EKITUNDU EKY’OKUSOMA 27
OLUYIMBA 73 Tuwe Obuvumu
Beera Muvumu nga Zadooki
‘Zadooki, yali muvubuka wa maanyi era muzira.’—1 BYOM. 12:28.
EKIGENDERERWA
Engeri ekyokulabirako kya Zadooki gye kituyamba okuba abavumu.
1-2. Zadooki yali ani? (1 Ebyomumirembe 12:22, 26-28)
LOWOOZA ku mbeera eno eyaliwo. Abasajja abasukka mu 340,000 baali bakuŋŋaanye okufuula Dawudi okuba kabaka wa Isirayiri yonna. Baali bamaze ennaku ssatu nga bali mu nsozi ezaali ziriraanye Kebbulooni, nga basanyufu nnyo era nga bayimba ennyimba ezitendereza Yakuwa. (1 Byom. 12:39) Mu basajja abo mwalimu omuvubuka eyali ayitibwa Zadooki era kirabika bangi baali tebamulaba. Kyokka Yakuwa ye yali amulaba era yakakasa nti tumanya nti yaliwo mu bantu abo. (Soma 1 Ebyomumirembe 12:22, 26-28.) Zadooki yali ani?
2 Zadooki yali kabona eyakoleranga awamu ne kabona eyali asinga obukulu eyali ayitibwa Abiyasaali. Katonda yawa Zadooki amagezi mangi n’obusobozi bw’okumanyanga bye yali ayagala. (2 Sam. 15:27) Abantu beebuuzanga ku Zadooki okubawa amagezi. Ate era Zadooki yali musajja muvumu nnyo. Mu kitundu kino tugenda kulaba engeri Zadooki gye yayolekamu obuvumu.
3. (a) Lwaki abaweereza ba Yakuwa beetaaga okuba abavumu? (b) Kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino?
3 Mu nnaku zino ez’enkomerero, Sitaani ayongedde amaanyi mu kulumba abantu ba Katonda. (1 Peet. 5:8) Kitwetaagisa okuba abavumu nga bwe tulindirira Yakuwa okuggyawo Sitaani n’ensi ye embi. (Zab. 31:24) Ka tulabeyo engeri ssatu gye tuyinza okukoppamu Zadooki mu kwoleka obuvumu.
WAGIRA OBWAKABAKA BWA KATONDA
4. Lwaki abantu ba Yakuwa kibeetaagisa okuba abavumu okusobola okuwagira Obwakabaka bwa Katonda? (Laba n’ekifaananyi.)
4 Abantu ba Yakuwa tuwagira Obwakabaka bwa Katonda n’omutima gwaffe gwonna, naye emirundi mingi ekyo kitwetaagisa okuba abavumu. (Mat. 6:33) Ng’ekyokulabirako, mu nsi eno embi kitwetaagisa okuba bavumu okutambulira ku mitindo gya Katonda n’okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka. (1 Bas. 2:2) Era emirundi mingi kitwetaagisa okuba abavumu okusigala nga tetuliiko ludda lwe tuwagira mu by’obufuzi by’ensi eno eyeeyongedde okweyawulayawulamu. (Yok. 18:36) Bangi ku bantu ba Yakuwa balina obuzibu bw’eby’enfuna, bakubiddwa, oba basibiddwa mu makomera olw’okugaana okwenyigira mu by’obufuzi oba okuyingira amagye.
5. Lwaki Zadooki yalina okuba omuvumu okusobola okuwagira Dawudi?
5 E Kebbulooni Zadooki teyagendayo kujaganya bujaganya olw’okuba Dawudi yali afuuse kabaka. Yagenda n’eby’okulwanyisa nga mwetegefu okulwana. (1 Byom. 12:38) Yali mwetegefu okugenda ne Dawudi mu lutalo okulwanyisa abalabe ba Isirayiri. Zadooki ayinza okuba nga teyalina bumanyirivu bungi mu kulwana, naye yali muvumu.
6. Dawudi yateerawo atya Zadooki ekyokulabirako ekirungi mu kwoleka obuvumu? (Zabbuli 138:3)
6 Zadooki eyali aweereza nga kabona yayigira wa okuba omuvumu? Yali yeetooloddwa abasajja abaali ab’amaanyi era abavumu. Kya lwatu nti ekyokulabirako ky’abasajja abo kyamuyamba okuba omuvumu. Ng’ekyokulabirako, olw’okuba Dawudi yayolekanga obuvumu ‘n’akulemberamu Isirayiri mu ntalo,’ kyaviirako Abayisirayiri bonna okumuwagira okuba kabaka. (1 Byom. 11:1, 2) Bulijjo Dawudi yeesiganga Yakuwa okumuyamba okulwanyisa abalabe be. (Zab. 28:7; soma Zabbuli 138:3.) Waliwo abasajja abalala abaateerawo Zadooki ekyokulabirako ekirungi, nga mu bano mwe mwali Yekoyaada ne mutabani we omulwanyi eyali ayitibwa Benaya awamu n’abaami b’ennyumba 22 abaawagira Dawudi. (1 Byom. 11:22-25; 12:26-28) Abasajja abo bonna baali bamalirivu okufuula Dawudi Kabaka n’okumukuuma.
7. (a) Byakulabirako ki eby’omu kiseera kyaffe bye tusobola okukoppa? (b) Mu vidiyo, kiki kye wayigidde ku kyokulabirako ky’Ow’oluganda Nsilu?
7 Bwe twekenneenya ekyokulabirako ky’abo aboolese obuvumu mu kuwagira obufuzi bwa Yakuwa, naffe kituyamba okuba abavumu. Kabaka waffe, Kristo Yesu, bwe yali ku nsi yagaanira ddala okubaako oludda lw’awagira mu by’obufuzi by’ensi ya Sitaani eno embi. (Mat. 4:8-11; Yok. 6:14, 15) Bulijjo yeesiganga Yakuwa okumuwa amaanyi. Ne mu kiseera kyaffe tulina ebyokulabirako bingi eby’abavubuka abagaana okuyingira amagye oba okubaako oludda lwe bawagira mu by’obufuzi. Ebimu ku byokulabirako ebyo osobola okubisomako ku jw.org? a
YAMBA BAKKIRIZA BANNO
8. Ddi abakadde lwe kibeetaagisa okwoleka obuvumu okusobola okuyamba bakkiriza bannaabwe?
8 Abantu ba Yakuwa baagala nnyo okuyambagana. (2 Kol. 8:4) Naye oluusi ekyo kyetaagisa obuvumu. Ng’ekyokulabirako, olutalo bwe lubalukawo, abakadde bakiraba nti bakkiriza bannaabwe beetaaga okuzzibwamu amaanyi, okuyambibwa, okubafunira Bayibuli n’ebitabo eby’esigamiziddwa ku Bayibuli, awamu n’ebyetaago ebirala eby’obulamu. Olw’okuba abakadde baagala nnyo bakkiriza bannaabwe, bassa obulamu bwabwe mu kabi okusobola okubafunira bye baba beetaaga. (Yok. 15:12, 13) Bwe bakola bwe batyo, baba booleka obuvumu nga Zadooki.
9. Nga bwe kiragibwa mu 2 Samwiri 15:27-29, kiki Dawudi kye yalagira Zadooki okukola? (Laba n’ekifaananyi.)
9 Obulamu bwa Dawudi bwali mu kabi. Mutabani we Abusaalomu yali amaliridde okwezza obwakabaka bwe. (2 Sam. 15:12, 13) Dawudi yalina okuva mu Yerusaalemi amangu ddala! Yayita abaweereza be n’abagamba nti: “Musituke tudduke; kubanga tewajja kubaawo awona Abusaalomu!” (2 Sam. 15:14) Bwe baali badduka, Dawudi yakiraba nti kyali kyetaagisa omuntu omu okusigala mu Yerusaalemi abeere ng’amutegeeza ku nteekateeka za Abusaalomu. Bwe kityo yagamba Zadooki ne bakabona abalala okuddayo e Yerusaalemi babe nga bamutegeeza ebigenda mu maaso. (Soma 2 Samwiri 15:27-29.) Ekyo baalina okukikola n’obwegendereza ennyo. Ekyo Dawudi kye yagamba bakabona abo kyali kissa obulamu bwabwe mu kabi. Abusaalomu yali muntu mukambwe nnyo, nga yeefaako yekka, ate nga wa nkwe. Lowooza ku ekyo kye yandikoze bwe yandikitegedde nti Zadooki ne bakabona abalala baali bamuketta okusobola okukuuma Dawudi!
10. Zadooki ne banne bakuuma batya Dawudi?
10 Dawudi alina enteekateeka gye yakola era ng’enteekateeka eyo yali ezingiramu Zadooki ne Kusaayi, mukwano gwe omulala eyali omwesigwa gy’ali. (2 Sam. 15:32-37) Ng’akolera ku nteekateeka eyo, Kusaayi yeefuula okuba mukwano gwa Abusaalomu n’amuwa amagezi ku ngeri y’okulumbamu Dawudi, era ekyo kyawa Dawudi akakisa okweteekerateekera olutalo. Oluvannyuma Kusaayi yategeeza Zadooki ne Abiyasaali ekyo kye yali agambye Abusaalomu. (2 Sam. 17:8-16) Abasajja abo ababiri baasobola okusindikira Dawudi obubaka obwo. (2 Sam. 17:17) Yakuwa yayamba Zadooki ne banne abalala abaali baweereza nga bakabona okubaako kye bakolawo okukuuma Dawudi.—2 Sam. 17:21, 22.
11. Tuyinza tutya okwoleka obuvumu nga Zadooki nga tuyamba bakkiriza bannaffe?
11 Tuyinza tutya okuba abavumu nga Zadooki bakkiriza bannaffe bwe baba mu buzibu obw’amaanyi era nga beetaaga okuyambibwa? (1) Goberera obulagirizi. Mu mbeera ng’ezo, kikulu nnyo okusigala nga tuli bumu. Kolera ku bulagirizi obuva eri ofiisi y’ettabi. (Beb. 13:17) Buli luvannyuma lwa kiseera, abakadde basaanidde okwekenneenya obulagirizi obukwata ku ngeri y’okweteekerateekeramu obutyabaga, era n’ekyo ekirina okukolebwa nga waguddewo akatyabaga. (1 Kol. 14:33, 40) (2) Beera muvumu naye weegendereze. (Nge. 22:3) Kozesa amagezi. Tomala gassa bulamu bwo mu kabi. (3) Weesige Yakuwa. Kijjukire nti ggwe ne bakkiriza banno Yakuwa ayagala muleme kutuukibwako kabi. Asobola okukuyamba n’obaako by’okolera bakkiriza banno nga totuukiddwako kabi.
12-13. Kiki ky’oyigidde ku Viktor ne Vitalii? (Laba n’ekifaananyi.)
12 Lowooza ku b’oluganda Viktor ne Vitalii, abaafuba ennyo okutuusa ku bakkiriza bannaabwe emmere n’amazzi mu Ukraine. Viktor agamba nti: “Twanoonya emmere buli wamu. Emirundi mingi twawuliranga amasasi agavuga. Ow’oluganda omu yawaayo emmere eyali mu dduuka lye. Ekyo kyasobozesa ab’oluganda bangi okufuna emmere okumala ekiseera. Bwe twali tutikka emmotoka zaffe, ekikompola kyagwa ffuuti nga 66 kuva we twali. Olunaku olwo lwonna nneegayirira Yakuwa ampe obuvumu bwe nnali nneetaaga okusobola okweyongera okuyamba bakkiriza bannange.”
13 Vitalii agamba nti: “Kyali kyetaagisa obuvumu obw’amaanyi. Olugendo lwe nnasookako lwantwalira essaawa 12. Ku lugendo olwo lwonna, nnasaba nnyo Yakuwa.” Wade nga Vitalii yali muvumu, era yali mwegendereza. Agamba nti: “Nnasabanga Yakuwa ampe amagezi era annyambe okuba omwetoowaze. Nnavugiranga ku nguudo ezo zokka ab’obuyinza ze baatukkiriza okuvugirako. Nnaganyulwa nnyo mu kulaba engeri bakkiriza bannaffe gye baakoleranga awamu. Baggyanga emisanvu mu nguudo, baakuŋŋaanyanga era ne baatikka ebintu ebyabanga biweereddwayo okudduukirira abalala, ate era baatuwanga emmere n’ekifo aw’okuwummulira.”
SIGALA NG’OLI MWESIGWA ERI YAKUWA
14. Tukwatibwako tutya ng’omuntu gwe twagala avudde ku Yakuwa?
14 Omu ku b’omu maka gaffe oba mukwano gwaffe ow’oku lusegere bw’ava ku Yakuwa, kye kimu ku bintu ebisingayo okutuleetera obulumi. (Zab. 78:40; Nge. 24:10) Gye tukoma okuba nga twagala omuntu oyo gye kikoma okutubeerera ekizibu okukkiriza embeera eyo. Bw’oba wali oyolekaganyeko n’embeera eyo, ekyokulabirako kya Zadooki kisobola okukuzaamu amaanyi.
15. Lwaki Zadooki yali yeetaaga okuba omuvumu okusobola okusigala nga mwesigwa eri Yakuwa? (1 Bassekabaka 1:5-8)
15 Zadooki yasigala mwesigwa eri Yakuwa Abiyasaali mukwano gwe ow’oku lusegere bwe yasalawo obutaba mwesigwa. Ekyo kyaliwo ku nkomerero y’obufuzi bwa Dawudi. Dawudi bwe yali ng’anaatera okufa, mutabani we Adoniya yagezaako okwezza obwakabaka Yakuwa bwe yali asuubizza Sulemaani. (1 Byom. 22:9, 10) Abiyasaali yasalawo okuwagira Adoniya. (Soma 1 Bassekabaka 1:5-8.) Mu kukola bw’atyo, teyali mwesigwa eri Dawudi n’eri Yakuwa! Ekyo kiteekwa okuba nga kyanakuwaza nnyo Zadooki. Okumala emyaka nga 40, ye ne Abiyasaali baali baweererezza wamu nga bakabona. (2 Sam. 8:17) Era baalabiriranga “essanduuko ya Katonda ow’amazima.” (2 Sam. 15:29) Mu kusooka, abasajja abo bombi baawagira Dawudi ng’afuga nga kabaka era baakolera wamu ebintu bingi nga baweereza Yakuwa.—2 Sam. 19:11-14.
16. Kiki ekiyinza okuba nga kye kyayamba Zadooki okusigala nga mwesigwa eri Yakuwa?
16 Zadooki yasigala mwesigwa eri Yakuwa wadde nga Abiyasaali ye yasalawo obutaba mwesigwa. Dawudi yali akimanyi nti Zadooki yali mwesigwa. Olukwe lwa Adoniya bwe lwamanyibwa, Dawudi yagamba Zadooki, Nasani, ne Benaya okufuka amafuta ku Sulemaani okuba kabaka. (1 Bassek. 1:32-34) Okubeera awamu n’abaweereza ba Yakuwa abeesigwa, gamba nga Nasani n’abalala abaali bawagira Kabaka Dawudi, kiteekwa okuba nga kyazzaamu nnyo Zadooki amaanyi. (1 Bassek. 1:38, 39) Sulemaani bwe yafuuka kabaka, yalonda ‘Zadooki okuba kabona mu kifo kya Abiyasaali.’—1 Bassek. 2:35.
17. Omuntu alina enkolagana ey’oku lusegere naawe bw’ava ku Yakuwa, oyinza otya okukoppa Zadooki?
17 Oyinza otya okukoppa Zadooki? Omuntu alina enkolagana ey’oku lusegere naawe bw’asalawo okuva ku Yakuwa, ba mumalirivu okusigala ng’oli mwesigwa eri Yakuwa. (Yos. 24:15) Yakuwa ajja kukuwa amaanyi n’obuvumu bye weetaaga. Musabe era kolagana ne bakkiriza banno abeesigwa eri Yakuwa. Obwesigwa bwo Yakuwa abutwala nga bwa muwendo era ajja kukuwa empeera.—2 Sam. 22:26.
18. Kiki ky’oyigidde ku Marco ne Sidse?
18 Lowooza ku w’oluganda Marco ne mukyala we Sidse, abalina bawala baabwe babiri abakulu abaava ku Yakuwa. Marco agamba nti: “Okuviira ddala abaana bo lwe bazaalibwa, oba obaagala nnyo. Okola kyonna ky’osobola okubakuuma baleme kutuukibwako kabi. N’olwekyo bwe basalawo okuva ku Yakuwa, kiruma nnyo.” Ate era agamba nti: “Naye Yakuwa abadde naffe era atuyambye okuzziŋŋanamu amaanyi. Bwe mpulira nga nnennyamidde mukyala wange ambudaabuda era anzizaamu amaanyi, ate era naye bw’aba yennyamidde nkola ekintu kye kimu.” Sidse agattako nti: “Tetwandisobodde kuguma singa Yakuwa tatuwa maanyi ge twetaaga. Lumu bwe nnali mpulira bubi nnyo era nga ndowooza nti nze nvunaanyizibwa ku kya bawala baffe okulekera awo okuweereza Yakuwa, nnasaba Yakuwa ne mmutegeeza bwe nnali mpulira. Oluvannyuma lw’ekiseera kitono, mukkiriza munnange gwe nnali mmaze emyaka mingi nga siraba, yajja we nnali n’ankwata ku kibegabega n’antunula mu maaso n’aŋŋamba nti: ‘Sidse, kijjukire nti si ggwe avunaanyizibwa ku kya bawala bo okuva ku Yakuwa!’ Olw’okuba Yakuwa annyambye, nsobodde okusigala nga ndi musanyufu nga mmuweereza.”
19. Kiki ky’omaliridde okukola?
19 Yakuwa ayagala abaweereza be bonna babe bavumu nga Zadooki. (2 Tim. 1:7) Naye tayagala tube bavumu mu maanyi gaffe. Ayagala tumwesige okutuyamba okuba abavumu. N’olwekyo bwe weesanga mu mbeera nga weetaaga okuba omuvumu, saba Yakuwa akuyambe. Osobola okuba omukakafu nti ajja kukuyamba okuba omuvumu nga Zadooki!—1 Peet. 5:10.
OLUYIMBA 126 Tunula, Beeranga wa Maanyi