Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 29

OLUYIMBA 121 Tulina Okwefuga

Weewale Okutwalirizibwa ng’Okemeddwa

Weewale Okutwalirizibwa ng’Okemeddwa

“Musigale nga mutunula era nga musaba, muleme kugwa nga mukemeddwa.”MAT. 26:41.

EKIGENDERERWA

Okutuyamba okumanya obukulu bw’okwewala okukola ekibi, n’okwewala ebintu ebituviirako okukola ekibi.

1-2. (a) Kulabula ki Yesu kwe yawa abayigirizwa be? (b) Lwaki abayigirizwa abo baayabulira Yesu? (Laba n’ebifaananyi.)

 “OMWOYO gwagala naye omubiri munafu.” a (Mat. 26:41b) Mu kwogera ebigambo ebyo, Yesu yakiraga nti akimanyi nti tetutuukiridde era nti tukola ensobi. Kyokka era ebigambo ebyo birimu okulabula kuno: Tulina okwewala okwekakasa ekisukkiridde. Mu kiro Yesu mwe yayogerera ebigambo ebyo, abayigirizwa be baali bagambye nti bajja kumunywererako. (Mat. 26:35) Baali baagala okukola ekituufu. Wadde kyali kityo, baali tebakimanyi nti mu kaseera katono embeera enzibu bwe yandizzeewo, bandibadde balemererwa okukola ekituufu. Eyo ye nsonga lwaki Yesu yabagamba nti: “Musigale nga mutunula era nga musaba, muleme kugwa nga mukemeddwa.”—Mat. 26:41a.

2 Eky’ennaku, abayigirizwa abo baalemererwa okusigala nga batunula. Yesu bwe yakwatibwa, baasobola okumunywererako, oba baatya ne badduka? Nga tebakisuubira, abayigirizwa abo baakolera ddala ekyo kye baali bagambye nti tebasobola kukola. Baayabulira Yesu.—Mat. 26:56.

Wadde nga Yesu yakubiriza abayigirizwa be okusigala nga batunula n’okwewala okukola ekibi nga bakemeddwa, baamwabulira (Laba akatundu 1-2)


3. (a) Okusobola okusigala nga tuli beesigwa eri Yakuwa, lwaki tulina okwewala okwekakasa ekisukkiridde? (b) Biki bye tugenda okulaba mu kitundu kino?

3 Tetusaanidde kwekakasa kisukkiridde. Kyo kituufu nti tuli bamalirivu obutakkiriza kintu kyonna kutuggya ku Yakuwa. Wadde kiri kityo, tetutuukiridde era kyangu nnyo okukola ekibi nga tukemeddwa. (Bar. 5:12; 7:​21-23) Nga tetukisuubira, tuyinza okwesanga mu mbeera ezikifuula ekyangu gye tuli okukola ekibi. Okusobola okusigala nga tuli beesigwa eri Yakuwa n’eri Omwana we, tulina okukolera ku kubuulira Yesu kwe yawa, tusigale nga tutunula tuleme okukola ekibi nga tukemeddwa. Ekitundu kino kigenda kutuyamba mu nsonga eyo. Okusookera ddala tugenda kulaba ebintu bye tusaanidde okwekuuma. Oluvannyuma tugenda kulaba engeri gye tuyinza okwekuuma tuleme okugwa mu bikemo. Ate era, tugenda kulaba engeri gye tuyinza okusigala nga tuli bulindaala.

BINTU KI BYE TUSAANIDDE OKWEKUUMA?

4-5. Lwaki tusaanidde okwewala okukola n’ebibi ebirabika ng’ebitono?

4 N’ebibi ebirabika ng’ebitono bisobola okutunafuya mu by’omwoyo. Ate era bisobola okutuviirako okukola ebibi eby’amaanyi.

5 Buli omu ku ffe akemebwa okukola ebintu ebikyamu. Ffenna tulina obunafu obw’enjawulo. N’olwekyo, ebintu ebimu bikifuula kyangu gye tuli okukola ekibi okusinga ebirala. Ng’ekyokulabirako, omuntu omu ayinza okuba ng’asikirizibwa okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu. Omulala ayinza okuba ng’asikirizibwa okwenyigira mu bikolwa ebitali birongoofu, gamba ng’okwemazisa oba okulaba ebifaananyi eby’obuseegu. Ate omulala ayinza okuba ng’alina ekizibu ky’okutya abantu, oba okusunguwala amangu, oba endowooza ya kyetwala, oba ekintu ekirala. Nga Yakobo bwe yagamba, “buli muntu agezesebwa ng’atwalirizibwa era ng’asendebwasendebwa okwegomba kwe.”Yak. 1:14.

6. Kiki ekitukwatako kye tulina okukkiriza?

6 Omanyi ebintu ebikifuula ekyangu gy’oli okukola ekibi? Kiba kya kabi nnyo okubuusa amaaso obunafu bwaffe, oba okulowooza nti tuli banywevu nnyo tetusobola kukola kibi. (1 Yok. 1:8) Tusaanidde okukijjukira nti Pawulo yagamba nti n’abo “abalina ebisaanyizo eby’eby’omwoyo” bayinza okukola ekibi nga bakemeddwa singa tebaba bulindaala. (Bag. 6:1) Tulina okuba abeesimbu, ne tukkiriza obunafu bwe tulina obukifuula ekyangu gye tuli okukola ekibi.—2 Kol. 13:5.

7. Kiki kye tusaanidde okwegendereza? Waayo ekyokulabirako.

7 Bwe tumanya obunafu bwe tulina obukifuula ekyangu gye tuli okukola ekibi, kiki kye tusaanidde okukola? Tusaanidde okufuba ennyo okwewala okukola ekibi! Ng’ekyokulabirako, mu biseera by’edda, ekitundu ky’ekibuga ekyalinga ekyangu abalabe okuyitamu gyalinga miryango gyakyo. N’olwekyo emiryango egyo gye gyali gisinga okukuumibwa obutiribiri. Mu ngeri y’emu, tulina okwegendereza ennyo, obunafu bwaffe buleme okutuviirako okukola ekibi.—1 Kol. 9:27.

ENGERI GYE TUYINZA OKWEKUUMAMU

8-9. Omuvubuka ayogerwako mu Engero essuula 7 yandisobodde atya okwewala okukola ekibi eky’amaanyi? (Engero 7:​8, 9, 13, 14, 21)

8 Tuyinza tutya okwekuuma? Lowooza ku ekyo kye tuyigira ku muvubuka ayogerwako mu Engero essuula 7. Yeenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu n’omukazi omugwenyufu. Olunyiriri 22 lulaga nti omuvubuka oyo yagenda ‘mangu’ eri omukazi oyo. Naye ng’ennyiriri ezisooka bwe ziraga, omuvubuka oyo alina ebintu ebitali bya magezi bye yasooka okukola ebyamuviirako okugwa mu kibi.

9 Kiki ekyaviirako omuvubuka oyo okugwa mu kibi? Okusookera ddala, yatambula akawungeezi “ng’ayita okumpi n’ekkubo erikyama ew’omukazi [omugwenyufu].” Oluvannyuma yayolekera ennyumba ye. (Soma Engero 7:​8, 9.) Ekyaddirira, bwe yalaba omukazi oyo teyamudduka. Mu kifo ky’ekyo, yamukkiriza okumunywegera era n’amuwuliriza ng’amugamba nti yali awaddeyo ssaddaaka ez’emirembe, oboolyawo ng’agezaako okumuleetera okulowooza nti teyali muntu mubi. (Soma Engero 7:​13, 14, 21.) Singa omuvubuka oyo yali yeewaze okukola ebintu ebyo, yandibadde yeewaze embeera eyamuviirako okukola ekibi.

10. Leero omuntu ayinza atya okukola ensobi y’emu ng’omuvubuka ayogerwako mu Engero gye yakola?

10 Ebyo Sulemaani bye yawandiika biraga ekiyinza okutuuka ku muweereza wa Yakuwa yenna. Ayinza okukola ekibi eky’amaanyi naye oluvannyuma n’alowooza nti ebintu byabaddewo mangu mangu. Oba ayinza okugamba nti “Kyaguddewo bugwi.” Kyokka bw’afumiitiriza, ayinza okukiraba nti waliwo ebintu ebitali bya magezi bye yasooka okukola ebyamuviiriddeko okukola ekibi. Ebintu ebyo biyinza okuba nga bizingiramu emikwano emibi, eby’okwesanyusaamu ebitasaana, oba okugenda mu bifo ebitali birungi, ka kibe mu buntu oba okuyitira ku Intaneeti. Oboolyawo ayinza n’okuba nga yali alekedde awo okusaba, okusoma Bayibuli, okubangawo mu nkuŋŋaana, oba okubuulira. Okufaananako omuvubuka ayogerwako mu Engero, ekibi ky’aba yakoze kiyinza okuba nga tekyaguddewo bugwi.

11. Kiki kye tusaanidde okwewala tuleme okukola ekibi?

11 Kiki kye tuyiga? Tetulina kukoma ku kwewala kukola kibi, wabula tulina n’okwewala ebintu ebiyinza okutuviirako okukola ekibi. Ensonga eyo Sulemaani yagyogerako oluvannyuma lw’okwogera ku ebyo ebikwata ku muvubuka n’omukazi omugwenyufu. Ng’ayogera ku mukazi oyo, yagamba nti: “Temuwabanga ne mutambulira mu mpenda ze.” (Nge. 7:25) Ate era yagamba nti: Omukazi ng’oyo omwewalanga; n’oluggi lw’ennyumba ye tolusembereranga.” (Nge. 5:​3, 8) Bwe twewala ebintu ebiyinza okutuviirako okukola ekibi, twewala okukikola. b Ekyo kizingiramu okwewala embeera oba ebintu ebimu nga ku bwabyo si bikyamu, naye nga bisobola okuviirako omuntu okukola ekibi.—Mat. 5:​29, 30.

12. Kiki Yobu kye yamalirira obutakola, era kyamuyamba kitya? (Yobu 31:1)

12 Tulina okuba abamalirivu okusobola okwewala embeera yonna eyinza okutuviirako okukola ekibi. Ekyo kyennyini Yobu kye yakola. Yakola “endagaano n’amaaso [ge]” obutatunuulira mukazi yenna n’amwegwanyiza. (Soma Yobu 31:1.) Okunywerera ku ekyo kye yasalawo kyamuyamba obutagwa mu bwenzi. Naffe tusobola okumalirira okwewala ekintu kyonna ekiyinza okutuleetera okukola ekibi.

13. Lwaki tusaanidde okukuuma ebirowoozo byaffe? (Laba n’ebifaananyi.)

13 Ate era tusaanidde okukuma ebirowoozo byaffe. (Kuv. 20:17) Abamu balowooza nti si kikyamu okukuba akafaananyi nga bakola ebintu ebibi kasita baba ng’ebintu ebyo tebabikola. Naye endowooza eyo nkyamu. Omuntu bw’assa ebirowoozo bye ku bintu ebibi, kimuviirako okwagala okukola ebintu ebyo. Kimubeerera kizibu okwewala okukola ekibi. Kyo kituufu nti oluusi ebirowoozo ebibi biyinza okutujjira. Bwe bitujjira, kikulu okubyeggyamu mu bwangu ne tulowooza ku bintu ebirungi. Bwe tukola bwe tutyo, kituyamba okwekuuma ne tutakola kibi, kubanga tuba tetukkiriza kwegomba kubi kukula mu mitima gyaffe. —Baf. 4:8; Bak. 3:2; Yak. 1:​13-15.

Tulina okwewala ekintu kyonna ekiyinza okutuleetera okukola ekibi (Laba akatundu 13)


14. Kiki ekirala ekiyinza okutuyamba okwewala okukola ekibi?

14 Kiki ekirala kye tulina okukola okusobola okwewala okukola ekibi? Tulina okuba abakakafu nti bulijjo bwe tugondera amateeka ga Yakuwa tuganyulwa. Oluusi kiyinza okutubeerera ekizibu okutuukanya ebirowoozo byaffe awamu n’ebyo bye twegomba, n’ebyo Yakuwa by’ayagala. Naye bwe tufuba okukikola tufuna essanyu.

15. Okwagala ebintu ebirungi kinaatuyamba kitya okwewala okukola ebintu ebibi nga tukemeddwa?

15 Tulina okuyiga okwagala ebintu ebirungi. Bwe tuyiga ‘okukyawa ekibi’ ne ‘twagala ekirungi’ tujja kweyongera okuba abamalirivu okukola ekituufu n’okwewala embeera eziyinza okutuviirako okukola ekibi. (Am. 5:15) Bwe tuba nga twagala ebintu ebirungi era kijja kutuyamba okusigala nga tuli banywevu singa twesanga mu mbeera ze tubadde tutasuubira ezikifuula ekizibu gye tuli okukola ekituufu.

16. Ebintu eby’omwoyo bituyamba bitya okusigala nga tuli bulindaala? (Laba n’ebifaananyi.)

16 Kiki ekiyinza okutuyamba okwagala ebintu ebirungi? Tusaanidde okwenyigira mu bujjuvu mu bintu eby’omwoyo. Bwe tuba mu nkuŋŋaana oba nga tuli mu kubuulira, tweyongera okwagala okusanyusa Yakuwa era tekiba kyangu kukemebwa kukola bintu bibi. (Mat. 28:​19, 20; Beb. 10:​24, 25) Bwe tusoma Bayibuli era ne tufumiitiriza, tweyongera okwagala ebintu ebirungi era ne tukyawa ebibi. (Yos. 1:8; Zab. 1:​2, 3; 119:​97, 101) Tusaanidde okukijjukira nti Yesu yagamba abayigirizwa be nti: ‘Musabe, muleme kugwa nga mukemeddwa.’ (Mat. 26:41) Bwe tusaba Yakuwa atuyamba era ekyo kitusobozesa okuba abamalirivu okukola ebimusanyusa.—Yak. 4:8.

Okuba n’enteekateeka ennungi ey’eby’omwoyo kisobola okutuyamba okwewala okukola ebibi (Laba akatundu 16) c


SIGALA NG’OLI BULINDAALA

17. Bunafu ki Peetero bye yayoleka emirundi egisukka mu gumu?

17 Kirabika obunafu obumu tusobola okubalwanyisa ne tubuvuunuka. Naye obunafu obulala kiyinza okutwetaagisa okubulwanyisa okumala ekiseera kiwanvu. Lowooza ku mutume Peetero. Okutya abantu kwamuleetera okwegaana Yesu emirundi esatu. (Mat. 26:​69-75) Peetero yalabika ng’eyali avvuunuse ekizibu ekyo, bwe yawa obujulirwa n’obuvumu mu maaso g’Olukiiko Olukulu olw’Abayudaaya. (Bik. 5:​27-29) Kyokka nga wayise emyaka, okumala akaseera yalekera awo okuliira awamu n’Abakristaayo ab’amawanga “olw’okutya abakomole.” (Bag. 2:​11, 12) Peetero yali azzeemu okutya abantu. Oboolyawo ekizibu ekyo yali takivvuunukiranga ddala.

18. Kiki ekiyinza okubaawo ku bunafu obumu bwe tuba nabwo?

18 Naffe tuyinza okwesanga mu mbeera efaananako eya Peetero. Mu ngeri ki? Kiyinza okutwetaagisa okuddamu okulwanyisa obunafu bwe twali tulowooza nti twavvuunuka. Ng’ekyokulabirako, ow’oluganda omu agamba nti: “Nneewala okulaba ebifaananyi eby’obuseegu okumala emyaka kkumi, era nnali ndowooza nti omuze ogwo nnaguvvuunuka. Naye omuze ogwo gwali ng’ensolo ebwamye mu kifo ekyekusifu ng’erindiridde okufubutukayo okulumba.” Ekirungi, ow’oluganda oyo teyalekayo kulwanyisa muze ogwo. Yakitegeera nti buli lunaku kyali kimwetaagisa okufuba ennyo okulwanyisa omuze ogwo, era oboolyawo ekyo yandikikoze ekiseera kyonna ky’asigazzaayo nga mulamu mu nteekateeka y’ebintu eno. Ng’ayambibwako mukyala we awamu n’abakadde, yakola kyonna ky’asobola okulwanyisa omuze gw’okulaba ebifaananyi eby’obuseegu.

19. Kiki kye tusaanidde okukola bwe tukimanya nti waliwo obunafu bwe tulina bwe tutavuunukanga?

19 Tuyinza tutya okukakasa nti obunafu bwe tutannavvuunukira ddala tebutuleetera kukola kibi? Tusaanidde okukolera ku kubuulirira kuno Yesu kwe yawa: “Musigale nga mutunula.” Ne mu kiseera lw’owulira nti oli munywevu mu by’omwoyo, weeyongere okwewala embeera eziyinza okukuviirako okukola ekintu ekibi. (1 Kol. 10:12) Weeyongere okukola ebintu ebyakuyamba okulwanyisa obunafu bwo. Engero 28:14 wagamba nti: “Alina essanyu omuntu aba omwegendereza buli kiseera.”—2 Peet. 3:14.

EMIGANYULO GYE TUFUNA MU KUBA OBULINDAALA

20-21. (a) Miganyulo ki gye tufuna bwe tusigala nga tuli bulindaala ne twewala ekibi? (b) Bwe tunaafuba okwewala okukola ekibi, kiki Yakuwa ky’anaatukolera? (2 Abakkolinso 4:7)

20 Tuli bakakafu nti bwe tufuba okwewala ekibi, tuganyulwa nnyo. Ekibi kisobola okuleeta essanyu “ery’akaseera obuseera,” naye okukolera ku mitindo gya Yakuwa kye kireeta essanyu erya nnamaddala. (Beb. 11:25; Zab. 19:8) Ekyo kiri bwe kityo kubanga twatondebwa nga tulina okukolera ku bulagirizi bwa Yakuwa. (Lub. 1:27) N’olwekyo bwe twekuuma, tuba n’omuntu ow’omunda omulungi era tuba n’essuubi ery’okufuna obulamu obutaggwaawo.—1 Tim. 6:12; 2 Tim. 1:3; Yud. 20, 21.

21 Kyo kituufu nti “omubiri munafu,” naye ekyo tekitegeeza nti tetusobola kwewala kukola bintu bibi. Yakuwa mwetegefu okutuwa amaanyi ge twetaaga. (Soma 2 Abakkolinso 4:7.) Kikulu okukijjukira nti Yakuwa atuwa amaanyi agasinga ku ga bulijjo. Naye okusookera ddala tulina okukozesa amaanyi gaffe, kwe kugamba, tulina okukola kyonna kye tusobola okwewala okukola ekibi. Bwe tukola tutyo, tuba bakakafu nti Yakuwa ajja kuddamu essaala zaffe atuwe amaanyi agasinga ku ga bulijjo we tuba tugeetaagira. (1 Kol. 10:13) Mazima ddala olw’okuba Yakuwa atuyamba, tusobola okwewala okukola ebintu ebibi.

OLUYIMBA 47 Saba Yakuwa Buli Lunaku

a EBIGAMBO EBINNYONNYOLWA: “Omwoyo” ogwogerwako mu Matayo 26:41 ge maanyi agali mu ffe agatuleetera okweyisa mu ngeri gye tweyisaamu. “Omubiri” bwe butali butuukirivu bwe twasikira obutuleetera okukola ekibi. N’olwekyo, tuyinza okuba nga twagala okukola ekituufu, naye bwe tuteegendereza tuyinza okukemebwa ne tukola ekyo Bayibuli ky’eyita ekibi.

b Omuntu aba akoze ekibi eky’amaanyi asobola okufuna obuyambi mu kitabo Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna! essomo 57 akatundu 1-3, ne mu kitundu “‘Tunula Butereevu mu Maaso’” mu Omunaala gw’Omukuumi, ogwa Noovemba 2020, lup. 27-29, kat. 12-17.

c EKIFAANANYI: Ku makya ow’oluganda asoma ekyawandiikibwa ekya buli lunaku, mu kiseera eky’okuwummulamu asoma Bayibuli, ate akawungeezi ali mu lukuŋŋaana olubaawo wakati mu wiiki.