Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abaana​—Mutuuse Okubatizibwa?

Abaana​—Mutuuse Okubatizibwa?

“Ani ku mmwe ayagala okuzimba omunaala atasooka kutuula wansi n’abalirira ebyetaagisa okulaba obanga alina ebimala okugumaliriza?”​—LUK. 14:28.

ENNYIMBA: 120, 64

Ekitundu kino n’ekiddako okusingira ddala bikwata ku baana abalowooza ku ky’okubatizibwa

1, 2. (a) Kiki ekireetera abantu ba Katonda essanyu leero? (b) Kiki abazadde Abakristaayo n’abakadde kye basobola okukola okuyamba abaana abaagala okubatizibwa?

OMUKADDE omu yagamba omwana ayitibwa Christopher eyali ow’emyaka 12 nti: “Nkulabye okuviira ddala lwe wazaalibwa, era ndi musanyufu nnyo okuba nti oyagala okubatizibwa. Naye ka nkubuuze, ‘Lwaki oyagala okubatizibwa?’” Ekibuuzo ekyo kyali kya makulu. Kya lwatu nti ffenna kitusanyusa nnyo okulaba nga buli mwaka wabaawo abaana bangi okwetooloola ensi ababatizibwa. (Mub. 12:1) Wadde kiri kityo, abazadde Abakristaayo awamu n’abakadde mu kibiina basaanidde okukakasa nti ng’oggyeeko okuba nti abaana abo beesalirawo ku lwabwe okubatizibwa, balina okuba nga ddala batuuse okubatizibwa.

2 Ekigambo kya Katonda kiraga nti omuntu bwe yeewaayo eri Yakuwa era n’abatizibwa, atandika okufuna emikisa egy’ekitalo okuva eri Yakuwa, era ayolekagana n’okuyigganyizibwa okuva eri Sitaani. (Nge. 10:22; 1 Peet. 5:8) N’olwekyo, abazadde Abakristaayo, mufube okuyamba abaana bammwe okumanya ebizingirwa mu kuba omugoberezi wa Kristo. Ate abaana abatalina bazadde baweereza Yakuwa, abakadde mu kibiina basaanidde okubayamba okumanya ebizingirwa mu kuba omugoberezi wa Kristo. (Soma Lukka 14:27-30.) Nga bwe kyetaagisa okuteekateeka obulungi okusobola okuzimba ekizimbe n’okimaliriza, kyetaagisa okweteekateeka obulungi okusobola okuweereza Yakuwa n’obwesigwa “okutuuka ku nkomerero.” (Mat. 24:13) Kiki ekiyinza okuyamba abaana okwagala okuweereza Yakuwa obulamu bwabwe bwonna? Ka tulabe.

3. (a) Ebigambo Yesu ne Peetero bye baayogera biraga bitya nti okubatizibwa kintu kikulu? (Mat. 28:19, 20; 1 Peet. 3:21) (b) Bibuuzo ki bye tugenda okwetegereza, era lwaki?

3 Oli mwana alowooza ku ky’okubatizibwa? Bwe kiba kityo, weebazibwa nnyo! Nkizo ya maanyi okuba omu ku baweereza ba Yakuwa ababatize. Ate era abagoberezi ba Kristo bonna balina okubatizibwa, era okubatizibwa kye kimu ku bintu ebikulu omuntu bye yeetaaga okukola okusobola okulokolebwa. (Mat. 28:19, 20; 1 Peet. 3:21) Okuva bwe kiri nti oyagala okutuukiriza obweyamo bw’ojja okukola eri Yakuwa, kikulu okweteekateeka obulungi nga tonnabatizibwa. N’olwekyo, osaanidde okwebuuza ebibuuzo bisatu kikuyambe okumanya obanga ddala otuuse okubatizibwa. Ebibuuzo ebyo bye bino: (1) Nkuze ekimala okusobola okusalawo okubatizibwa? (2) Ddala muli mpulira nga njagala okubatizibwa? (3) Ddala ntegeera kye kitegeeza okwewaayo eri Yakuwa? Ka tulabe eby’okuddamu mu bibuuzo bino.

OLINA OKUBA NG’OLI MUKULU EKIMALA

4, 5. (a) Lwaki abantu abakulu si be bokka abasobola okubatizibwa? (b) Kitegeeza ki okuba omukulu?

4 Bayibuli tekiraga nti abantu abakulu mu myaka oba abo abatwalibwa mu mateeka nti bawezezza emyaka egy’okwesalirawo be bokka abalina okubatizibwa. Engero 20:11 wagamba nti: “Omwana by’akola bye biraga ki ky’ali, obanga empisa ze nnongoofu era nga nnungi.” Ekyo kiraga nti n’omwana akyali omuto asobola okumanya ekituufu ky’asaanidde okukola era asobola okumanya kye kitegeeza okwewaayo eri Omutonzi we. N’olwekyo, omwana akyolese nti mukulu mu birowoozo era nga yeewaddeyo eri Yakuwa asobola okubatizibwa.​—Nge. 20:7.

5 Kitegeeza ki okuba omukulu? Okuba omukulu tekitegeeza kuba mukulu mu myaka kyokka. Bayibuli egamba nti abantu abakulu beebo “abakozesa obusobozi bwabwe obw’okutegeera, bwe batyo ne babutendeka okwawulawo ekituufu n’ekikyamu.” (Beb. 5:14) N’olwekyo, abantu abatwalibwa nti bakulu baba bamanyi ebyo Katonda by’ayagala era baba bamalirivu okubinywererako. Bwe kityo, tebamala gatwalirizibwa bintu bikyamu era buli kiseera baba tebeetaaga kujjukizibwa kukola kituufu. N’olwekyo, omwana yenna abatizibwa asuubirwa okuba ng’ajja kunywerera ku mitindo gya Katonda egy’obutuukirivu ne bwe kiba nti bazadde be oba abantu abalala abakulu tebaliiwo.​—Geraageranya Abafiripi 2:12.

6, 7. (a) Kusoomooza ki Danyeri kwe yayolekagana nakwo ng’ali mu Babulooni? (b) Danyeri yakiraga atya nti yali akuze?

6 Ddala abaana basobola okukyoleka nti bakulu? Yee. Lowooza ku Danyeri. Danyeri ayinza okuba nga yali yaakayingira emyaka egy’obutiini mu kiseera we yaggibwa ku bazadde be n’atwalibwa mu buwambe e Babulooni. Bwe kityo, Danyeri yeesanga ng’ali mu bantu abaalina endowooza eteri ntuufu bwe kituuka ku kituufu n’ekikyamu. Ate era waliwo okusoomooza okulala Danyeri kwe yayolekagana nakwo: Mu Babulooni baali bamutwala ng’omuntu ow’ekitalo ennyo. Danyeri y’omu ku bavubuka abaalondebwa okuweereza mu lubiri lwa kabaka! (Dan. 1:3-5, 13) Danyeri yalabika ng’alina enkizo nnyingi mu Babulooni oboolyawo z’atandisobodde kufuna mu Isirayiri.

7 Wadde nga Danyeri yali akyali muvubuka, yeeyisa atya? Yatwalirizibwa ebitiibwa n’eby’obugagga bya Babulooni? Yakkiriza embeera gye yalimu okumuleetera okulekera awo okuba omwesigwa eri Yakuwa oba okunafuya okukkiriza kwe? Nedda! Bayibuli egamba nti Danyeri bwe yali mu Babulooni “yamalirira mu mutima gwe obuteeyonoona” na bintu ebyalina akwate n’okusinza okw’obulimba. (Dan. 1:8) Danyeri yakiraga nti yali akuze!

Abantu nga basanyufu okulaba omwana ng’abatizibwa naye nga waliwo n’omwana omulala ateekakasa obanga naye atuuse okubatizibwa (Laba akatundu 8)

8. Kiki ky’oyigira ku Danyeri?

8 Kiki kye tuyigira ku Danyeri? Omwana akuze mu by’omwoyo anywerera ku ky’amanyi nti kituufu. Taba nga nnawolovu akyusakyusa langi asobole okutuukana n’ekifo ky’alimu. Teyeefuula kuba mukwano gwa Katonda ng’ali mu Kizimbe ky’Obwakabaka ate ku ssomero n’aba mukwano gw’ensi. Mu kifo ky’okusuukundibwa ng’azzibwa eno n’eri, asigala nga munywevu ne mu kugezesebwa okw’amaanyi.​—Soma Abeefeso 4:14, 15.

9, 10. (a) Omwana bw’alowooza ku ngeri gye yeeyisaamu ng’ayolekaganye n’okugezesebwa kwe yafuna gye buvuddeko awo, kiyinza kumuganyula kitya? (b) Okubatizibwa kitegeeza ki?

9 Kya lwatu nti ffenna tetutuukiridde; era ffenna abato n’abakulu oluusi n’oluusi tukola ensobi. (Mub. 7:20) Wadde kiri kityo, bw’oba olowooza ku ky’okubatizibwa osaanidde okwekebera olabe obanga oli mumalirivu okunywerera ku mitindo gya Yakuwa egy’obutuukirivu. Oyinza otya okwekebera? Weebuuze, ‘Bukakafu ki obulaga nti nnywerera ku mitindo gya Katonda egy’obutuukirivu?’ Lowooza ku ngeri gye weeyisaamu bwe wayolekagana n’ebintu ebitali bimu ebyagezesa okukkiriza kwo gye buvuddeko awo. Wakiraga nti osobola okwawulawo ekituufu ku kikyamu? Okufaananako Danyeri, watya singa wabaawo omuntu atasinza Yakuwa akutwala okuba ow’ekitalo? Singa okemebwa mu ngeri eyo, osobola ‘okutegeera ekyo Yakuwa ky’ayagala’?​—Bef. 5:17.

10 Lwaki ebibuuzo ebyo bikulu? Bikulu kubanga bisobola okukuyamba okuba n’endowooza ennuŋŋamu ku kubatizibwa. Nga bwe twalabye, okubatizibwa kabonero akalaga nti weeyama eri Yakuwa. Wamusuubiza nti ojja kumwagala era omuweereze n’omutima gwo gwonna emirembe gyonna. (Mak. 12:30) Buli muntu abatizibwa alina okufuba okutuukiriza obweyamo obwo.​—Soma Omubuulizi 5:4, 5.

DDALA OYAGALA OKUBATIZIBWA?

11, 12. (a) Kiki omuntu ayagala okubatizibwa ky’alina okusooka okukakasa? (b) Kiki ekisobola okukuyamba okuba n’endowooza ennuŋŋamu ku kubatizibwa?

11 Bayibuli egamba nti abantu ba Yakuwa, nga mw’otwalidde n’abaana, ‘bandyewaddeyo kyeyagalire’ okumuweereza. (Zab. 110:3) N’olwekyo, omuntu yenna ayagala okubatizibwa alina okukakasa nti ddala ekyo akyagala okuva ku ntobo y’omutima gwe. Ekyo kiba kikwetaagisa okwekebera mu bwesimbu, naddala bw’oba ng’okulidde mu mazima.

12 Ekiseera bwe kizze kiyitawo, oyinza okuba ng’olabye abantu bangi nga babatizibwa oboolyawo ng’omwo mwe muli n’abaana bwe mwenkanya emyaka oba baganda bo. Bwe kiba kityo, kiki ky’olina okwegendereza? Weewale okulowooza nti kati olw’okuba owezezza emyaka gy’olowooza nti omuntu gy’alina okubatirizibwako era nti olw’okuba banno be mwenkanya emyaka baabatizibwa, naawe kati otuuse okubatizibwa. Kiki ekisobola okukuyamba okuba n’endowooza ennuŋŋamu ku kubatizibwa? Bulijjo fumiitiriza ku nsonga lwaki okubatizibwa kintu kikulu. Mu kitundu kino n’ekiddako tugenda kulaba ensonga z’osaanidde okulowoozaako.

13. Oyinza otya okumanya obanga okusalawo okubatizibwa okikoze okuviira ddala ku mutima gwo?

13 Waliwo ebintu ebitali bimu ebisobola okukuyamba okumanya obanga ddala okusalawo okubatizibwa okikoze okuviira ddala ku mutima gwo. Ng’ekyokulabirako, essaala zo zisobola okulaga obanga ddala oyagala okuweereza Yakuwa. Emirundi gy’otuukirira Yakuwa mu kusaba era n’ebyo by’omutegeeza ng’osaba bisobola okulaga obanga ddala enkolagana yo naye ya ku lusegere. (Zab. 25:4) Emu ku ngeri Yakuwa gy’addamu essaala zaffe kwe kutuwa obulagirizi ng’ayitira mu Kigambo kye. N’olwekyo, bwe tunyiikirira okusoma Bayibuli kiba kiraga nti twagala okunyweza enkolagana yaffe ne Yakuwa era nti twagala okumuweereza okuviira ddala ku mutima. (Yos. 1:8) N’olwekyo weebuuze: ‘Ddala nneeyabiza Yakuwa nga nsaba? Nnyiikirira okusoma Bayibuli?’ Ate bwe kiba nti amaka mw’ova galina enteekateeka ey’Okusinza kw’Amaka, weebuuze: ‘Nfuba okubeerawo mu Kusinza kw’Amaka obutayosa?’ Engeri gy’oddamu ebibuuzo ebyo ejja kulaga obanga ddala okusalawo okubatizibwa okikoze okuviira ddala ku mutima gwo.

KYE KITEGEEZA OKWEWAAYO ERI YAKUWA

14. Njawulo ki eriwo wakati w’okwewaayo eri Yakuwa n’okubatizibwa?

14 Abantu abamu tebategeera njawulo eri wakati w’okwewaayo eri Yakuwa n’okubatizibwa. Ng’ekyokulabirako, abaana abamu bagamba nti beewaayo eri Yakuwa naye ng’ate si beetegefu kubatizibwa. Naye ddala ekyo kikola amakulu? Okwewaayo eri Yakuwa kwe kutuukirira Yakuwa mu kusaba ng’oli wekka n’omutegeeza nti ojja kumuweereza emirembe gyonna. Omuntu bw’abatizibwa, akiraga eri abalala nti yeewaayo eri Yakuwa. Okubatizibwa kwe kukyoleka mu lujjudde nti wamala dda okwewaayo eri Yakuwa. N’olwekyo, nga tonnabatizibwa, olina okusooka okutegeera kye kitegeeza okwewaayo eri Yakuwa.

15. Kitegeeza ki okwewaayo eri Yakuwa?

15 Bwe weewaayo eri Yakuwa, olekera awo okwetwala wekka. Osuubiza Yakuwa nti okumuweereza kye kintu ky’ogenda okukulembezanga mu bulamu bwo. (Soma Matayo 16:24.) Kikulu nnyo omuntu okutuukiriza ebyo by’aba asuubizza, naddala ebyo by’aba asuubizza Yakuwa Katonda! (Mat. 5:33) Naye oyinza otya okukiraga nti olekedde awo okwetwala wekka era nti oli wa Yakuwa?​—Bar. 14:8.

16, 17. (a) Waayo ekyokulabirako ekiraga kye kitegeeza okulekera awo okwetwala wekka. (b) Omuntu bwe yeewaayo eri Yakuwa, kiki ky’aba amugamba?

16 Ng’ekyokulabirako, watya singa mukwano gwo akuwa emmotoka ng’ekirabo. Akuwa ebiwandiiko ebigyogerako era n’akugamba nti: “Emmotoka yiyo.” Naye watya singa mukwano gwo oyo akugamba nti: “Ebisumuluzo nja kubisigaza era nze nja okuvuga emmotoka eyo.” Onootwala otya ekirabo ekyo? Era oyo akikuwadde onoomutwala otya?

17 Kati lowooza ku ekyo Yakuwa ky’asuubira mu muntu aba yeewaddeyo gy’ali. Omuntu oyo agamba Yakuwa nti: “Obulamu bwange mbukuwadde. Ndi wuwo.” Naye watya singa omuntu oyo atandika okutambulira mu bulamu obw’emirundi ebiri oboolyawo n’atandika okwogerezeganya n’omuntu ataweereza Yakuwa? Watya singa akkiriza okukola omulimu ogutaamusobozese kubuulira oba okubaawo mu nkuŋŋaana? Omuntu oyo taba ng’awadde Yakuwa emmotoka naye n’asigaza ebisumuluzo? Omuntu bwe yeewaayo eri Yakuwa abanga ng’agamba nti: “Obulamu bwange ggwe obulinako obuyinza. Bye njagala bwe biba bikontana n’ebyo by’oyagala, nja kukola ebyo by’oyagala.” Eyo ye ndowooza Yesu gye yalina. Bwe yali ku nsi yagamba nti: “Saava mu ggulu kukola bye njagala, wabula eby’oyo eyantuma.”​—Yok. 6:38.

18, 19. (a) Ebyo Rose ne Christopher bye baayogera biraga bitya nti okubatizibwa kuvaamu emikisa? (b) Okubatizibwa okutwala otya?

18 Kyeyoleka lwatu nti okubatizibwa kintu kikulu nnyo ekitalina kutwalibwa ng’eky’olusaago. Mu butuufu, okwewaayo eri Yakuwa n’okubatizibwa nkizo ya maanyi nnyo. Abaana abaagala Yakuwa era abategeera kye kitegeeza okwewaayo gy’ali tebalonzalonza kubatizibwa; era oluvannyuma tebejjusa olw’okusalawo okwewaayo eri Yakuwa. Omutiini omu ayitibwa Rose agamba nti: “Njagala nnyo Yakuwa era okuweereza Yakuwa kye kintu ekisingayo okundeetera essanyu. Mu bintu byonna bye nnali nsazeewo mu bulamu, okusalawo okubatizibwa kye kintu kye nnasalawo nga siriimu nkenyera yonna.”

19 Ate ye Christopher eyayogeddwako ku ntandikwa y’ekitundu kino? Ddala kyali kya magezi okusalawo okubatizibwa ku myaka 12? Christopher bw’alowooza ku ky’okuba nti yeewaayo eri Yakuwa era n’abatizibwa ng’akyali muto, kimuleetera essanyu lingi. Yatandika okuweereza nga payoniya owa bulijjo ku myaka 17 era n’alondebwa okuba omuweereza mu kibiina ku myaka 18. Kati aweereza ku Beseri. Agamba nti: “Kyali kya magezi okusalawo okubatizibwa. Nfunye essanyu lingi mu kuweereza Yakuwa n’ekibiina kye.” Bw’oba olowooza ku ky’okubatizibwa, biki by’oyinza okukola okusobola okwetegeka obulungi? Ekitundu ekiddako kijja kuddamu ekibuuzo ekyo.