EKITUNDU EKY’OKUSOMA 28
OLUYIMBA 123 Okugoberera Enteekateeka Katonda gy’Ataddewo
Osobola Okwawulawo Amazima ku Bulimba?
“Mube banywevu nga mwesibye mu biwato byammwe olukoba olw’amazima.”—BEF. 6:14.
EKIGENDERERWA
Okuyiga okwawulawo amazima ge tuyize okuva eri Yakuwa ku bulimba Sitaani n’abo abatuwakanya bwe batumbula.
1. Otwala otya amazima?
ABANTU ba Yakuwa baagala nnyo amazima agali mu Kigambo kya Katonda. Okukkiriza kwaffe kwesigamiziddwa ku mazima ago. (Bar. 10:17) Tukkiriza nti Yakuwa yassaawo ekibiina Ekikristaayo okuba “empagi era omusingi ogw’amazima.” (1 Tim. 3:15) Era tugondera ‘abo abatukulembera’ abatunnyonnyola amazima okuva mu Kigambo kya Katonda Bayibuli, era abatuwa obulagirizi obutuyamba okukola Katonda by’ayagala.—Beb. 13:17.
2. Okusinziira ku Yakobo 5:19, kiki ekiyinza okututuukako oluvannyuma lw’okukkiriza amazima?
2 Kyokka oluvannyuma lw’okukkiriza amazima era n’okukkiriza nti twetaaga ekibiina kya Yakuwa okutuwa obulagirizi, tusobola okuwaba. (Soma Yakobo 5:19.) Sitaani ayagala nnyo okulaba nti tulekera awo okwesiga Bayibuli oba obulagirizi obutuweebwa ekibiina kya Yakuwa.—Bef. 4:14.
3. Lwaki tusaanidde okunywerera ku mazima? (Abeefeso 6:13, 14)
3 Soma Abeefeso 6:13, 14. Mu kiseera ekitali kya wala, Sitaani ajja kulimbalimba amawanga agaleetere okulwanyisa Yakuwa. (Kub. 16:13, 14) Ate era tukimanyi nti Sitaani ajja kweyongerera ddala okugezaako okubuzaabuza abantu ba Yakuwa. (Kub. 12:9) N’olwekyo, kikulu nnyo gye tuli okuyiga okwawulawo amazima ku bulimba era n’okugondera amazima. (Bar. 6:17; 1 Peet. 1:22) Ekyo kyetaagisa bwe tuba ab’okuwonawo mu kibonyoobonyo ekinene!
4. Kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino?
4 Mu kitundu kino, tugenda kulabayo engeri bbiri ze twetaaga okuba nazo okusobola okutegeera amazima agali mu Bayibuli n’okukkiriza obulagirizi obutuweebwa ekibiina kya Yakuwa. Ate era tugenda kulabayo ebintu bisatu bye tusaanidde okukola okusobola okunywerera mu mazima.
ENGERI ZE TWETAAGA OKUBA NAZO OKUSOBOLA OKUTEGEERA AMAZIMA
5. Okutya Yakuwa kutuyamba kutya okunywerera ku mazima?
5 Okutya Yakuwa. Okutya Yakuwa kitegeeza okumwagala ennyo n’okwewala ekintu kyonna ekitamusanyusa. Twagala nnyo okuyiga okwawulawo ekituufu ku kikyamu n’amazima ku bulimba, tusobole okusiimibwa mu maaso ga Yakuwa. (Nge. 2:3-6; Beb. 5:14) Tetwagala kukkiriza kutya bantu kuba nga kusinga okwagala kwe tulina eri Yakuwa, kubanga ebyo ebisanyusa abantu emirundi mingi biba tebisanyusa Yakuwa.
6. Okutya abantu kwaleetera kutya abakessi ekkumi okunyoolanyoola amazima?
6 Bwe tuba nga tutya abantu okusinga bwe tutya Katonda, tusobola okuwaba ne tuva mu mazima. Lowooza ku baami 12 abaagenda okuketta ensi Yakuwa gye yali asuubizza okuwa Abayisirayiri. Kkumi ku bakessi abo, okutya kwe baalina eri Abakanani kwali kwa maanyi okusinga okwagala kwe baalina eri Yakuwa. Baagamba Bayisirayiri bannaabwe nti: “Tetusobola kulwanyisa bantu abo kubanga ba maanyi okutusinga.” (Kubal. 13:27-31) Kyo kituufu nti mu ndaba ey’obuntu, Abakanani baali ba maanyi nnyo okusinga Abayisirayiri. Naye omuntu yenna okugamba nti Abayisirayiri baali tebasobola kulwanyisa balabe baabwe, yali talowooza ku Yakuwa. Abakessi abo ekkumi bandibadde bassa ebirowoozo byabwe ku ekyo Yakuwa kye yali ayagala Abayisirayiri okukola. Ate era bandibadde bafumiitiriza ku bintu bye yali abakoledde. Ekyo kyandibayambye okukimanya nti amaanyi g’Abakanani gaali matono nnyo bw’ogageraageranya ku maanyi ga Yakuwa agatenkanika. Okwawukana ku bakessi abo abataalina kukkiriza, Yoswa ne Kalebu bo baali baagala okusiimibwa mu maaso ga Yakuwa. Baagamba abantu nti: “Yakuwa bw’aba ng’atusanyukira, ajja kututwala mu nsi eyo agituwe.”—Kubal. 14:6-9.
7. Tuyinza tutya okweyongera okuyiga okutya Yakuwa? (Laba n’ekifaananyi.)
7 Okusobola okweyongera okuyiga okutya Yakuwa, tusaanidde okulowooza ku ekyo ky’ayagala mu buli kimu kye tuba tusalawo. (Zab. 16:8) Bw’oba ng’olina abantu b’osomako mu Bayibuli, weebuuze: ‘Singa nze nnali mu mbeera eyo, kiki kye nnandisazeewo okukola?’ Ng’ekyokulabirako, kuba akafaananyi ng’owuliriza abakessi ekkumi nga bagamba nti Abayisirayiri tebasobola kuwangula Bakanani. Wandikkiriza kye bagamba n’otya abantu, oba okwagala kw’olina eri Yakuwa n’okuba nti oyagala nnyo okumusanyusa kwandibadde kukuleetera obutakkiriza kye bakugamba? Omulembe ogwo gwonna ogw’Abayisirayiri gwalemererwa okukkiriza amazima Yoswa ne Kalebu ge baabagamba. N’ekyavaamu, baafirwa enkizo ey’okuyingira mu nsi ensuubize.—Kubal. 14:10, 22, 23.
8. Ngeri ki gye tusaanidde okufuba ennyo okukulaakulanya, era lwaki?
8 Obwetoowaze. Abeetoowaze Yakuwa b’ayamba okutegeera amazima. (Mat. 11:25) Bwe tuba abeetoowaze kituyamba okukkiriza okuyigirizibwa amazima. (Bik. 8:30, 31) Wadde kiri kityo, tulina okwegendereza tuleme okufuna amalala. Bwe tufuna amalala tuyinza okutandika okulowooza nti endowooza zaffe nazo ntuufu okufaananako emisingi gya Bayibuli n’obulagirizi bwe tufuna okuva eri ekibiina kya Yakuwa.
9. Tuyinza tutya okusigala nga tuli beetoowaze?
9 Okusobola okusigala nga tuli beetoowaze tusaanidde okukimanya nti tuli ba wansi nnyo ku Yakuwa. (Zab. 8:3, 4) Ate era tusaanidde okusaba Yakuwa okutuyamba okuba abeetoowaze n’okuba abeetegefu okuyigirizibwa. Yakuwa ajja kutuyamba okukiraba nti endowooza ye esangibwa mu Kigambo kye Bayibuli n’ebyo bye tuyigirizibwa okuva eri ekibiina kye, bisinga endowooza yaffe. Bw’oba osoma Bayibuli weetegereze obukakafu obulaga nti Yakuwa ayagala nnyo obwetoowaze era nti akyawa amalala. Ate era fuba nnyo okusigala ng’oli mwetoowaze singa oweebwa enkizo ekusobozesa okuba n’obuyinza ku balala, oba ereetera abalala okumanya by’okola.
TUYINZA TUTYA OKUNYWERERA KU MAZIMA?
10. Baani Yakuwa b’azze akozesa okuwa abantu be obulagirizi?
10 Weeyongere okwesiga obulagirizi obutuweebwa ekibiina kya Yakuwa. Mu Isirayiri ey’edda, Yakuwa yakozesa Musa ate oluvannyuma n’akozesa Yoswa okuwa abantu be obulagirizi. (Yos. 1:16, 17) Abayisirayiri ebintu byabagenderanga bulungi bwe bakkirizanga nti abasajja abo baali bakiikirira Yakuwa Katonda. Oluvannyuma lw’ebyasa bingi ng’Ekibiina Ekikristaayo kitandiseewo, abatume 12 be baawanga ebibiina obulagirizi (Bik. 8:14, 15) Oluvannyuma abatume abo beegattibwako abakadde abalala mu Yerusaalemi. Okukolera ku bulagirizi bw’abasajja abo abaali abeesigwa, kyaviirako ‘ebibiina okweyongera okunywezebwa mu kukkiriza era omuwendo gw’abakkiriza ne gweyongeranga buli lunaku.’ (Bik. 16:4, 5) Mu kiseera kyaffe, naffe ebintu bitugendera bulungi bwe tukolera ku bulagirizi obutuweebwa ekibiina kya Yakuwa. Yakuwa awulira atya singa tugaana okugondera abo be yalonda okutuwa obulagirizi? Ekibuuzo ekyo tusobola okukiddamu nga twekenneenya ekyo ekyaliwo ng’Abayisirayiri bagenda mu Nsi Ensuubize.
11. Mu Isirayiri ey’edda, kiki ekyatuuka ku abo abaawakanya obuyinza bwa Musa? (Laba n’ekifaananyi.)
11 Abayisirayiri bwe baali bagenda mu nsi ensuubize, abamu ku bantu ab’ebitiibwa mu bo baawakanya obuyinza bwa Musa era baagaana okukkiriza nti Katonda ye yali amulonze. Baagamba nti: “Ab’omu kibiina bonna [si Musa yekka] batukuvu era Yakuwa ali mu bo.” (Kubal. 16:1-3) Wadde nga kituufu nti mu maaso ga Yakuwa ekibiina kyonna kyali kitukuvu, Yakuwa yali alonze Musa okukulemberamu abantu be. (Kubal. 16:28) Abasajja abo okuwakanya Musa, baali bawakanya Yakuwa. Tebassa birowoozo byabwe ku ebyo Yakuwa bye yali ayagala, wabula baabissa ku ekyo bo kye baali baagala, kwe kugamba, obuyinza obusingawo n’ettutumu. Yakuwa yatta abo abaakulemberamu obujeemu obwo awamu n’abalala nkumi na nkumi abaabeegattako. (Kubal. 16:30-35, 41, 49) Kya lwatu nti ne leero, Yakuwa tasanyukira abo abatagoberera bulagirizi butuweebwa okuyitira mu kibiina kye.
12. Lwaki tusobola okweyongera okwesiga ekibiina kya Yakuwa?
12 Tusobola okweyongera okwesiga ekibiina kya Yakuwa. Bwe wabaawo enkyukakyuka ezeetaagisa okukolebwa mu ngeri gye tutegeeramu agamu ku mazima agali mu Bayibuli oba mu ngeri omulimu gw’Obwakabaka gye guteekeddwateekeddwamu, abo abatwala obukulembeze tebalonzalonza kukola nkyukakyuka eziba zeetaagisa. (Nge. 4:18) Ekyo bakikola kubanga okusingira ddala baagala nnyo okusanyusa Yakuwa. Ate era bafuba nnyo okulaba nga byonna bye basalawo babyesigamya ku Kigambo kya Katonda, nga guno gwe mutindo abantu ba Katonda bonna gwe basaanidde okugoberera.
13. ‘Omutindo gw’ebigambo eby’omuganyulo’ kye ki, era kiki kye tusaanidde okukola?
13 “Nywereranga ku mutindo gw’ebigambo eby’omuganyulo.” (2 Tim. 1:13) ‘omutindo gw’ebigambo eby’omuganyulo’ ze njigiriza ez’Ekikristaayo ezisangibwa mu Bayibuli. (Yok. 17:17) Enjigiriza ezo gwe musingi gw’ebyo byonna bye tukkiririzaamu. Ekibiina kya Yakuwa kituyigirizza okunywerera ku mutindo ogwo. Bwe tugunywererako, Yakuwa atuwa emikisa.
14. Abamu ku Bakristaayo baava batya ku “mutindo gw’ebigambo eby’omuganyulo”?
14 Kiki ekiyinza okubaawo singa tuva ku “mutindo gw’ebigambo eby’omuganyulo”? Lowooza ku kyokulabirako kino. Mu kyasa ekyasooka, kirabika olugambo lwali lusaasaana mu Bakristaayo nti olunaku lwa Yakuwa lwali lwamala dda okutuuka. Kirabika waliwo ebbaluwa gye baafuna ng’erabika ng’eyali ewandiikiddwa omutume Pawulo ng’eyogera ku nsonga eyo. Nga tebafuddeeyo kusooka kwekenneenya bukakafu, abamu ku Bakristaayo ab’omu Ssessalonika bakkiriza obulimba obwo era ne batandika n’okubusaasaanya. Bandibadde tebabuzaabuzibwa singa bajjukira ebintu omutume Pawulo bye yali abayigirizza bwe yali ng’akyali nabo. (2 Bas. 2:1-5) Pawulo yali alabudde bakkiriza banne obutamala gakkiriza buli kintu kye bawulira era okusobola. Era okubayamba obutaddamu kubuzaabuzibwa, yafundikira ebbaluwa ey’okubiri gye yawandiikira Abassessalonika n’ebigambo bino: “Nze Pawulo, mpandiise okulamusa kuno n’omukono gwange, era ke kabonero aka buli bbaluwa yange; eno ye ngeri gye mpandiikamu.”—2 Bas. 3:17.
15. Tuyinza tutya okwewala ebintu eby’obulimba ebirabika ng’ebivudde eri ekibiina kyaffe? Waayo ekyokulabirako. (Laba n’ebifaananyi.)
15 Kiki kye tuyigira ku bigambo Pawulo bye yawandiikira Abassessalonika? Bwe tuwulira ekintu ekitakwatagana n’ebyo bye twayiga mu Bayibuli oba bwe wabaawo ekintu ekitwogerwako ekyewuunyisa ennyo, twetaaga okukozesa amagezi. Mu kiseera ky’obufuzi bwa Soviet Union, lumu abalabe baffe balina ebbaluwa gye baawandiika ng’erabika ng’evudde ku kitebe kyaffe ekikulu era ne bagisaasaanya mu b’oluganda. Ebbaluwa eyo yali ekubiriza abamu ku b’oluganda okutandikawo ekibiina ekirala ekitali wansi w’ekibiina kya Yakuwa. Ebyali mu bbaluwa eyo byalabika ng’ebituufu. Naye ab’oluganda abeesigwa tebaabuzaabuzibwa. Baakiraba nti obubaka obwali mu bbaluwa eyo bwali tebukwatagana n’ebyo bye baali bayigiriziddwa. Leero abalabe baffe oluusi bakozesa Intaneeti n’emikutu emigatta bantu okugezaako okutubuzaabuza n’okuleetawo enjawukana mu ffe. Mu kifo ky’okuleka ‘endowooza yaffe okutabulwatabulwa amangu,’ tusaanidde okwewala obulimba obwo nga twekenneenya okulaba obanga ebyo bye tusoma oba bye tuwulira bikwatagana n’amazima ge twayigirizibwa.—2 Bas. 2:2; 1 Yok. 4:1.
16. Okusinziira ku Abaruumi 16:17, 18, kiki kye tusaanidde okukola singa wabaawo abava mu mazima?
16 Sigala ng’oli bumu n’abo abeesigwa eri Yakuwa. Katonda ayagala tube bumu mu kusinza. Tujja kusigala nga tuli bumu singa tunywerera ku mazima. Abo bonna abawaba okuva mu mazima, baleetawo enjawukana mu kibiina. Eyo ye nsonga lwaki Katonda atugamba nti, mubeewale. Bwe tutabeewala naffe tusobola okuva ku mazima.—Soma Abaruumi 16:17, 18.
17. Miganyulo ki gye tufuna bwe tumanya amazima era ne tuganywererako?
17 Bwe tumanya amazima era ne tuganywererako, kituyamba okusigala nga tuli banywevu mu by’omwoyo. (Bef. 4:15, 16) Kituyamba obutatwalirizibwa njigiriza za Sitaani ez’obulimba ne pokopoko gw’asaasaanya, era mu kiseera ky’ekibonyoobonyo ekinene, Yakuwa ajja kutukuuma. N’olwekyo, weeyongere okunywerera ku mazima era “Katonda ow’emirembe anaabeeranga [naawe].”—Baf. 4:8, 9.
OLUYIMBA 122 Ba Munywevu, Tosagaasagana!
a EKIFAANANYI: Ekifaananyi ekiraga ebyaliwo emyaka mingi emabega mu kiseera ky’obufuzi bwa Soviet Union; ab’oluganda baafuna ebbaluwa eyali erabika ng’evudde ku kitebe ekikulu kyokka nga yali evudde eri abalabe baffe. Mu kiseera kyaffe, abalabe baffe bayinza okukozesa Intaneeti okusaasaanya ebintu eby’obulimba ku kibiina kya Yakuwa.