Ebibuuzo Ebiva mu Basomi
Ekisasi ky’oku yeekaalu ya Sulemaani kyali kyenkana wa obugulumivu?
Mu kisasi mwe baayitanga okuyingira mu Awatukuvu wa yeekaalu. Kopi za Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya ezaakubibwa ng’omwaka 2023 tegunnatuuka, ziraga nti “ekisasi ekyali ku nnyumba mu maaso, obuwanvu kyali emikono 20, ng’obugazi bwakyo bwenkanankana n’obugazi bw’ennyumba, ate obugulumivu kyali 120.” (2 Byom. 3:4) Enkyusa endala eza Bayibuli nazo ziraga nti ekisasi kyali “emikono 120” obugulumivu, kwe kugamba ffuuti 175!
Kyokka kopi z’Enkyusa ey’Ensi Empya ezaakubibwa mu 2023 bwe ziba zoogera ku kisasi kya yeekaalu ya Sulemaani zigamba nti, “kyali emikono 20,” oba ffuuti nga 30 obugulumivu. a Weetegereze ezimu ku nsonga lwaki enkyukakyuka eyo yakolebwa.
Obugulumivu bw’ekisasi tebwogerwako mu 1 Bassekabaka 6:3. Mu lunyiriri olwo, Yeremiya omuwandiisi w’ekitabo ekyo yayogera ku buwanvu bw’ekisasi, naye teyayogera ku bugulumivu bwakyo. Ate mu ssuula eddako yayogera ku kalonda akwata ku bintu ebitali bimu ebyali ku yeekaalu, nga mu bino mwe mwali ttanka ey’ekikomo, ebigaali ekkumi, n’empagi ebbiri ez’ekikomo ezaali wabweru w’ekisasi. (1 Bassek. 7:15-37) Singa ddala ekisasi kyali kiweza ffuuti ezisukka mu 170 obugulumivu era nga kye kisinga obuwanvu ku kizimbe kyonna ekya yeekaalu, lwaki Yeremiya teyayogera ku bugulumivu bwakyo? N’oluvannyuma nga wayiseewo ebyasa, abawandiisi Abayudaaya baagamba nti ekisasi kyali tekisinga kizimbe kyonna ekya yeekaalu ya Sulemaani obugulumivu.
Abeekenneenya babuusabuusa obanga ddala ebisenge bya yeekaalu byali bisobola okuwanirira ekisasi ekiweza emikono 120 obugulumivu. Ebizimbe eby’edda ebyali ebiwanvu ennyo ebyazimbibwa amayinja ne bbulooka gamba ng’emiryango gy’oku yeekaalu z’omu Misiri, byabanga bigazi wansi ate nga waggulu bifunda. Naye yeekaalu ya Sulemaani yo yali ya njawulo. Abeekenneenya bagamba nti amayinja agaakozesebwa okuzimba ebisenge byayo gaali tegasukka fuuti mwenda obugazi. Eyo ye nsonga lwaki Theodor Busink anoonyereza ku ngeri ebizimbe by’edda gye byazimbibwamu yagamba nti: “Okusinziira ku bugazi bw’amayinja agaakozesebwa okuzimba [omulyango gwa yeekaalu], ekisasi kyali tekisobola kuba nga kiweza emikono 120 [obugulumivu].”
Ensobi eyinza okuba nga yakolebwa mu kukoppolola 2 Ebyomumirembe 3:4. Wadde ng’ebiwandiiko ebimu eby’edda byogera ku mikono “120” mu lunyiriri olwo, ebiwandiiko ebirala ebyesigika, gamba nga Codex Alexandrinus eky’omu kyasa eky’okutaano ne Codex Ambrosianus eky’omu kyasa eky’omukaaga, byogera ku “mikono 20” mu lunyiriri olwo. Lwaki abakoppolozi bayinza okuba nga baakola ensobi ne bawandiika “120”? Mu Lwebbulaniya, ekigambo “kikumi” n’ekigambo “emikono” bifaanagana. N’olwekyo omukoppolozi ayinza okuba nga yawandiika ekigambo “kikumi” mu kifo ky’okuwandiika ekigambo “emikono.”
Kya lwatu, wadde nga tufuba okutegeera kalonda oyo n’okuba nti bwe tuba tukuba ekifaananyi kya yeekaalu ya Sulemaani tufuba okukuba ekifaananyi ekituufu, okusingira ddala essira tulissa ku ekyo yeekaalu eyo kye yali esongako, ng’eno ye yeekaalu enkulu ey’eby’omwoyo. Tusiima nnyo Yakuwa olw’okusembeza abaweereza be bonna okumusinziza mu yeekaalu eyo!—Beb. 9:11-14; Kub. 3:12; 7:9-17.
a Obugambo obuli wansi bulaga nti wadde “ng’ebimu ku biwandiiko eby’edda biraga nti gyali emikono ‘120,’ ebiwandiiko ebirala n’enzivuunula za Bayibuli ezimu biraga nti gyali ‘emikono 20.’”