TWETAAGA EBIRABO MU BANTU
16. Okusinziira ku Engero 3:27, bibuuzo ki ow’oluganda by’ayinza okwebuuza?
16 Okwetooloola ensi twetaaga ab’oluganda abalala bangi okukola ng’ebirabo mu bantu. Bw’oba ng’oli wa luganda mubatize, ‘osobola okuyambako’ mu nsonga eyo? (Soma Engero 3:27.) Oli mwetegefu okutuukiriza ebisaanyizo eby’okukola ng’omuweereza? Bw’oba ng’oli muweereza, oli mwetegefu okuluubirira okuweereza ng’omukadde? c Oli mwetegefu okukyusa mu nteekateeka zo, n’osaba okugenda mu ssomero ly’Ababuulizi b’Enjiri y’Obwakabaka? Essomero eryo lijja kukutendeka era lijja kukuyamba nnyo, Yesu asobole okukukozesa mu bujjuvu. Bw’oba owulira nga totuukiriza bisaanyizo, saba Yakuwa akuyambe. Musabe akuwe omwoyo gwe omutukuvu, gukuyambe okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwonna bw’oba okwasiddwa.—Luk. 11:13; Bik. 20:28.
17. Okuba nti tulina ebirabo mu bantu, kiraga ki ku Kabaka waffe Kristo Yesu?
17 Okuba nti tulina ab’oluganda abaweereza ng’ebirabo mu bantu, bukakafu obulaga nti Yesu atukulembera mu nnaku zino ez’enkomerero. (Mat. 28:20) Mazima ddala tusiima nnyo okuba nti tulina Kabaka atwagala, omugabi, atufaako, era atuwadde ab’oluganda abafaayo ku byetaago byaffe. N’olw’ekyo, tusaanidde okukozesa buli kakisa ke tufuna okulaga nti tusiima abasajja abo abakola ennyo. Ate tetusaanidde kwerabira kwebazanga Yakuwa ensibuko ya “buli kirabo ekirungi na buli kitone ekituukiridde.”—Yak. 1:17.
OLUYIMBA 99 Ab’Oluganda Bukadde na Bukadde
a Abakadde abaweereza ku Kakiiko Akafuzi, abayambi b’Akakiiko Akafuzi, abaweereza ku Bukiiko bw’Amatabi, n’abaweereza mu ngeri endala, nabo birabo mu bantu.
b Amannya agamu gakyusiddwa.
c Okumanya ebisingawo ku ngeri gy’oyinza okutuukiriza ebisaanyizo by’okuweereza ng’omuweereza mu kibiina oba omukadde, laba ebitundu “Ab’Oluganda—Muluubirira Okufuuka Abaweereza mu Kibiina?” ne “Ab’Oluganda—Muluubirira Okuweereza ng’Abakadde mu Kibiina?” mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Noovemba 2024.