Bwe Twoleka Okukkiriza, Tusiimibwa Katonda
“Mukoppe abo abafuna ebisuubizo okuyitira mu kukkiriza ne mu kugumiikiriza.”—BEB. 6:12.
ENNYIMBA: 86, 54
1, 2. Kusoomooza ki Yefusa ne muwala we kwe baayolekagana nakwo?
OMUWALA adduka okukulisaayo kitaawe. Asanyuse nnyo okulaba nga kitaawe akomyewo mirembe okuva mu lutalo lw’awangudde. Naye mu kifo kya kitaawe okusanyukira awamu naye n’okuyimbira awamu naye, ayuza ebyambalo bye n’agamba nti: “Zinsanze, muwala wange! Onnakuwazza nnyo.” Oluvannyuma ayogera ebigambo ebigenda okukyusiza ddala obulamu bwa muwala we. Wadde kiri kityo, muwala we amukubiriza okutuukiriza ekyo kye yasuubiza Yakuwa. Ebyo muwala we by’ayogera biraga nti alina okukkiriza okw’amaanyi. Mukakafu nti ekyo kyonna Yakuwa ky’amusaba okukola kivaamu ebirungi. (Balam. 11:34-37) Kitaawe w’omuwala oyo asanyuka nnyo okulaba nga muwala we mwetegefu okukolera ku ekyo kye yasuubiza Yakuwa kubanga akimanyi nti ekyo kisanyusa Yakuwa.
2 Yefusa ne muwala we baali bakakafu nti okukola ebintu nga Yakuwa bw’ayagala kyandivuddemu ebirungi, wadde nga tekyali kyangu. Okusiimibwa Yakuwa kye kintu kye baali batwala
ng’ekikulu okusinga ekintu ekirala kyonna.3. Lwaki ekyokulabirako Yefusa ne muwala we kye baateekawo kyamuganyulo nnyo gye tuli leero?
3 Si kyangu kusigala nga tuli beesigwa eri Yakuwa buli kiseera. Eyo ye nsonga lwaki Bayibuli etukubiriza “okulwanirira ennyo okukkiriza.” (Yud. 3) Okusobola okumanya engeri gye tuyinza okulwanirira okukkiriza kwaffe, ka tulabe okusoomooza Yefusa ne muwala we kwe baayolekagana nakwo. Kiki ekyabayamba okusigala nga beesiga Yakuwa?
OKUSIGALA NGA TULINA OKUKKIRIZA MU NSI ENO EMBI
4, 5. (a) Kiki Yakuwa kye yalagira Abayisirayiri okukola nga bayingidde mu Nsi Ensuubize? (b) Okusinziira ku Zabbuli 106, kiki ekyatuuka ku Bayisirayiri nga bajeemye?
4 Buli lunaku, Yefusa ne muwala we baalabanga ebintu ebibi ebyava mu kujeemera Yakuwa. Emyaka nga 300 emabega, Yakuwa yali alagidde bajjajjaabwe okusaanyaawo abantu bonna abaali batamusinza abaali mu Nsi Ensuubize. (Ma. 7:1-4) Abayisirayiri baagaana okugondera ekiragiro kya Yakuwa ekyo ne kibaviirako okutwalirizibwa empisa z’Abakanani, ne batandika okusinza bakatonda ab’obulimba n’okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu.—Soma Zabbuli 106:34-39.
5 Olw’okuba Abayisirayiri baajeemera Yakuwa, Yakuwa yalekera awo okubawonya mu mukono gw’abalabe baabwe. (Balam. 2:1-3, 11-15; Zab. 106:40-43) Nga kiteekwa okuba nga tekyali kyangu eri abantu abaali batya Yakuwa okusigala nga beesigwa gy’ali mu kiseera ekyo ekyali ekizibu! Wadde kyali kityo, Bayibuli eraga nti waaliwo abantu abaasigala nga beesigwa eri Yakuwa, gamba nga Yefusa ne muwala we, Erukaana, Kaana, ne Samwiri. Abantu abo baali bamalirivu okusigala nga basiimibwa mu maaso ga Yakuwa.—1 Sam. 1:20-28; 2:26.
6. Bintu ki ebibi ebiriwo mu nsi leero, era kiki kye tulina okukola?
6 Ensi gye tulimu leero ejjudde abantu abalina endowooza ng’ez’Abakanani era abeeyisa nga bo. Bagwenyufu, baagala nnyo ebikolwa eby’obukambwe, era balulunkanira ebintu. Yakuwa atulabula ku bintu ng’ebyo nga bwe yalabula Abayisirayiri. Tayagala tutwalirizibwe nsi ya Sitaani eno. Tuneewala okugwa mu nsobi y’emu Abayisirayiri gye baagwamu? (1 Kol. 10:6-11) Tulina okufuba okweggyamu endowooza yonna eyeefaananyirizaako ey’Abakanani. (Bar. 12:2) Tufuba okwewala okutwalirizibwa ensi?
OKUSIGALA NGA TULINA OKUKKIRIZA NGA WALIWO EBITUMALAMU AMAANYI
7. (a) Abantu ba Yefusa baamuyisa batya? (b) Naye Yefusa yeeyisa atya?
7 Mu kiseera kya Yefusa, obujeemu bw’Abayisirayiri bwabaviirako okubonyaabonyezebwa Abafirisuuti n’Abaamoni. (Balam. 10:7, 8) Kyokka ebizibu Yefusa bye yayolekagana nabyo byali tebiva ku mawanga ago gokka wabula byali biva ne ku baganda be n’abakadde b’omu Isirayiri. Olw’okuba baganda ba Yefusa baamukwatirwa obuggya era nga tebamwagala, baasalawo okumugoba, ne bamulemesa okufuna obusika bwe ng’omwana omubereberye. (Balam. 11:1-3) Naye ekyo tekyalemesa Yefusa kukola kituufu. Abakadde ba Isirayiri bwe baagenda gy’ali ne baamusaba abayambe, yakkiriza okubayamba. (Balam. 11:4-11) Kiki ekiyinza okuba nga kyayamba Yefusa okukola ekituufu?
8, 9. (a) Misingi ki egyali mu Mateeka ga Musa egiyinza okuba nga gyayamba Yefusa? (b) Kiki Yefusa kye yali atwala ng’ekisinga obukulu?
8 Ng’oggyeeko okuba nti Yefusa yali mulwanyi wa maanyi, yali amanyi bulungi ebyafaayo bya Isirayiri n’Amateeka ga Musa. Okufumiitiriza ku ngeri Yakuwa gye yakolaganamu n’abantu be mu biseera by’edda kyamuyamba okwawulawo ekituufu n’ekikyamu. Balam. 11:12-27) Emisingi egyali mu Mateeka ga Musa gyayamba Yefusa okubeera n’endowooza ennuŋŋamu. Yali akimanyi nti Yakuwa yali tayagala bantu be kusiba kiruyi, wabula yali ayagala balagaŋŋane okwagala. Amateeka era gaalagira Abayisirayiri okufangayo ku byetaago by’abalala nga mw’otwalidde n’eby’abo ‘abatabaagala.’—Soma Okuva 23:5; Eby’Abaleevi 19:17, 18.
(9 Ebyokulabirako eby’abaweereza ba Katonda abaayoleka okukkiriza, gamba nga Yusufu, eyalaga baganda be ekisa wadde nga baali baamukyawa, nabyo biteekwa okuba nga byakwata nnyo ku Yefusa. (Lub. 37:4; 45:4, 5) Okufumiitiriza ku byokulabirako ng’ebyo kiteekwa okuba nga kyayamba Yefusa okusalawo okukola ebyo ebisanyusa Yakuwa. Wadde ng’engeri baganda be gye baamuyisaamu teyali nnungi, ekyo tekyamulemesa kweyongera kuweereza Yakuwa n’okuyamba abantu be. (Balam. 11:9) Mu kifo ky’okudda awo okulowooza ku ngeri embi gye baali bamuyisizzaamu, okulwanirira erinnya lya Yakuwa kye kintu ekyali kisinga obukulu eri Yefusa. Yali mumalirivu okusigala nga mwesigwa eri Yakuwa, era ekyo kyamuviiramu emikisa mingi awamu n’abalala.—Beb. 11:32, 33.
10. Emisingi egiri mu Byawandiikibwa giyinza gitya okutuyamba leero?
10 Tunaakoppa ekyokulabirako Yefusa kye yateekawo? Ng’ekyokulabirako, wayinza okubaawo mukkiriza munnaffe eyatuyisa obubi oba eyakola ebintu ebitumalamu amaanyi. Bwe kiba kityo, tetusaanidde kukkiriza kizibu ekyo kutulemesa kugendanga mu nkuŋŋaana z’ekibiina, okuweereza Yakuwa, n’okwenyigira mu bujjuvu mu mirimu gy’ekibiina. Okufaananako Yefusa, naffe emisingi gya Bayibuli gisobola okutuyamba okusigala nga tuli beesigwa wadde nga waliwo ebitumalamu amaanyi. Bwe tukola tutyo, naffe tuba kyakulabirako kirungi eri abalala.—Bar. 12:20, 21; Bak. 3:13.
SSADDAAKA ZE TUWAAYO KYEYAGALIRE ZIRAGA OBANGA TULINA OKUKKIRIZA
11, 12. Bweyamo ki Yefusa bwe yakola, era ekyo kyali kitegeeza ki?
11 Yefusa yali akimanyi nti yali yeetaaga obuyambi bwa Yakuwa okusobola okununula Abayisirayiri okuva mu mukono gw’Abaamoni. Yeeyama eri Yakuwa nti bwe yandimuyambye okuwangula olutalo, omuntu eyandisoose okufuluma mu nnyumba ye okumukulisaayo ng’ava mu lutalo, yandimuwaddeyo gy’ali “ng’ekiweebwayo ekyokebwa.” (Balam. 11:30, 31) Kiki Yefusa kye yali ategeeza?
12 Okussaddaaka omuntu kya muzizo eri Yakuwa. N’olwekyo, Yefusa tayinza kuba nga yalina ekigendererwa eky’okussaddaaka omuntu. (Ma. 18:9, 10) Okusinziira ku Mateeka ga Musa, ekiweebwayo ekyokebwa kyaweebwangayo mu bulambalamba eri Yakuwa. N’olwekyo, Yefusa yali ategeeza nti omuntu gwe yandiwaddeyo eri Yakuwa yandibadde aweereza ku weema ya Yakuwa obulamu bwe bwonna. Yakuwa yakkiriza ekyo Yefusa kye yeeyama era n’amuyamba okuwangula olutalo. (Balam. 11:32, 33) Naye ani Yefusa gwe yali agenda okuwaayo eri Katonda “ng’ekiweebwayo ekyokebwa”?
13, 14. Ebigambo bya Yefusa ebiri mu Ekyabalamuzi 11:35 biraga ki ku kukkiriza kwe yalina?
13 Lowooza ku mbeera gye twayogeddeko ku ntandikwa y’ekitundu kino. Yefusa bwe yakomawo eka, muwala we, ng’ono ye mwana yekka gwe yalina, ye yasooka okufuluma ennyumba okumukulisaayo! Ekyo kyagezesa nnyo okukkiriza kwa Yefusa. Yandikoledde ku bweyamo bwe n’awaayo muwala we okugenda okuweereza ku weema obulamu bwe bwonna?
14 Ne ku mulundi guno, okufumiitiriza ku misingi egyali mu Mateeka kiteekwa okuba Okuva 23:19, ebyali biragira abantu ba Katonda okuwa Yakuwa ekyo ekisingayo obulungi. Amateeka era gaali galagira abantu nti singa omuntu yenna yabangako kye yeeyama, yalinanga okukituukiriza. Gaagamba nti: “Omusajja bw’aneeyamanga eri Yakuwa . . . , takyusanga ky’ayogedde. Byonna by’anaabanga yeeyamye alina okubituukiriza.” (Kubal. 30:2) Okufaananako Kaana, oboolyawo eyaliwo mu kiseera kya Yefusa, ne Yefusa yalina okutuukiriza obweyamo bwe, ng’amanyi bulungi engeri obweyamo obwo gye bwandikutte ku biseera bye eby’omu maaso n’ebya muwala we. Yefusa teyalina mwana mulala; muwala we ye yekka gwe yalinamu essuubi okuzaala abaana abandisobozesezza erinnya lye n’obusika bwe obutasaanawo mu Isirayiri. (Balam. 11:34) Wadde kyali kityo, okusinziira ku Ekyabalamuzi 11:35, Yefusa yagamba nti: “Nnayasamya akamwa kange eri Yakuwa era siyinza kukyusa.” Yefusa yeefiiriza nnyo okusobola okutuukiriza obweyamo bwe era Yakuwa yamuwa emikisa. Naawe wandikoze nga Yefusa?
nga kyayamba Yefusa okusalawo mu ngeri ey’amagezi. Ayinza okuba nga yajjukira ebigambo ebiri mu15. Bweyamo ki bangi ku ffe bwe twakola, era tuyinza tutya okukiraga nti tulina okukkiriza?
15 Bwe twewaayo eri Yakuwa, tweyama okukola by’ayagala n’omutima gwaffe gwonna. Twali tukimanyi nti ekyo kyandizingiddemu okwefiiriza. Naye tweyisa tutya nga tusabiddwa okukola ekintu kye tutaagala kukola? Bwe twoleka omwoyo ogw’okwefiiriza ne tweyongera okuweereza Yakuwa ne mu mbeera enzibu, kiba kiraga nti tulina okukkiriza. Era emikisa egivaamu giba mingi nnyo bw’ogigeraageranya ku ebyo bye tuba twefiirizza. (Mal. 3:10) Kati ka tulowooze ku muwala wa Yefusa.
16. Muwala wa Yefusa yakola ki bwe yategeera ku bweyamo kitaawe bwe yakola? (Laba ekifaananyi ku lupapula 5.)
16 Tekyali kyangu eri muwala wa Yefusa okukolera ku bweyamo bwa kitaawe naddala bw’olowooza ku ebyo ebyali bizingirwamu. Obweyamo bwa Yefusa bwali bwawukanako ku bwa Kaana eyeeyama okuwaayo mutabani we Samwiri okuweereza ku weema 1 Sam. 1:11) Omunaziri yali asobola okuwasa n’azaala n’abaana. Naye ye Yefusa yali yeeyamye okuwaayo muwala we “ng’ekiweebwayo ekyokebwa”; ekitegeeza nti omuwala oyo yali tasobola kufumbirwa wadde okuzaala abaana. (Balam. 11:37-40) Olw’okuba kitaawe yali mwami era nga mukulembeze mu Isirayiri, muwala wa Yefusa yali asobola okufumbirwa omu ku basajja abaali basingayo okussibwamu ekitiibwa mu Isirayiri. Naye kati yali agenda kuweereza ku weema. Kiki muwala wa Yefusa kye yakola? Yakiraga nti okuweereza Yakuwa kye yali akulembeza mu bulamu bwe, bwe yagamba nti: “Taata, bw’oba nga weeyama eri Yakuwa, nkola nga bwe wasuubiza.” (Balam. 11:36) Yeefiiriza okufumbirwa n’okuzaala abaana asobole okwemalira ku kuweereza Yakuwa. Tuyinza tutya okwoleka omwoyo gw’okwefiiriza nga muwala wa Yefusa?
ng’Omunaziri. (17. (a) Tuyinza tutya okwoleka okukkiriza ng’okwo Yefusa ne muwala we kwe baayoleka? (b) Ebigambo ebiri mu Abebbulaniya 6:10-12 bikukubiriza bitya okwefiiriza?
17 Leero waliwo abaweereza ba Yakuwa bangi abeerekerezza okufumbirwa oba okuwasa oba okuzaala abaana okusobola okwemalira ku kuweereza Yakuwa. N’abaweereza ba Yakuwa abamu abakuze mu myaka beerekerezza ebiseera bye bandimaze nga bali wamu n’abaana baabwe oba bazzukulu baabwe okusobola okwenyigira mu mirimu gy’okuzimba Ebizimbe by’Obwakabaka oba okusobola okugenda mu Ssomero ly’Ababuulizi b’Obwakabaka oba okugenda okuweereza mu bitundu awali obwetaavu bw’ababuulizi obusingako. Abalala babaako bye beerekereza basobole okwenyigira mu kaweefube ow’okuyita abantu ku Kijjukizo. Abakristaayo ng’abo basanyusa nnyo Yakuwa era tasobola kwerabira mulimu gwabwe n’okwagala kwe balaga erinnya lye. (Soma Abebbulaniya 6:10-12.) Naawe waliwo ebintu by’osobola okwefiiriza osobole okuweereza Yakuwa mu bujjuvu?
BYE TUYIZE
18, 19. Kiki kye tuyigidde ku Yefusa ne muwala we, era tuyinza tutya okubakoppa?
18 Wadde nga Yefusa yayolekagana n’okusoomooza kungi mu bulamu bwe, yafuba okugoberera obulagirizi bwa Yakuwa ng’aliko by’asalawo. Teyakkiriza kwonoonebwa nneeyisa embi ey’abantu abaaliwo mu kiseera kye. Ebintu ebibi abalala bye baamukola teyabikkiriza kumulemesa kweyongera kwesiga Yakuwa. Olw’okuba ye ne muwala we baayoleka omwoyo ogw’okwefiiriza, Yakuwa yabawa emikisa mingi era bombi yabakozesa mu kutumbula okusinza okw’amazima. Ne mu kiseera abantu abasinga obungi we baali baviiridde ku Yakuwa, Yefusa ne muwala we baasigala beesigwa eri Yakuwa.
19 Bayibuli etukubiriza ‘okukoppa abo abafuna ebisuubizo okuyitira mu kukkiriza ne mu kugumiikiriza.’ (Beb. 6:12) Ka ffenna tufube okukoppa Yefusa ne muwala we nga tuli bakakafu nti: Bwe twoleka okukkiriza, tusiimibwa mu maaso ga Katonda.