Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Osobola Okwoleka Obwetoowaze ne mu Mbeera Enzibu

Osobola Okwoleka Obwetoowaze ne mu Mbeera Enzibu

‘Ba mwetoowaze ng’otambula ne Katonda wo!’—MI. 6:8.

ENNYIMBA: 48, 95

1-3. Kiki nnabbi eyava mu Yuda ky’ataakola, era kiki ekyavaamu? (Laba ekifaananyi waggulu.)

MU KISEERA ky’obufuzi bwa Kabaka Yerobowaamu, Yakuwa yatuma nnabbi we okuva mu Yuda okugenda okulangirira obubaka obw’omusango eri Kabaka Yerobowaamu eyali omubi. Nnabbi wa Yakuwa oyo yayoleka obwetoowaze n’agenda n’alangirira obubaka obwo, era Yakuwa yamukuuma, Yerobowaamu n’atamutuusaako kabi.1 Bassek. 13:1-10.

2 Nnabbi oyo bwe yali addayo ewuwe, yasanga omusajja omukadde eyali abeera mu Beseri. Omusajja oyo yamugamba nti naye yali nnabbi wa Yakuwa. Yalimbalimba nnabbi wa Yakuwa oyo, n’amuleetera okujeemera ekiragiro kya Yakuwa. Yakuwa yali alagidde nnabbi oyo ‘obutalya mmere oba okunywa amazzi mu Isirayiri’ era yali amulagidde ‘obutaddirayo mu kkubo lye yali ayiseemu ng’agenda mu Isirayiri.’ Nnabbi oyo yakola ekintu Yakuwa kye yali amugaanye okukola era ekyo kyanyiiza nnyo Yakuwa. Oluvannyuma bwe yali mu kkubo ng’addayo ewuwe, empologoma yamutta.1 Bassek. 13:11-24.

3 Lwaki nnabbi wa Yakuwa oyo yasalawo okukolera ku bigambo eby’obulimba omusajja omukadde bye yamugamba? Ekyo Bayibuli tekitubuulira. Naye nnabbi oyo ayinza okuba nga yeerabira nti yalina ‘okuba omwetoowaze ng’atambula ne Katonda.’ (Soma Mikka 6:8.) Okusinziira ku Bayibuli, okutambula ne Katonda kitegeeza okumwesiga, okuwagira obufuzi bwe, n’okukolera ku bulagirizi bw’atuwa. Omuntu omwetoowaze akijjukira nti bulijjo alina okwogera ne Yakuwa n’okumwebuuzaako. Nnabbi oyo yali asobola okusaba Yakuwa amukakase obanga ddala ebigambo omusajja omukadde bye yali amugambye byali bivudde gy’ali. Naye Bayibuli teraga nti ekyo yakikola. Naffe ebiseera ebimu tuba n’ebintu ebikulu bye tuba tulina okusalawo naye nga tetwekakasa bulungi kya kukola. Kyokka bwe twoleka obwetoowaze ne tunoonya obulagirizi bwa Yakuwa kisobola okutuyamba okwewala okusalawo mu ngeri eteri ya magezi.

4. Kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino?

4 Mu kitundu ekyayita twalaba ensonga lwaki kikulu Abakristaayo okuba abeetoowaze n’engeri gye bayinza okwolekamu obwetoowaze. Tuyinza tutya okukulaakulanya obwetoowaze? Era mbeera ki eziyinza okukifuula ekizibu gye tuli okwoleka obwetoowaze? Okusobola okuddamu ebibuuzo ebyo, ka tulabe embeera za mirundi esatu eziyinza okukifuula ekizibu gye tuli okwoleka obwetoowaze, era tulabe n’ekyo kye tusaanidde okukola mu mbeera ezo.Nge. 11:2.

EMBEERA YAFFE BW’EKYUKA

5, 6. Baluzirayi yayoleka atya obwetoowaze?

5 Kiyinza obutatubeerera kyangu kwoleka bwetoowaze, nga wazzeewo enkyukakyuka mu bulamu bwaffe. Baluzirayi, eyalina emyaka 80, ateekwa okuba nga yagitwala nga nkizo ya maanyi Kabaka Dawudi bwe yamugamba okugenda okubeera naye mu lubiri. Singa Baluzirayi yakkiriza okukola ekyo Dawudi kye yamusaba, yandifunye enkizo ey’okubeeranga ne kabaka mu lubiri. Wadde kyali kityo, Baluzirayi yagaana okugenda ne kabaka. Lwaki? Olw’okuba yali akaddiye, yagamba Dawudi nti yali tayagala kumufuukira mugugu. Bwe kityo, Baluzirayi yagamba Dawudi nti mu kifo ky’okugenda naye, agende ne Kimamu, oboolyawo ng’ono yali mutabani wa Baluzirayi.2 Sam. 19:31-37.

6 Olw’okuba Baluzirayi yali mwetoowaze, kyamuyamba okusalawo mu ngeri ey’amagezi. Baluzirayi okugaana okukola ekyo Dawudi kye yali amugambye tekyava ku kuba nti yali yeenyooma oba nti yali ayagala kubeera bubeezi awo nga talina by’akola mu myaka gye egy’obukadde. Baluzirayi yakimanya nti yali akaddiye era yali amanyi n’obusobozi bwe we bukoma. Yali tayagala kweyama kukola kintu kisukka ku busobozi bwe. (Soma Abaggalatiya 6:4, 5.) Omuntu bw’aba ayagala nnyo ebitiibwa oba ettutumu, kiyinza okumuleetera okwetwala okuba ow’ekitalo oba okwagala okuvuganya n’abalala, era kiyinza okumuviiramu okwejjusa. (Bag. 5:26) Naye omuntu omwetoowaze buli ky’akola akikola olw’okuweesa Yakuwa ekitiibwa n’okuyamba abalala.1 Kol. 10:31.

7, 8. Okuba abeetoowaze kituyamba kitya okwewala okwesigama ku kutegeera kwaffe?

7 Emirundi mingi bwe tuweebwa obuvunaanyizibwa obw’amaanyi, obuyinza bwe tulina nabwo bweyongera, era ekyo kiyinza okutuleetera obutaba beetoowaze. Nekkemiya bwe yawulira embeera embi abantu mu Yerusaalemi gye baalimu, yasaba Yakuwa. (Nek. 1:4, 11) Yakuwa yawa Nekkemiya emikisa Kabaka Alutagizerugiizi n’amulonda okuba gavana. Kyokka wadde nga Nekkemiya yali gavana, nga mugagga, era ng’alina obuyinza bwa maanyi, teyeesigama ku magezi ge oba ku busobozi bwe. Yeeyongera okutambula ne Katonda, era yeeyongera okunoonya obulagirizi bwe ng’asoma Amateeka ge. (Nek. 8:1, 8, 9) Nekkemiya teyeetwala kuba wa waggulu ku balala; mu kifo ky’ekyo, yakozesa eby’obugagga bye okuweereza abalala.Nek. 5:14-19.

8 Ekyokulabirako kya Nekkemiya kituyamba okulaba engeri obwetoowaze gye buyinza okutuyamba okwewala okwesigama ku kutegeera kwaffe nga waliwo obuvunaanyizibwa obutukwasiddwa. Singa omukadde yeekakasa ekisukkiridde, ayinza okutandika okusalawo ku nsonga ezikwata ku kibiina nga tasoose kusaba Yakuwa. Ate abalala basooka kusalawo oluvannyuma ne basaba Yakuwa awe omukisa ebyo bye baba basazeewo. Naye ddala ekyo kiba kiraga nti beetoowaze? Omuntu omwetoowaze buli kiseera akijjukira nti yeetaaga obulagirizi bwa Yakuwa, ne bw’aba ng’agenda kukola ekintu kye yali akozeeko. (Soma Engero 3:5, 6.) Abantu abasinga obungi leero bwe baweebwa obuvunaanyizibwa, beetwala okuba aba waggulu ku balala. Naye abaweereza ba Yakuwa si bwe batyo bwe bali. Bwe tuweebwa obuvunaanyizibwa, ekyo tekituleetera kulowooza nti tuli ba waggulu ku b’omu maka gaffe oba ku bakkiriza bannaffe. Mu kifo ky’ekyo, tukolera wamu ng’ab’oluganda.1 Tim. 3:15.

ABALALA BWE BATWOGERAKO OBUBI OBA BWE BATUWAANA

9, 10. Okuba abeetoowaze kiyinza kitya okutuyamba nga tuyisiddwa mu ngeri eteri ya bwenkanya?

9 Oluusi kiba kizibu okwoleka obwetoowaze nga tuyisiddwa mu ngeri eteri ya bwenkanya. Kaana yakaabanga olw’okuba muggya we Penina yamuyeeyanga. Wadde nga Kaana yali mugumba, mwami we yali amwagala nnyo. Lumu Kaana bwe yali mu weema entukuvu ng’asaba, Eli Kabona Asinga Obukulu yamugamba nti yali atamidde. Wadde kyali kityo, Kaana yayoleka obwetoowaze n’ataddamu bubi Eli. Mu kifo ky’ekyo, yamuddamu mu ngeri ey’obukkakkamu. Oluvannyuma Kaana yasaba essaala eyalaga nti yalina okukkiriza okw’amaanyi era nti yali asiima Yakuwa olw’ebyo bye yali amukoledde.1 Sam. 1:5-7, 12-16; 2:1-10.

10 Okuba abeetoowaze era kituyamba ‘okuwangula ebintu ebibi nga tukola ebirungi.’ (Bar. 12:21) Leero abantu mu nsi ya Sitaani beeyisa bubi nnyo, era tulina okufuba ennyo obutakkiriza bintu bibi bye batukola kutusunguwaza. (Zab. 37:1) Kyokka singa mukkiriza munnaffe atukola ekintu ekibi, ekyo kisobola okutuyisa obubi ennyo. Omuntu omwetoowaze afuba okukoppa Yesu. Bayibuli egamba nti: “Bwe yavumibwa ye teyavuma . . . , naye yeewaayo eri Oyo asala omusango mu butuukirivu.” (1 Peet. 2:23) Yesu yali akimanyi nti okuwoolera eggwanga kwa Yakuwa. (Bar. 12:19) Abakristaayo bonna bakubirizibwa okwoleka obwetoowaze ‘n’obutakola muntu kibi olw’okuba abakoze ekibi.’1 Peet. 3:8, 9.

11, 12. (a) Obwetoowaze buyinza butya okutuyamba bwe wabaawo abatuwaana oba abatutendereza? (b) Bwe tuba abeetoowaze, kikwata kitya ku ngeri gye twambalamu, gye twekolako, awamu n’engeri gye tweyisaamu?

11 Kiyinza okutuzibuwalira okwoleka obwetoowaze singa batutendereza oba batuwaana ekisukkiridde. Eseza baamutenderezanga era baamuwaananga nnyo olw’obulungi bwe. Y’omu ku bawala abaali basingayo okulabika obulungi mu bwakabaka bwa Buperusi. Okumala omwaka mulamba, baamukolako mu ngeri ey’enjawulo awamu n’abawala abalala abaali bagenda okutwalibwa mu maaso ga kabaka alondemu anaaba nnaabakyala. Kabaka yalonda Eseza okuba nnaabakyala. Naye ekyo tekyaleetera Eseza kufuna malala. Eseza yasigala nga mwetoowaze, nga wa kisa, era ng’assa ekitiibwa mu balala.Es. 2:9, 12, 15, 17.

Engeri gye twambalamu n’engeri gye twekolako eraga nti tussa ekitiibwa mu Yakuwa ne mu balala, oba eraga nti tetuli beetoowaze? (Laba akatundu 12)

12 Bwe tuba abeetoowaze, tujja kwambala era tujja kwekolako mu ngeri eraga nti twewa ekitiibwa era nti tuwa n’abalala ekitiibwa. Mu kifo ky’okwewaana n’okweragira ku balala, tufuba okwoleka “omwoyo omuteefu era omuwombeefu.” (Soma 1 Peetero 3:3, 4; Yer. 9:23, 24) Emirundi mingi ebyo ebiri mu mitima gyaffe byeyolekera mu ebyo bye twogera ne bye tukola. Ng’ekyokulabirako, tuyinza okugezaako okulaga abalala nti tuli ba waggulu olw’emirimu gye tukola, bye tumanyi, oba olw’okuba tutera okukolagana n’ab’oluganda abatwala obukulembeze mu kibiina. Oba tuyinza okugamba abalala nti waliwo ekintu ekikulu kye twakola mu maanyi gaffe, kyokka ng’ate waliwo abaatuyambako okukikola. Naye Yesu yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi mu nsonga eyo. Yesu yali asobola okuleetera abalala okumugulumiza olw’amagezi ge yalina. Naye mu kifo ky’ekyo, Yesu bye yayogeranga yabiggyanga mu Kigambo kya Katonda. Yali tayagala bantu kumugulumiza, wabula yali ayagala bagulumize Kitaawe.Yok. 8:28.

NGA TULINA BYE TUSALAWO

13, 14. Okuba abeetoowaze kiyinza kitya okutuyamba okusalawo mu ngeri ey’amagezi?

13 Twetaaga okwoleka obwetoowaze nga tulina bye tusalawo. Omutume Pawulo bwe yali mu Kayisaaliya, nnabbi Agabo yamugamba nti bwe yandigenze mu Yerusaalemi bandimusibye. Mu butuufu yali asobola n’okuttibwa. Olw’okuba ab’oluganda baali batidde olw’ebyo ebyali bisobola okutuuka ku Pawulo, baamusaba obutagenda Yerusaalemi. Naye Pawulo teyabakkiriza kumumalamu maanyi. Pawulo yali teyeekakasa kisukkiridde. Wabula yali yeesiga Yakuwa nga mumalirivu okutuukiriza omulimu Yakuwa gwe yali amuwadde. Oluvannyuma lw’okuwulira ebyo Pawulo bye yabagamba, ab’oluganda baalekera awo okugaana Pawulo okugenda e Yerusaalemi.Bik. 21:10-14.

14 Naffe bwe tuba abeetoowaze, kisobola okutuyamba okusalawo mu ngeri ey’amagezi ne bwe kiba nti tetumanyidde ddala ebyo ebiyinza okuvaamu. Ng’ekyokulabirako, watya singa oyagala okuyingira obuweereza obw’ekiseera kyonna. Oyinza okwebuuza nti: Kiki ekinaantuukako nga ndwadde? Watya singa bazadde bange abakaddiye beetaaga obuyambi? Nnaasobola ntya okweyimirizaawo nga nkaddiye? Ne bw’osaba otya oba ne bw’onoonyereza otya, tosobola kufuna kya kuddamu kya nkomeredde mu bibuuzo ebyo. (Mub. 8:16, 17) Naye bwe weesiga Yakuwa, ojja kumanya obusobozi bwo we bukoma. Oluvannyuma lw’okunoonyereza ku nsonga eyo, okwebuuza ku balala, n’okusaba Yakuwa akuwe obulagirizi, osaanidde okusalawo ng’ogoberera obulagirizi bw’omwoyo omutukuvu. (Soma Omubuulizi 11:4-6.) Bw’okola bw’otyo, Yakuwa akuwa emikisa oba asobola okukuyamba okukyusa mu ekyo ky’obadde oyagala okusalawo okukola.Nge. 16:3, 9.

KULAAKULANYA OBWETOOWAZE

15. Okufumiitiriza ku Yakuwa kiyinza kitya okutuyamba okuba abeetoowaze?

15 Okuva bwe kiri nti kikulu nnyo okuba abeetoowaze, tuyinza tutya okukulaakulanya engeri eyo? Ka tulabeyo ebintu bina bye tuyinza okukola. Okusookera ddala, tusobola okukulaakulanya obwetoowaze singa tufumiitiriza ku buyinza Yakuwa bw’alina ne ku ngeri ze. (Is. 8:13) Kijjukire nti tutambulira wamu ne Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna, so si muntu oba malayika. Ekyo bwe tukimanya kijja kutukubiriza ‘okwewombeeka wansi w’omukono gwa Katonda ogw’amaanyi.’1 Peet. 5:6.

16. Okufumiitiriza ku kwagala Yakuwa kw’atulaga kituyamba kitya okuba abeetoowaze?

16 Ekintu eky’okubiri ekinaatuyamba okwongera okuba abeetoowaze kwe kufumiitiriza ku kwagala Yakuwa kw’atulaga. Omutume Pawulo yagamba nti ebitundu by’omubiri bye tulowooza nti si bya kitiibwa, Yakuwa yabifuula okuba ebyo ‘ebisinga okuba eby’ekitiibwa.’ (1 Kol. 12:23, 24) Mu ngeri y’emu, buli omu ku ffe Yakuwa amufaako, ka tube banafu oba ba maanyi. Yakuwa tatugeraageranya na balala era yeeyongera okutwagala wadde nga tukola ensobi. Mu butuufu tuwulira bulungi okukimanya nti Yakuwa atwagala.

17. Bwe tunoonya ebirungi mu balala kituganyula kitya?

17 Ekintu eky’okusatu ekinaatuyamba okwongera okuba abeetoowaze kwe kunoonya ebirungi mu balala. Mu kifo ky’okuba nga buli kiseera ffe abawa endowooza zaffe, tujja kufuba okuwa abalala akakisa okuwa endowooza zaabwe. (Nge. 13:10) Tujja kusanyukira wamu ne bakkiriza bannaffe nga balina enkizo ze bafunye. Era tujja kwebazanga Yakuwa olw’okutuwa enkizo ey’okumuweereza nga tuli wamu ne baganda baffe.1 Peet. 5:9.

18. Tuyinza tutya okutendeka omuntu waffe ow’omunda?

18 Ekintu eky’okuna ekinaatuyamba okwongera okuba abeetoowaze kwe kutendeka omuntu waffe ow’omunda nga tusinziira ku misingi egiri mu Bayibuli. Emisingi egyo gijja kutuyamba okufuna endowooza ya Yakuwa era ekyo kijja kutuyamba okusalawo mu ngeri esanyusa Yakuwa. Bwe tufuba okwesomesa, okusaba, n’okukolera ku ebyo bye tuyiga, kijja kutuyamba okwongera okutendeka omuntu waffe ow’omunda. (1 Tim. 1:5) Tujja kuyiga okukulembeza eby’abalala mu kifo ky’okukulembeza ebyaffe. Bwe tukola bwe tutyo, Yakuwa asuubiza nti ‘ajja kumaliriza okutendekebwa kwaffe,’ atuyambe okukulaakulanya obwetoowaze n’engeri endala ennungi.1 Peet. 5:10.

19. Kiki ekinaatuyamba okweyongera okuba abeetoowaze?

19 Nnabbi wa Yakuwa gwe twayogeddeko ku ntandikwa yafiirwa enkolagana ye ne Yakuwa era n’afiirwa n’obulamu bwe olw’okuba teyeebuuza ku Yakuwa. Kyokka tusobola okusigala nga tuli beetoowaze ne mu mbeera enzibu. Waliwo abaweereza ba Katonda bangi ab’edda n’ab’omu kiseera kyaffe abakiraze nti ekyo kisoboka. Bwe tweyongera okutambulira awamu ne Yakuwa tujja kweyongera okuba abeetoowaze. (Nge. 8:13) Ka tube mu mbeera ki, ffenna tusobola okweyongera okutambula ne Yakuwa. N’olwekyo, ka ffenna tweyongere okuba abeetoowaze nga tutambula ne Yakuwa emirembe gyonna.