Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 30

OLUYIMBA 36 Tukuuma Emitima Gyaffe

Bye Tuyigira ku Bakabaka ba Isirayiri

Bye Tuyigira ku Bakabaka ba Isirayiri

“Muliddamu nate okulaba enjawulo eriwo wakati w’omutuukirivu n’omubi, n’enjawulo eriwo wakati w’oyo aweereza Katonda n’oyo atamuweereza.”MAL. 3:18.

EKIGENDERERWA

Okumanya engeri Yakuwa gye yali atwalamu bakabaka ba Isirayiri kijja kutuyamba okumanya ekyo ky’atusuubiramu.

1-2. Biki Bayibuli by’eyogera ku bamu ku bakabaka ba Isirayiri?

 BAYIBULI etubuulira ebikwata ku basajja abasukka mu 40 abaafuga nga bakabaka ba Isirayiri. a Eyogera kaati ebintu abamu ku bo bye baakola. Ng’ekyokulabirako, n’abamu ku bakabaka abaali abalungi balina ebibi bye baakola. Lowooza ku Kabaka Dawudi eyali omulungi. Yakuwa yagamba nti: “Omuweereza wange Dawudi . . . [yangoberera] n’omutima gwe gwonna, ng’akola ebyo byokka ebyali ebirungi mu maaso gange.” (1 Bassek. 14:8) Kyokka Dawudi yayenda ku mukyala omufumbo era n’akola olukwe bba w’omukyala oyo n’attibwa mu lutalo.—2 Sam. 11:​4, 14, 15.

2 Ku luuyi olulala, bangi ku bakabaka abataali beesigwa balina ebintu ebirungi bye baakola. Lowooza ku Lekobowaamu. Mu maaso ga Yakuwa, “yakola ebintu ebibi.” (2 Byom. 12:14) Kyokka Lekobowaamu yagondera Katonda kye yamulagira, n’aleka ebika ekkumi okwekutula ku bwakabaka bwe. Ate era yakolera eggwanga lye ebirungi, bwe yazimba ebibuga ebyaliko bbugwe.—1 Bassek. 12:​21-24; 2 Byom. 11:​5-12.

3. Kibuuzo ki ekikulu ekijjawo, era kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino?

3 Wajjawo ekibuuzo kino ekikulu. Bwe kiba nti bakabaka ba Isirayiri baakolanga ebintu ebirungi n’ebibi, Yakuwa yasinziiranga ku ki okutwala abamu nti baali beesigwa ate nti abalala tebaali beesigwa mu maaso ge? Eky’okuddamu mu kibuuzo ekyo kijja kutuyamba okumanya ekyo Yakuwa ky’atusuubiramu. Tugenda kulaba ebintu bisatu Yakuwa bye yasinziirangako okusalawo obanga bakabaka ba Isirayiri baalinga balungi oba baalinga babi. Ebintu ebyo bye bino: embeera y’omutima gwa kabaka, okuba nti kabaka oyo yabanga yeenenyezza, n’okuba nti yalinga anyweredde ku kusinza okw’amazima.

OMUTIMA GWABWE GWALI GWEMALIDDE KU YAKUWA

4. Emu ku njawulo eyaliwo wakati wa bakabaka abaali abeesigwa n’abo abataali beesigwa y’eruwa?

4 Bakabaka abaali basiimibwa mu maaso ga Yakuwa baamusinzanga n’omutima gwabwe gwonna. b Kabaka Yekosafaati eyali omulungi, ‘yanoonya Yakuwa n’omutima gwe gwonna.’ (2 Byom. 22:9) Ate Bayibuli eyogera bw’eti ku Yosiya: “Waali tewabangawo kabaka alinga ye mu abo abaamusooka, eyadda eri Yakuwa n’omutima gwe gwonna.” (2 Bassek. 23:25) Ate ye Sulemaani eyakola ebintu ebibi mu myaka gy’obulamu bwe egyasembayo? Bayibuli egamba nti: “Omutima gwe tegwemalira ku Yakuwa Katonda.” (1 Bassek. 11:4) Ate era Bayibuli bw’eba eyogera ku Abiyaamu, kabaka omulala ataali mwesigwa, egamba nti: “Omutima gwe tegwemalira ku Yakuwa.”—1 Bassek. 15:3.

5. Kitegeeza ki okuweereza Yakuwa n’omutima gwaffe gwonna?

5 Kati olwo kitegeeza ki okuweereza Yakuwa n’omutima gwaffe gwonna? Omuntu aweereza Yakuwa n’omutima gwe gwonna, aba tamuweereza kutuukiriza butuukiriza luwalo. Mu kifo kyekyo, aweereza Yakuwa olw’okuba aba amwagala nnyo, era amwemalirako, era ekyo akikola obulamu bwe bwonna.

6. Tuyinza tutya okusigala nga tuweereza Yakuwa n’omutima gwaffe gwonna? (Engero 4:23; Matayo 5:​29, 30)

6 Tuyinza tutya okukoppa bakabaka abaali abeesigwa naffe ne tusigala nga tuweereza Yakuwa n’omutima gwaffe gwonna? Ekyo tukikola nga twewala ebintu ebiyinza okutulemesa okumuweereza n’omutima gwaffe gwonna, gamba ng’eby’okwesanyusaamu ebitasaana, emikwano emibi, n’okwagala ennyo ebintu ne ssente. Singa tukiraba nti waliwo ekintu kyonna ekireetera okwagala kwe tulina eri Yakuwa okukendeera, tulina okukyewala mu bwangu.—Soma Engero 4:23; Matayo 5:​29, 30.

7. Lwaki kikulu okwewala ebintu ebiyinza okukendeeza okwagala kwe tulina eri Yakuwa?

7 Tetusaanidde kukkiriza mutima gwaffe kweyawulamu. Tulina okwegendereza tuleme kwerimbalimba nti bwe tuba tuweereza Yakuwa n’obunyiikivu tekitwetaagisa kwewala bintu bibi. Kuba akafaananyi ng’oyonjezza ennyumba kyokka n’oleka ng’oluggi n’amadirisa biggule, ate ng’ebweru embuyaga erimu enfuufu ekunta. Kya lwatu ennyumba eddamu n’eddugala? Ekyokulabirako ekyo tusobola ekukigeraageranya ku nkolagana yaffe ne Yakuwa. Tetusaanidde kukoma ku kukola bintu birungi ebitusobozesa okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa. Nga bwe tuggalawo amadirisa n’enzigi oluvannyuma lw’okuyonja enfuufu ereme kuyingira, tusaanidde okwewala okuyingiza mu mitima gyaffe ekintu kyonna ekiyinza okukendeeza okwagala lwe tulina eri Yakuwa.—Bef. 2:2.

BEENENYA EBIBI BYABWE

8-9. Kabaka Dawudi ne Kabaka Keezeekiya baakola ki nga banenyezeddwa olw’ensobi ze baakola? (Laba ku ddiba.)

8 Nga bwe kyogeddwako waggulu, Kabaka Dawudi alina ekibi eky’amaanyi kye yakola. Naye nnabbi Nasani bwe yajja gy’ali n’ayogera ku kibi ekyo, Dawudi yeetoowaza ne yeenenya. (2 Sam. 12:13) Ebigambo bye yayogera ebiri mu Zabbuli 51, biraga nti yeenenya mu bwesimbu. Dawudi teyeefuula bwefuuzi ng’eyali anakuwalidde ekibi kye okusobola okubuzaabuza Nasani oba okwewala okubonerezebwa.—Zab. 51:​3, 4, 17, obugambo obusooka.

9 Kabaka Keezeekiya naye yayonoona mu maaso ga Yakuwa. Bayibuli egamba nti: “Omutima gwe gwafuna amalala Katonda n’amusunguwalira era n’asunguwalira ne Yuda ne Yerusaalemi.” (2 Byom. 32:25) Lwaki Keezeekiya yafuna amalala? Oboolyawo yawulira nti wa waggulu olw’eby’obugagga bye yalina, oba olw’okuwangula Abaasuli, oba olw’okuwonyezebwa obulwadde mu ngeri ey’ekyamagero. Amalala gayinza okuba nga ge gaamuleetera okulaga Abababulooni eby’obugagga bye, ekyaviirako Yakuwa okumunenya ng’akozesa nnabbi Isaaya. (2 Bassek. 20:​12-18) Okufaananako Dawudi, Keezeekiya yeetoowaza ne yeenenya. (2 Byom. 32:26) N’ekyavaamu, Yakuwa yamutwala nti yali kabaka mwesigwa ‘eyakolanga ebirungi.’—2 Bassek. 18:3.

Kabaka Dawudi ne Kabaka Keezeekiya bwe baanenyezebwa olw’ensobi ze baakola, beetoowaza ne beenenya (Laba akatundu 8-9)


10. Kabaka Amaziya yakola ki ng’anenyezeddwa?

10 Okwawukana ku Dawudi ne Keezeekiya, Kabaka Amaziya owa Yuda yakola ebintu ebirungi “naye si na mutima gwe gwonna.” (2 Byom. 25:2) Kiki ekyabaawo? Oluvannyuma lwa Yakuwa okumuyamba okuwangula Abeedomu, Amaziya yatandika okusinza bakatonda baabwe. c Kyokka nnabbi wa Yakuwa bwe yamunenya, kabaka oyo yakakanyaza omutima gwe n’agoba nnabbi oyo.—2 Byom. 25:​14-16.

11. Okusinziira ku 2 Abakkolinso 7:​9, 11, kiki kye tusaanidde okukola okusobola okusonyiyibwa? (Laba n’ebifaananyi.)

11 Kiki kye tuyigira ku bakabaka abo? Tusaanidde okwenenya ebibi byaffe, era ne tufuba nnyo obutabiddamu. Watya singa abakadde batuwabula ne ku buntu obulabika ng’obutono? Tetusaanidde kukitwala nti Yakuwa takyatwagala, oba nti abakadde tebatwagala. Ne bakabaka ba Isirayiri abaali abalungi baawabulwanga era baakangavvulwanga. (Beb. 12:6) Bwe tuwabulwa, tusaanidde (1) okukkiriza okuwabulwa okwo, (2) okukola enkyukakyuka eziba zeetaagisa (3) n’okweyongera okuweereza Yakuwa n’omutima gwaffe gwonna. Bwe twenenya ebibi byaffe, Yakuwa atusonyiwa.—Soma 2 Abakkolinso 7:​9, 11.

Bwe tuwabulwa, tusaanidde (1) okukkiriza okuwabulwa okwo, (2) okukola enkyukakyuka ezeetaagisa (3) n’okweyongera okuweereza Yakuwa n’omutima gwaffe gwonna (Laba akatundu 11) f


BAANYWERERA KU KUSINZA OKW’AMAZIMA

12. Okusingira ddala kiki ekyayawulawo bakabaka abaali abeesigwa ku abo abataali beesigwa?

12 Bakabaka Yakuwa be yali atwala nti beesigwa, baanywereranga ku kusinza okw’amazima. Ate era baakubirizanga abantu be baali bafuga okukola kye kimu. Kyo kituufu nti balina ensobi ze baakola nga bwe tulabye. Naye baasinzanga Yakuwa yekka, era baafuba nnyo okumalawo mu nsi yaabwe ebifaananyi ebyali bisinzibwa. d

13. Lwaki Akabu Yakuwa yamutwala ng’ataali mwesigwa?

13 Ate bo bakabaka Yakuwa be yali atwala nti tebaali beesigwa? Kya lwatu, si buli kimu kye baakola nti kyali kibi. Ne kabaka Akabu eyali omubi ennyo, yeetoowaza era ne yejjusa olw’okuba naye yali avunaanyizibwa ku kufa kwa Nabbosi. (1 Bassek. 21:​27-29) Ate era alina ebibuga bye yazimba era n’ayamba Isirayiri okuwangula entalo. (1 Bassek. 20:​21, 29; 22:39) Naye Akabu yatumbula okusinza okw’obulimba ng’awagirwa mukyala we. Kyokka teyeenenya olw’ekyo kye yakola.—1 Bassek. 21:​25, 26.

14. (a) Lwaki Lekobowaamu Yakuwa yali amutwala nti teyali mwesigwa? (b) Okusingira ddala kintu ki ekibi bakabaka abataali beesigwa kye baakola?

14 Lowooza ku Lekobowaamu, kabaka omulala ataali mwesigwa. Nga bwe kyogeddwako waggulu, Lekobowaamu alina ebintu ebirungi bingi bye yakola mu kiseera ky’obufuzi bwe. Naye bwe yafuuka ow’amaanyi, yalekera awo okugondera Amateeka ga Yakuwa era n’atandika okusinza bakatonda ab’obulimba. (2 Byom. 12:1) Oluvannyuma lw’ekyo, ebiseera ebimu yasinzanga Yakuwa, ate ebiseera ebirala ng’asinza bakatonda ab’obulimba. (1 Bassek. 14:​21-24) Lekobowaamu ne Akabu si be bakabaka bokka abaava ku kusinza okw’amazima. Mu butuufu, bakabaka abasinga obungi abataali beesigwa beenyigira mu kusinza okw’obulimba era ne bakubiriza n’abantu okukola kye kimu. Kyeyoleka bulungi nti eri Yakuwa, okumusinza mu ngeri entuufu ye nsonga esinga obukulu gye yasinziirangako okutwala kabaka nti mwesigwa oba nti si mwesigwa.

15. Lwaki Yakuwa akitwala nga kikulu nnyo okunywerera ku kusinza okw’amazima?

15 Lwaki ensonga y’okusinza Yakuwa yali agitwala nga nkulu nnyo? Ekisookera ddala, bakabaka be baali bavunaanyizibwa okuyamba abantu okusinza mu ngeri entuufu. Ate era okusinza okw’obulimba kuviirako abantu okukola ebibi eby’amaanyi n’obutaba benkanya. (Kos. 4:​1, 2) Okugatta ku ekyo, bakabaka n’abantu be baali bafuga baali beewaayo eri Yakuwa. N’olwekyo, abantu abo okwenyigira mu kusinza okw’obulimba Bayibuli yakigeraageranya ku kwenda. (Yer. 3:​8, 9) Omuntu ayenda taba mwesigwa eri munne era amulumya. Mu ngeri y’emu, omuweereza wa Yakuwa eyeewaayo gy’ali bwe yeenyigira mu kusinza okw’obulimba, taba mwesigwa eri Yakuwa era amulumya. eMa. 4:​23, 24.

16. Mu maaso ga Yakuwa, okusingira ddala kiki ekyawulawo omuntu omulungi ku muntu omubi?

16 Biki bye tuyiga? Tulina okwewalira ddala okusinza okw’obulimba. Kyokka era tulina okunywerera ku kusinza okw’amazima era ne twenyigira mu bintu ebizingirwa mu kusinza okwo. Nnabbi Malaki yalaga ekyo ekyawulawo omuntu omulungi ku muntu omubi mu maaso ga Yakuwa. Yagamba nti: “Muliddamu nate okulaba enjawulo eriwo wakati w’omutuukirivu n’omubi, n’enjawulo eriwo wakati w’oyo aweereza Katonda n’oyo atamuweereza.” (Mal. 3:18) N’olwekyo, tetusaanidde kukkiriza kintu kyonna, ka bube obutali butuukirivu bwaffe oba ensobi zaffe, kutumalamu maanyi ne tutuuka n’okulekera awo okuweereza Katonda. Okulekera awo okuweereza Yakuwa ku bwakyo kibi kya maanyi.

17. Lwaki tusaanidde okwegendereza nga tulonda omuntu ow’okuwasa oba ow’okufumbirwa?

17 Bw’oba ng’oli bwannamunigina era ng’olowooza ku ky’okuyingira obufumbo, ebigambo bya Malaki bisobola okukuyamba okulonda omuntu omutuufu. Lowooza ku kino: Omuntu ayinza okuba ng’alina engeri ennungi, naye bw’aba taweereza Katonda ow’amazima, Yakuwa amutwala ng’omutuukirivu? (2 Kol. 6:14) Oluvannyuma lw’okumuwasa oba okumufumbirwa, anaakuyamba okusigala ng’oli mwesigwa eri Yakuwa? Kirowoozeeko; bakazi ba Sulemaani abaali basinza bakatonda ab’obulimba bayinza okuba nga baalina engeri ezitali zimu ennungi. Naye baali tebasinza Yakuwa, era mpolampola baasendasenda omutima gwa Sulemaani n’atandika okusinza bakatonda ab’obulimba.—1 Bassek. 11:​1, 4.

18. Kiki abazadde kye basaanidde okuyigiriza abaana?

18 Abazadde, musobola okukozesa ebyo Bayibuli by’eyogera ku bakabaka ba Isirayiri okuyamba abaana bammwe okwagala okuweereza Yakuwa. Mubayambe okukitegeera nti bakabaka abaasimibwa mu maaso ga Yakuwa beebo abaali bamusinza mu ngeri entuufu era abaakubirizanga abantu okukola kye kimu. Okuyitira mu bye mwogera ne bye mukola, muyambe abaana bammwe okukitegeera nti ebintu eby’omwoyo, gamba ng’okusoma Bayibuli, okubangawo mu nkuŋŋaana, n’okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira, bye bisinga obukulu mu bulamu. (Mat. 6:33) Bwe mutakola mutyo, abaana bammwe bayinza obutafuna nkolagana yaabwe ku bwabwe ne Yakuwa. Bayinza okulowooza nti “Bajulirwa ba Yakuwa olw’okuba bazadde baabwe nabo Bajulirwa ba Yakuwa.” N’ekivaamu, okusinza okw’amazima bayinza okukussa mu kifo eky’okubiri oba okukuviirako ddala.

19. Abo abaalekera awo okuweereza Yakuwa basobola okuddamu okumuweereza? (Laba n’akasanduuko  “Osobola Okukomawo eri Yakuwa!”)

19 Omuntu eyalekera awo okuweereza Yakuwa aba takyasobola kuddamu kumuweereza? Aba asobola, kubanga asobola okwenenya n’addamu okusinza Yakuwa. Ekyo okusobola okukikola, kiyinza okumwetaagisa okwetoowaza, n’akkiriza abakadde mu kibiina okumuyamba. (Yak. 5:14) Naye ka kibe nti kimwetaagisa kufuba atya, okuddamu okusiimibwa mu maaso ga Yakuwa kye kintu ekisingayo obulungi.

20. Bwe tunaakoppa bakabaka abaali abeesigwa, Yakuwa anaatutwala atya?

20 Biki bye tuyigidde ku bakabaka ba Isirayiri? Tusobola okuba nga bakabaka abeesigwa singa tusigala nga tuweereza Yakuwa n’omutima gwaffe gwonna. Era tusaanidde okuyigira ku nsobi zaffe, ne twenenya era ne tukola enkyukakyuka eziba zeetaagisa. Ate era tusaanidde okukijjukira nti kikulu nnyo okunywerera ku kusinza Katonda omu ow’amazima. Bw’onoonywerera ku Yakuwa, ajja kukutwala ng’omuntu akola ebituufu mu maaso ge.

OLUYIMBA 45 Okufumiitiriza kw’Omutima Gwange

a Mu kitundu kino, ebigambo “bakabaka ba Isirayiri,” bitegeeza bakabaka bonna abaafuga abantu ba Yakuwa, ka babe abo abaafuga obwakabaka bwa Yuda obw’ebika ebibiri, obwakabaka bwa Isirayiri obw’ebika 10, oba abo abaafuga ebika byonna 12.

b EBIGAMBO EBINNYONNYOLWA: Mu Bayibuli emirundi mingi ekigambo “omutima” kitegeeza ekyo omuntu ky’ali munda, era kizingiramu ebyo bye yeegomba, by’alowooza, obusobozi bwe, n’ebiruubirirwa bye.

c Mu biseera ebyo, bakabaka b’amawanga agaali gatasinza Yakuwa baateranga okusinza bakatonda b’amawanga ge baabanga bawangudde.

d Kabaka Asa alina ebibi eby’amaanyi bye yakola. (2 Byom. 16:​7, 10) Kyokka ayogerwako bulungi mu Bayibuli. Wadde nga mu kusooka yagaana okukolera ku kuwabula okwamuweebwa, kiyinzika okuba ng’oluvannyuma yeenenya. Okutwaliza awamu, ebintu ebirungi bye yakola byasingira wala ensobi ze yakola. Asa yasinzanga Yakuwa yekka, era yafuba okuggya mu bwakabaka bwe ebifaananyi ebyali bisinzibwa.—1 Bassek. 15:​11-13; 2 Byom. 14:​2-5.

e Tukiraba nti Yakuwa okusinza akutwala nga kukulu nnyo, kubanga amateeka abiri agasooka mu Mateeka ga Musa gaali gagaana abantu okusinza omuntu yenna oba ekintu kyonna, wabula okusinza Yakuwa yekka.—Kuv. 20:​1-6.

f EKIFAANANYI: Omukadde akyali omuvubuka ayogerako n’ow’oluganda alina omuze ogw’okunywa ennyo omwenge. Ow’oluganda oyo akkiriza okuwabulwa okumuweebwa, akola nkyukakyuka ezeetaagisa, era yeeyongera okuweereza Yakuwa n’obwesigwa.