Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Obuweereza Bwo Bulinga Omusulo?

Obuweereza Bwo Bulinga Omusulo?

OBUWEEREZA bwaffe bukulu nnyo era bwa muganyulo. Naye abantu abamu be tubuulira tebasiima bubaka bwaffe. Wadde ng’abantu abamu basiima obubaka obuli mu Bayibuli, tebaagala kuyiga naffe Bayibuli.

Bw’atyo Gavin bwe yali. Yatandika okugendanga mu nkuŋŋaana naye n’agaana okuyigirizibwa Bayibuli. Agamba nti: “Nnali mmanyi kitono ku Byawandiikibwa era nga saagala balala bakimanye. Nnali ntya nti bayinza okumbuzaabuza era nnali saagala kusuubiza kukola kintu kye nnali nnyinza obutatuukiriza.” Singa wali oyogeddeko ne Gavin, wandimututte otya? Wandimututte ng’omuntu atasobola kukyusa ndowooza ye? Tewandimututte bw’otyo singa ofumiitiriza ku bigambo bino Yakuwa bye yagamba Abayisirayiri. Yabagamba nti: “Ebigambo byange binaagwa ng’omusulo, ng’enkuba etonnya empola empola ku muddo.” (Ma. 31:19, 30; 32:2) Lowooza ku bintu ebimu ebikwata ku musulo ebisobola okutuyamba okulaba engeri gye tuyinza okuyamba abantu aba buli ngeri mu buweereza bwaffe.​—1 Tim. 2:3, 4.

MU NGERI KI OBUWEEREZA BWAFFE GYE BUYINZA OKUBA NG’OMUSULO?

Omusulo gugwa mpolampola. Omusulo tegugwa mulundi gumu, wabula gugwa mpolampola. Ebigambo bya Yakuwa ‘byagwa ng’omusulo’ mu ngeri nti yayogera mu ngeri ey’ekisa era ey’obukkakkamu eri abantu be. Tusobola okukoppa Yakuwa nga naffe tussa ekitiibwa mu ndowooza z’abalala. Tukubiriza abantu okwerowooleza bo bennyini beesalirewo. Bwe tukola bwe tutyo, kyanguyira abantu okukkiriza obubaka bwaffe era obuweereza bwaffe buvaamu ebirungi.

Omusulo guweweeza. Obuweereza bwaffe busobola okuzzaamu abalala amaanyi singa tulowooza ku ngeri gye tuyinza okubayambamu okukulaakulana. Gavin, ayogeddwako waggulu teyawalirizibwa kukkiriza kuyiga Bayibuli. Mu kifo ky’ekyo, Chris, ow’oluganda eyasooka okumutuukirira, yalowooza ku ngeri ezitali zimu ze yali asobola okukozesa okuleetera Gavin okwagala okuyiga Bayibuli. Chris yayamba Gavin okukimanya nti Bayibuli erina ensonga enkulu kwe yeetooloolera era nti okutegeera ensonga eyo kyandimuyambye okwongera okuganyulwa mu nkuŋŋaana z’ekibiina. Ate era Chris yamugamba nti obunnabbi obuli mu Bayibuli ye bwe bwamuyamba okukiraba nti Bayibuli yeesigika. N’ekyavaamu, Chris ne Gavin baatandika okukubaganya ebirowoozo ku kutuukirizibwa kw’obunnabbi obuli mu Bayibuli. Ebyo bye baayogerako byasanyusa nnyo Gavin era oluvannyuma n’akkiriza okuyiga Bayibuli.

Omusulo guyamba ebimera obutafa. Mu nsi ya Isirayiri, enkuba etera okumala ekiseera kiwanvu nga tetonnya. Singa omusulo tegugwa ku bimera ne bifuna amazzi, byandibadde bifa. Mu nsi leero mulimu ekyeya eky’eby’omwoyo, Yakuwa kye yayogerako. (Am. 8:11) Yakuwa yagamba nti abaafukibwako amafuta bandibadde “ng’omusulo oguva eri Yakuwa” nga balangirira obubaka obukwata ku Bwakabaka bwa Katonda nga bayambibwako ‘ab’endiga endala.’ (Mi. 5:7; Yok. 10:16) Tukiraba nti obubaka bw’Obwakabaka bwe tubuulira bulinga omusulo oguwonya obulamu?

Omusulo mukisa okuva eri Yakuwa. (Ma. 33:13) Obuweereza bwaffe busobozesa abantu okufuna emikisa. Bwe kityo bwe kyali eri Gavin. Okuyiga Bayibuli kyamuyamba okufuna eby’okuddamu mu bibuuzo byonna bye yali yeebuuza. Yakulaakulana n’abatizibwa era kati ye ne mukyala we, Joyce, bafuna essanyu lingi mu kubuulira abalala amawulire amalungi ag’Obwakabaka.

Abaweereza ba Yakuwa babunyisa buli wamu obubaka bw’Obwakabaka

OBUWEEREZA BWO BUTWALE NGA BUKULU

Okufumiitiriza ku musulo era kisobola okutuyamba okutwala obuweereza bwaffe nga bukulu. Mu ngeri ki? Ettondo ly’omusulo erimu teririna kya maanyi kye likola ku ttaka, naye amatondo g’omusulo amangi gannyikiza ettaka. Mu ngeri y’emu, ebyo bye tukola kinnoomu nga tuweereza Katonda tuyinza okubitwala ng’ebitali bikulu. Naye tusaanidde okukijjukira nti ebintu abantu ba Yakuwa bye bakola kinnoomu bwe bigattibwa awamu bisobozesa obujulirwa okuweebwa mu ‘mawanga gonna.’ (Mat. 24:14) Obuweereza bwaffe bunaaba ng’omukisa gwa Yakuwa eri abalala? Bwe butyo bwe bujja okuba singa obubaka bwe tubabuulira buba ng’omusulo, kwe kugamba, singa tubuulira abantu mu ngeri ey’ekisa, ebazzaamu amaanyi, era eneebasobozesa okuwonawo!