Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Yakuwa Ayamba Abantu Be Okutambulira mu Kkubo ery’Obulamu

Yakuwa Ayamba Abantu Be Okutambulira mu Kkubo ery’Obulamu

“Lino lye kkubo. Mulitambuliremu.”​—IS. 30:21.

ENNYIMBA: 65, 48

1, 2. (a) Kulabula ki okutaasizza obulamu bw’abantu bangi? (Laba ekifaananyi waggulu.) (b) Bulagirizi ki abantu ba Katonda bwe bafuna obusobola okuwonyaawo obulamu bwabwe?

“YIMIRIRA, WEETEGEREZE, WULIRIZA.” Ebigambo ebyo bitaasizza obulamu bw’abantu bangi. Emyaka nga 100 emabega, ebipande ebinene ebiriko ebigambo ebyo byateekebwa mu bifo enguudo z’emmotoka we zisalira enguudo z’eggaali z’omukka mu Amerika. Lwaki byateekebwawo? Byateekebwawo okuyamba abo abavuga emmotoka obutasala kkubo lya ggaali ya mukka mu kiseera ng’eggaali y’omukka eyitawo, ekiyinza okubaviirako okufiirwa obulamu bwabwe. Okussaayo omwoyo ku kulabula okwo okuli ku bipande ebyo, kitaasizza obulamu bw’abantu bangi.

2 Yakuwa akola ekintu ekisingawo ku kuteeka obuteesi ebipande ebirabula ku nguudo. Mu ngeri ey’akabonero, ayimirira mu maaso g’abantu be, n’abalaga ekkubo erigenda mu bulamu obutaggwaawo, bw’atyo n’abawonya emitawaana. Era okufaananako omusumba, Yakuwa akoowoola endiga ze ng’aziwa obulagirizi era ng’azirabula zireme okukwata amakubo agayinza okuziviiramu emitawaana.​—Soma Isaaya 30:20, 21.

BULIJJO YAKUWA ABADDE AWA ABANTU BE OBULAGIRIZI

3. Abantu baatuuka batya okukwata ekkubo eribatwala mu kufa?

3 Okuviira ddala mu kiseera abantu lwe baatondebwa, Yakuwa abaddenga abawa obulagirizi. Ng’ekyokulabirako, mu lusuku Edeni, Yakuwa yawa abantu obulagirizi obwandibayambye okufuna obulamu obutaggwaawo n’okuba abasanyufu. (Lub. 2:15-17) Singa Adamu ne Kaawa baakolera ku bulagirizi obwo, tebandyolekaganye na mitawaana egyava mu bujeemu bwabwe era tebandifudde. Naye mu kifo ky’okugondera Yakuwa, Kaawa yasalawo okuwuliriza eddoboozi eryalabika ng’eriva mu musota. Ate ye Adamu yawuliriza eddoboozi lya Kaawa, omuntu obuntu. Adamu ne Kaawa baagaana okukolera ku bulagirizi bwa Kitaabwe ow’omu ggulu eyali abaagala ennyo. Ekyo kyaviirako abantu bonna okukwata ekkubo eribatwala mu kufa.

4. (a) Bulagirizi ki obupya obwali bwetaagisa oluvannyuma lw’Amataba? (b) Enkyukakyuka eyajjawo yalaga etya endowooza Katonda gy’alina ku bulamu n’omusaayi?

4 Mu kiseera kya Nuuwa, Katonda yawa obulagirizi obwawonyaawo obulamu bw’abantu. Oluvannyuma lw’Amataba, Yakuwa yawa abantu ekiragiro ekibagaana okulya omusaayi. Lwaki yabawa ekiragiro ekyo? Waali wagenda kubaawo enkyukakyuka ekolebwa. Yakuwa yali agenda kutandika okukkiriza abantu okulya ennyama. N’olwekyo, obulagirizi obukwata ku nsonga eyo bwali bwetaagisa. Yabagamba nti: “Temulyanga ennyama erimu obulamu bwayo, nga gwe musaayi gwayo.” (Lub. 9:1-4) Enkyukakyuka eyo yayamba abantu okutegeera endowooza Katonda gy’alina ku bulamu. Ng’Omutonzi era Ensibuko y’Obulamu, Katonda y’alina obuyinza okuwa ebiragiro ebikwata ku bulamu. Ng’ekyokulabirako, yalagira abantu nti tebalina kutta bantu bannaabwe. Obulamu n’omusaaayi Katonda abitwala nga bitukuvu, era ajja kuvunaana abo bonna ababikozesa obubi.​—Lub. 9:5, 6.

5. Kiki kye tugenda okulaba, era lwaki?

5 Kati ka tulabeyo ebyokulabirako ebiraga engeri Katonda gye yeeyongera okuwa abantu obulagirizi oluvannyuma lw’ekiseera kya Nuuwa. Ekyo kijja kutuyamba okuba abamalirivu okukolera ku bulagirizi Yakuwa bw’atuwa obunaatuyamba okutuuka mu nsi empya.

EGGWANGA EPPYA, OBULAGIRIZI OBUPYA

6. Lwaki abantu ba Katonda baali beetaaga okugondera Amateeka Katonda ge yabawa okuyitira mu Musa, era ndowooza ki gye baalina okuba nayo?

6 Mu kiseera kya Musa, obulagirizi obukwata ku ngeri entuufu ey’okweyisaamu n’engeri entuufu ey’okusinzaamu Katonda bwali bwetaagisa. Lwaki? Kubanga waali wazzeewo enkyukakyuka. Okumala emyaka egisukka mu 200 Abayisirayiri baali baabeera mu nsi ya Misiri, ensi omwali mujjudde okusinza abafu, okusinza ebifaananyi, n’ebintu ebirala ebyali bitasanyusa Katonda. Abantu ba Katonda bwe baamala okuva mu buddu e Misiri, baali beetaaga okuweebwa obulagirizi obupya. Kati abantu ba Katonda baali bagenda kufuuka eggwanga eryetongodde nga ligoberera Mateeka ga Yakuwa gokka. Ebitabo ebimu bigamba nti ekigambo ky’Olwebbulaniya ekivvuunulwa “amateeka” kirina akakwate n’ekigambo ky’Olwebbulaniya ekisobola okuvvuunulwa nga “obulagirizi, ebiragiro, okuyigiriza.” Amateeka ga Musa gaakuuma Abayisirayiri obutoonoonebwa enneeyisa embi ez’amawanga amalala awamu n’amadiini gaago. Abayisirayiri bwe baagonderanga Yakuwa baafunanga emikisa. Bwe baamujeemeranga, baafunanga ebizibu eby’amaanyi.​—Soma Ekyamateeka 28:1, 2, 15.

7. (a) Lwaki Yakuwa yawa abantu be Amateeka? (b) Mu ngeri ki Amateeka gye gaali omukuumi eri Abayisirayiri?

7 Waliwo n’ensonga endala lwaki Abayisirayiri baali beetaaga obulagirizi. Amateeka Katonda ge yabawa gaalina ekintu ekikulu ennyo ekikwata ku kutuukirizibwa kw’ekigendererwa kya Yakuwa kye gaali gasongako. Gaali gasonga ku kujja kwa Masiya, Yesu Kristo. Amateeka ago gaakyoleka kaati nti Abayisirayiri baali tebatuukiridde. Gaabayamba okukiraba nti baali beetaaga ekinunulo, ssaddaaka etuukiridde eyandibadde ebikkira ddala ebibi byabwe. (Bag. 3:19; Beb. 10:1-10) Okugatta ku ekyo, Amateeka gaayamba mu kukuuma olunyiriri omwandivudde Masiya n’okusobozesa abantu okumutegeera ng’azze. Mu ngeri eyo, Amateeka gaakola ng’omutwazi, oba “omukuumi,” atwala abantu eri Kristo.​—Bag. 3:23, 24.

8. Lwaki tusaanidde okussaayo omwoyo ku misingi egiri mu Mateeka ga Musa?

8 Naffe Abakristaayo tusobola okuganyulwa mu bulagirizi Yakuwa bwe yawa Abayisirayiri okuyitira mu Mateeka. Mu ngeri ki? Tusobola okuganyulwa mu misingi egiri mu Mateeka ago. Wadde nga tetuli wansi w’Amateeka ago, tusobola okufunamu obulagirizi obusobola okutuyamba mu bulamu bwaffe obwa bulijjo era obusobola okutuyamba okusinza Katonda waffe Yakuwa mu ngeri entuufu. Yawandiisa Amateeka ago mu Kigambo kye tusobole okugayigirako, tusobole okukolera ku misingi egigalimu, era tusobole okumanya emitindo egya waggulu egy’empisa Katonda gy’ayagala tutambulireko. Lowooza ku bigambo bino Yesu bye yagamba: “Mwawulira bwe kyagambibwa nti: ‘Toyendanga.’ Naye nze mbagamba nti buli atunuulira omukazi n’amwegomba aba amaze okumwendako mu mutima gwe.” Ekyo kiraga nti ng’oggyeeko okwewala obwenzi, tulina n’okwewala endowooza enkyamu eziyinza okutuviirako okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu.​—Mat. 5:27, 28.

9. Nkyukakyuka ki ezajjawo ne kiba nti abantu ba Katonda baali beetaaga okuweebwa obulagirizi obupya?

9 Yesu bwe yajja nga Masiya, Yakuwa yawa abantu be obulagirizi obupya era ne yeeyongera okumanyisa ebisingawo ebikwata ku kigendererwa kye. Lwaki? Mu mwaka gwa 33 E.E., Yakuwa yalekera awo okukolagana n’eggwanga lya Isirayiri n’atandika okukolagana n’ekibiina Ekikristaayo.

OBULAGIRIZI ERI ISIRAYIRI OW’OMWOYO

10. Lwaki Abakristaayo baaweebwa amateeka amapya, era amateeka ago gaawukana gatya ku ago agaaweebwa Abayisirayiri?

10 Mu kyasa ekyasooka, Abakristaayo baafuna obulagirizi obupya obukwata ku ngeri gye baalina okweyisaamu n’engeri gye baalina okusinzaamu Katonda. Abaweereza ba Katonda abo baali wansi w’endagaano empya. Amateeka ga Musa gaali gaaweebwa ggwanga limu lyokka, Isirayiri ow’omubiri. Naye Isirayiri ow’omwoyo yali wa kubaamu abantu okuva mu mawanga ag’enjawulo era abaakulira mu mbeera ez’enjawulo. Mu butuufu, “Katonda tasosola, naye mu buli ggwanga omuntu amutya n’akola ekituufu amukkiriza.” (Bik. 10:34, 35) Amateeka ga Musa, agaali gawandiikiddwa ku mayinja, gaawa Abayisirayiri obulagirizi nga bali mu Nsi Ensuubize. Naye abo abali mu Isirayiri ow’omwoyo bakolera ku ‘tteeka lya Kristo,’ okusingira ddala eririmu emisingi egiwandiikiddwa ku mitima gyabwe. Abakristaayo yonna gye bandibadde, bandibadde bakolera ku ‘tteeka lya Kristo’ era ekyo kyandibaganyudde nnyo.​—Bag. 6:2.

11. Biragiro ki eby’emirundi ebiri ebizingirwa mu ‘tteeka lya Kristo,’ Yesu bye yawa Abakristaayo bonna?

11 Abo abali mu Isirayiri ow’omwoyo bandiganyuddwa mu bulagirizi Katonda bwe yandibawadde okuyitira mu Mwana we. Bwe yali tannateekawo ndagaano empya, Yesu yawa ebiragiro bibiri ebikulu ennyo. Ekimu kyali kikwata ku mulimu ogw’okubuulira. Ekirala kyali kikwata ku ngeri abagoberezi be gye balina okweyisaamu n’engeri gye balina okuyisaamu bakkiriza bannaabwe. Ebiragiro ebyo byaweebwa Abakristaayo bonna; n’olwekyo bikwata ne ku Bakristaayo bonna leero, ka babe nga balina ssuubi lya kugenda mu ggulu oba lya kubeera ku nsi.

12. Nkyukakyuka ki eyajjawo mu mulimu gw’okubuulira?

12 Ate lowooza ku mulimu gw’okubuulira amawulire amalungi Yesu gwe yali agenda okukwasa abagoberezi be. Engeri gye bandibadde bakolamu omulimu ogwo yandibadde mpya era baali bagenda kugukola ku kigero ekitabangawo. Mu biseera eby’emabega, abantu b’amawanga amalala baalina okujja mu Isirayiri okusobola okuweereza Yakuwa. (1 Bassek. 8:41-43) Ekyo bwe kityo bwe kyali nga Yesu tannawa kiragiro ekiri mu Matayo 28:19, 20. (Soma.) Abayigirizwa ba Yesu baalina ‘okugenda’ eri abantu ab’omu mawanga gonna. Ku lunaku lwa Pentekooti mu mwaka gwa 33 E.E., Yakuwa yakiraga nti kati yali ayagala omulimu gw’okubuulira gukolebwe ku kigero eky’ensi yonna. Omwoyo gwe omutukuvu gwasobozesa abayigirizwa nga 120 okwogera mu nnimi ez’enjawulo eri Abayudaaya n’abakyufu. (Bik. 2:4-11) Oluvannyuma, omulimu gw’okubuulira gwatandika okukolebwa ne mu Basamaliya. Ate mu mwaka gwa 36 E.E., omulimu gw’okubuulira gweyongera okugaziwa ne kiba nti n’Ab’amawanga abataali bakomole baatandika okubuulirwa. Ekyo kyalaga nti Abakristaayo baalina okubuulira abantu mu nsi yonna.

13, 14. (a) Kiki ekizingirwa mu ‘tteeka eriggya’ Yesu lye yawa? (b) Kiki kye tuyigira ku kyokulabirako Yesu kye yateekawo?

13 Kati ate ka tulabe engeri gye tusaanidde okuyisaamu bakkiriza bannaffe. Yesu yawa abagoberezi be “etteeka eriggya.” (Soma Yokaana 13:34, 35.) Okusinziira ku tteeka eryo, ng’oggyeeko okuba nti Abakristaayo balina okwagala bakkiriza bannaabwe, balina n’okuba abeetegefu okubafiirira. Ekyo Amateeka ga Musa tegaakyogerako.​—Mat. 22:39; 1 Yok. 3:16.

14 Yesu yatuteerawo ekyokulabirako ekisingayo obulungi mu nsonga eyo. Yayagala nnyo abayigirizwa be n’atuuka n’okubafiirira. Yesu asuubira abayigirizwa be bonna okumukoppa. N’olwekyo tusaanidde okuba abeetegefu okubonaabona ku lwa bakkiriza bannaffe era tusaanidde n’okuba abeetegefu okubafiirira.​—1 Bas. 2:8.

OBULAGIRIZI MU KISEERA KINO NE MU KISEERA EKY’OMU MAASO

15, 16. Nkyukakyuka ki ezibaddewo mu kiseera kyaffe, era Katonda atuwa atya obulagirizi?

15 Yesu yassaawo “omuddu omwesigwa era ow’amagezi,” okuwa abagoberezi be emmere ey’eby’omwoyo mu kiseera ekituufu. (Mat. 24:45-47) Emmere eyo ezingiramu n’obulagirizi obukulu obuweebwa abantu ba Katonda nga waliwo enkyukakyuka eziba zizzeewo.

16 Tuli mu kiseera Bayibuli ky’eyita ‘ennaku ez’enkomerero,’ era mu kiseera ekitali kya wala ekibonyoobonyo ekinene ekitabangawo kijja kutuuka. (2 Tim. 3:1; Mak. 13:19) Ate era Sitaani ne badayimooni be baasuulibwa wano ku nsi era baleetedde abantu okubonaabona kungi. (Kub. 12:9, 12) Mu kiseera kye kimu tugondera ekiragiro kya Yesu nga tukola omulimu gw’okubuulira ku kigero ekitabangawo. Tubuulira abantu ab’omu mawanga gonna mu nnimi nnyingi okusinga bwe kyali kibadde!

17, 18. Twandyeyisizza tutya nga tuweereddwa obulagirizi?

17 Tusaanidde okukozesa ebintu ebituweebwa mu kibiina kya Yakuwa okutuyamba mu mulimu gw’okubuulira. Ofuba okukozesa ebintu ebyo? Ossaayo omwoyo ku bulagirizi obutuweebwa mu nkuŋŋaana ku ngeri y’okukozesaamu obulungi ebintu ebyo? Okiraba nti obulagirizi obwo buva eri Katonda?

18 Bwe tuba ab’okweyongera okufuna emikisa gya Katonda, tusaanidde okussaayo omwoyo ku bulagirizi bwonna bw’atuwa okuyitira mu kibiina kye. Bwe tugondera Yakuwa mu kiseera kino, kijja kutwanguyira okukolera ku bulagirizi bw’anaatuwa mu ‘kibonyoobonyo ekinene,’ mw’ajja okuzikiririza enteekateeka ya Sitaani yonna. (Mat. 24:21) Oluvannyuma lw’ekibonyoobonyo ekinene, tujja kuba twetaaga obulagirizi obupya bwe tunaagoberera mu nsi empya eteebeemu bintu bibi ebireetebwa Sitaani.

Mu nsi empya emizingo egijja okubaamu obulagirizi obupya gijja kwanjuluzibwa (Laba akatundu 19, 20)

19, 20. Mizingo ki egijja okwanjuluzibwa, era biki ebinaavaamu?

19 Mu kiseera kya Musa, abantu b’eggwanga lya Isirayiri baali beetaaga obulagirizi obupya era oluvannyuma n’abo abaali mu kibiina Ekikristaayo abaali bagoberera “etteeka lya Kristo” baali beetaaga obulagirizi obupya. Mu ngeri y’emu, Bayibuli ekiraga nti mu nsi empya emizingo egijja okubaamu obulagirizi obupya gijja kwanjuluzibwa. (Soma Okubikkulirwa 20:12.) Kiyinzika okuba nti emizingo egyo gijja kubaamu ebintu Yakuwa by’ajja okwetaagisa abantu okukola mu nsi empya. Abantu bonna, nga mw’otwalidde n’abo abanaazuukizibwa, bwe banaasoma emizingo egyo bajja kutegeera ebyo Katonda by’ayagala bakole. Tewali kubuusabuusa nti emizingo egyo gijja kutuyamba okwongera okutegeera endowooza ya Yakuwa. Olw’okuba abantu abanaabeera mu nsi empya bajja kweyongera okutegeera obulungi Bayibuli era olw’okuba bajja kuyiga n’ebintu ebinaaba mu mizingo emipya, bajja kulagaŋŋana okwagala era buli omu ajja kuba awa munne ekitiibwa. (Is. 26:9) Lowooza ku mulimu gw’okuyigiriza ogujja okukolebwa mu kiseera ekyo nga Kabaka Yesu Kristo afuga!

20 Abo bonna abanaakolera ku ebyo ebinaaba mu “ebyo ebyawandiikibwa mu mizingo,” bajja kufuna obulamu obutaggwaawo. Abo abanaasigala nga beesigwa eri Katonda mu kugezesebwa okusembayo, amannya gaabwe gajja kuwandiikibwa mu “muzingo ogw’obulamu” era tegajja kuggibwamu. Mazima ddala, tusobola okufuna obulamu obutaggwaawo! Singa tussaayo omwoyo ku Kigambo kya Katonda, ne tufuba okutegeera kye kitugamba, era ne tugoberera obulagirizi Katonda bw’atuwa leero, tujja kusobola okuwonawo mu kibonyoobonyo ekinene, tuyingire mu nsi empya mwe tujja okwongera okuyiga ebikwata ku Yakuwa Katonda waffe ow’amagezi era atwagala ennyo.​—Mub. 3:11; Bar. 11:33.