OMUNAALA GW'OMUKUUMI—OGW'OKUSOMA MU KIBIINA Maaki 2018

Magazini eno erimu ebitundu eby’okusoma okuva nga Apuli 30 okutuuka nga Jjuuni 3, 2018.

Omuntu Okufuuka Omukristaayo Aba Alina Okubatizibwa

Bayibuli eyogera ki ku kubatizibwa? Mitendera ki omuntu gy’alina okuyitamu nga tannabatizibwa? Era lwaki omubuulizi alina okukuumira mu birowoozo bye obukulu bw’okubatizibwa bw’aba ng’ayigiriza omwana we oba omuyizi wa Bayibuli omulala?

Abazadde, Muyamba Omwana Wammwe Okukulaakulana Atuuke Okubatizibwa?

Kiki abazadde kye basaanidde okukakasa ng’omwana waabwe tannabatizibwa?

EBIBUUZO EBIVA MU BASOMI

Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

Lwaki Abajulirwa ba Yakuwa bakuba ebifaananyi by’omutume Pawulo ng’alina ekiwalaata oba ng’alina enviiri ntono?

Kikulu Okwoleka Omwoyo ogw’Okusembeza Abalala

Lwaki Ebyawandiikibwa bikubiriza Abakristaayo okusembezeganya? Mikisa ki gye tulina okusembeza abalala? Tuyinza tutya okuvvuunuka ebintu ebiyinza okutulemesa okusembeza abalala?

EBYAFAAYO EBIKWATA KU BULAMU BW'AB'OLUGANDA

Yakuwa Talekangayo Kunnyamba!

Erika Nöhrer Bright aweerezzaako nga payoniya owa bulijjo, payoniya ow’enjawulo, era ng’omuminsani. Ayogera ku ngeri Katonda gy’amuyambyemu era gyamukuumyemu mu myaka gyonna gy’amaze ng’amuweereza.

Okukangavvula​—Bukakafu Obulaga nti Katonda Atwagala

Biki bye tuyigira ku abo Katonda be yakangavvula mu biseera eby’edda? Tuyinza tutya okukoppa Yakuwa nga tukangavvula abalala?

Kolera ku Kukangavvula Obe n’Amagezi

Katonda atuyamba atya okuyiga okwefuga? Tuyinza tutya okuganyulwa mu kukangavvula kwe tuyinza okufuna mu kibiina?