Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

Obukakafu n’akabonero Abakristaayo abaafukibwako amafuta bye bafuna okuva eri Katonda bye biki?​—2 Kol. 1:21, 22.

Mu biseera by’edda, empeta eramba yakozesebwanga okuteeka akabonero ku biwandiiko okukakasa nti bituufu

Obukakafu: Okusinziira ku kitabo ekimu, ekigambo ky’Oluyonaani ekyavvuunulwa “obukakafu” mu 2 Abakkolinso 1:22 kigambo ekyakozesebwanga mu “by’obusuubuzi ne mu by’amateeka” okutegeeza “omuwendo gwa ssente omuntu z’asasulako oba z’asiba ku kintu ky’agenda okugula okukakasa nti ddala agenda kukitwala oba okunyweza endagaano.” Empeera enzijuvu abaafukibwako amafuta gye bajja okusasulwa eyogerwako mu 2 Abakkolinso 5:1-5. Bajja kusasulwa mu bujjuvu nga baweebwa omubiri ogw’omu ggulu ogutavunda n’obulamu obutasobola kuzikirizibwa.​—1 Kol. 15:48-54.

Mu Luyonaani olwogerwa leero, ekigambo ekirina akakwate n’ekigambo ekyavvuunulwa “obukakafu” kikozesebwa ku mpeta omusajja gy’awa omukazi ng’amusuubiza nti agenda kumuwasa. Ekyokulabirako ekyo kituukirawo bulungi ku abo abagenda okufuuka omukazi wa Kristo.​—2 Kol. 11:2; Kub. 21:2, 9.

Akabonero: Mu biseera eby’edda akabonero kaateekebwanga ku kintu okulaga obwa nnannyini ku kintu ekyo, okulaga nti si kigingirire, oba okukakasa endagaano. Mu ngeri y’emu, ng’akozesa omwoyo omutukuvu, Katonda ateeka akabonero ku baafukibwako amafuta era ng’akabonero ako kalaga nti abalinako obwa nnannyini. (Bef. 1:13, 14) Kyokka akabonero ako si ka nkomeredde, kubanga akabonero ak’enkomeredde kabateekebwako nga banaatera okufa oba ng’ekibonyoobonyo ekinene kinaatera okutandika.​—Bef. 4:30; Kub. 7:2-4.