Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

“Okulowooza eby’Omwoyo Kivaamu Obulamu n’Emirembe”

“Okulowooza eby’Omwoyo Kivaamu Obulamu n’Emirembe”

“Abo abagoberera omwoyo balowooza bya mwoyo.”—BAR. 8:5.

ENNYIMBA: 57, 52

1, 2. Lwaki ebyo ebiri mu Abaruumi essuula 8 bikulu nnyo eri Abakristaayo abaafukibwako amafuta?

BW’OBA wali obaddeko ku mukolo gw’Ekijjukizo, oyinza okuba nga wali owuliddeko nga basoma Abaruumi 8:15-17. Ennyiriri ezo ziraga engeri Omukristaayo gy’ategeeramu nti yafukibwako omwoyo omutukuvu, era nti ajja kufugira wamu ne Yesu mu ggulu. Mu Abaruumi 8:1 walaga nti Pawulo yali ayogera eri “abo abali obumu ne Kristo Yesu.” Kati olwo ebyo ebiri mu Abaruumi essuula 8 bikwata ku baafukibwako amafuta bokka? Oba bikwata ne ku Bakristaayo abalina essuubi ery’okubeerawo ku nsi emirembe gyonna?

2 Ebyo ebiri mu Abaruumi essuula 8 okusingira ddala bikwata ku Bakristaayo abaafukibwako amafuta. Baafukibwako omwoyo omutukuvu era ‘balindirira okufuulibwa abaana, n’okusumululwa okuva mu mibiri gyabwe egy’ennyama.’ (Bar. 8:23) Balina essuubi ery’okufuuka abaana ba Katonda ab’omwoyo mu ggulu. Ekyo kisoboka kubanga Abakristaayo abo baabatizibwa, era Katonda yabasonyiwa ebibi byabwe ng’asinziira ku kinunulo, era n’abayita abatuukirivu, n’atandika okubatwala ng’abaana be.​—Bar. 3:23-26; 4:25; 8:30.

3. Lwaki n’abo abalina essuubi ery’okubeera ku nsi emirembe gyonna baganyulwa mu ebyo ebiri mu Abaruumi essuula 8?

3 Kyokka ebyo ebiri mu Abaruumi essuula 8 bikwata ne ku baweereza ba Katonda abalina essuubi ery’okubeera ku nsi emirembe gyonna, kubanga nabo Katonda abatwala ng’abatuukirivu. Ekyo tukirabira mu ebyo omutume Pawulo gye yawandiika mu Abaruumi essuula 4, bwe yali ayogera ku Ibulayimu. Omusajja oyo eyalina okukkiriza okw’amaanyi, yaliwo nga Yakuwa tannaba kuwa Bayisirayiri Mateeka era nga ne Yesu tannatufiirira. Wadde kyali kityo, Yakuwa yalaba okukkiriza okw’amaanyi Ibulayimu kwe yalina era n’amubala okuba omutuukirivu. (Soma Abaruumi 4:20-22.) Ne leero, Abakristaayo abeesigwa abalina essuubi ery’okubeera ku nsi emirembe gyonna, Yakuwa asobola okubatwala ng’abatuukirivu. N’olwekyo, nabo basobola okuganyulwa mu ebyo ebiri mu Abaruumi essuula 8 kubanga bikwata ku batuukirivu.

4. Ebyo ebiri mu Abaruumi 8:21 byandituleetedde kwebuuza kibuuzo ki?

4 Ebyo ebiri mu Abaruumi 8:21 bitukakasa nti ensi empya ejja kujja. Olunyiriri olwo lugamba nti ebitonde “bijja kusumululwa okuva mu buddu bw’okuvunda bifune eddembe ery’ekitiibwa ery’abaana ba Katonda.” Buli omu ku ffe asaanidde okwebuuza, ‘Nnaabaayo, nsobole okufuna emikisa egyo?’ Abaruumi essuula 8 etuyamba okumanya bye tuyinza okukola okusobola okutuuka mu nsi empya.

“OKULOWOOZA EBY’OMUBIRI”

5. Nsonga ki enkulu Pawulo gye yayogerako mu Abaruumi 8:4-13?

5 Soma Abaruumi 8:4-13. Abaruumi essuula 8 eraga enjawulo eriwo wakati w’abo ‘abagoberera omubiri’ n’abo ‘abagoberera omwoyo.’ Abamu bayinza okulowooza nti ebigambo ebyo biraga enjawulo wakati w’abo abali mu mazima n’abo abatali mu mazima oba wakati w’Abakristaayo n’abo abatali Bakristaayo. Naye ebigambo ebyo Pawulo yabiwandiikira abo ‘abaali mu Rooma Katonda b’ayagala, abaayitibwa okubeera abatukuvu.’ (Bar. 1:7) N’olweyo, Pawulo yali alaga enjawulo eyali wakati w’Abakristaayo abaali bagoberera omubiri n’abo abaali bagoberera omwoyo. Njawulo ki eyaliwo?

6, 7. (a) Ekigambo “omubiri” bwe kikozesebwa mu Bayibuli, oluusi kiba na makulu ki? (b) Pawulo bwe yakozesa ekigambo “omubiri” mu Abaruumi 8:4-13, yali ategeeza ki?

6 Pawulo yali ategeeza ki bwe yakozesa ekigambo “omubiri”? Bayibuli ekozesa ekigambo “omubiri” mu ngeri ezitali zimu. Olumu ekozesa ekigambo ekyo okutegeeza omubiri gwaffe ogw’ennyama. (Bar. 2:28; 1 Kol. 15:39, 50) Ate oluusi ekikozesa okutegeeza oluganda omuntu lw’alina ku mulala. Bayibuli egamba nti Yesu yali “zzadde lya Dawudi mu mubiri.” Ate ye Pawulo, Abayudaaya yali abatwala ‘ng’ab’eŋŋanda ze mu mubiri.’​—Bar. 1:3 Bayibuli y’Oluganda eya 1968; Bar. 9:3.

7 Ebyo omutume Pawulo bye yawandiika mu Abaruumi essuula 7 bituyamba okumanya ekyo kye yali ategeeza bwe yakozesa ekigambo “omubiri” mu Abaruumi 8:4-13. Yalaga nti waliwo akakwate wakati ‘w’okugoberera omubiri’ n’okuba ‘n’okwegomba okubi okw’omubiri.’ (Bar. 7:5) Ekyo kituyamba okutegeera ekyo Pawulo kye yali ategeeza bwe yayogera ku abo ‘abagoberera omubiri,’ be yagamba nti “balowooza bya mubiri.” Pawulo yali ayogera ku bantu abafugibwa okwegomba kw’emibiri gyabwe okubi. Abantu ng’abo bagoberera okwegomba kwabwe okubi, ka kube okw’okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu oba okwenyigira mu bikolwa ebirala ebibi.

8. Lwaki n’Abakristaayo abaafukibwako amafuta baali beetaaga okulabulwa baleme ‘kugoberera mubiri’?

8 Naye lwaki Pawulo yalabula Abakristaayo abaafukibwako amafuta ku kabi akali mu ‘kugoberera omubiri’? Kisoboka leero Abakristaayo Katonda b’ayita mikwano gye era b’ayita abatuukirivu okutandika okugoberera omubiri? Yee. Omukristaayo yenna asobola okutandika okugoberera okwegomba kw’omubiri okubi. Ng’ekyokulabirako, Pawulo yagamba nti abamu ku b’oluganda mu Rooma baali baddu “ba mbuto zaabwe,” nga kino kiyinza okuba nga kitegeeza nti baali baddu ba bikolwa eby’obugwenyufu, oba baddu ba bya kulya oba ba bya kunywa, oba baddu b’ebintu ebirala. Abamu ku bantu abo baali ‘basendasenda abo abatalina bumanyirivu.’ (Bar. 16:17, 18; Baf. 3:18, 19; Yud. 4, 8, 12) Kijjukire nti omu ku b’oluganda mu Kkolinso yali ‘yeddizza muka kitaawe.’ (1 Kol. 5:1) N’olwekyo tekyewuunyisa nti Katonda yaluŋŋamya Pawulo okulabula Abakristaayo okwewala “okulowooza eby’omubiri.”​—Bar. 8:5, 6.

9. Pawulo bwe yayogera ku Bakristaayo abalowooza eby’omubiri, kiki kye yali tategeeza?

9 Abakristaayo leero nabo basaanidde okussaayo omwoyo ku kulabula okwo. Oluvannyuma lw’okuweereza Yakuwa okumala emyaka mingi, Omukristaayo ayinza okutandika okugoberera omubiri. Omukristaayo agoberera omubiri si y’oyo oluusi n’oluusi alowooza ku by’okulya, omulimu, eby’okwesanyusaamu, oba ku mukwano. Oluusi abaweereza ba Katonda balowooza ku bintu ebyo. Yesu yawoomerwanga emmere, era yaliisa abalala. Era Yesu yali akimanyi nti abantu beetaaga okwesanyusaamu. Ate era Pawulo yakiraga nti si kibi omwami ne mukyala we okwegatta.

Ebyo by’otera okwogerako biraga nti olowooza bya mwoyo oba bya mubiri? (Laba akatundu 10, 11)

10. Ebigambo “okulowooza eby’omubiri” ebikozesebwa mu Abaruumi 8:5, 6, bitegeeza ki?

10 Kati olwo kiki Pawulo kye yali ategeeza bwe yayogera ku ‘kulowooza eby’omubiri’? Ekigambo ky’Oluyonaani ekyavvuunulwa “okulowooza,” Pawulo kye yakozesa, kitegeeza ‘okumalira ebirowoozo ku kintu era n’okukola entegeka ng’osinziira ku kintu ekyo ky’olowoozaako.’ Abo abagoberera omubiri bakkiriza obulamu bwabwe okufugibwa okwegomba kw’emibiri gyabwe okubi. Bwe yali ayogera ku Abaruumi 8:5, omwekenneenya wa Bayibuli omu yagamba nti: “Abantu abalowooza eby’omubiri, banyumirwa nnyo ebikolwa eby’omubiri, babyogerayogerako buli kiseera, babyenyigiramu, era babyenyumiririzaamu.”

11. Kiki ekiyinza okutuyamba okumanya bye tukulembeza mu bulamu?

11 Abakristaayo mu Rooma baali balina okwekebera balabe kiki kye baali bakulembeza mu bulamu bwabwe. Kyandiba nti baali beemalidde ku ‘bintu eby’omubiri’? Naffe tusaanidde okwekebera. Biki bye tukulembeza mu bulamu, era bintu ki bye tutera okunyumyako? Ebiseera byaffe tusinga kubimalira ku ki? Abamu beemalidde nnyo ku kuyooyoota oba okuwunda amaka gaabwe, ku kunywa ebika by’omwenge eby’enjawulo, ku kugula engoye, ku kukola ssente, ku kugenda okulambula ebifo eby’enjawulo, n’ebintu ebirala. Ebintu ng’ebyo ku bwabyo si bibi; era oluusi bituleetera essanyu. Ng’ekyokulabirako, lumu Yesu yakola omwenge, era n’olumu Pawulo yagamba Timoseewo ‘okunywangako katono ku mwenge.’ (1 Tim. 5:23; Yok. 2:3-11) Naye buli kiseera Yesu ne Pawulo baabanga boogera ku mwenge? Omwenge kye kintu kye baali batwala ng’ekikulu mu bulamu? Nedda. Ate ffe? Kiki kye tukulembeza mu bulamu?

12, 13. Lwaki kikulu nnyo okufaayo ku ebyo bye tukulembeza mu bulamu?

12 Kikulu okwekebera. Lwaki? Kubanga Pawulo yagamba nti: “Okulowooza eby’omubiri kivaamu okufa.” (Bar. 8:6) Omuntu agoberera omubiri aba mu kabi ka maanyi kubanga ekyo kimuviirako okufa mu by’omwoyo era aba ajja kufiirwa obulamu bwe mu biseera eby’omu maaso. Kyokka, Pawulo yali tategeeza nti omuntu bw’atandika okulowooza eby’omubiri aba tasobola kukyusa makubo ge n’awona okufa. Omuntu ng’oyo aba asobola okukyuka. Lowooza ku musajja omugwenyufu eyali mu kibiina ky’e Kkolinso eyagoberera omubiri era n’agobebwa mu kibiina. Oluvannyuma omusajja oyo yaleka ekkubo lye ebbi. Yalekera awo okugoberera omubiri n’addamu okutambulira mu kkubo ettuufu.​—2 Kol. 2:6-8.

13 Bwe kiba nti omusajja oyo yasobola okulekayo ekkubo lye ebbi, kiraga nti ne leero Omukristaayo agoberera omubiri asobola okulekayo ekkubo lye ebbi. Mu butuufu, okulabula okwo Pawulo kwe yawa okukwata ku ekyo ekivaamu singa omuntu alowooza eby’omubiri, kwandikubirizza Abakristaayo okukola enkyukakyuka ezeetaagisa!

“OKULOWOOZA EBY’OMWOYO”

14, 15. (a) Mu kifo ‘ky’okulowooza eby’omubiri’ kiki kye tusaanidde okulowoozaako? (b) Kiki “okulowooza eby’omwoyo” kye kitategeeza?

14 Omutume Pawulo bwe yamala okutulabula ku kabi akali mu kulowooza eby’omubiri yagamba nti: “Okulowooza eby’omwoyo kivaamu obulamu n’emirembe.” Naye okulowooza eby’omwoyo kitegeeza ki?

15 “Okulowooza eby’omwoyo” tekitegeeza nti tulina kulowooza ku Bayibuli, ku nkolagana yaffe ne Katonda, ne ku ssuubi erikwata ku biseera eby’omu maaso byokka. Tusaanidde okukijjukira nti Pawulo n’Abakristaayo abalala abeesigwa baalina ebintu ebirala bye baakolanga mu bulamu bwabwe. Baalyanga emmere era baanywanga n’okunywa. Bangi ku bo baali bafumbo, baazaala abaana, era baakolanga emirimu okusobola okweyimirizaawo.​—Mak. 6:3; 1 Bas. 2:9.

16. Wadde nga Pawulo yakolanga ebintu ebirala, kiki kye yakulembezanga mu bulamu bwe?

16 Kyokka Pawulo n’Abakristaayo abalala, ebintu ebyo si bye baakulembezanga mu bulamu bwabwe. Oluvannyuma lw’okugamba nti Pawulo yali mukozi wa weema, Bayibuli eraga omulimu ogwali gusinga obukulu mu bulamu bwe. Omulimu gw’okubuulira gwe gwali gusinga obukulu mu bulamu bwe. (Soma Ebikolwa 18:2-4; 20:20, 21, 34, 35.) Era ogwo gwe mulimu gwe yakubiriza bakkiriza banne mu Rooma okukulembeza mu bulamu bwabwe. Mu butuufu, ebintu eby’omwoyo Pawulo bye yakulembezanga mu bulamu bwe. Abakristaayo mu Rooma baali beetaaga okumukoppa, era naffe twetaaga okumukoppa.​—Bar. 15:15, 16.

17. Bwe ‘tulowooza eby’omwoyo’ biki ebivaamu?

17 Kiki ekinaavaamu singa tukulembeza ebintu eby’omwoyo mu bulamu bwaffe? Abaruumi 8:6 wagamba nti: “Okulowooza eby’omwoyo kivaamu obulamu n’emirembe.” Omuntu alowooza eby’omwoyo akkiriza omwoyo gwa Katonda okuluŋŋamya ebirowoozo bye, ekyo ne kimuyamba okutuukanya endowooza ye n’eya Katonda. Bwe tukulembeza ebintu eby’omwoyo mu bulamu bwaffe, tuba n’obulamu obw’essanyu era obw’amakulu leero. Era tujja kufuna obulamu obutaggwaawo mu ggulu oba ku nsi.

18. “Okulowooza eby’omwoyo” kituyamba kitya okuba mu mirembe?

18 Kati ka tulowooze ku bigambo bino: “Okulowooza eby’omwoyo kivaamu . . . emirembe.” Abantu bangi bakisanga nga kizibu okufuna emirembe. Kyokka ffe abaweereza ba Yakuwa tulina emirembe. Emu ku nsonga lwaki tulina emirembe eri nti, tufuba okuba mu mirembe n’ab’omu maka gaffe awamu ne bakkiriza bannaffe. Tukimanyi nti tetutuukiridde era ne bakkiriza bannaffe tebatuukiridde. N’olwekyo tusuubira nti oluusi n’oluusi abalala bajja kukola ebintu ebitunyiiza. Naye ekyo bwe kibaawo tugoberera amagezi Yesu ge yatuwa. Yagamba nti: ‘Tabagana ne muganda wo.’ (Mat. 5:24) Bwe tukijjukira nti muganda waffe oba mwannyinaffe naye aweereza “Katonda agaba emirembe” kijja kutwanguyira okutabagana naye.​—Bar. 15:33; 16:20.

19. Engeri endala gye tuganyulwa mu kulowooza eby’omwoyo y’eruwa?

19 Ate era okulowooza eby’omwoyo kituyamba okuba mu mirembe n’Omutonzi waffe. Isaaya yayogera ebigambo ebituukiridde ne mu kiseera kyaffe. Yagamba nti: “[Yakuwa] olikuuma abo abakwesigira ddala; Olibawa emirembe egitaggwaawo, kubanga ggwe gwe beesiga.”​—Is. 26:3; soma Abaruumi 5:1.

20. Oganyuddwa otya mu ebyo ebiri mu Abaruumi essuula 8?

20 Ka tube nga tulina ssuubi lya kugenda mu ggulu oba lya kubeera ku nsi emirembe gyonna, ffenna tuganyulwa nnyo bwe tukolera ku ebyo ebiri mu Abaruumi essuula 8. Tusaanidde okwewala okukulembeza ebintu eby’omubiri mu bulamu bwaffe. Mu kifo ky’ekyo tusaanidde okussa ebirowoozo byaffe ku bintu eby’omwoyo, kubanga “Okulowooza eby’omwoyo kivaamu obulamu n’emirembe.” Okulowooza eby’omwoyo kijja kutuviiramu emikisa egy’olubeerera. Pawulo yagamba nti: “Empeera y’ekibi kwe kufa, naye ekirabo Katonda ky’agaba bwe bulamu obutaggwaawo okuyitira mu Kristo Yesu Mukama waffe.”​—Bar. 6:23.