Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abazadde, Muyamba Omwana Wammwe Okukulaakulana Atuuke Okubatizibwa?

Abazadde, Muyamba Omwana Wammwe Okukulaakulana Atuuke Okubatizibwa?

“Lwaki olwa? Yimuka obatizibwe.”​—BIK. 22:16.

ENNYIMBA: 51, 135

1. Kiki abazadde Abakristaayo kye baba baagala okukakasa ng’omwana waabwe tannaba kubatizibwa?

NG’AYOGERA ku kiseera we yasalirawo okubatizibwa, Blossom Brandt yagamba nti: “Okumala emyezi egiwerako nnagambanga taata ne maama nti nnali njagala kubatizibwa, era enfunda eziwerako baayogerako nange ebikwata ku kubatizibwa. Baali baagala ntegeere obukulu bw’ekyo kye nnali njagala okukola. Nga Ddesemba 31, 1934, nnabatizibwa.” Okufaananako bazadde ba Brandt, ne leero abazadde Abakristaayo baagala okuyamba abaana baabwe okusalawo mu ngeri ey’amagezi. Bakimanyi nti omuntu okwongezaayo okubatizibwa ekiteetaagisa kiyinza okumuviirako okufuna obuzibu mu by’omwoyo. (Yak. 4:17) Wadde kiri kityo, baba baagala okukakasa nti ng’omwana waabwe tannabatizibwa, aba mwetegefu okwetikka obuvunaanyizibwa Omukristaayo bw’alina okutuukiriza.

2. (a) Kiki abalabirizi abamu abakyalira ebibiina kye beetegerezza? (b) Biki bye tugenda okulaba mu kitundu kino?

2 Abalabirizi abamu abakyalira ebibiina bakirabye nti mu bibiina ebimu bye bakyalira mulimu abavubuka abaakulira mu maka Amakristaayo abanaatera okuyingira emyaka 20 oba abagiwezezza kyokka nga tebannaba kubatizibwa. Emirundi mingi abavubuka abo babaawo mu nkuŋŋaana era beenyigira mu mulimu gw’okubuulira. Ate era beetwala ng’Abajulirwa ba Yakuwa. Naye olw’ensonga ezitali zimu, balonzalonza okwewaayo eri Yakuwa n’okubatizibwa. Nsonga ki eziyinza okuba nga ze ziviirako ekyo? Emirundi egimu bazadde baabwe be baba babagambye okugira nga balindako okubatizibwa. Mu kitundu kino tugenda kulaba ebintu bina ebireetedde abazadde abamu Abakristaayo obutayamba baana baabwe kutuuka ku ddaala lya kubatizibwa.

OMWANA WANGE MUKULU EKIMALA?

3. Kiki bazadde ba Blossom kye baali beebuuza?

3 Bazadde ba Blossom aboogeddwako mu katundu akasooka, baali beebuuza obanga omwana waabwe yali mukulu ekimala okusobola okumanya obukulu bw’okubatizibwa. Abazadde bayinza batya okumanya obanga omwana waabwe atuuse okusalawo okwewaayo eri Yakuwa?

4. Kiki abazadde kye bayigira ku kiragiro kya Yesu ekiri mu Matayo 28:19, 20 nga bayigiriza abaana baabwe?

4 Soma Matayo 28:19, 20. Nga bwe twalaba mu kitundu ekyayita, Bayibuli tessaawo myaka muntu kw’alina kubatirizibwa. Naye okufumiitiriza ku kye kitegeeza okufuula abantu abayigirizwa kiyinza okuyamba abazadde. Ekigambo ky’Oluyonaani ekyavvuunulwa ‘okufuula abantu abayigirizwa’ mu Matayo 28:19 kitegeeza okuyigiriza abantu nga tulina ekigendererwa eky’okubafuula abayizi, oba abayigirizwa. Omuyigirizwa y’oyo ayiga era n’ategeera enjigiriza za Yesu era n’aba mumalirivu okuzikolerako. N’olwekyo, abazadde Abakristaayo bonna basaanidde okuba n’ekigendererwa eky’okuyigiriza abaana baabwe okuviira ddala mu buwere nga balina ekigendererwa eky’okubayamba okufuuka abayigirizwa ba Yesu ababatize. Kya lwatu nti omwana omuwere tasobola kutuukiriza bisaanyizo bya kubatizibwa. Kyokka, Bayibuli eraga nti n’abaana abato basobola okutegeera era ne basiima amazima agali mu Bayibuli.

5, 6. (a) Ebyo Bayibuli by’eyogera ku Timoseewo bituyamba kumanya ki ku kubatizibwa kwe? (b) Abazadde bayinza batya okuyamba abaana baabwe?

5 Timoseewo yali muyigirizwa eyasalawo okuweereza Yakuwa ng’akyali muto. Omutume Pawulo yagamba nti Timoseewo yayiga amazima agali mu Byawandiikibwa okuviira ddala mu buwere. Wadde nga taata wa Timoseewo teyali Mukristaayo, maama we ne Jjajjaawe abaali Abayudaaya baamuyamba okutegeera amazima ag’omu Byawandiikibwa n’okugaagala. N’ekyavaamu Timoseewo yafuna okukkiriza okw’amaanyi. (2 Tim. 1:5; 3:14, 15) Timoseewo bwe yali ng’anaatera okuweza emyaka 20 oba nga yaakagiweza, yali asobola okuweebwa obuvunaanyizibwa obw’amaanyi mu kibiina.​—Bik. 16:1-3.

6 Kya lwatu nti abaana baawukana era bonna tebakulaakulanira ku sipiidi y’emu. Abamu bakula mangu mu birowoozo ne kiba nti baba basobola okusalawo okubatizibwa nga bakyali bato. Ate abalala bayinza obutaba beetegefu kubatizibwa okutuusa nga beeyongedde okukulamu. N’olwekyo, abazadde tebasaanidde kukaka baana baabwe kubatizibwa. Mu kifo ky’ekyo, bayamba buli mwana okukulaakulana okusinziira ku busobozi bwe. Abazadde basanyuka nnyo okulaba omwana waabwe ng’akolera ku bigambo ebiri mu Engero 27:11. (Soma.) Kyokka tebasaanidde kwerabira kigendererwa kyabwe eky’okuyamba abaana baabwe okufuuka abayigirizwa. Nga balina ekyo mu birowoozo, abazadde bayinza okwebuuza nti, ‘Omwana wange alina okumanya okumala ne kiba nti asobola okwewaayo eri Yakuwa n’okubatizibwa?’

OMWANA WANGE ALINA OKUMANYA OKUMALA?

7. Omuntu ayagala okubatizibwa alina okusooka okumanya buli kimu ekiri mu Bayibuli? Nnyonnyola.

7 Kyo kituufu nti, ng’abasomesa mu maka, abazadde baba baagala abaana baabwe okuba n’okumanya okumala okusobola okwewaayo eri Yakuwa. Wadde kiri kityo, omuntu teyeetaaga kumanya buli kimu okusobola okwewaayo eri Yakuwa n’okubatizibwa. Oluvannyuma lw’okubatizibwa, abayigirizwa bonna baba balina okwongera ku kumanya kwe balina. (Soma Abakkolosaayi 1:9, 10.) Naye kumanya kwenkana wa omuntu kw’alina okuba nakwo nga tannabatizibwa?

8, 9. Kiki kye tuyigira ku ebyo ebikwata ku Pawulo n’omukuumi w’ekkomera?

8 Ebyo bye tusoma ku b’omu maka agamu agaaliwo mu kyasa ekyasooka birina kye biyigiriza abazadde. (Bik. 16:25-33) Bwe yali ku lugendo lwe olw’okubiri olw’obuminsani, awo nga mu mwaka gwa 50 E.E., Pawulo yatuukako mu Firipi. Bwe yali eyo, ye awamu ne Siira baabasibako emisango ne babasiba mu kkomera. Naye ekiro, musisi ow’amaanyi yayita n’aggula enzigi z’ekkomera. Omukuumi w’ekkomera bwe yalowooza nti abasibe baali batolose, yayagala okwetta naye Pawulo n’amukomako. Pawulo ne Siira baabuulira omukuumi w’ekkomera oyo awamu n’ab’omu maka ge. Ebyo omukuumi w’ekkomera n’ab’omu maka ge bye baayiga ebikwata ku Yesu byabakwatako nnyo ne basalawo okubatizibwa mu bwangu. Ekyo kituyigiriza ki?

9 Omukuumi w’ekkomera oyo ayinza okuba nga yali munnamagye eyawummula. Yali tamanyi biri mu Byawandiikibwa. N’olwekyo okusobola okutegeera obulungi Ebyawandiikibwa, yalina okusooka okufuna okumanya okusookerwako okw’omu Byawandiikibwa, okutegeera kye kitegeeza okuba omuweereza wa Katonda, n’okuba omumalirivu okukolera ku njigiriza za Yesu. Mu kiseera kitono, okumanya kwe yali afunye okukwata ku Byawandiikibwa n’okwagala okukukolerako byamuleetera okusalawo okubatizibwa. Tewali kubuusabuusa nti oluvannyuma lw’okubatizibwa omukuumi w’ekkomera oyo yayongera ku kumanya kwe yali afunye. Ng’olowooza ku kyokulabirako ekyo, wandikoze ki singa omwana wo akiraga nti ategeera bulungi enjigiriza za Bayibuli ezisookerwako, nga muno mwe muli n’okutegeera obukulu bw’okwewaayo eri Yakuwa n’okubatizibwa? Oyinza okumugamba okutuukirira abakadde mu kibiina balabe obanga atuukiriza ebisaanyizo eby’okubatizibwa. * Okufaananako abayigirizwa abalala bonna abaabatizibwa, n’omwana wo oluvannyuma lw’okubatizibwa ajja kweyongera okumanya ebikwata ku kigendererwa kya Yakuwa obulamu bwe bwonna n’emirembe gyonna.​—Bar. 11:33, 34.

OBUYIGIRIZE OMWANA WANGE BW’AFUNA BUNAAMUYAMBA OKUTUUKA KU BUWANGUZI OBWA NNAMADDLA?

10, 11. (a) Kiki abazadde abamu kye balowooza? (b) Kiki omuzadde ky’asaanidde okukulembeza?

10 Abazadde abamu balowooza nti kiba kirungi mutabani waabwe oba muwala waabwe okugira ng’alindako okubatizibwa okutuusa ng’amaze okusoma era ng’afunye omulimu. Abazadde bayinza okuba nga tebalina biruubirirwa bikyamu, naye ekyo kinaayamba omwana waabwe okuba n’obulamu obusingayo obulungi? N’ekisinga obukulu, endowooza eyo ekwatagana n’Ebyawandiikibwa? Ekigambo kya Katonda kituwa magezi ki ku nsonga eno?​—Soma Omubuulizi 12:1.

11 Tusaanidde bulijjo okukijjukira nti ensi eno n’ebintu ebigirimu bikontana n’ebyo Yakuwa by’ayagala awamu n’endowooza ye. (Yak. 4:7, 8; 1 Yok. 2:15-17; 5:19) Omwana bw’afuna enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa kimuyamba okuziyiza Sitaani, ensi ye, n’endowooza z’ensi. Singa omuzadde ateeka essira ku kukubiriza omwana we okufuna obuyigirize obw’ensi oba okufuna omulimu ogusasula ssente ennyingi kiyinza okubuzaabuza omwana n’alowooza nti ebintu ebiri mu nsi bikulu okusinga enkolagana ye ne Yakuwa. Ddala omuzadde Omukristaayo ayagala omwana we yandyagadde omwana we okutambuliza obulamu bwe ku ndowooza z’ensi? Ekituufu kiri nti, omuntu okusobola okufuna essanyu erya nnamaddala n’okuba n’obulamu obusingayo obulungi aba alina okukulembeza Yakuwa mu bulamu bwe.​—Soma Zabbuli 1:2, 3.

WATYA SINGA OMWANA WANGE AKOLA EKIBI EKY’AMAANYI?

12. Lwaki abazadde abamu bakubiriza abaana baabwe okugira nga balindako okubatizibwa?

12 Ng’ayogera ku nsonga lwaki yali tayagala mwana we kubatizibwa, maama omu Omukristaayo yagamba nti: “Kinkwasa n’ensonyi okukyogera nti, nnali saagala mwana wange abatizibwe olw’okuba nnali ndowooza nti ekiseera kyandituuse n’agobebwa mu kibiina.” Okufaananako mwannyinaffe oyo, abazadde abamu balowooza nti kiba kirungi omwana waabwe okugira ng’alindako okubatizibwa okutuusa ng’ayise mu myaka abaana mwe batera okweyisiza mu ngeri etali ya magezi. (Lub. 8:21; Nge. 22:15) Omuzadde ayinza okugamba nti, ‘Omwana wange bw’aba si mubatize, tayinza kugobebwa mu kibiina.’ Lwaki endowooza eyo nkyamu?​—Yak. 1:22.

13. Omuntu okulwawo okubatizibwa kimuleetera okuba nga tavunaanyizibwa eri Yakuwa? Nnyonnyola.

13 Kya lwatu nti abazadde Abakristaayo tebandyagadde mwana waabwe kubatizibwa nga tannakula kimala okusobola okwewaayo eri Yakuwa. Kyokka tekiba kituufu okulowooza nti omwana bw’aba tannabatizibwa, tavunaanyizibwa eri Yakuwa. Lwaki kiri kityo? Kiri kityo kubanga okubatizibwa oba obutabatizibwa Yakuwa si ky’asinziirako okuvunaana omuntu olw’ebyo by’aba akola. Kasita omwana amanya ekituufu n’ekikyamu mu maaso ga Yakuwa, aba avunaanyizibwa eri Yakuwa. (Soma Yakobo 4:17.) N’olwekyo, mu kifo ky’okulemesa omwana waabwe okubatizibwa, abazadde bafuba okumuteerawo ekyokulabirako ekirungi. Bafuba okuyamba omwana waabwe okuviira ddala mu buwere okutegeera n’okwagala emitindo gya Yakuwa egy’empisa. (Luk. 6:40) Obwo buba bukuumi bwa maanyi nnyo eri omwana kubanga kimuyamba okunywerera mu makubo ga Yakuwa ag’obutuukirivu.​—Is. 35:8.

ABALALA BASOBOLA OKUYAMBA

14. Abakadde bayinza batya okuyambako abazadde abafuba okuyamba abaana baabwe okutuuka ku ddaala ery’okubatizibwa?

14 Abakadde mu kibiina basobola okuyambako abazadde nga boogera bulungi ku biruubirirwa eby’omwoyo abaana bye basobola okweteerawo. Mwannyinaffe omu eyaweereza nga payoniya okumala emyaka egisukka mu 70, yagamba nti ebigambo Ow’oluganda Charles T. Russell bye yayogera ng’anyumyako naye byamukwatako nnyo, wadde nga yalina emyaka mukaaga gyokka. Yagamba nti, “Russell yamala eddakiika 15 ng’ayogera nange ku biruubirirwa eby’omwoyo bye nnali nsobola okweteerawo.” Mu butuufu ebigambo ebirungi era ebizzaamu amaanyi, bisobola okukwata ku muntu obulamu bwe bwonna. (Nge. 25:11) Abakadde era basobola okuyamba abazadde n’abaana baabwe okwenyigira mu mirimu egikolebwa ku Kizimbe ky’Obwakabaka. Basobola okuwa abaana emirimu okusinziira ku myaka gyabwe n’obusobozi bwabwe.

15. Biki abalala mu kibiina bye basobola okukola okuzzaamu abaana amaanyi?

15 N’abalala mu kibiina, basobola okuyamba ku bazadde nga bafaayo ku baana abali mu kibiina. Basaanidde okufaayo ku bubonero obulaga nti omwana akula mu by’omwoyo. Waliwo omuvubuka mu kibiina kyo alina ekintu kye yazzeemu mu nkuŋŋaana okuviira ddala ku mutima oba eyabadde n’ekitundu mu lukuŋŋaana olubaawo wakati mu wiiki? Waliwo omuvubuka eyasobola okuziyiza ekikemo oba eyakozesa akakisa ke yafuna okuwa obujulirwa ku ssomero? Bwe kiba kityo tolonzalonza kumwebaza. Ate era lwaki tofuba okwogerako waakiri n’omwana omu buli luvannyuma lw’enkuŋŋaana, oba nga tezinnatandika? Bwe tukola bwe tutyo, tuyinza okuyamba abaana okukiraba nti ba mugaso nnyo mu “kibiina.”​—Zab. 35:18.

YAMBA OMWANA WO OKUTUUKA KU DDAALA ERY’OKUBATIZIBWA

16, 17. (a) Okubatizibwa kukwata kutya ku biseera by’omuntu eby’omu maaso? (b) Abazadde Abakristaayo bayinza batya okufuna essanyu? (Laba ekifaananyi ku lupapula 8.)

16 Okukuliza omwana “mu kukangavvula ne mu kubuulirira kwa Yakuwa” nkizo ya maanyi omuzadde Omukristaayo gy’ayinza okufuna. (Bef. 6:4; Zab. 127:3) Obutafaananako baana abaali mu ggwanga lya Isirayiri ey’edda, abaana b’Abakristaayo tebazaalibwa mu ggwanga eryamala edda okwewaayo eri Yakuwa. Ate era okwagala Katonda n’okwagala amazima tebisikirwa busikirwa. Okuviira ddala omwana lw’azaalibwa, abazadde baba balina okufuba okumuyamba okufuuka omuyigirizwa, kwe kugamba, okufuuka omuweereza wa Yakuwa omubatize. Eyo nkizo ya maanyi nnyo, kubanga omuntu bwe yeewaayo eri Yakuwa, n’abatizibwa, era n’aweereza Yakuwa n’obwesigwa, ajja kusobola okuteekebwako akabonero mu kiseera ky’ekibonyoobonyo ekinene asobole okuwonawo.​—Mat. 24:13.

Abazadde basaanidde okuyamba omwana waabwe okufuuka omuyigirizwa (Laba akatundu 16, 17)

17 Blossom Brandt bwe yasalawo okubatizibwa, bazadde be abaali batya Yakuwa, baayagala okusooka okukakasa nti ddala muwala waabwe yali atuuse okusalawo ekintu ekyali kisingayo obukulu mu bulamu bwe. Bwe baakakasa nti ddala muwala waabwe yali atuuse okubatizibwa, baawagira ekyo kye yali asazeewo. Ekiro, ng’enkeera agenda kubatizibwa, taata we yakola ekintu ekirungi ennyo. Blossom yagamba nti: “Yatugamba ffenna tufukamire wansi, era n’atukulembera mu ssaala. Taata yagamba Yakuwa nti yali musanyufu nnyo olwa muwala we okusalawo okwewaayo eri Yakuwa.” Nga wayise emyaka 60, Blossom yagamba nti: “Sisobola kwerabira ekyo taata kye yakola ekiro ekyo!” Abazadde bwe mufuba okuyamba abaana bammwe okufuuka abaweereza ba Yakuwa ababatize, mujja kufuna essanyu lingi.

^ lup. 9 Abazadde basobola okukubaganya ebirowoozo n’omwana waabwe ku ebyo ebiri mu katabo Questions Young People Ask, Omuzingo 2, lup. 304-310. Laba ne “Akasanduuko k’Ebibuuzo” mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka, aka Apuli 2011, lup. 2.