Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Yakuwa Awa Empeera Abo Abafuba Okumunoonya

Yakuwa Awa Empeera Abo Abafuba Okumunoonya

“Oyo atuukirira Katonda ateekwa okukkiriza nti gyali era nti y’awa empeera abo abafuba okumunoonya.”​—BEB. 11:6.

ENNYIMBA: 85, 134

1, 2. (a) Kakwate ki akaliwo wakati w’okwagala n’okukkiriza? (b) Bibuuzo ki bye tugenda okwetegereza?

TWAGALA yakuwa “kubanga ye yasooka okutwagala.” (1 Yok. 4:19) Engeri emu Yakuwa gy’alagamu abaweereza be abeesigwa okwagala, kwe kubawa emikisa. Gye tukoma okwagala Katonda waffe, gye tukoma okuba abakakafu nti ddala gy’ali era nti awa empeera abo abamwagala.​—Soma Abebbulaniya 11:6.

2 Tewali kubuusabuusa nti Yakuwa awa empeera abo abamwagala. Singa tetuba bakakafu nti Katonda awa empeera abo abafuba okumunoonya, okukkiriza kwaffe tekuba kwa nnamaddala, kubanga “okukkiriza bwe butaba na kubuusabuusa kwonna nti ky’osuubira kijja kutuukirira.” (Beb. 11:1) Mu butuufu, okukkiriza kuzingiramu obutaba na kubuusabuusa kwonna nti Katonda ajja kuwa emikisa abaweereza be abeesigwa. Naye essuubi eryo lituganyula litya? Yakuwa yawa atya abaweereza be empeera mu biseera by’edde, era abawadde atya empeera mu kiseera kyaffe? Ka tulabe.

YAKUWA YASUUBIZA OKUWA ABAWEEREZA BE EMIKISA

3. Kiki Yakuwa kye yasuubiza mu Malaki 3:10?

3 Yakuwa yasuubiza okuwa abaweereza be emikisa, era atukubiriza okukolerera emikisa egyo. Yakuwa yagamba nti: “Mungezese, . . . mulabe obanga siibaggulire emiryango gy’eggulu ne mbayiira emikisa mingi nnyo ne gibulwa ne we gigya.” (Mal. 3:10) Tukiraga nti tukkiririza mu kisuubizo kya Yakuwa ekyo nga tubaako kye tukolawo okumugezesa.

4. Lwaki tusaanidde okwesiga ebigambo bya Yesu ebiri mu Matayo 6:33?

4 Yesu yagamba abayigirizwa be nti singa bakulembeza Obwakabaka mu bulamu bwabwe, Katonda yandibalabiridde. (Soma Matayo 6:33.) Yesu yali mukakafu ku nsonga eyo olw’okuba yali amaze ebbanga ddene ng’ali ne Yakuwa era ng’akiraba nti Yakuwa mwesigwa. Yesu yali mukakafu nti byonna Yakuwa by’asuubiza abituukiriza. (Is. 55:11) Naffe tusaanidde okuba abakakafu nti singa twesiga Yakuwa, ajja kutuukiriza ekyo kye yasuubiza bwe yagamba nti: “Sirikuleka n’akatono era sirikwabulira.” (Beb. 13:5) Ekisuubizo kya Katonda ekyo kituleetera okwesiga ebigambo Yesu bye yayogera mu Matayo 6:33.

Yesu yakiraga nti abayigirizwa be bandiweereddwa empeera olw’okwefiiriza ku lw’Obwakabaka (Laba akatundu 5)

5. Lwaki ebyo Yesu bye yagamba Peetero binyweza okukkiriza kwaffe?

5 Lumu omutume Peetero yabuuza Yesu nti: “Twaleka ebintu byonna ne tukugoberera, kale tulifuna ki?” (Mat. 19:27) Mu kifo ky’okunenya Peetero olw’okubuuza ekibuuzo ekyo, Yesu yagamba nti abayigirizwa be bandifunye emikisa olw’okwefiiriza ku lw’Obwakabaka. Abatume ba Yesu abaali abeesigwa n’abaweereza ba Yakuwa abalala bajja kufugira wamu ne Yesu mu ggulu. Naye ne mu kiseera kino abagoberezi ba Yesu bafuna emikisa. Yesu yagamba nti: “Buli muntu eyaleka ennyumba, baganda be, oba bannyina, oba kitaawe, oba nnyina, oba abaana, oba ebibanja olw’erinnya lyange, ajja kufuna ebisingawo emirundi kikumi, era ajja kufuna n’obulamu obutaggwaawo.” (Mat. 19:29) Yesu yakiraga nti emikisa abayigirizwa be gye bandifunye gyandisingidde wala okwefiiriza kwonna kwe bandikoze olw’Obwakabaka. Mu butuufu, bataata, bamaama, baganda baffe, bannyinaffe, n’abaana be tufuna mu kibiina kya Yakuwa basingira wala ebyo byonna bye twefiirizza ku lw’Obwakabaka.

“ENNANGA EY’OBULAMU”

6. Lwaki Yakuwa yasuubiza okuwa abaweereza be empeera?

6 Okuba nti Yakuwa yasuubiza okuwa abaweereza be empeera, kibayamba okusigala nga banywevu nga boolekagana n’okugezesebwa. Ng’oggyeeko okuba nti Yakuwa awa abaweereza be abeesigwa emikisa mu kiseera kino, ajja kubawa n’emikisa emirala mingi mu biseera eby’omu maaso. (1 Tim. 4:8) Mu butuufu, bwe tuba abakakafu nti Yakuwa “awa empeera abo abafuba okumunoonya” kituyamba okusigala nga tuli banywevu mu kukkiriza.​—Beb. 11:6.

7. Lwaki tuyinza okugamba nti essuubi lye tulina liringa ennanga?

7 Bwe yali ayigiriza ku Lusozi, Yesu yagamba nti: “Musanyuke era mujaguze, kubanga empeera yammwe nnene mu ggulu; kubanga bwe batyo bwe baayigganya bannabbi abaabasookawo.” (Mat. 5:12) Abaweereza ba Katonda abamu bajja kufunira obulamu obutaggwaawo mu ggulu, ate abalala bajja kubufunira ku nsi. Naye ka kibe nti abamu bajja kubufunira mu ggulu ate abalala babufunire ku nsi, bonna basanyufu nnyo olw’essuubi lye balina. (Zab. 37:11; Luk. 18:30) Ka tube nga tulina ssuubi lya kugenda mu ggulu oba lya kubeera ku nsi emirembe gyonna, essuubi lyaffe “liringa ennanga ey’obulamu, kkakafu era linywevu.” (Beb. 6:17-20) Ng’ennanga bw’ekuuma eryato ne litatwalibwa muyaga, n’essuubi lye tulina litunyweza nga twolekagana n’embeera enzibu.

8. Essuubi lye tulina lituyamba litya okukendeeza ku kweraliikirira?

8 Essuubi lye tulina lituyamba okukendeeza ku kweraliikirira. Ekigambo kya Katonda kiringa eddagala eriweweeza emitima gyaffe. Nga kituzzaamu nnyo amaanyi okukimanya nti bwe ‘tutikka Yakuwa emigugu gyaffe, atuwanirira’! (Zab. 55:22) Bayibuli egamba nti Katonda “asobola okukola ebisingira ddala ebyo bye tusaba oba bye tulowooza.” (Bef. 3:20) Mu butuufu, Yakuwa atuyamba n’okusinga bwe tuba tusuubira.

9. Yakuwa bw’aba ow’okutuwa emikisa, kiki kye tulina okukola?

9 Yakuwa bw’aba ow’okutuwa emikisa, tulina okumwesigira ddala era tulina okumugondera. Musa yagamba Abayisirayiri nti: “Yakuwa ajja kukuwa emikisa mu nsi Yakuwa Katonda wo gy’akuwa ng’obusika; naye ekyo kijja kuba bwe kityo singa onoofubanga okuwuliriza eddoboozi lya Yakuwa Katonda wo era n’ofuba okukwata amateeka gano gonna ge nkuwa leero. Yakuwa Katonda wo ajja kukuwa omukisa nga bwe yakusuubiza.” (Ma. 15:4-6) Weesiga Yakuwa nti ajja kukuwa emikisa bw’oneeyongera okumuweereza n’obwesigwa? Waliwo ensonga nnyingi lwaki osaanidde okumwesiga.

YAKUWA YABAWA EMIKISA

10, 11. Yakuwa yawa atya Yusufu emikisa?

10 Ebyo ebyawandiikibwa mu Bayibuli byawandiikibwa okutuganyula. Bayibuli erimu ebyokulabirako bingi ebiraga engeri Katonda gye yawaamu abaweereza be abeesigwa emikisa. (Bar. 15:4) Ng’ekyokulabirako, lowooza ku Yusufu. Baganda be baamutunda mu buddu e Misiri era oluvannyuma muka mukama we n’amuwaayiriza, ekyo ne kimuviirako okusibibwa mu kkomera. Yakuwa yayabulira Yusufu? Nedda! “Yakuwa yeeyongera okuba awamu ne Yusufu n’amulaganga okwagala okutajjulukuka . . . Yakuwa yali wamu ne Yusufu, era nga buli ky’akola Yakuwa akiwa omukisa.” (Lub. 39:21-23) Wadde nga yali ayolekagana n’embeera enzibu, Yusufu yeeyongera okwesiga Katonda.

11 Nga wayise emyaka, Falaawo yasumulula Yusufu okuva mu kkomera era n’amufuula oyo amuddirira mu buyinza mu Misiri. (Lub. 41:1, 37-43) Mukyala wa Yusufu bwe yamuzaalira abaana ab’obulenzi ababiri, “omubereberye Yusufu yamutuuma Manase, kubanga yagamba nti: ‘Katonda anneerabizza ebizibu byange byonna n’ennyumba ya Kitange yonna.’ Ow’okubiri yamutuuma Efulayimu, kubanga yagamba nti: ‘Katonda ampadde abaana mu nsi mwe ndabidde ennaku.’” (Lub. 41:51, 52) Olw’okuba Yusufu yasigala nga mwesigwa eri Katonda, Katonda yamuwa emikisa era ekyo kyayamba mu kuwonyaawo obulamu bw’Abayisirayiri n’obw’Abamisiri. Yusufu yakiraba nti Yakuwa ye yali amuwadde empeera era nti ye yali amuwadde emikisa.​—Lub. 45:5-9.

12. Yesu yasigala atya nga mwesigwa eri Katonda ng’ayolekagana n’embeera enzibu?

12 Yesu naye yasigala nga mwesigwa eri Katonda ng’ayolekagana n’embeera enzibu, era ekyo kyamuviiramu emikisa mingi. Kiki ekyayamba Yesu okugumira embeera enzibu? Ekigambo kya Katonda kigamba nti: “Olw’essanyu eryateekebwa mu maaso ge, yagumira omuti ogw’okubonaabona, okuswala n’atakutwala ng’ekikulu.” (Beb. 12:2) Yesu kyamusanyusa nnyo okuba nti yayamba mu kutukuza erinnya lya Katonda. Ate era yasanyusa Kitaawe era Kitaawe yamuwa enkizo endala nnyingi. Bayibuli egamba nti Yesu ‘yatuula ku mukono ogwa ddyo ogw’entebe ya Katonda.’ Ate era “Katonda yamugulumiza n’amuteeka mu kifo ekya waggulu ennyo, era mu kisa kye n’amuwa erinnya erisinga amalala gonna.”​—Baf. 2:9.

YAKUWA TEYEERABIRA BYE TUKOLA

13, 14. Yakuwa atwala atya ebyo bye tumukolera?

13 Yakuwa asiima nnyo ebyo byonna bye tukola okusobola okumuweereza. Akimanyi nti oluusi tuba n’ebitweraliikiriza era nti oluusi tuba twenyooma. Yakuwa atusaasira nga tulina ebizibu by’eby’enfuna oba ng’obulwadde butulemesa okumuweereza nga bwe twandyagadde. Mu butuufu, Yakuwa asiima ebyo Abaweereza be bye bakola okusobola okusigala nga beesigwa gy’ali.​—Soma Abebbulaniya 6:10, 11.

14 Tusaanidde okukijjukiranga nti bwe tusaba Yakuwa atuwulira. (Zab. 65:2) “Kitaffe ow’okusaasira era Katonda ow’okubudaabuda kwonna” atuwa byonna bye twetaaga okusobola okusigala nga tuli beesigwa gy’ali, era nga kino oluusi akikola okuyitira mu bakkiriza bannaffe. (2 Kol. 1:3) Yakuwa asanyuka nnyo bwe tulaga abalala ekisa. Bayibuli egamba nti: “Alaga omunaku ekisa aba awola Yakuwa, era ajja kumusasula olw’ekyo ky’akola.” (Nge. 19:17; Mat. 6:3, 4) N’olwekyo, bwe tuyamba abo abali mu mbeera enzibu, Yakuwa akitwala nti tuba tumuwoze, era asuubiza nti ajja kutusasula.

EMIKISA MU KISEERA KINO N’EMIREMBE GYONNA

15. Mpeera ki gye weesunga? (Laba ekifaananyi ku lupapula 24.)

15 Abakristaayo abaafukibwako amafuta balina essuubi ery’okufuna “engule ey’obutuukirivu Mukama waffe omulamuzi omutuukirivu [gy’alibawa] ng’empeera ku lunaku luli.” (2 Tim. 4:7, 8) Naye ne bwe kiba nti tewafukibwako mafuta, naawe osaanidde okukimanya nti oli wa muwendo nnyo mu maaso ga Yakuwa. Abagoberezi ba Yesu ‘ab’endiga endala’ bangi nnyo balina essuubi ery’okufuna empeera ey’obulamu obutaggwaawo mu lusuku lwa Katonda ku nsi. Mu kiseera ekyo “baliba basanyufu nnyo kubanga walibaawo emirembe mingi.”​—Yok. 10:16; Zab. 37:11.

16. Ebigambo ebiri mu 1 Yokaana 3:19, 20 bituzzaamu bitya amaanyi?

16 Oluusi tuyinza okuwulira nga tukola kitono nnyo mu buweereza bwaffe eri Yakuwa, era tuyinza okuba nga twebuuza obanga Yakuwa asiima ebyo bye tukola. Ate era tuyinza n’okuba nga tubuusabuusa obanga tugwana okuweebwa empeera yonna. Bwe kiba kityo, tusaanidde okukijjukira nti “Katonda asinga emitima gyaffe era amanyi ebintu byonna.” (Soma 1 Yokaana 3:19, 20.) Bwe tuweereza Yakuwa olw’okuba tulina okukkiriza era olw’okuba tumwagala, ajja kutuwa empeera ne bwe kiba nti ffe tulaba nti bye tukola nga tumuweereza bitono nnyo.​—Mak. 12:41-44.

17. Egimu ku mikisa gye tufuna leero gye giruwa?

17 Ne mu nnaku zino ez’enkomerero, Yakuwa awa abantu be emikisa. Okuyitira mu kibiina kye Yakuwa atuyigirizza ebintu bingi, era atuyambye okuba abasanyufu. (Is. 54:13) Nga Yesu bwe yagamba, Yakuwa atuwadde baganda baffe ne bannyinaffe ab’eby’omwoyo mu nsi yonna. (Mak. 10:29, 30) Ate era Yakuwa atuwadde emirembe mu mutima.​—Baf. 4:4-7.

18, 19. Abaweereza ba Yakuwa bawulira batya bwe balowooza ku mikisa Yakuwa gy’abawa?

18 Abaweereza ba Yakuwa bangi okwetooloola ensi bakirabye nti abawa emikisa. Ng’ekyokulabirako, mwannyinaffe Bianca ow’omu Bugirimaani yagamba nti: “Neebaza nnyo Yakuwa olw’okunnyambanga nga waliwo ebinneeraliikiriza. Ensi erimu ebizibu bingi nnyo. Naye okukolera awamu ne Yakuwa, kinnyambye okuwulira nti nnina obukuumi. Buli lwe mbaako kye nneefiiriza okusobola okuweereza Yakuwa, Yakuwa ampa emikisa mingi nnyo.”

19 Ate era lowooza ku mwannyinaffe Paula ow’omu Canada alina obulwadde obw’amaanyi. Agamba nti, “Okuba nti sisobola kutambula nnyo tekindeetedde kukendeeza ku buweereza bwange. Nfuba okwenyigira mu ngeri ezitali zimu ez’okubuulira, omuli okubuulira nga nkozesa essimu n’okubuulira embagirawo. Nnina akatabo mwe mpandiika ebyawandiikibwa ebitali bimu bye nsobola okufumiitirizaako nga ndi mu mbeera enzibu. Akatabo ako kannyamba nnyo. Bwe tussa ebirowoozo byaffe ku bisuubizo bya Yakuwa, kituyamba okukijjukira nti ebizibu bye twolekagana nabyo bya kaseera buseera. Yakuwa bulijjo abaawo okutuyamba, nga twolekagana n’embeera enzibu.” Embeera gy’oyolekagana nayo eyinza okuba nga ya njawulo ku ya Bianca ne Paula. Wadde kiri kityo, bw’ofumiitiriza, osobola okulaba engeri Yakuwa gy’akuyambyemu. Mu butuufu kikulu nnyo okufumiitiriza ku mikisa Yakuwa gy’akuwadde mu kiseera kino n’egyo gy’ajja okukuwa mu biseera eby’omu maaso.

20. Bwe tweyongera okuweereza Yakuwa n’obwesigwa kiki kye tujja okufuna?

20 Beera mukakafu nti Yakuwa awulira okusaba kwo. Era beera mukakafu nti ‘bw’olimala okukola Katonda by’ayagala ojja kufuna ekyo kye yasuubiza.’ (Beb. 10:35, 36) N’olwekyo, ka tweyongere okunyweza okukkiriza kwaffe n’okukola kyonna ekisoboka okuweereza Yakuwa. Bwe tunaakola bwe tutyo, tewali kubuusabuusa nti Yakuwa ajja kutuwa empeera.​—Soma Abakkolosaayi 3:23, 24.