Bwe Weewaayo Kyeyagalire Oleetera Yakuwa Ettendo!
“Olw’okuba abantu beewaayo kyeyagalire, mutendereze Yakuwa!”
ENNYIMBA: 150, 10
1, 2. (a) Erifaazi ne Birudaadi baayogera ki ku ngeri Katonda gy’atwalamu obuweereza bwaffe? (b) Yakuwa yalaga atya endowooza gy’alina ku buweereza bwaffe?
“OMUNTU asobola okuba ow’omugaso eri Katonda? Omuntu yenna ow’amagezi alina ky’amugasa? Omuyinza w’Ebintu Byonna kimusanyusa olw’okuba oli mutuukirivu, oba alina bw’aganyulwa bw’okuuma obwesigwa bwo?” (Yob. 22:1-3) Wali olowoozezza ku by’okuddamu mu bibuuzo ebyo? Erifaazi Omutemani bwe yabuuza Yobu ebibuuzo ebyo yali amanyi nti eky’okuddamu mu buli kimu ku bibuuzo ebyo kiri nti ‘Nedda.’ Ne munne Birudaadi Omusuuki yagamba nti omuntu tasobola kuba mutuukirivu mu maaso ga Katonda.
2 Erifaazi ne Birudaadi baagamba nti tekigasa kuweereza Yakuwa na bwesigwa, era nti Katonda atutwala ng’ekiwojjolo, ng’envunyu, oba ng’olusiriŋŋanyi. (Yob. 4:19; 25:6) Omuntu bw’aba tafumiitirizza, ayinza okulowooza nti mu kwogera ebigambo ebyo Erifaazi ne Birudaadi baali booleka obwetoowaze. (Yob. 22:29) Ggwe ate oba, singa oyimirira waggulu ku lusozi oluwanvu oba singa obeera waggulu mu nnyonyi n’otunula wansi, abantu baba ng’obutonyeze. Naye Yakuwa bw’ayima eyo waggulu n’atunuulira ensi, bw’atyo bw’alaba ebyo abantu bye bakola okuwagira omulimu gw’Obwakabaka? Yakuwa yalaga endowooza gy’alina ku bantu bwe yanenya Erifaazi, Birudaadi, ne Zofali olw’okwogera ebigambo eby’obulimba, era yalaga nti yali asiima Yobu bwe yamuyita “omuweereza wange.” (Yob. 42:7, 8) Kyeyoleka lwatu nti omuntu “asobola okuba ow’omugaso eri Katonda.”
“OMUWA KI?”
3. Kiki Eriku kye yayogera ku buweereza bwaffe eri Yakuwa, era yali ategeeza ki?
3 Yakuwa teyanenya Eriku olw’okubuuza nti: “Bw’obeera omutuukirivu, [Katonda] omuwa ki; kiki ky’akufunako?” (Yob. 35:7) Eriku yali ategeeza nti Yakuwa tasiima ebyo bye tukola nga tumuweereza? Nedda. Yali alaga nti okusinza kwaffe si kwe kuyimirizaawo Yakuwa. Yakuwa yeemalirira. Tetulina kye tuyinza kukola kumwongerako maanyi oba obugagga. Engeri zonna ennungi ze tulina, ebitone, oba amaanyi, byonna Katonda ye yabituwa era yeetegereza engeri gye tubikozesaamu.
4. Ebikolwa ebirungi bye tukolera abalala Yakuwa abitwala atya?
4 Omuntu bw’abaako ebirungi by’akolera abaweereza ba Yakuwa, Yakuwa akitwala nti omuntu oyo aba abikoledde ye. Engero 19:17 wagamba nti: “Alaga omunaku ekisa aba awola Yakuwa, era ajja kumusasula olw’ekyo ky’akola.” Ekyawandiikibwa ekyo kiraga nti Yakuwa alaba buli kimu kye tukolera abalala? Ddala tusobola okugamba nti bwe tukolera abalala ebirungi, Omutonzi w’eggulu n’ensi akitwala nti ffe abantu obuntu tuba tumuwoze, ne kiba nti alina okutusasula? Yee. Ekyo n’Omwana wa Katonda yakiwaako obukakafu.
5. Bibuuzo ki ebigenda okuddibwamu?
5 Yakuwa yagamba nnabbi Isaaya okumukiikirira, bw’atyo n’akiraga nti ayagala okukolera awamu n’abantu mu kutuukiriza ekigendererwa kye. (Is. 6:8-10) Isaaya yakkiriza okukola ekyo Yakuwa kye yamugamba. Ne leero waliwo abaweereza ba Yakuwa bangi aboolese omwoyo ng’ogwa Isaaya. Beetegefu okukola kyonna Yakuwa ky’abagamba, ka kibe kizibu kitya. Naye omuntu ayinza okwebuuza nti: ‘Ebyo bye nkola ng’omuntu kinnoomu Yakuwa abitwala nga bya muwendo? Wadde nga Yakuwa ampadde enkizo ey’okukolera awamu naye, tasobola kutuukiriza buli kimu ky’aba ayagadde ne bwe mba nga wendi oba nga siriiwo?’ Okusobola okuddamu ebibuuzo ebyo, ka tulabe ebyo ebyaliwo mu kiseera kya Debola ne Balaka.
YATYA NNYO NAYE KATONDA N’AMUGUMYA
6. Njawulo ki eyaliwo wakati w’Abayisirayiri n’eggye lya Yabini?
6 Kabaka Yabini Omukanani yali amaze emyaka 20 ng’abonyaabonya Abayisirayiri. Abantu mu byalo bya Isirayiri baatyanga okutambula kyere. Abayisirayiri tebaalina bya kulwanyisa wadde ebyambalo by’olutalo, so ng’ate abalabe baabwe baalina amagaali g’olutalo 900 agaaliko ebyuma ebisala.
7, 8. (a) Kiragiro ki Yakuwa kye yawa Balaka? (b) Abayisirayiri baawangula batya eggye lya Yabini? (Laba ekifaananyi ku lupapula 28.)
7 Wadde kyali kityo, Yakuwa yagamba nnabbi Debola agambe Balaka nti: “Genda ku Lusozi Taboli, era twala abasajja ba Nafutaali n’aba Zebbulooni 10,000. Nja kukuleetera Sisera, omukulu w’amagye ga Yabini, ku Kagga Kisoni, ng’ali n’amagaali ge ag’olutalo n’eggye lye, era nja kumuwaayo mu mukono gwo.”
8 Ebigambo ebyo byasaasaana wonna. Mangu ddala Balaka yakolera ku kiragiro kya Yakuwa, era kyeyagalire abantu baakuŋŋaanira Ekyabalamuzi 4:14-16.) Olutalo baalulwanira Taanaki, era bwe lwali lugenda mu maaso, enkuba yatandika okufukumuka, amazzi ne ganjaala wonna. Balaka yawondera eggye lya Sisera olugendo lwa mayiro 15, okuviira ddala e Kalosesi. Sisera yatuuka awantu n’ava mu ggaali lye n’addusa bigere n’agenda e Zaanannimu, oboolyawo okumpi n’e Kadesi. Yaddukira mu weema ya Yayeeri, muka Keberi Omukeeni, era Yayeeri yamwaniriza. Olw’okuba Sisera yali akooye nnyo, otulo twamutwala. Bwe yali yeebase, Yayeeri yagenda we yali ng’asooba n’amutta. (Balam. 4:17-21) Omulabe wa Isirayiri bw’atyo bwe yawangulwa! *
ku Lusozi Taboli. (SomaBAALINA ENDOWOOZA YA NJAWULO KU KUKOLA NGA BANNAKYEWA
9. Ekyabalamuzi 5:20, 21 watuyamba kumanya ki ku lutalo olwaliwo wakati w’Abayisirayiri ne Sisera?
9 Ebyo ebiri mu Ekyabalamuzi essuula 5 bituyamba okutegeera obulungi ebyo ebiri mu ssuula 4, n’olwekyo essuula ezo zombi zisaanidde okusomerwa awamu. Ng’ekyokulabirako, Ekyabalamuzi 5:20, 21 wagamba nti: “Emmunyeenye zaalwanira mu ggulu; nga ziri mu makubo gaazo, zaalwanyisa Sisera. Akagga Kisoni kaabakuluggusa.” Ekyo kyandiba nga kitegeeza nti bamalayika baayamba Abayisirayiri mu lutalo olwo, oba nti waliwo ebiyinja ebyatonnya okuva mu bwengula? Ekyo Bayibuli tekitubuulira. Naye kyeyoleka lwatu nti Yakuwa ye yalwanirira abantu be n’atonnyesa enkuba mu kifo ekituufu mu kiseera ekituufu, ne kiviirako amagaali g’olutalo 900 okutubira. Tewali n’omu ku Bayisirayiri 10,000 abeewaayo kyeyagalire okulwana eyali ayinza okugamba nti ye yali asobozesezza Abayisirayiri okuwangula olutalo olwo. Emirundi esatu, mu Ekyabalamuzi 4:14, 15, kiragibwa nti Yakuwa ye yasobozesa Abayisirayiri okuwangula olutalo olwo.
10, 11. “Merozi” kyali ki, era lwaki kyakolimirwa?
10 Oluvannyuma lw’Abayisirayiri okuwangula olutalo, Debola ne Balaka baayimba ne batendereza Yakuwa. Baagamba nti: “‘Mukolimire Merozi,’ bw’atyo malayika wa Yakuwa bwe yagamba, ‘mukolimire abatuuze baamu, kubanga tebajja kuyamba Yakuwa, tebajja wamu n’ab’amaanyi okuyamba Yakuwa.’”
11 Merozi kyakolimirwa nnyo ne kiba nti kizibu okumanyira ddala ki kye kyali. Kyandiba nti kyali kibuga ekyalimu abantu abaagaana okwewaayo kyeyagalire nga bayitiddwa okugenda okulwana? Kyandiba nti kye kimu ku bibuga Sisera bye yayitamu ng’adduka naye abantu baamu ne bagaana okumukwata? Abantu baamu bateekwa okuba nga baakimanyaako nti Yakuwa yali yeetaaga bannakyewa okugenda okulwana, kubanga abantu 10,000 okuva mu bitundu ebyali bibeetoolodde baagenda okulwana. Kuba akafaananyi ng’abantu b’e Merozi balaba omulwanyi oyo eyali omubi ennyo ng’ayita mu kitundu kyabwe ng’adduka okusobola okutaasa obulamu bwe. Bandibadde babaako kye bakolawo okuwagira ekigendererwa kya Yakuwa. Naye bwe baafuna akakisa ako, tebalina kye baakolawo. Engeri abantu b’omu Merozi gye beeyisaamu eyawukana nnyo ku ngeri Yayeeri, omukyala omuvumu, gye yeeyisaamu!
12. Okusinziira ku Ekyabalamuzi 5:9, 10, njawulo ki eyaliwo wakati w’abo abaagenda mu lutalo n’abo abaagaana okugenda, era ekyo kitukwatako kitya leero?
12 Ebyo bye tusoma mu Ekyabalamuzi 5:9, 10, biraga nti waaliwo enjawulo wakati w’abo abaagenda ne Balaka okulwana n’abo abaagaana okugenda. Debola ne Balaka baatendereza ‘abaduumizi ba Isirayiri abaagenda n’abantu.’ Baali ba njawulo nnyo ku abo abaali ‘beebagala endogoyi eza kikuusikuusi,’ abaagaana okugenda okulwana olw’okuba baali beetwala okuba aba waggulu! Era baali ba njawulo ku abo aboogerwako ng’abaali ‘batuula ku biwempe ebirungi’ nga baagala obulamu obw’okwejalabya. Obutafaananako abo aboogerwako ng’abaali “batambula mu luguudo,” nga tebaagala kukaluubiriza bulamu bwabwe, abo abaagenda ne Balaka baali beetegefu okulwanira ku lusozi Taboli olw’enjazi ne mu lutobazi olwali luyitamu akagga Kisoni! Abantu abaali bataagala kwerekereza baagambibwa nti: “Mulowooze ku kino.” Mu butuufu, baali beetaaga okulowooza ku nkizo gye baafiirwa olw’okugaana okwenyigira mu mulimu Yakuwa gwe yali ayagala gukolebwe. Naffe leero tusaanidde okufumiitiriza ku ndowooza gye tulina ku kuweereza Yakuwa.
13. Endowooza ab’ekika kya Lewubeeni, ekya Ddaani, n’ekya Aseri gye baalina eyawukana etya ku eyo ab’ekika kya Zebbulooni n’ekya Nafutaali gye baalina?
13 Abo abeewaayo kyeyagalire baalaba engeri Yakuwa gye yakyolekamu nti ye Muyinza w’Ebintu Byonna. Baali basobola okubaako bye banyumiza abalala nga boogera “ku bikolwa bya Yakuwa eby’obutuukirivu.” (Balam. 5:11) Ku luuyi olulala, nga bwe kiragibwa mu Ekyabalamuzi 5:15-17, ab’ekika kya Lewubeeni, ekya Ddaani, n’ekya Aseri bo baali bafa nnyo ku by’obugagga byabwe, gamba ng’ebisolo byabwe, amaato gaabwe, n’emyalo gyabwe okusinga bwe baali bafaayo ku mulimu gwa Yakuwa. Naye obutafaananako bantu abo, ab’ekika kya Zebbulooni n’ekya Nafutaali bo ‘baateeka obulamu bwabwe mu kabi’ okusobola okuwagira Debola ne Balaka. (Balam. 5:18) Eky’okuba nti abantu abo baalina endowooza ez’enjawulo ku kwewaayo kyeyagalire okukola omulimu gwa Yakuwa kirina kye kituyigiriza.
“MUTENDEREZE YAKUWA!”
14. Tulaga tutya nti tuwagira obufuzi bwa Yakuwa leero?
14 Leero Yakuwa tatugamba kugenda kwenyigira mu lutalo, wabula atuwadde enkizo ey’okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira.
15. Kiki ekiyinza okutuyamba okwekebera okumanya obanga tukyaweereza Yakuwa n’obunyiikivu?
15 Buli omu ku ffe asaanidde okwebuuza: ‘Nneesaasira ne ndeka abalala be baba bakola emirimu egisinga obungi mu kibiina? Omwoyo gw’okwagala ebintu guntwaliriza ne gunnemesa okukola emirimu gya Yakuwa mu bujjuvu? Okufaananako Balaka, Debola, Yayeeri, n’abalwanyi 10,000, ndi mumalirivu okukola kyonna ekisoboka okuweereza Yakuwa n’obunyiikivu? Bwe mba ndowooza ku ky’okusengukira mu nsi endala okusobola okufuna ssente, nfumiitiriza ku ngeri ekyo gye kinaakwata ku b’omu maka gange n’ekibiina?’ *
16. Wadde nga Yakuwa alina buli kimu, kiki kye tusobola okumuwa?
16 Yakuwa atuwadde enkizo ey’amaanyi ey’okuwagira obufuzi bwe. Okuva Sitaani lwe yaleetera Adamu ne Kaawa okujeemera Yakuwa, abaddenga afuba okuleetera n’abantu abalala okudda ku ludda lwe. Naye bwe tuwagira obufuzi bwa Yakuwa tuba tulaga Sitaani nti tuli ku ludda lwa Yakuwa. Bwe tuba n’okukkiriza okunywevu era nga tuli beesigwa eri Yakuwa kijja kutukubiriza okwewaayo kyeyagalire okumuweereza, era ekyo kijja kumusanyusa. (Nge. 23:15, 16) Bwe tuweereza Yakuwa n’obwesigwa aba n’eky’okuddamu eri Sitaani oyo amusoomooza. (Nge. 27:11) Bwe tugondera Yakuwa tubanga abaliko kye tumuwadde era ekyo kimuleetera essanyu lingi.
17. Ekyabalamuzi 5:31 watuyigiriza ki ku ekyo ekinaabaawo mu kiseera eky’omu maaso?
17 Mu kiseera ekitali kya wala, ensi yonna ejja kujjula abantu abawagira obufuzi bwa Yakuwa. Nga twesunga nnyo ekiseera ekyo! Okufaananako Debola ne Balaka, naffe tugamba nti: “Abalabe bo bonna ka bazikirire, Ai Yakuwa, naye abakwagala ka babe ng’enjuba bw’eba ng’evaayo mu kitiibwa kyayo.” (Balam. 5:31) Essaala eyo ejja kuddibwamu Yakuwa bw’anaazikiriza ensi ya Sitaani embi! Olutalo lwa Amagedoni bwe lunaatandika, kijja kuba tekitwetaagisa kwewaayo kulwanyisa balabe. Mu kifo ky’ekyo, tujja ‘kuyimirira butengerera tulabe Yakuwa bw’atulokola.’ (2 Byom. 20:17) Nga bwe tulindirira ekiseera ekyo, ka tweyongere okuwagira obufuzi bwa Yakuwa n’obunyiikivu era n’obuvumu.
18. Bwe weewaayo kyeyagalire okuweereza Yakuwa kiganyula kitya abalala?
18 Oluyimba olw’obuwanguzi, Debola ne Balaka baalutandika batendereza Yakuwa. Baagamba nti: “Olw’okuba abantu beewaayo kyeyagalire, mutendereze Yakuwa!” (Balam. 5:1, 2) Naffe bwe twewaayo kyeyagalire okuweereza Yakuwa kisobola okuleetera abalala ‘okutendereza Yakuwa!’
^ lup. 6 Ebyuma ebisala byabanga biwanvu, nga byogi nnyo, era emirundi egimu byabanga biweteddwamu katono. Byabanga ku ggaali ly’olutalo, oboolyawo nga bisibiddwa ku nnamuziga. Tekyabanga kyangu muntu kwetantala kusemberera ggaali eryo.
^ lup. 8 Okumanya ebisingawo ku nsonga eno, laba ekitundu ekirina omutwe “‘Nnayimuka nga Maama Okuyamba Isiraeri’” mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Agusito 1, 2015.
^ lup. 15 Laba ekitundu “Okweraliikirira Eby’enfuna” mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Jjulaayi 1, 2015.