EKITUNDU EKY’OKUSOMA 40
OLUYIMBA 30 Kitange, Katonda Wange era Mukwano Gwange
Yakuwa “Awonya Abamenyese Omutima”
“Awonya abamenyese omutima; asiba ebiwundu byabwe.” —ZAB. 147:3.
EKIGENDERERWA
Yakuwa afaayo nnyo ku abo ababa n’obulumi ku mutima. Ekitundu kino kigenda kulaga engeri gy’atubudaabudamu bwe tuba nga tuli mu bulumi, era n’engeri gy’atusobozesa okubudaabuda abalala.
1. Yakuwa awulira atya bw’atunuulira abaweereza be, era kiki ky’akolawo?
YAKUWA bw’atunuulira abaweereza be ku nsi, kiki ky’alaba? Alaba ebintu ebituleetera essanyu n’ebyo ebituleetera obulumi. (Zab. 37:18) Bw’akiraba nti tufuba okumuweereza n’omutima gwaffe gwonna wadde nga waliwo ebintu ebituleetera obulumi asanyuka nnyo. Era aba mwetegefu okutuyamba n’okutubudaabuda.
2. Kiki Yakuwa ky’akolera abo abalina omutima ogumenyese, era tuyinza tutya okuganyulwa mu buyambi bw’awa?
2 Zabbuli 147:3 wagamba nti Yakuwa “asiba ebiwundu” by’abo abalina omutima ogumenyese. Ekyawandiikibwa ekyo kiraga nti Yakuwa afaayo nnyo ku abo ababa n’obulumi ku mutima. Kiki kye tusaanidde okukola okusobola okuganyulwa mu buyambi Yakuwa bw’atuwa? Lowooza ku kyokulabirako kino. Omusawo omukugu asobola okubaako ne kyakolawo okuyamba omuntu afunye ebiwundu okuwona. Kyokka omuntu oyo okusobola okuwona alina okukolera ku bulagirizi bw’omusawo. Mu kitundu kino tugenda kulaba ebyo Yakuwa by’agamba abo abalina obulumi ku mutima, era tugenda kulaba engeri gye tuyinza okukolera ku magezi gaawa.
YAKUWA ATUKAKASA NTI TULI BA MUWENDO
3. Lwaki abamu bawulira nti tebalina mugaso?
3 Tuli mu nsi etaliimu kwagala era kiviiriddeko abantu bangi okuwulira nti tebalina mugaso. Mwannyinaffe Helen a agamba nti: “Nnakulira mu maka omutaali kwagala. Taata waffe yali mukambwe nnyo era buli lunaku yatugambanga nti tetulina mugaso.” Oboolyawo okufaananako Helen, naawe waliwo omuntu eyakuyisanga obubi, eyakuvumanga, oba eyakuleetera okuwulira nti toyagalibwa. Bwe kiba kityo, kiyinza okukuzibuwalira okukikkiriza nti eriyo omuntu yenna ayinza okukulaga okwagala okwa nnamaddala.
4. Okusinziira ku Zabbuli 34:18, kiki Yakuwa ky’atukakasa?
4 Abalala ne bwe baba nga baakuyisa bubi, osobola okuba omukakafu nti Yakuwa akwagala era akutwala nti oli wa muwendo. “Ali kumpi n’abo abalina omutima ogumenyese.” (Soma Zabbuli 34:18.) Bw’oba ng’olina obulumi ku mutima, kijjukire nti Yakuwa alina ebirungi bye yakulabamu era ye yakusembeza gy’ali. (Yok. 6:44) Bulijjo mwetegefu okukuyamba olw’okuba oli wa muwendo gy’ali.
5. Kiki kye tuyiga ku ngeri Yesu gye yayisangamu abo abaali banyoomebwa abalala?
5 Tusobola okumanya engeri Yakuwa gy’atutwalamu nga twekenneenya ekyokulabirako Yesu kye yassaawo. Yesu yeetegerezanga abo abaali banyoomebwa abalala era yabasaasiranga. (Mat. 9:9-12) Ng’ekyokulabirako, omukazi eyalina ekirwadde eky’amaanyi bwe yakwata ku kyambalo kye ng’asuubira okuwonyezebwa, Yesu yamubudaabuda era n’amusiima olw’okukkiriza kwe. (Mak. 5:25-34) Yesu ayolekera ddala engeri za Kitaawe. (Yok. 14:9) N’olw’ekyo, osobola okuba omukakafu nti Yakuwa akutwala ng’oli wa muwendo gy’ali era nti alaba engeri ennungi z’olina omuli okukkiriza n’okwagala kw’olina gy’ali.
6. Kiki ekiyinza okuyamba omuntu awulira nti talina mugaso?
6 Kiki ky’osaanidde okukola singa oluusi n’oluusi owulira nti tolina mugaso? Soma ebyawandiikibwa ebiraga nti Yakuwa akutwala ng’oli wa muwendo era obifumiitirizeeko. b (Zab. 94:19) Bw’oba ng’olina ekiruubirirwa ky’oyagala okutuukako, oba ng’owulira ng’oweddemu amaanyi olw’okuba tokyasobola kukola bingi ng’abalala, teweesalira musango. Yakuwa takusuubiramu kyotosobola. (Zab. 103:13, 14) Bwe kiba nti waliwo eyayogera oba eyakola ebintu ebyakulumya, teweesalira musango olw’ebyo omuntu oyo bye yakukola. Wali togwanidde kuyisibwa bw’otyo! Kijjukire nti abo abakola ebintu ebikyamu Yakuwa baavunaana so si abo abakoleddwako ebintu ebyo. (1 Peet. 3:12) Sandra eyayisibwa obubi ng’akyali mwana muto agamba nti: “Bulijjo nsaba Yakuwa annyambe okwetunuulira mu ngeri ennungi, kwe kugamba, okwetunuulira nga ye bw’antunuulira.”
7. Ebyo bye twayitamu emabega, tuyinza tutya okubikozesa nga tuweereza Yakuwa?
7 Bulijjo kijjukirenga nti Yakuwa asobola okukukozesa okuyamba abalala. Akuwadde enkizo ey’okukolera awamu naye mu mulimu gw’okubuulira. (1 Kol. 3:9) Ebyo bye wayitamu biyinza okuba nga bikuleetedde okulumirirwa abalala oboolyawo n’okumanya engeri gye baba bawuliramu. Waliwo bingi by’osobola okukola okubayamba. Helen ayogeddwako waggulu yayambibwa, era naye kati asobola okuyamba abalala. Agamba nti: “Nze omuntu ataalina bwendi Yakuwa annyambye okuwulira nti ndi wa mugaso era nti nsobola n’okuyamba abalala.” Kati Helen aweereza nga payoniya owa bulijjo era musanyufu nnyo.
YAKUWA AYAGALA TUKIKKIRIZE NTI MWETEGEFU OKUTUSONYIWA
8. Ebyo bye tusoma mu Isaaya 1:18 bitukakasa ki?
8 Abamu ku baweereza ba Yakuwa bakyeraliikirira olw’ebibi bye baakola mu biseera by’emabega nga tebannabatizibwa oba nga bamaze okubatizibwa. Naye tusaanidde okukijjukira nti Yakuwa yawaayo ekinunulo olw’okuba atwagala nnyo. Tewali kubuusabuusa nti ayagala tukkirize ekirabo ekyo. Atukakasa nti bwe ‘tutereeza ensonga’ c wakati waffe naye, aba takyatuvunaana bibi bye tuba twakola. (Soma Isaaya 1:18.) Mazima ddala tusiima nnyo okuba nti Kitaffe atwagala yeerabira ebibi bye tuba twakola! Kyokka era teyeerabira birungi bye tukola.—Zab. 103:9, 12; Beb. 6:10.
9. Lwaki tusaanidde okussa ebirowoozo byaffe ku bintu ebiriwo mu kiseera kino n’ebyo ebijja mu maaso, mu kifo ky’okubimalira ku bintu eby’emabega?
9 Bw’oba nga weeraliikirira olw’ebibi bye wakola mu biseera eby’emabega, fuba okussa ebirowoozo byo ku bintu ebiriwo kati n’ebyo ebijja mu maaso, mu kifo ky’okubimalira ku bintu eby’emabega. Lowooza ku kyokulabirako ky’omutume Pawulo. Yejjusa olw’okuba yayigganya nnyo Abakristaayo, naye yali akimanyi nti Yakuwa yamusonyiwa. (1 Tim. 1:12-15) Yeeyongera okussa ebirowoozo bye ku bibi bye yakola mu biseera eby’emabega? Kya lwatu ekyo teyakikola, ng’era bwatassa birowoozo bye ku bintu bye yali atuuseeko mu ddiini y’Ekiyudaaya. (Baf. 3:4-8, 13-15) Mu kifo ky’ekyo, Pawulo yafuba okutuukiriza obuweereza bwe era nassa ebirowoozo bye ku biseera eby’omu maaso. Okufaananako Pawulo, tosobola kukyusa ebyaliwo emabega. Naye osobola okutendereza Yakuwa n’okumusanyusa mu kiseera kino era n’okussa ebirowoozo byo ku bintu ebirungi by’asuubiza.
10. Kiki kye tusaanidde okukola bwe kiba nti ebintu bye twakola mu biseera eby’emabega biriko be byalumya?
10 Oyinza okuba ng’owulira bubi olw’okuba ebimu ku bintu bye wakola mu biseera eby’emabega birina be byalumya. Kiki ekiyinza okukuyamba? Kola kyonna ky’osobola okutereeza ensonga, nga mw’otwalidde okwetondera be walumya. (2 Kol. 7:11) Saba Yakuwa ayambe abo be walumya. Ggwe n’abo be walumya asobola okubayamba okugumiikiriza n’okuddamu okufuna emirembe.
11. Kiki kye tuyigira ku nnabbi Yona? (Laba n’ekifaananyi ku .)
11 Yigira ku nsobi ze wakola mu biseera eby’emabega, era ba mwetegefu okukkiriza Yakuwa okukukozesa mu ngeri yonna gy’aba asazeewo. Lowooza ku nnabbi Yona. Mu kifo ky’okugenda e Nineeve nga Yakuwa bwe yali amulagidde, yasalawo kugenda walala. Yakuwa yakangavvula Yona era Yona yayigira ku nsobi ye. (Yon. 1:1-4, 15-17; 2:7-10) Yakuwa teyalekeraawo kukozesa Yona nga nnabbi. Yaddamu okumutuma e Nineeve era ku luno Yona teyalonzalonza kugenda. Wadde nga Yona yejjusa olw’ensobi gye yali akoze, yakkiriza okukola ekyo Yakuwa kye yamugamba okukola.—Yon. 3:1-3.
YAKUWA ATUBUDAABUDA NG’AKOZESA OMWOYO GWE OMUTUKUVU
12. Yakuwa atuwa atya emirembe bwe tuba nga twolekagana n’ekizibu eky’amaanyi? (Abafiripi 4:6, 7)
12 Ekintu ekibi ennyo bwe kitutuukako, Yakuwa akozesa omwoyo gwe omutukuvu okutubudaabuda. Lowooza ku ekyo ekyatuuka ku w’oluganda Ron ne mukyala we Carol. Baafuna obulumi obw’amaanyi mutabani waabwe bwe yetta. Bagamba nti: “Twali tuzze tufuna ebizibu eby’amaanyi, naye kino kye kyabisinga byonna. Emirundi mingi bwe twabulwanga otulo ekiro, twasabanga Yakuwa okutuyamba era twafunanga emirembe egyogerwako mu Abafiripi 4:6, 7.” (Soma.) Bw’oba ng’olina ekizibu eky’amaanyi ky’oyolekagana nakyo, tegeeza Yakuwa ebikuli ku mutima ng’omusaba emirundi gyonna gy’oyagala era okumala ekiseera ky’oyagala. (Zab. 86:3; 88:1) Buli kiseera musabe akuwe omwoyo gwe omutukuvu. Ajja kuddamu essaala zo.—Luk. 11:9-13.
13. Omwoyo omutukuvu guyinza gutya okutuyamba okweyongera okuweereza Yakuwa n’obwesigwa? (Abeefeso 3:16)
13 Owulira nga tolina maanyi olw’ekintu ekibi ennyo ekyakutuukako? Omwoyo omutukuvu gusobola okukuwa amaanyi ne weeyongera okuweereza Yakuwa n’obwesigwa. (Soma Abeefeso 3:16.) Lowooza ku mwannyinaffe ayitibwa Flora. Ye n’omwami we baali baweereza ng’abaminsani, naye omwami we n’ayenda era ne bagattululwa. Agamba nti: “Obulumi bwe nnafuna bw’ali bwa maanyi nnyo, ne kiba nti nnali sirina kintu kirala kyonna kye ndowoozaako. Nnasaba Yakuwa ampe omwoyo gwe omutukuvu nsobole okugumiikiriza. Yakuwa yampa kye nnali nneetaaga okuwona n’okugumira ekintu mu kusooka kye nnali ndowooza nti siyinza kukigumira.” Flora akiraba nti Yakuwa amuyambye okweyongera okumwesiga era nti ajja kumuyamba ne mu bigezo ebirala byonna byanaayolekagana nabyo. Agamba nti: “Ebigambo ebiri mu Zabbuli 119:32 byatuukirira ku nze. Wagamba nti: ‘Nja kugondera ebiragiro byo, kubanga obiwa ekifo mu mutima gwange.’”
14. Biki bye tulina okukola okufuna omwoyo omutukuvu?
14 Bw’osaba Yakuwa okukuwa omwoyo gwe omutukuvu, oyinza otya okukolera ku ssaala yo? Kola ebintu ebinaakusobozesa okufuna omwoyo gwa Katonda omutukuvu. Ebintu ebyo bizingiramu okubangawo mu nkuŋŋaana n’okubuulira abalala. Soma Ekigambo kya Katonda buli lunaku kikuyambe okufumiitirizanga ku birowoozo bye. (Baf. 4:8, 9) Bw’oba osoma, weetegereze abantu aboogerwako mu Bayibuli abaayolekagana n’ebizibu era ofumiitirize ku ngeri Yakuwa gye yabayamba okubigumira. Sandra ayogeddwako waggulu, yafuna ebizibu eby’amaanyi eby’okumukumu. Agamba nti: “Ebyo Bayibuli by’eyogera ku Yusufu binkwatako nnyo. Teyakkiriza butali bwenkanya n’ebizibu bye yayolekagana nabyo okwonoona enkolagana ye ne Yakuwa.”—Lub. 39:21-23.
YAKUWA ATUBUDAABUDA OKUYITIRA MU BAKKIRIZA BANNAFFE
15. Baani abayinza okutubudaabuda era bayinza kukikola batya? (Laba n’ekifaananyi.)
15 Bwe tuba n’ebizibu eby’amaanyi, bakkiriza bannaffe basobola okutubudaabuda. (Bak. 4:11) Engeri Yakuwa gy’akiragamu nti atwagala kwe kukozesa bakkiriza bannaffe okutuyamba. Bakkiriza bannaffe batubudaabuda nga babeerako wamu naffe era nga batuwuliriza nga tubabuulira engeri gye twewuliramu. Bayinza okutusomerayo ekyawandiikibwa ekizzaamu amaanyi oba okusabirako awamu naffe. d (Bar. 15:4) Oluusi mukkiriza munnaffe ayinza okutujjukiza endowooza Yakuwa gy’alina ku kintu ekimu ne kituyamba okusigala nga tulina endowooza ennuŋŋamu. Bakkiriza bannaffe era bayinza okubaako ebintu bye batukolera, gamba ng’okututeekerateekera eky’okulya nga tuli mu nnaku.
16. Kiki kye tuyinza okwetaaga okukola abalala okusobola okutuyamba?
16 Okusobola okufuna obuyambi okuva eri abalala, kiyinza okutwetaagisa okubasaba okutuyamba. Bakkiriza bannaffe batwagala nnyo era baagala okutuyamba. (Nge. 17:17) Naye bayinza obutamanya ngeri gye twewuliramu oba kiki kye twetaaga. (Nge. 14:10) Bw’oba ng’olina obulumi ku mutima, buulirako mikwano gyo abakulu mu by’omwoyo engeri gye weewuliramu. Bategeeze ekiyinza okukuyamba. Oyinza okusalawo okubuulirako omukadde omu oba babiri abakwanguyira. Bannyinnaffe abamu kibanguyira okubaako mwannyinnaffe omukulu mu by’omwoyo gwe beeyabiza.
17. Ebimu ku bintu ebiyinza okutulemesa okubudaabudibwa bye biruwa, era tuyinza tutya okubivvuunuka?
17 Weewale okweyawula ku balala. Olw’obulumi bw’oyitamu, oyinza okuba ng’owulira toyagala kubeera wamu na balala. Oluusi bakkiriza bano bayinza okukutegeera obubi oba bayinza okwogera ebigambo ebikulumya. (Yak. 3:2) Tokkiriza bintu ng’ebyo kukuleetera kweyawula ku bakkiriza banno, kubanga Yakuwa asobola okubakozesa okukuzzaamu amaanyi. Ow’oluganda ayitibwa Gavin aweereza ng’omukadde, alina obulwadde bw’okwennyamira. Agamba nti: “Emirundi mingi mpulira nga saagala kubeera wamu na balala.” Wadde kiri kityo, Gavin takkiriza nneewulira eyo kumuleetera kweyawula ku balala era aganyulwa nnyo bw’abeera awamu n’abalala. Mwannyinnaffe ayitibwa Amy agamba nti: “Olw’ebyo bye nnayitamu mu biseera eby’emabega, nzibuwalirwa okwesiga abantu. Naye ŋŋenda njiga okwagala baganda bange n’okubeesiga, nga Yakuwa bw’abaagala era bw’abeesiga. Nkimanyi nti kino kisanyusa Yakuwa era nange kindeetera essanyu.”
EBISUUBIZO BYA YAKUWA BISOBOLA OKUKUBUDAABUDA
18. Biki bye twesunga mu biseera eby’omu maaso, era mu kiseera kino kiki kye tusaanidde okukola?
18 Mu kiseera ekitali kya wala, Yakuwa agenda kuggyawo ebintu byonna ebituleetera ennaku n’obulumi. (Kub. 21:3, 4) Mu kiseera ekyo, ebintu ebituleetedde obulumi mu kiseera kino “tebirisigala mu mutima.” (Is. 65:17) Nga bwe tulabye, ne mu kiseera kino Yakuwa ‘asiba ebiwundu byaffe.’ Kozesa mu bujjuvu ebintu Yakuwa by’ataddewo okusobola okukubudaabuda. Era kijjukirenga nti ‘akufaako.’—1 Peet. 5:7.
OLUYIMBA 7 Yakuwa, Ggwe Maanyi Gaffe
a Amannya gakyusiddwa.
b Laba akasanduuko, “ Oli wa Muwendo mu Maaso ga Yakuwa.”
c Okusobola ‘okutereeza ensonga’ ne Yakuwa, kitwetaagisa okukiraga nti twenenyezza mu bwesimbu, nga tumusaba atusonyiwe ebibi byaffe era nga tukyusa enneeyisa yaffe. Bwe kiba nti ekibi kye twakola kyali kya maanyi, era tuba tulina n’okutuukirira abakadde mu kibiina batuyambe.—Yak. 5:14, 15.
d Ng’ekyokulabirako, laba ebyawandiikibwa ebiri wansi w’omutwe “Okubudaabuda” ne “Okweraliikirira” mu kitabo Emisingi gya Bayibuli Egisobola Okutuyamba mu Bulamu.