Beewaayo Kyeyagalire
ABAMU ku Bajulirwa ba Yakuwa abaweerereza mu nsi awali obwetaavu bw’ababuulizi obusingako, bakazi abali obwannamunigina. Abamu ku bo babadde baweereza mu nsi endala okumala emyaka mingi. Kiki ekyabayamba okusalawo okugenda okuweereza mu nsi endala? Biki bye bayize nga baweereza mu nsi endala? Mikisa ki gye bafunye? Twayogerako n’abamu ku bannyinaffe abo. Bw’oba mwannyinaffe ali obwannamunigina era ng’oyagala okufuna essanyu mu kuweereza Yakuwa, tuli bakakafu nti ojja kuganyulwa nnyo mu ebyo bannyinaffe abo bye baayogera. Mu butuufu, abantu ba Katonda bonna basobola okuganyulwa mu kyokulabirako ekirungi bannyinaffe abo kye bataddewo.
OKWAŊŊANGA EBYALI BIBEERALIIKIRIZA
Olowooza osobola okuweereza nga payoniya mu nsi endala, kyokka ng’oli bwannamunigina? Anita, kati ali mu myaka 70, mu kusooka yali abuusabuusa obanga ekyo yali asobola okukikola. Yakulira mu Bungereza era yatandika okuweereza nga payoniya nga wa myaka 18. Agamba nti: “Nnali njagala nnyo okuyigiriza abantu ebikwata ku Yakuwa, naye nnali sikirowoozangako nti nsobola okugenda okuweerereza mu nsi endala. Nnali sirina lulimi lulala lwe mmanyi, era nnali sisuubira nti nsobola okuyigayo olulimi olulala. N’olwekyo, bwe nnayitibwa okugenda mu Ssomero lya Gireyaadi, kyanneewuunyisa nnyo. Nnali sisuubira nti omuntu nga nze nnali nsobola okuyitibwa okugenda mu Gireyaadi. Naye nnagamba nti, ‘Yakuwa bw’aba alaba nga nsobola okuweerereza mu nsi endala, nja kugezaako.’ Kati wayise emyaka egisukka mu 50 nga Anita aweereza ng’omuminsani mu Japan.” Agamba nti: “Emirundi egimu ntera okukubiriza baganda bange abakyali abato okugenda okuweereza nga bapayoniya mu nsi endala, era bangi ku bo bwe batyo bwe bakoze.”
OKUGGWAAMU OKUTYA
Bangi ku bannyinaffe abaweerezzaako mu nsi endala mu kusooka baali batya okugenda okuweerereza mu nsi endala. Naye baasobola batya okuggwaamu okutya?
Mwannyinaffe Maureen, kati ali mu myaka 60 agamba nti: “Okuviira ddala mu buto, nnali njagala okukozesa obulamu bwange okuyamba abalala.” Maureen bwe yaweza emyaka 20, yagenda e Quebec, mu Canada, awaali obwetaavu bwa bapayoniya. Agamba nti: “Oluvannyuma, nnayitibwa okugenda mu Ssomero lya Gireyaadi, naye nnali ntya okulekawo mikwano gyange okugenda okuweerereza mu nsi endala. Era nnali ntya okulekawo maama wange, mu kiseera ekyo eyali alabirira taata nga mulwadde. Emirundi mingi nnasabanga
Yakuwa ekiro ne mmutegeeza ku bintu ebyo ebyali binneeraliikiriza. Bwe nnategeezaako bazadde bange nti nnali mpitiddwa mu Gireyaadi, baŋŋamba nti ŋŋende. Ate era nnalaba engeri ab’oluganda mu kibiina gye baali bafuba okuyamba bazadde bange. Okufumiitiriza ku ngeri Yakuwa gye yali ayambamu bazadde bange kyandeetera okuba omukakafu nti nange yandindabiridde. Bwe kityo, nnali mwetegefu okugenda okuweereza mu nsi endala!” Maureen yatandika okuweereza ng’omuminsani mu West Africa mu 1979, era yamalayo emyaka egisukka mu 30. Kati Maureen aweereza nga payoniya ow’enjawulo mu Canada, ate nga mu kiseera kye kimu alabirira maama we. Bw’alowooza ku myaka gye yamala ng’aweerereza mu nsi endala, Maureen agamba nti: “Yakuwa yampanga bye nneetaaga mu kiseera we nnalinga mbyetaagira.”Wendy, kati ali mu myaka 60 yatandika okuweereza nga payoniya mu Australia ng’akyali muvubuka. Agamba nti: “Nnali ntya nnyo okwogera n’abantu be simanyi. Naye okuweereza nga payoniya kyannyamba okuyiga okwogera n’abantu ab’enjawulo awatali kutya. Ekiseera bwe kyagenda kiyitawo, nnalekera awo okutya abantu. Okuweereza nga payoniya kyannyamba okwesiga ennyo Yakuwa, ne mba nga sikyatya kugenda kuweereza mu nsi ndala. Muganda wange omu eyali yaweerezaako ng’omuminsani mu Japan okumala emyaka egisukka mu 30, yansaba ŋŋendeko naye okubuulira mu Japan okumala emyezi esatu. Okukolerako awamu naye kyandeetera okwagala ennyo okugenda okuweereza mu nsi endala.” Mu myaka gya 1980, Wendy yagenda okuweerereza mu Vanuatu, ekizinga ekisangibwa mayiro 1,100 ebugwanjuba bwa Australia.
Wendy akyali mu Vanuatu, era kati aweerereza ku ofiisi awavvuunulirwa ebitabo byaffe. Agamba nti: “Kindeetedde essanyu lingi okulaba ng’ebibiina n’ebibinja bingi bitandikibwawo mu bitundu ebyesudde. Ngitwala nga nkizo ya maanyi okuba nti Yakuwa ansobozesezza okuyambako mu kubunyisa amawulire amalungi ku bizinga.”
Kumiko, kati ali mu myaka 60, yali aweereza nga payoniya mu Japan. Mukwano gwe, naye eyali aweereza nga payoniya, yamugamba bagende baweerereze mu Nepal. Kumiko agamba nti: “Mukwano gwange oyo yaŋŋamba enfunda n’enfunda tugende, naye nga sikkiriza. Nnali saagala kuyiga lulimi lulala era nga nneebuuza engeri gye nnandisobodde okutuukana n’embeera y’omu nsi endala. Era nneebuuzanga engeri gye nnandisobodde okweyimirizaawo nga mpeerereza mu nsi endala. Mu kiseera ekyo, nnagwa ku kabenje ne bampa ekitanda mu ddwaliro. Nga ndi eyo, muli nneebuuza: ‘Watya singa nfuna obulwadde obw’amaanyi ne nfiirwa enkizo ey’okuweererezaako mu nsi endala? Lwaki sigenda ne mpeererezaako mu nsi endala okumala waakiri omwaka gumu?’ Nnasaba Yakuwa annyambe okukolera ku ekyo kye nnali nsazeewo.” Bwe yava mu
ddwaliro, Kumiko yagenda n’akyalako mu Nepal, era oluvannyuma n’agenda ne munne okuweerereza eyo.Bw’alowooza ku myaka egikunnukkiriza mu kkumi gy’amaze ng’aweerereza mu Nepal, Kumiko agamba nti: “Okutya kwonna kwe nnalina kwavaawo. Ndi musanyufu nnyo okuba nti nnasalawo okugenda okuweereza awali obwetaavu bw’ababuulizi obusingako. Emirundi mingi, bwe tugenda mu maka g’abantu okubuulira, abantu nga bataano oba mukaaga bakuŋŋaana okutuwuliriza. Oluusi n’abaana abato bansaba mbawe tulakiti ezinnyonnyola Bayibuli. Kindeetedde essanyu lingi okubuulira mu kitundu kino omuli abantu abangi ennyo abaagala okuwulira obubaka bwaffe.”
OKWAŊŊANGA OKUSOOMOOZA
Kya lwatu nti bannyinaffe abo bonna baayolekagana n’okusoomooza okutali kumu. Naye baasobola batya okukwaŋŋanga?
Diane, eyava mu Canada agamba nti: “Mu kusooka tekyannyanguyira kubeera wala n’ab’eŋŋanda zange.” Kati Diane ali mu myaka 60 era amaze emyaka 20 ng’aweereza ng’omuminsani mu Ivory Coast (kati eyitibwa Côte d’Ivoire). Agamba nti: “Nnasaba Yakuwa annyambe okwagala abantu b’omu nsi gye nnali ŋŋenda okusindikibwa. Omu ku basomesa baffe mu Gireyaadi ayitibwa Jack Redford, yatugamba nti mu kusooka embeera mu bitundu gye twali tugenda okusindikibwa ziyinza obutatubeerera nnyangu, naddala nga tufunye ebizibu by’eby’enfuna. Naye yatugamba nti: ‘Temutunuulira bizibu ebyo. Mu kifo ky’ekyo, mutunuulire abantu. Mwetegereze engeri gye bakwatibwako nga bayize amazima.’ Ekyo kyennyini kye nnakola, era nnafuna emikisa mingi! Abantu be nnabuuliranga baasanyukanga nnyo okuwulira amawulire ag’Obwakabaka!” Kiki ekirala ekyayamba Diane okutuukana n’embeera y’omu nsi endala? Agamba nti: “Nnafangayo nnyo ku bayizi bange aba Bayibuli era kyansanyusa nnyo okulaba enkyukakyuka ze baakola okufuuka abaweereza ba Yakuwa abeesigwa. Nnayagala nnyo obuweereza bwange. Nnafuna bamaama, bataata, baganda bange, ne bannyinaze ab’eby’omwoyo, nga Yesu bwe yasuubiza.”
Anne, kati ali mu myaka 40, aweerereza mu nsi emu ey’omu Asiya omulimu gwaffe gye guziyizibwa. Agamba nti: “Mu myaka gye mmaze nga mpeereza mu bitundu ebitali bimu, mbaddeko ne baganda bange abalina engeri ez’enjawulo ku zange. Oluusi ekyo kyatuviirangako okufuna obutategeeragana. Ekyo bwe kyabangawo, nnafubanga okutegeera obuwangwa bwabwe n’ensonga lwaki baali beeyisa nga bwe baali beeyisa. Nnafuba okwongera okubaagala n’obutaba
mukakanyavu. Ekyo kyannyamba okufuna emikwano mingi egya nnamaddala era kinnyambye okweyongera okuweereza Yakuwa nga ndi mu nsi endala.”Mu 1993, Ute, enzaalwa ya Bugirimaani, kati ali mu myaka 50, yasindikibwa okuweereza ng’omuminsani mu Madagascar. Agamba nti: “Tekyannyanguyira kuyiga lulimi olwogerwa mu nsi eyo n’okumanyiira embeera y’obudde. Mu butuufu, mu kusooka nnalwalanga nnyo, naye bakkiriza bannange bannyambanga nnyo. Bakkiriza bannange n’abayizi bange aba Bayibuli bannyamba okuyiga olulimi olwogerwa mu nsi eyo. Muganda wange bwe twali tuweerereza awamu ng’abaminsani yanzijanjabanga buli lwe nnalwalanga. Naye okusingira ddala, Yakuwa yannyamba. Nnamusabanga ne mmubuulira ebyanneeraliikirizanga. Nnamulindiriranga okutuusa lwe yaddangamu essaala zange. Yakuwa yannyamba okwaŋŋanga ebizibu byonna bye nnayolekagana nabyo.” Kati Ute amaze emyaka 23 ng’aweereza mu Madagascar.
BAFUNA EMIKISA MINGI
Bannyinaffe abaweerereza mu nsi endala bafuna emikisa mingi. Egimu ku gyo gye giruwa?
Heidi, enzaalwa ya Bugirimaani, kati ali mu myaka 70, abadde aweereza ng’omuminsani mu Ivory Coast (kati eyitibwa Côte d’Ivoire) okuva mu 1968. Agamba nti: “Ekimu ku bintu ebisinze okundeetera essanyu kwe kulaba ng’abaana bange ab’eby’omwoyo ‘beeyongera okutambulira mu mazima.’ Abamu ku abo be nnayigiriza Bayibuli bapayoniya ate abalala baweereza ng’abakadde mu kibiina. Abamu ku bo bampita maama ate abalala jjajja. Ow’oluganda omu gwe nnayigiriza Bayibuli antwala nga maama we, mukyala we antwala nga nnyazaala we, ate abaana baabwe bantwala nga jjajjaabwe.”
Karen, enzaalwa ya Canada, kati ali mu myaka 70, yamala emyaka egisukka mu 20 ng’aweerereza mu West Africa. Agamba nti: “Okuweereza ng’omuminsani kyannyamba okwongera okwoleka okwagala, obugumiikiriza, n’omwoyo gw’okwefiiriza. Ate era okukolerako awamu ne bakkiriza bannange okuva mu mawanga ag’enjawulo kyannyamba okuba n’endowooza ennuŋŋamu ku bantu ab’enjawulo. Nnakiraba nti waliwo engeri nnyingi ey’okukolamu ebintu. Mu butuufu, nfunye emikwano mingi mu nsi ezitali zimu! Wadde ng’embeera z’obulamu bwaffe zaakyuka, tukyali ba mikwano.”
Margaret, enzaalwa ya Bungereza, kati ali mu myaka 70, yaweerezaako ng’omuminsani mu Laos. Agamba nti: “Okuweereza mu nsi endala kyannyamba okulaba engeri Yakuwa gy’aleetamu abantu ab’amawanga ag’enjawulo mu kibiina kye. Ekyo kyeyongera okunyweza okukkiriza kwange. Era kindeetedde okuba omukakafu nti Yakuwa akulembera ekibiina kye era nti ekigendererwa kye kijja kutuukirira.”
Tewali kubuusabuusa nti bannyinaffe abali obwannamunigina abaweerereza mu nsi endala awali obwetaavu bw’ababuulizi obusingako bataddewo ekyokulabirako ekirungi. Mu butuufu, basiimibwa nnyo. (Balam. 11:40) Buli lukya, omuwendo gwa bannyinaffe ng’abo gweyongera. (Zab. 68:11) Naawe waliwo enkyukakyuka z’osobola okukola okukoppa bannyinaffe abo? Bw’onoozikola, ojja ‘kulegako olabe nti Yakuwa mulungi.’