Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Gezaako okumanya engeri gy’oyinza okuyambamu baganda bo, gy’oyinza okubazzaamu amaanyi, n’engeri gy’oyinza okubayambamu mu by’omwoyo

Osobola Okuyamba Ekibiina Kyo?

Osobola Okuyamba Ekibiina Kyo?

YESU bwe yali tannaddayo mu ggulu yagamba abayigirizwa be nti: ‘Mujja kuba bajulirwa bange okutuuka mu bitundu by’ensi ebisingayo okuba eby’ewala.’ (Bik. 1:⁠8) Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka baasobola batya okutuukiriza obuvunaanyizibwa obwo obw’amaanyi?

Profesa ayitibwa Martin Goodman, ow’omu Oxford University, agamba nti: “Omulimu gw’okubuulira gwayawulawo Abakristaayo ku madiini amalala nga mw’otwalidde n’ey’Abayudaaya mu bwakabaka bwa Rooma.” Yesu yatalaaga ebitundu ebitali bimu ng’agenda abuulira. Okusobola okugoberera ekyokulabirako kye yateekawo, Abakristaayo ab’amazima baalina okukimanya nti okubuulira “amawulire amalungi ag’Obwakabaka” kizingiramu okunoonya abantu abaagala okumanya amazima agali mu Kigambo kya Katonda. (Luk. 4:43) Eno y’emu ku nsonga lwaki mu Bakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka mwalimu “abatume.” Ekigambo abatume obutereevu kitegeeza abo abaasindikibwa oba abaatumibwa. (Mak. 3:14) Yesu yalagira abagoberezi be nti: “Mugende mufuule abantu b’omu mawanga gonna abayigirizwa.”​—Mat. 28:18-20.

Abatume ba Yesu 12 tebaliiwo ku nsi leero, naye waliwo abaweereza ba Yakuwa bangi aboolese omwoyo gw’obuminsani. Beetegefu okugaziya ku buweereza bwabwe nga booleka endowooza ng’eya Isaaya eyagamba nti: “Nzuuno! Ntuma!” (Is. 6:8) Abamu, gamba ng’abo abavudde mu Ssomero lya Gireyaadi, bagenze mu nsi ez’ewala. Abalala bagenze mu bitundu ebirala eby’ensi yaabwe. Abalala bayize olulimi olulala ne bagenda okuweereza mu bibiina oba mu bibinja ebikozesa olulimi olwo okusobola okuyamba abantu aboogera olulimi olwo. Ab’oluganda abo ne bannyinaffe abagenda okuweereza awali obwetaavu obusingako oba abo abayiga olulimi olulala oluusi kiyinza obutababeerera kyangu kusalawo bwe batyo olw’embeera ezitali zimu ze baba boolekagana nazo. Kibeetaagisa okubaako bye beefiiriza okusobola okwoleka okwagala kwe balina eri Yakuwa n’eri bantu bannaabwe. Basooka kubalirira ebyetaagisa oluvannyuma ne beewaayo okuyamba. (Luk. 14:28-30) Ab’oluganda abakola bwe batyo bayamba nnyo ebibiina gye baba balaze.

Kyokka embeera z’abaweereza ba Yakuwa zaawukana. Abamu tebasobola kugenda mu bitundu awali obwetaavu obusingako oba okuyiga olulimi olulala. Wadde kiri kityo, tusobola okwoleka omwoyo gw’obuminsani ne mu bibiina byaffe.

BEERA MUMINSANI MU KIBIINA KYO

Osobola okukozesa embeera gy’olimu . . .

Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka baayoleka omwoyo gw’obuminsani wadde nga kirabika abasinga obungi ku bo baaweererezanga mu bibiina ebyali mu bitundu gye baali babeera. Naye ebigambo bino Pawulo bye yagamba Timoseewo byali bya makulu gye bali n’eri abaweereza ba Katonda bonna. Yamugamba nti: “Kola omulimu gw’omubuulizi w’enjiri, tuukiriza mu bujjuvu obuweereza bwo.” (2 Tim. 4:5) Ekiragiro ky’okubuulira n’okufuula abantu abayigirizwa kikwata ku Bakristaayo bonna ka babe nga babeera wa. Ate era ebintu bingi abaminsani bye bakola tusobola okubikola ne mu bibiina byaffe.

Ng’ekyokulabirako, omuminsani bw’agenda okuweereza mu nsi endala kimwetaagisa okutuukana n’embeera empya gy’aba azzeemu. Ebintu bingi biba bya njawulo ku ebyo by’aba amanyi oba biba bipya gy’ali. Ate kiri kitya eri ffe abatasobola kugenda mu kitundu kirala awali obwetaavu bw’ababuulizi obusingako? Tuyinza okugamba nti tumanyi bulungi nnyo ekitundu ekibiina kyaffe mwe kibuulira? Oba tuyinza okunoonyayo engeri endala gye tusobola okutuukiriramu abantu? Ng’ekyokulabirako, mu 1940, ab’oluganda baakubirizibwa okufunayo olunaku lumu mu wiiki okubuulira ku nguudo. Osobola okwenyigira mu kubuulira okw’engeri eyo? Oba osobola okubuulira ng’okozesa akagaali okuteekebwa ebitabo? Ogezezzaako okukozesa engeri ng’ezo eziyinza okuba nga mpya gy’oli okubuulira abantu amawulire amalungi?

okuyamba abalala okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira

Okubeera n’endowooza ennuŋŋamu kisobozesa omuntu okubuulira n’obunyiikivu. Emirundi egisinga, abo abagenda okuweereza mu bitundu awali obwetaavu obusingako oba mu bibiina ebyogera olulimi olulala baba babuulizi abalina obumanyirivu. N’olwekyo, baba ba mugaso nnyo eri ab’oluganda, gamba nga batwala obukulembeze mu mulimu gw’okubuulira. Ate era abaminsani batera n’okutwala obukulembeze mu bibiina gye baba bagenze okuweereza okutuusa ng’ab’oluganda mu bibiina ebyo batuukirizza ebisaanyizo. Bw’oba ng’oli wa luganda omubatize, lwaki toluubirira okutuukiriza ebisaanyizo ebyo osobole okuweereza bakkiriza bano mu kibiina kyo?​—1 Tim. 3:1.

ZZAAMU ABALALA AMAANYI

okubaako ky’okolawo okuyamba abalala

Ng’oggyeeko okubuulira n’obunyiikivu n’okuba omwetegefu okutuukiriza obuvunaanyizibwa obutali bumu mu kibiina, waliwo engeri endala gy’oyinza okuyambamu ekibiina kyo. Ffenna, abato n’abakulu, abasajja n’abakazi, tusobola okuzzaamu bakkiriza bannaffe amaanyi.​—Bak. 4:11.

Okusobola okuyamba bakkiriza bannaffe, tulina okuba nga tubamanyi bulungi. Bayibuli etukubiriza nti bwe tukuŋŋaana awamu, buli omu asaanidde ‘okulowooza ku munne.’ (Beb. 10:24) Ebigambo ebyo biraga nti wadde nga tetusaanidde kulingiriza bannaffe, tusaanidde okufuba okumanya n’okutegeera baganda baffe awamu n’ebyetaago byabwe. Tuyinza okuba nga twetaaga okubaako bye tubakolera okubayamba, okubabudaabuda, oba okwongera okubazimba mu by’omwoyo. Okuyamba bakkiriza bannaffe si buvunaanyizibwa bwa bakadde bokka n’abaweereza. Kyo kituufu nti oluusi kiyinzika okuba nti omukadde oba omuweereza y’alina okuyamba mukkiriza munnaffe okusinziira ku mbeera ebaawo. (Bag. 6:1) Kyokka ffenna tusobola okuyamba bakkiriza bannaffe abakaddiye oba abo aboolekagana n’ebizibu mu maka.

okubudaabuda abo aboolekagana n’ebizibu

Ng’ekyokulabirako, ow’oluganda ayitibwa Salvatore bwe yayolekagana n’ekizibu eky’amaanyi ekyamwetaagisa okutunda bizineesi ye, ennyumba ye, n’ebintu bingi eby’omu maka ge, yeeraliikirira nnyo engeri ye n’ab’omu maka ge gye bandisobodde okwaŋŋangamu embeera eyo. Ab’omu maka agamu mu kibiina baalaba obuzibu ow’oluganda oyo n’ab’omu maka ge bwe baalimu. Baamuyamba mu by’ensimbi, ye ne mukyala we baabafunira omulimu, era emirundi mingi banyumyangako nabo akawungeezi, era ne bazzaamu ab’omu maka bonna amaanyi. Baafuka ba mukwano nnyo era kati wayise emyaka mingi nga ba mukwano. Wadde ng’embeera gye baayitamu teyali nnyangu, ab’omu maka ago gombi bwe bajjukira ebiseera ebyo bye baamala nga bali wamu kibaleetera essanyu lingi.

Abakristaayo ab’amazima bakimanyi nti balina okubuulirako abalala ebikwata ku nzikiriza yaabwe. Nga Yesu bwe yalaga, tusaanidde okubuulirako abalala ku bisuubizo bya Katonda ebiri mu Bayibuli. Ka tube nga tusobola okugenda mu bitundu awali obwetaavu obusingako oba nedda, ffenna tusobola okukolera abalala ebirungi. Era ekyo tusobola okukikolera ne mu bibiina byaffe. (Bag. 6:10) Bwe tukola tutyo tufuna essanyu eriva mu kugaba era ‘tweyongera okubala ebibala mu buli mulimu omulungi.’​—Bak. 1:10; Bik. 20:35.