Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Biki by’Osobola Okukola Okunyweza Obumu bw’Ekibiina?

Biki by’Osobola Okukola Okunyweza Obumu bw’Ekibiina?

“Mu ye, omubiri gwonna gugattiddwa wamu era gukolera wamu.”​—BEF. 4:16.

ENNYIMBA: 53, 107

1. Kiki ekibaddewo okuviira ddala ku ntandika y’okutonda ebintu?

OKUVIIRA ddala ku ntandikwa y’okutonda, obumu bubadde bweyoleka mu mirimu gya Yakuwa gyonna. Yesu Kristo, ekitonde kya Katonda ekyasooka, yagamba nti: “Nnali awo ku lusegere [lwa Yakuwa] ng’omukozi omukugu. Nze gwe yayagalanga ennyo.” (Nge. 8:30) Yakuwa n’Omwana we baakolera wamu mu kutonda ebintu eby’enjawulo. N’abaweereza ba Katonda nabo babaddenga bakolera wamu. Ng’ekyokulabirako, Nuuwa n’ab’omu maka ge baakolera wamu okuzimba eryato. Abayisirayiri baakolera wamu omulimu gw’okusimba weema, okugipangulula, n’okugiggya mu kifo ekimu okugitwala mu kirala nga bali mu ddungu. Ate ku yeekaalu, abaweereza ba Katonda baayimbiranga wamu era ne bakuba ebivuga nga batendereza Yakuwa. Abantu ba Katonda baasobola okukola ebintu ebyo byonna kubanga baali bakolera wamu.​—Lub. 6:14-16, 22; Kubal. 4:4-32; 1 Byom. 25:1-8.

2. (a) Kintu ki ekirungi ekyali mu kibiina Ekikristaayo ekyasooka? (b) Bibuuzo ki bye tugenda okwetegereza?

2 N’Abakristaayo abaaliwo mu kyasa ekyasooka baali bumu, nga bakulemberwa Yesu Kristo, omutwe gw’ekibiina. Omutume Pawulo yagamba nti wadde ng’Abakristaayo abaafukibwako amafuta kinnoomu baalina “ebirabo ebitali bimu,” nga beenyigira mu ‘buweereza obw’engeri ezitali zimu,’ era nga balina ‘enkola ezitali zimu,’ bonna baali ‘omubiri gumu.’ (Soma 1 Abakkolinso 12:4-6, 12.) Ate ffe leero? Tuyinza tutya okusigala nga tuli bumu nga tukola omulimu gw’okubuulira amawulire amalungi? Era tuyinza tutya okusigala nga tuli bumu mu kibiina ne mu maka?

OKUKOLERA AWAMU MU MULIMU GW’OKUBUULIRA

3. Kwolesebwa ki omutume Yokaana kwe yafuna?

3 Ekyasa ekyasooka bwe kyali kinaatera okuggwaako, omutume Yokaana yafuna okwolesebwa n’alaba bamalayika musanvu abaafuuwa amakondeere. Malayika ow’okutaano bwe yafuuwa ekkondeere lye, Yokaana yalaba “emmunyeenye” eyawanuka mu ggulu n’egwa ku nsi. “Emmunyeenye” eyo yalina ekisumuluzo mu mukono gwayo kye yakozesa okuggulawo obunnya. Omukka omukwafu gwava mu bunnya awamu n’enzige. Mu kifo ky’okulya ebimera, enzige ezo ez’akabonero zaalumba abantu “abataalina kabonero ka Katonda ku byenyi byabwe.” (Kub. 9:1-4) Yokaana yali amanyi bulungi obulabe enzige bwe ziyinza okukola. Enzige zaakola akabi ak’amaanyi ku nsi ya Misiri mu biseera bya Musa. (Kuv. 10:12-15) Enzige Yokaana ze yalaba zikiikirira Abakristaayo abaafukibwako amafuta abalangirira obubaka obw’omusango Yakuwa gw’asaze. Bakolera wamu n’obukadde n’obukadde bwa bannaabwe abalina essuubi ery’okubeera ku nsi. Omulimu gwe bakola guyambye abantu bangi okuva mu madiini ag’obulimba n’okuva mu bufuge bwa Sitaani!

4. Mulimu ki abaweereza ba Katonda gwe balina okukola, era bayinza batya okugukola obulungi?

4 Abaweereza ba Yakuwa balina omulimu omunene ennyo ogw’okubuulira ‘amawulire amalungi’ mu nsi yonna ng’enkomerero tennajja. (Mat. 24:14; 28:19, 20) Omulimu guno guzingiramu okuyita “buli alumwa ennyonta” okunywa “amazzi ag’obulamu ku bwereere.” (Kub. 22:17) Ffenna abali mu kibiina Ekikristaayo tuyinza tutya okukola obulungi omulimu guno? Tusobola okugukola obulungi singa ‘tuba bumu era ne tukolera wamu.’​—Bef. 4:16.

5, 6. Biki bye tukola mu mulimu gw’okubuulira ebiraga nti tuli bumu?

5 Okusobola okutuusa amawulire amalungi ag’Obwakabaka ku bantu bangi nga bwe kisoboka, tulina okukola omulimu gw’okubuulira mu ngeri entegeke obulungi. Eyo ye nsonga lwaki tuweebwa obulagirizi. Obulagirizi bwe tufuna okuyitira mu bibiina byaffe butuyamba okukola omulimu ogwo nga tuli bumu. Oluvannyuma lw’okufuna olukuŋŋaana olw’okugenda okubuulira, tutandika okulangirira amawulire g’Obwakabaka eri abantu. Ekyo tukikola okuyitira mu bye twogera n’okuyitira mu bitabo byaffe ebinnyonnyola Bayibuli. Ofuba okugoberera obulagirizi bwe batuwa mu kiseera kya kaweefube ow’enjawulo? Bw’okola bw’otyo, oba okolera wamu ne bakkiriza banno okwetooloola ensi mu kulangirira obubaka bwa ‘malayika abuuka waggulu mu bbanga,’ ayogerwako mu Okubikkulirwa 14:6.

6 Nga kituleetera essanyu lingi bwe tusoma mu Yearbook ku birungi ebiva mu kukolera awamu omulimu gw’okubuulira! Ate lowooza ku ngeri gye tukolera awamu mu kugabira abantu obupapula obubayita okubaawo ku nkuŋŋaana zaffe ennene. Ku nkuŋŋaana ezo, tuwuliriza emboozi ezitali zimu ezeesigamiziddwa ku Bayibuli era tulaba emizannyo awamu n’ebyokulabirako ebituzzaamu ennyo amaanyi. Ku nkuŋŋaana ezo tukubirizibwa okuweereza Katonda n’omutima gwaffe gwonna. Ekintu ekirala ekituleetera okuba obumu gwe mukolo ogw’okujjukira okufa kwa Yesu. Olw’okuba tusiima ekisa eky’ensusso Katonda kye yatulaga era olw’okuba tugondera ekiragiro Yesu kye yawa, tukuŋŋaana wamu buli mwaka nga Nisaani 14, oluvannyuma lw’enjuba okugwa okujjukira okufa kwa Yesu. (1 Kol. 11:23-26) N’abantu abalala abatali Bajulirwa ba Yakuwa bayitibwa okubaawo ku mukolo ogwo. Ng’ebulayo wiiki ntono omukolo ogwo gutuuke, tufuba okutuuka ku bantu bonna abali mu kitundu mwe tubuulira nga tubayita okubaawo ku mukolo ogwo omukulu ennyo.

7. Bwe tukolera awamu kituganyula kitya?

7 Enzige bw’ebeera yokka, w’erya wayinza obutalabika mangu. Mu ngeri y’emu naffe bwe tuba ffekka, tetusobola kubuulira bantu bonna. Naye bwe tukolera awamu, tusobola okuyamba abantu bukadde na bukadde okumanya ebikwata ku Yakuwa, oyo agwanidde okuweebwa ekitiibwa n’ettendo! Kyokka omulimu gw’okubuulira si gwe gwokka oguleetera abantu ba Katonda okuba obumu.

OKUKOLERA AWAMU MU KIBIINA

8, 9. (a) Kyakulabirako ki Pawulo kye yakozesa okulaga nti Abakristaayo balina okuba obumu? (b) Tuyinza tutya okukolera awamu mu kibiina?

8 Mu bbaluwa gye yawandiikira Abeefeso, Pawulo yalaga engeri ekibiina gye kitegekeddwamu era n’agamba nti abo bonna abali mu kibiina balina ‘okukula mu bintu byonna.’ (Soma Abeefeso 4:15, 16.) Kiki ekinaatuyamba kinnoomu okutuuka ku kiruubirirwa ekyo? Pawulo yakozesa ekyokulabirako ky’omubiri n’alaga nti buli Mukristaayo asobola okuyamba ekibiina okusigala nga kiri bumu n’okusigala nga kigoberera Yesu Kristo, omutwe gw’ekibiina. Pawulo yayogera ku kukolera awamu “okuyitira mu buli nnyingo ekola ekiba kyetaagisa.” Buli omu ku ffe k’abe muto oba mukulu, k’abe wa maanyi oba munafu, ayinza atya okuyamba ekibiina okuba obumu n’okuba ekinywevu mu by’omwoyo?

9 Ekimu ku bintu bye tuyinza okukola kwe kugondera n’okussa ekitiibwa mu bakadde Yesu b’akwasizza obuvunaanyizibwa obw’okutuwa obulagirizi mu kibiina. (Beb. 13:7, 17) Naye ekyo oluusi kiyinza obutatubeerera kyangu. Wadde kiri kityo, tusobola okusaba Yakuwa okutuyamba. Omwoyo gwe omutukuvu gusobola okutuyamba okuwagira enteekateeka z’ekibiina n’omutima gwaffe gwonna. N’olwekyo, singa oluusi tuwulira nga kituzibuwalidde okukolera ku bulagirizi obuba butuweereddwa, tusaanidde okufumiitiriza ku ngeri okubukolerako gye kijja okuyamba mu kukuuma obumu bw’ekibiina. Ate era ekyo bwe tukikola, okwagala buli omu kw’alina eri munne kweyongera okunywera.

10. Abaweereza mu kibiina bayamba batya ekibiina okuba obumu? (Laba ekifaananyi ku lupapula 13.)

10 Abaweereza mu kibiina nabo bakola kinene mu kuyamba ekibiina okuba obumu. Baganda baffe abo, ka babe ba myaka emeka, ebintu bye bakola mu kibiina bituganyula ffenna. Ng’ekyokulabirako, bayambako abakadde mu kukakasa nti tulina ebitabo ebimala eby’okukozesa mu mulimu gw’okubuulira. Okugatta ku ekyo, bayambako mu nteekateeka ez’okuyonja n’okuddaabiriza Ekizimbe ky’Obwakabaka, era baaniriza abantu ababa bazze mu nkuŋŋaana zaffe. Bwe tukolera awamu ne baganda baffe abo, kiyamba ekibiina okuddukanyizibwa obulungi.​—Geraageranya Ebikolwa 6:3-6.

11. Kiki abo abakyali abato mu myaka kye bayinza okukola okuyamba ekibiina kyabwe okuba obumu?

11 Waliwo baganda baffe bangi abamaze emyaka mingi nga beetisse obuvunaanyizibwa mu kibiina. Naye bwe bagenda bakula, ebintu ebimu baba tebakyasobola kubikola, bwe kityo ne kiba nga kyetaagisa okubaako enkyukakyuka ezikolebwa. Ab’oluganda abato baba basobola okubayambako. Wadde ng’ab’oluganda ng’abo baba tebannafuna bumanyirivu, bwe batendekebwa, basobola okwetikka obuvunaanyizibwa obusingawo mu kibiina. Nga kiba kirungi nnyo abaweereza bwe bafuba okutuukiriza ebisaanyizo eby’okuweereza ng’abakadde mu kibiina! (1 Tim. 3:1, 10) Abakadde abamu abakyali abato mu myaka basobodde n’okulondebwa okuweereza ng’abalabirizi abakyalira ebibiina, bwe batyo ne baba nga baweereza bakkiriza bannaabwe mu bibiina bingi. Nga tusiima nnyo omulimu omulungi bakkiriza bannaffe abakyali abato gwe bakola!​—Soma Zabbuli 110:3; Omubuulizi 12:1.

OKUKOLERA AWAMU MU MAKA

12, 13. Kiki ekiyinza okuyamba ab’omu maka bonna okuba obumu?

12 Kati ka tulabe engeri gye tuyinza okusigala nga tuli bumu mu maka. Bangi bakirabye nti okuba n’Okusinza kw’Amaka buli wiiki kibayambye okunyweza enkolagana yaabwe mu maka. Mu kiseera ky’Okusinza kw’Amaka, ab’omu maka bakubaganya ebirowoozo ku bintu eby’omwoyo era ekyo kibayamba okuba obumu. Ab’omu maka bwe beegezaamu ebyo bye banaayogera nga babuulira, kibayamba okwetegekera obulungi omulimu gw’okubuulira. Ab’omu maka bwe babeerako awamu ne boogera ku bintu ebiri mu Kigambo kya Katonda era buli omu n’akiraga nti ayagala Yakuwa era nti ayagala okumusanyusa, kibayamba okunyweza enkolagana yaabwe.

Okusinza kw’amaka kuyamba bonna abato n’abakulu okunyweza enkolagana yaabwe (Laba akatundu 12, 15)

13 Kiki abafumbo kye bayinza okukola okusobola okuba obumu? Omwami n’omukyala bwe baweereza Yakuwa n’obwesigwa, kibasobozesa okuba obumu. Ibulayimu ne Saala, Isaaka ne Lebbeeka, Erukaana ne Kaana, bonna baakyoleka nti baali baagala nnyo bannaabwe mu bufumbo. Ekyo omwami n’omukyala basaanidde okukikola. (Lub. 26:8; 1 Sam. 1:5, 8; 1 Peet. 3:5, 6) Bwe bakikola, kibayamba okubeera obumu n’okunyweza enkolagana yaabwe ne Kitaabwe ow’omu ggulu.​—Soma Omubuulizi 4:12.

14. Omwami wo oba mukyala wo bw’aba taweereza Yakuwa, kiki ky’oyinza okukola okunyweza obufumbo bwammwe?

14 Ebyawandiikibwa biraga nti Omukristaayo talina kufumbiriganwa na muntu atali mukkiriza. (2 Kol. 6:14) Kati ate baganda baffe ne bannyinaffe abalina bannaabwe mu bufumbo abatali bakkiriza? Abamu ku bakkiriza bannaffe we baayigira amazima baali baamala dda okuyingira obufumbo, era bannaabwe mu bufumbo si baweereza ba Yakuwa. Wadde kiri kityo, bwe bakolera ku misingi gya Bayibuli kisobozesa amaka gaabwe okuba obumu. Beetaaga okukola kyonna ekisoboka okukolera awamu ne bannaabwe mu bufumbo, naye nga tebasuula muguluka misingi gya Bayibuli. Ekyo kiyinza obutaba kyangu naye kivaamu ebirungi. Oluusi tekiba kyangu kukolera ku misingi gya Bayibuli nga munno mu bufumbo yeekutudde ku kibiina. Ekyo kye kyatuuka ku mwannyinaffe Mary. Ye n’omwami we baali baweereza Yakuwa, naye emyaka nga 25 emabega, omwami we yalekera awo okugenda mu nkuŋŋaana. Mary yeeyongera okugendanga mu nkuŋŋaana z’ekibiina n’enkuŋŋaana ennene era yafubanga okukolera ku misingi gya Bayibuli, omwali n’okuyigiriza abaana baabwe omukaaga Bayibuli. Abaana baabwe bwe baakula ne bava awaka, Mary yawulira ekiwuubaalo. Mu kiseera ekyo omwami we David yatandika okusoma magazini Mary ze yamuleeteranga. Ekiseera bwe kyayitawo, David yaddamu okugenda mu nkuŋŋaana era muzzukulu we ow’emyaka omukaaga yamukwatiranga ekifo w’anaatuula. David bw’ataagendanga mu nkuŋŋaana, muzzukulu we oyo yamugambanga nti, “Jjajja nga saakulabye mu nkuŋŋaana?” Kati David yaddamu okuweereza Yakuwa era Mary musanyufu nnyo okuba nti bombi baweerereza wamu Yakuwa.

15. Abafumbo abakulu basobola batya okuyamba abafumbo abato?

15 Okuva bwe kiri nti leero Sitaani alumba nnyo amaka, abaweereza ba Katonda basaanidde okufuba ennyo okuba n’enkolagana ennungi mu maka. K’obe ng’omaze bbanga ki mu bufumbo, lowooza ku ekyo ky’oyinza okwogera oba okukola okunyweza obufumbo bwammwe. Abafumbo abakulu basobola okuyamba abafumbo abato mu nsonga eyo. Oluusi n’oluusi musobola okukyaza abafumbo abakyali abato mu maka gammwe ne babeerako nammwe mu kusinza kwammwe okw’amaka. Abafumbo abakyali abato bwe babeerako nammwe, basobola okukiraba nti kikulu abafumbo okulagaŋŋana omukwano n’okukolaganira awamu ka babe nga bamaze bbanga lyenkana wa mu bufumbo.​—Tit. 2:3-7.

“TWAMBUKE KU LUSOZI LWA YAKUWA”

16, 17. Kiki abaweereza ba Katonda abali obumu kye beesunga?

16 Lowooza ku bantu ba Katonda, Abayisirayiri, mu biseera eby’edda bwe baagendanga ku yeekaalu mu Yerusaalemi okutendereza Yakuwa mu biseera eby’embaga. Bateekwa okuba nga beeteekerateekeranga olugendo olwo, buli omu ateekwa okuba nga yafangayo ku byetaago bya munne nga bali ku lugendo, era bateekwa okuba nga basinzanga Yakuwa ku yeekaalu nga bali bumu. Mu butuufu, baakoleranga wamu. (Luk. 2:41-44) Naffe tuli ku lugendo olugenda okututuusa mu nsi empya era twetaaga okuba obumu n’okukolera awamu. Ekyo kitwetaagisa okufuba ennyo. Waliwo we weetaaga okulongoosaamu mu nsonga eyo?

17 Lowooza ku mikisa gye tugenda okufuna! Ng’abaweereza ba Katonda, twamala ddala okwekutula ku nsi ya Sitaani eno eteri bumu, era tulaba obunnabbi bwa Isaaya n’obwa Mikka nga butuukirira. Abantu ba Katonda bali bumu era bambuka ku “lusozi lwa Yakuwa.” (Is. 2:2-4; soma Mikka 4:2-4.) Tewali kubuusabuusa nti okusinza okw’amazima kugulumiziddwa mu ‘nnaku zino ezisembayo.’ Nga kijja kutuleetera essanyu lingi okubeerawo mu kiseera ng’abantu bonna bali bumu era nga bakolera wamu!