Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Yakuwa Mukwase Byonna Ebikweraliikiriza

Yakuwa Mukwase Byonna Ebikweraliikiriza

“[Yakuwa mumukwase] byonna ebibeeraliikiriza kubanga abafaako.”​—1 PEET. 5:7.

ENNYIMBA: 60, 23

1, 2. (a) Lwaki tusuubira okufuna ebitweraliikiriza? (Laba ekifaananyi waggulu.) (b) Kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino?

TULI mu biseera ebizibu ennyo. Sitaani Omulyolyomi munyiivu era “atambulatambula ng’empologoma ewuluguma, ng’anoonya gw’anaalya.” (1 Peet. 5:8; Kub. 12:17) N’olwekyo, tekyewuunyisa nti oluusi n’oluusi abaweereza ba Katonda nabo bafuna ebibeeraliikiriza. Abaweereza ba Katonda ab’edda, gamba nga Kabaka Dawudi, nabo oluusi baafunanga ‘ebibeeraliikiriza.’ (Zab. 13:2) Omutume Pawulo naye ‘yeeraliikirira olw’ebibiina byonna.’ (2 Kol. 11:28) Naye kiki kye tuyinza okukola nga waliwo ebitweraliikiriza?

2 Kitaffe ow’omu ggulu yayamba abaweereza be ab’edda bwe baabanga n’ebibeeraliikiriza, era naffe asobola okutuyamba. Bayibuli etugamba nti: “Mumukwasa byonna ebibeeraliikiriza kubanga abafaako.” (1 Peet. 5:7) Naye tuyinza tutya okukwasa Yakuwa ebitweraliikiriza? Tugenda kulaba ebintu bina bye tuyinza okukola. Bye bino: okusaba, okusoma Ekigambo kya Katonda n’okufumiitiriza ku ebyo bye tusoma, okusaba Yakuwa atuwe omwoyo omutukuvu, n’okubuulirako omuntu gwe twesiga ku ebyo ebitweraliikiriza.

“OMUGUGU GWO GUTIKKE YAKUWA”

3. Oyinza otya ‘okutikka Yakuwa omugugu gwo’?

3 Ekintu ekisooka ky’oyinza okukola kwe kusaba Yakuwa. Bw’ofuna ebikweraliikiriza, buulira Yakuwa ebyo ebikuli ku mutima. Dawudi yagamba Yakuwa nti: “Ai Katonda, wulira okusaba kwange.” Era yagamba nti: “Omugugu gwo gutikke Yakuwa, era naye anaakuwaniriranga.” (Zab. 55:1, 22) Bw’okola kyonna ekisoboka okugonjoola ekizibu, ebisigadde n’obikwasa Yakuwa okuyitira mu kusaba, kisobola okukuyamba okendeeza ku kweraliikirira. Naye okusaba kuyinza kutya okukuyamba okukendeeza ku bikweraliikiriza?​—Zab. 94:18, 19.

4. Lwaki kikulu okusaba nga waliwo ebitweraliikiriza?

4 Soma Abafiripi 4:6, 7. Bwe tusaba Yakuwa nga waliwo ebitweraliikiriza asobola okutuyamba. Yakuwa atuyamba atya? Asobola okutuwa emirembe mu mutima, era kino bangi bakiwaako obujulirwa. Bwe babuulira Yakuwa ebibeeraliikiriza, Yakuwa abawa emirembe egisingira ewala okutegeera kwonna. Naawe Yakuwa asobola okukuwa emirembe. “Emirembe gya Katonda” gisobola okukuyamba okugumira ekigezo kyonna ky’oba oyolekagana nakyo. Yakuwa akugamba nti: “Teweeraliikirira, kubanga nze Katonda wo. Nja kukuwa amaanyi era nja kukuyamba.”​—Is. 41:10.

EKIGAMBO KYA KATONDA KISOBOLA OKUKUYAMBA OKUFUNA EMIREMBE MU MUTIMA

5. Ekigambo kya Katonda kiyinza kitya okutuyamba okufuna emirembe mu mutima?

5 Ekintu ekirala ekisobola okukuyamba okufuna emirembe mu mutima kwe kusoma Ekigambo kya Katonda. Lwaki kikulu okusoma Bayibuli? Bayibuli erimu amagezi amalungi agasobola okukuyamba okwewala okweraliikirira, okukukendeeza, oba okukwaŋŋanga. Amagezi agali mu Bayibuli gasobola okukuyamba kubanga gaava eri Katonda. Bw’ofumiitiriza ku ebyo ebiri mu Bayibuli era n’olaba engeri gy’oyinza okubikolerako mu bulamu, kikuganyula nnyo. Yakuwa yakiraga nti waliwo akakwate wakati w’okusoma Ekigambo kye ‘n’okubeera omuvumu era ow’amaanyi.’​—Yos. 1:7-9.

6. Ebigambo bya Yesu biyinza bitya okukuganyula?

6 Ekigambo kya Katonda kirimu ebigambo Yesu bye yayogera ebizzaamu amaanyi. Ebyo Yesu bye yayogera ne bye yayigiriza byazzaamu abaali bamuwuliriza amaanyi. Abantu bangi baayagalanga okubeera awali Yesu kubanga yagumyanga abali mu nnaku, yazzangamu amaanyi abanafu, era yabudaabudanga abennyamivu. (Soma Matayo 11:28-30.) Yesu yafangayo ku byetaago by’abantu eby’omwoyo n’eby’omubiri, era yafangayo ku nneewulira zaabwe. (Mak. 6:30-32) Naawe Yesu asobola okukuyamba. Okufaananako abatume abaatambulanga ne Yesu, naawe osobola okuganyulwa mu ebyo Yesu bye yayigiriza. Tekikwetaagisa kuba na Yesu okusobola okuganyulwa mu ebyo bye yayigiriza. Yesu kati afuga nga Kabaka mu ggulu era atufaako nnyo. N’olwekyo, bwe waba nga waliwo ebikweraliikiriza, Yesu asobola okukuyamba. Mu butuufu, Yesu asobola okukuyamba okwaŋŋanga ebikweraliikiriza era asobola okukuyamba okufuna essuubi.​—Beb. 2:17, 18; 4:16.

OMWOYO GWA KATONDA GUSOBOLA OKUKUYAMBA

7. Bw’osaba Katonda akuwe omwoyo omutukuvu kikuganyula kitya?

7 Yesu yagamba nti Kitaffe ali mu ggulu tasobola kumma mwoyo mutukuvu abo abamusaba. (Luk. 11:10-13) Ekyo kituyamba okulaba ekintu eky’okusatu ekisobola okutuyamba okukendeeza ku kweraliikirira. Omwoyo omutukuvu gutuyamba okwoleka engeri za Yakuwa. (Soma Abaggalatiya 5:22, 23; Bak. 3:10) Bw’okulaakulanya engeri eziri mu kibala ky’omwoyo, kikuyamba okukolagana obulungi n’abalala. Bwe kityo, weewala okukola ebintu ebiyinza okutabangula emirembe wakati wo n’abalala, ekiyinza okukuleetera okweraliikirira. Kati ka tulabe engeri okwoleka ekibala ky’omwoyo gye kiyinza okutuyamba.

8-12. Okwoleka ekibala ky’omwoyo omutukuvu kiyinza kitya okukuyamba okwewala okweraliikirira?

8 ‘Okwagala, essanyu, emirembe.’ Bw’owa abalala ekitiibwa, kikuyamba okukendeeza ku kweraliikirira. Mu ngeri ki? Bw’oba oyagala bakkiriza banno, ng’obafaako, era ng’obassaamu ekitiibwa, kikuyamba okwewala okukola ebintu ebiyinza okumalawo emirembe wakati wo nabo.​—Bar. 12:10.

9 “Obugumiikiriza, ekisa, obulungi.” Osobola okukuuma emirembe wakati wo n’abalala singa okolera ku kubuulirira kuno: “Mubeerenga ba kisa buli muntu eri munne, nga musaasiragana, nga musonyiwagana.” (Bef. 4:32) Bw’okolera ku kubuulirira okwo, kikuyamba okukolagana obulungi n’abalala ne kikuyamba okwewala embeera eziyinza okukuleetera okweraliikirira. Ate era kikuyamba n’okugumiikiriza obunafu bwa bakkiriza banno.

10 “Okukkiriza.” Oluusi ebintu ebitera okutweraliikiriza ze ssente n’engeri y’okweyimirizaawo. (Nge. 18:11) Naye bw’oba n’okukkiriza okw’amaanyi nti Yakuwa akufaako, kijja kukuyamba okwewala okweraliikirira. Mu ngeri ki? Bw’oba ‘omumativu n’ebyo by’olina’ kisobola okukuyamba okwewala okweraliikirira. Katonda yagamba nti: “‘Sirikuleka n’akatono era sirikwabulira.’ N’olwekyo, ka tubeere bagumu tugambe nti: ‘Yakuwa ye muyambi wange; Siityenga. Omuntu ayinza kunkola ki?’”​—Beb. 13:5, 6.

11 “Obukkakkamu, okwefuga.” Lowooza ku ngeri gy’oyinza okuganyulwa mu kwoleka engeri ezo. Bw’ozooleka, kikuyamba okwewala okukola oba okwogera ebintu ebiyinza okukuviirako okweraliikirira. Kikuyamba okwewala ‘okusiba ekiruyi, okunyiiga, okusunguwala, okuyomba, n’okuvuma.’​—Bef. 4:31.

12 Kikwetaagisa okuba omwetoowaze okusobola okwessa ‘wansi w’omukono gwa Katonda ogw’amaanyi, n’okumukwasa byonna ebikweraliikiriza.’ (1 Peet. 5:6, 7) Bw’oba omwetoowaze, kikuyamba okusiimibwa mu maaso ga Katonda. (Mi. 6:8) Bw’oba omwetoowaze, omanya obusobozi bwo we bukoma era weesigama ku Yakuwa okukuyamba. Okulaba engeri Yakuwa gy’akuyambamu kikuleetera obuteeraliikirira nnyo.

‘TEWEERALIIKIRIRANGA’

13. Kiki Yesu kye yali ategeeza bwe yagamba nti: “Temweraliikiriranga”?

13 Mu Matayo 6:34 (soma), Yesu yatugamba nti: “Temweraliikiriranga.” Ddala kisoboka okukolera ku bigambo bya Yesu ebyo? Yee. Kiki Yesu kye yali ategeeza bwe yagamba nti: “Temweraliikiriranga”? Yesu yali tategeeza nti omuweereza wa Katonda tasobola kuba na bimweraliikiriza mu bulamu. Nga bwe twalabye, Dawudi ne Pawulo nabo baalina ebibeeraliikiriza. Naye Yesu yali alaga abayigirizwa be nti okweraliikirira ekisukkiridde tekisobola kubayamba kugonjoola bizibu. Buli lunaku luba n’ebyeraliikiriza ebyalwo. N’olwekyo Omukristaayo tasaanidde kweraliikirira bizibu ebyayita oba ebyo ebiyinza okubaawo. Kati olwo oyinza otya okukolera ku magezi Yesu ge yawa kikuyambe obuteeraliikirira kisukkiridde?

14. Okufaananako Dawudi, kiki ky’oyinza okukola okukendeeza ku kweraliikirira?

14 Abantu abamu beeraliikirira olw’ensobi ze baakola mu biseera eby’emabega. Oluusi ne Kabaka Dawudi yeeraliikiriranga olw’ensobi ze yakola emabega. Yagamba nti: “Nsinda olw’obulumi obw’omu mutima gwange.” (Zab. 38:3, 4, 8, 18) Kiki ekyali kiyinza okuyamba Dawudi, era kiki kye yakola? Dawudi yeesiga Yakuwa nga mukakafu nti Yakuwa yamusonyiwa. Dawudi yagamba nti: “Alina essanyu oyo asonyiyiddwa ensobi ye, oyo asonyiyiddwa ekibi kye.”​—Soma Zabbuli 32:1-3, 5.

15. (a) Kiki ekirala ky’oyinza okuyigira ku Dawudi? (b) Biki bye tuyinza okukola okukendeeza ku kweraliikirira? (Laba akasanduuko “ By’Oyinza Okukola Okukendeeza ku Kweraliikirira.”)

15 Oyinza okuba ng’olina ebizibu by’oyolekagana nabyo ebikuleetera okweraliikirira. Ng’ekyokulabirako, Dawudi we yawandiikira Zabbuli 55, yali yeeraliikirira olw’obulamu bwe. (Zab. 55:2-5) Wadde kyali kityo, teyakkiriza kweraliikirira kumuleetera kulekera awo kwesiga Yakuwa. Wadde nga Dawudi yasaba Yakuwa n’amutegeeza ku kizibu kye yalina, alina kye yakolawo ku kizibu ekyali kimuleetera okweraliikirira. (2 Sam. 15:30-34) Kiki ky’oyinza okuyigira ku Dawudi? Mu kifo ky’okudda awo okweraliikirira, baako ky’okolawo okugonjoola ekizibu ekyo era ensonga ozireke mu mikono gya Yakuwa.

16. Okulowooza ku makulu g’erinnya lya Katonda kiyinza kitya okunyweza okukkiriza kwo?

16 Oluusi Oyinza okweraliikirira ku bikwata ku bintu eby’omu maaso. Naye teweetaaga kweraliikirira bintu ebitannabaawo. Lwaki? Kubanga oluusi ebimu ku bintu bye tweraliikirira biyinza n’obutabaawo. Ate era osaanidde okukijjukira nti tewali mbeera, k’ebe nzibu etya, Katonda gy’atayinza kutuyamba kuyitamu. Erinnya lye litegeeza nti “Aleetera Ebintu Okubaawo.” (Kuv. 3:14) N’olwekyo, tetusaanidde kweraliikirira ku ebyo ebinaabaawo mu biseera eby’omu maaso kubanga amakulu g’erinnya lya Katonda galaga nti ekigendererwa kye eri abantu kijja kutuukirira. Ba mukakafu nti Katonda ajja kuwa abaweereza be abeesigwa emikisa era ajja kubayamba okukendeeza ku bibeeraliikiriza.

YOGERAKO N’OMUNTU GWE WEESIGA

17, 18. Okwogerako n’abalala kiyinza kitya okukuyamba nga waliwo ebikweraliikiriza?

17 Ekintu eky’okuna ekiyinza okukuyamba okukendeeza ku bikweraliikiriza kwe kwogerako n’omuntu gwe weesiga. Okwogerako ne munno mu bufumbo, mukwano gwo ow’oku lusegere, oba omukadde mu kibiina, kisobola okukuyamba okuba n’endowooza ennuŋŋamu ku kizibu ky’olina era kisobola okukuyamba okukyaŋŋanga. Bayibuli egamba nti: “Okweraliikirira okuba mu mutima gw’omuntu kugwennyamiza, naye ebigambo ebirungi biguleetera okusanyuka.” (Nge. 12:25) Era Bayibuli egamba nti: “Awatali kuteesa enteekateeka zigwa butaka, naye bwe wabaawo abawi b’amagezi abangi wabaawo ekituukibwako.”​—Nge. 15:22.

18 Yakuwa era ayamba abaweereza be okukendeeza ku bibeeraliikiriza okuyitira mu nkuŋŋaana ze bafuna buli wiiki. Bw’obaawo mu nkuŋŋaana, kikusobozesa okubaako ne bakkiriza banno abakufaako era abaagala okukuzzaamu amaanyi. (Beb. 10:24, 25) Bakkiriza banno bwe bakuzzaamu amaanyi, kikunyweza mu by’omwoyo era kikuyamba okukendeeza ku ebyo ebikweraliikiriza.​—Bar. 1:12.

KIKULU OKUBA N’ENKOLAGANA EY’OKU LUSEGERE NE KATONDA

19. Lwaki okuba n’enkolagana ennungi ne Katonda kisobola okukuyamba okukendeeza ku bikweraliikiriza?

19 Ow’oluganda omu mu Canada, aweereza ng’omukadde, yakiraba nti kikulu nnyo okukwasa Yakuwa ebitweraliikiriza. Ow’oluganda oyo akola gwa busomesa era alina eby’okukola bingi. Ate era alina obulwadde obumuleetera okweraliikirira ennyo. Kiki ekimuyambye okwaŋŋanga embeera eyo? Agamba nti: “Ekintu ekisinze okunnyamba kwe kunyweza enkolagana yange ne Yakuwa. Mikwano gyange era bakkiriza bannange bannyambye nnyo nga njolekagana n’ebizibu. Era nfuba okubuulirako mukyala wange ku ebyo ebiba binneeraliikiriza. Okugatta ku ekyo, abakadde mu kibiina n’omulabirizi waffe ow’ekitundu bannyambye nnyo okuba n’endowooza ennuŋŋamu ku bizibu bye nnina. Ate era omusawo yannyamba okukiraba nti nnalina okubaako enkyukakyuka ze nkola mu mirimu gyange nsobole okuwummula ekimala n’okukolanga dduyiro. Ekyo kyannyamba okuwulira obulungiko. Bwe wabaawo ebintu bye sisobola kukyusa, ensonga nzireka mu mikono gya Yakuwa.”

20. (a) Tuyinza tutya okukwasa Katonda ebitweraliikiriza? (b) Kiki kye tujja okulaba mu kitundu ekiddako?

20 Mu kitundu kino tulabye engeri gye tuyinza okukwasa Yakuwa ebitweraliikiriza okuyitira mu kusaba, okusoma Ekigambo kye, n’okufumiitiriza ku ebyo bye tusoma. Era tulabye nti kikulu okukulaakulanya ekibala ky’omwoyo omutukuvu, okwogerako n’omuntu gwe twesiga, n’okubeerawo mu nkuŋŋaana. Mu kitundu ekiddako, tujja kulaba engeri Yakuwa gy’atuyambamu ng’atuwa essuubi.​—Beb. 11:6.