Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Kolera ku Kukangavvula Obe n’Amagezi

Kolera ku Kukangavvula Obe n’Amagezi

“Baana bange, . . . muwulirize bye mbayigiriza mubenga n’amagezi.”​—NGE. 8:32, 33.

ENNYIMBA: 56, 89

1. Tuyinza tutya okufuna amagezi, era miganyulo ki egivaamu?

YAKUWA ye nsibuko y’amagezi era amagezi ago agagabirako abalala. Yakobo 1:5 wagamba nti: “Bwe wabaawo omuntu yenna mu mmwe eyeetaaga amagezi, asabenga Katonda, kubanga agabira bonna nga talina gw’akambuwalira.” Engeri emu gye tufuna amagezi okuva eri Katonda kwe kukkiriza okukangavvula okuva gy’ali. Amagezi ago gasobola okutukuuma ne tutoonoonebwa mu mpisa ne mu by’omwoyo. (Nge. 2:10-12) N’ekivaamu, ‘twekuumira mu kwagala kwa Katonda,’ bwe tutyo ne tuba n’essuubi ery’okufuna obulamu obutaggwaawo.​—Yud. 21.

2. Kiki ekiyinza okutuyamba okusiima okukangavvula okuva eri Katonda?

2 Kyokka obutali butuukirivu bwaffe, engeri gye twakuzibwamu, n’ebintu ebirala biyinza okukifuula ekizibu gye tuli okukkiriza okukangavvula oba okukutunuulira mu ngeri entuufu. Naye bwe tulaba ebirungi ebiva mu kukangavvula kituyamba okukusiima n’okukiraba nti okukangavvula kwoleka okwagala Yakuwa kw’alina gye tuli. Engero 3:11, 12 wagamba nti: “Mwana wange, togaananga kukangavvula kwa Yakuwa, . . . kubanga abo Yakuwa b’ayagala abanenya.” Bulijjo tusaanidde okukijjukiranga nti Yakuwa atwagaliza ekyo ekisingayo obulungi. (Soma Abebbulaniya 12:5-11.) Olw’okuba Katonda atumanyi bulungi, okukangavvula kwonna kw’atuwa kuba kusaana era kuba ku kigero ekituufu. Mu kitundu kino tugenda kulaba ebintu bina ebikwata ku kukangavvula: (1) okwekangavvula, (2) okukangavvula okuva eri abazadde, (3) okukangavvula okuva eri ekibiina, ne (4) ekintu ekireeta obulumi obusinga obwo bwe tufuna nga tukangavvuddwa.

OKWEKANGAVVULA KYOLEKA AMAGEZI

3. Omwana ayiga atya okwefuga? Waayo ekyokulabirako.

3 Okwekangavvula kuzingiramu okwefuga. Okwefuga kutusobozesa okulongoosa mu ngeri gye tweyisaamu ne mu ngeri gye tulowoozaamu. Tetuzaalibwa nga tumanyi okwefuga. Tulina okuyiga okwefuga. Ng’ekyokulabirako: Omwana bw’aba ayiga okuvuga eggaali, muzadde we akwatirira eggaali ereme kumukuba. Naye omwana bw’agenda ayiga okwetengerera, omuzadde ayinza okugenda ng’eggaali agitaamu katono. Naye omwana bw’ayiga okwetengerera, omuzadde ateera ddala eggaali. Mu ngeri y’emu, abazadde bwe banyiikirira okutendeka abaana baabwe “mu kukangavvula ne mu kubuulirira kwa Yakuwa,” baba babayamba okuyiga okwefuga n’okuba ab’amagezi.​—Bef. 6:4.

4, 5. (a) Bwe tuba ab’okwambala “omuntu omuggya,” lwaki tulina okwefuga? (b) Lwaki tetusaanidde kuggwaamu maanyi nga tukoze ensobi?

4 Bwe kityo bwe kiba n’eri abo abayiga ebikwata ku Yakuwa nga bakulu. Kyo kituufu nti abantu abo bayinza okuba nga beefuga ku kigero ekitonotono. Naye omuntu bw’aba yaakatandika okuyiga ebikwata ku Yakuwa, aba muto mu by’omwoyo. Kyokka asobola okugenda ng’akula mu by’omwoyo, kwe kugamba ng’ayambala “omuntu omuggya.” (Bef. 4:23, 24) Bwe tuba ab’okukula mu by’omwoyo tuba tulina okuyiga okwefuga. Ekyo kituyamba okuyiga “okwewala obutatya Katonda n’okwegomba okw’omu nsi, era n’okubeeranga n’endowooza ennuŋŋamu, n’obutuukirivu, n’okwemalira ku Katonda mu nteekateeka y’ebintu eno.”​—Tit. 2:12.

5 Kyokka ffenna twonoona. (Mub. 7:20) Naye omuntu bw’akola ensobi, kiba tekitegeeza nti alemereddwa, tasobola kwefuga. Engero 24:16 wagamba nti: “Omutuukirivu ayinza okugwa emirundi musanvu, naye addamu n’ayimuka.” Kiki ekisobola okuyamba omuntu okuyimuka? Ekyo omuntu aba tasobola kukikola mu maanyi ge wabula aba yeetaaga omwoyo gwa Katonda. (Soma Abafiripi 4:13.) Okwefuga kye kimu ku ebyo ebiri mu kibala ky’omwoyo omutukuvu, ate nga kulina akakwate n’okwekangavvula.

6. Kiki ekiyinza okutuyamba okwagala okusoma Ekigambo kya Katonda? (Laba ekifaananyi ku lupapula 28.)

6 Ekintu ekirala ekisobola okutuyamba okuyiga okwefuga kwe kusaba, okusoma Bayibuli, n’okufumiitiriza. Naye watya singa ozibuwalirwa okusoma Ekigambo kya Katonda? Oboolyawo oyinza okuba nga tonyumirwa kusoma. Naye bw’okkiriza Katonda okukuyamba, ajja kukuyamba. Asobola okukuyamba n’oba ng’oyagala nnyo okusoma Ekigambo kye. (1 Peet. 2:2) Okusookera ddala, saba Yakuwa akuyambe okwefuga osobole okusoma Ekigambo kye. Kolera ku ssaala yo, oboolyawo ng’osoma okumala eddakiika ntono. Ekiseera bwe kigenda kiyitawo, okusoma kujja kuba kukwanguyira era nga kukunyumira! Era ojja kwagala nnyo okufunangayo akadde okufumiitiriza ku Kigambo kya Katonda.​—1 Tim. 4:15.

7. Okwefuga kuyinza kutya okutuyamba okutuuka ku biruubirirwa byaffe eby’omwoyo?

7 Okwefuga era kutuyamba okutuuka ku biruubirirwa eby’omwoyo. Lowooza ku mutwe gw’amaka omu eyawulira nga takyali munyiikivu mu by’omwoyo. Ekyo bwe yakiraba, yeeteerawo ekiruubirirwa eky’okufuuka payoniya owa bulijjo era n’asoma ebitundu mu magazini zaffe ebyogera ku buweereza obwo. Okusoma okwo awamu n’okusaba byamuyamba okwongera okunywera mu by’omwoyo. Yakola enteekateeka okuweereza nga payoniya omuwagizi buli lwe yabanga asobodde. Biki ebyavaamu? Wadde nga waaliwo okusoomooza kungi, yakuumira ebirowoozo bye ku kiruubirirwa eky’okufuuka payoniya owa bulijjo era oluvannyuma lw’ekiseera yatuuka ku kiruubirirwa ekyo.

MUKULIZE ABAANA MU KUKANGAVVULA KWA YAKUWA

Abaana tebazaalibwa nga bamanyi ekituufu n’ekikyamu, baba beetaaga okutendekebwa (Laba akatundu 8)

8-10. Kiki ekisobola okuyamba abazadde okukuza abaana baabwe ne bafuuka abaweereza ba Yakuwa? Waayo ekyokulabirako.

8 Abazadde Abakristaayo balina enkizo ey’ekitalo ey’okukuliza abaana baabwe “mu kukangavvula ne mu kubuulirira kwa Yakuwa.” (Bef. 6:4) Omulimu ogwo si mwangu nnaddala mu nsi ya leero. (2 Tim. 3:1-5) Kya lwatu nti abaana tebazaalibwa nga bamanyi ekituufu n’ekikyamu. Bazaalibwa nga balina omuntu ow’omunda, naye aba yeetaaga okutendekebwa oba okukangavvulwa. (Bar. 2:14, 15) Ekitabo ekimu kigamba nti ekigambo ky’Oluyonaani ekyavvuunulwa “okukangavvula” era kisobola okuvvuunulwa nga “okukula kw’omwana” oba okuyamba omwana okukula nga wa buvunaanyizibwa.

9 Abaana abakangavvulwa mu kwagala bawulira nga balina obukuumi. Bayiga nti eddembe lye balina liriko ekkomo era nti ebyo omuntu by’asalawo n’engeri gye yeeyisaamu bivaamu ebirungi oba ebibi. N’olwekyo, nga kikulu nnyo abazadde Abakristaayo okukolera ku bulagirizi bwa Yakuwa. Ate era kikulu okukijjukira nti engeri abaana gye bakuzibwamu ekyuka okusinziira ku buwangwa oba omulembe. Abazadde bwe bawuliriza Katonda, bamanya bulungi eky’okukola okusobola okukuza obulungi abaana baabwe. Tebateebereza buteebereza kya kukola oba okwesigama ku ebyo bye baayitamu oba ku ndowooza z’abantu.

10 Ng’ekyokulabirako, lowooza ku Nuuwa. Yakuwa bwe yamugamba okuzimba eryato, Nuuwa yali tasobola kwesigama ku ebyo bye yayitamu kubanga yali tazimbangako ku lyato. Yalina okukolera ku bulagirizi bwa Yakuwa, era ‘bw’atyo bwe yakolera ddala.’ (Lub. 6:22) Biki ebyavaamu? Nuuwa yatuukiriza omulimu Yakuwa gwe yamuwa. Era okwesiga Yakuwa kwasobozesa Nuuwa okukuza obulungi abaana be. Yayigiriza bulungi abaana be era yabateerawo ekyokulabirako ekirungi, ekintu ekitaali kyangu mu kiseera ekyo ng’Amataba tegannajja.​—Lub. 6:5.

11. Lwaki kikulu abazadde okufuba okutendeka abaana baabwe?

11 Abazadde, muyinza mutya ‘okukolera ddala’ ekyo Yakuwa ky’ayagala mukole? Muwulirize Yakuwa. Yakuwa k’abayambe okumanya engeri y’okukuzaamu abaana bammwe okuyitira mu kigambo kye Bayibuli n’obulagirizi bw’atuwa okuyitira mu kibiina kye. Abaana bammwe bwe balikula, bajja kubeebaza olw’okubakuliza mu makubo ga Yakuwa. Ow’oluganda omu yagamba nti: “Nsiima nnyo bazadde bange olw’engeri gye bankuzaamu. Baakola kyonna ekisoboka okuntuuka ku mutima. Bannyamba nnyo okukula mu by’omwoyo.” Kyokka abaana abamu bava ku Yakuwa wadde nga bazadde baabwe baafuba nnyo okubayigiriza amakubo ga Yakuwa. Naye omuzadde aba yafuba okuyigiriza omwana we amazima aba n’omuntu ow’omunda omuyonjo, era aba n’essuubi nti oboolyawo lumu omwana we alikomawo eri Yakuwa.

12, 13. (a) Omwana bw’agobebwa mu kibiina, bazadde be bayinza batya okukiraga nti bagondera Katonda? (b) Amaka agamu gaaganyulwa gatya abazadde bwe baagondera Yakuwa?

12 Ekimu ku bintu ebisinga okugezesa okukkiriza kw’abazadde kwe kugobebwa kw’omwana waabwe mu kibiina. Lowooza ku maama omu eyalina muwala we eyagobebwa mu kibiina n’ava awaka. Maama oyo yagamba nti: “Nnanoonyanga obusongasonga mu bitabo byaffe bwe nnali nnyinza okwekwasa okusobola okubeerako awamu ne muwala wange ne muzzukulu wange. Naye omwami wange yannyamba okukiraba nti omwana waffe oyo yali takyali mu mikono gyaffe era nti twali tetulina kukolagana naye.”

13 Nga wayise emyaka, muwala waabwe yakomezebwawo mu kibiina. Maama we yagamba nti: “Kati muwala waffe ankubira essimu oba ansindikira mesegi kumpi buli lunaku. Era atussaamu ekitiibwa kubanga akimanyi nti twagondera Katonda. Kati tulina enkolagana ennungi naye.” Bw’oba ng’olina omwana eyagobebwa mu kibiina, ‘oneesiga Yakuwa n’omutima gwo gwonna, era oneewala okwesigama ku kutegeera kwo’? (Nge. 3:5, 6) Kijjukire nti okukangavvula Yakuwa kw’atuwa kwoleka amagezi ge n’okwagala kw’alina gye tuli. Yakuwa yawaayo Omwana we ku lw’abantu bonna nga mw’otwalidde n’omwana wo. Katonda tayagala muntu yenna kuzikirizibwa. (Soma 2 Peetero 3:9.) N’olwekyo, weesige okukangavvula n’obulagirizi Yakuwa by’atuwa. Abazadde mukolere ku bulagirizi bwa Yakuwa ne bwe kiba nga kibaleetera obulumi ku mutima. Temugezaako kubusambajja.

MU KIBIINA

14. Obulagirizi Yakuwa bw’atuwa okuyitira mu ‘muwanika omwesigwa’ butuganyula butya?

14 Yakuwa yasuubiza okulabirira ekibiina Ekikristaayo, okukikuuma, n’okukiwa obulagirizi. Ekyo akikola mu ngeri nnyingi. Ng’ekyokulabirako, yakwasa Omwana we ekibiina, era Omwana we n’alonda “omuwanika omwesigwa” okutuwa emmere ey’eby’omwoyo mu kiseera kyayo. (Luk. 12:42) Emmere eyo tugifuna mu ngeri nnyingi era okuyitira mu yo tufuna obulagirizi oba okukangavvula kwe twetaaga. Weebuuze, ‘Mirundi emeka emboozi oba ekitundu ekiba kifulumidde mu bitabo byaffe gye binnyambye okukola enkyukakyuka ezeetaagisa mu ndowooza yange ne mu nneeyisa yange?’ Bw’oba nga wakola enkyukakyuka ezo, oli musanyufu! Ekyo kiraga nti okkiriza Yakuwa okukubumba oba okukukangavvula, era ekyo kikuganyula.​—Nge. 2:1-5.

15, 16. (a) Tuyinza tutya okuganyulwa mu ‘birabo mu bantu’ ebiri mu kibiina? (b) Tuyinza tutya okukifuula ekyangu eri abakadde okukola omulimu gwabwe?

15 Kristo era yawa ekibiina ‘ebirabo mu bantu,’ nga bano be bakadde abalabirira ekisibo kya Katonda. (Bef. 4:8, 11-13) Tuyinza tutya okuganyulwa mu birabo ebyo? Engeri emu gye tuyinza okubiganyulwamu kwe kukoppa okukkiriza kw’abakadde n’ekyokulabirako ekirungi kye bassaawo. Engeri endala, kwe kukolera ku bulagirizi obuli mu Byawandiikibwa bwe batuwa. (Soma Abebbulaniya 13:7, 17.) Kijjukire nti abakadde batwagala nnyo era baagala tukule mu by’omwoyo. Ng’ekyokulabirako, bwe bakiraba nti tutandise okwosa enkuŋŋaana oba nti tetukyali banyiikivu nga bwe twali edda, banguwa okutuyamba. Batuwuliriza era ne bafuba okutuzzaamu amaanyi nga bakozesa Ebyawandiikibwa ebituukirawo. Okiraba nti obuyambi bw’ofuna okuyitira mu bakadde bwoleka okwagala Yakuwa kw’alina gy’oli?

16 Kijjukire nti oluusi abakadde tekibanguyira kututuukirira kutuwabula. Ng’ekyokulabirako, nga kiteekwa okuba nga tekyayanguyira nnabbi Nasani kutuukirira Dawudi eyali agezaako okukweka ekibi eky’amaanyi kye yali akoze. (2 Sam. 12:1-14) Ate era n’omutume Pawulo kyali kimwetaagisa okuba omuvumu okusobola okuwabula Peetero, omu ku batume 12, bwe yasosola ab’oluganda abataali Bayudaaya. (Bag. 2:11-14) Oyinza otya okukifuula ekyangu eri abakadde okukuwabula? Beera mwetoowaze, beera muntu atuukirikika, era beebaze. Okuwabula kwe bakuwa kutwale nti kwoleka okwagala Katonda kw’alina gy’oli. Ekyo kijja kukuganyula era kijja kukuleetera essanyu lingi.

17. Mwannyinaffe omu yaganyulwa atya mu buyambi bw’abakadde mu kibiina?

17 Mwannyinaffe omu yagamba nti ebintu bye yali ayiseemu emabega byakifuula kizibu gy’ali okwagala Yakuwa era ekyo kyamuleetera okwennyamira. Yagamba nti: “Nnakiraba nti nnalina okwogerako n’abakadde. Tebankambuwalira wadde okunnenya, wabula banzizaamu amaanyi. Ne bwe baabanga n’eby’okukola ebingi, waakiri omu ku bo yayogerangako nange buli luvannyuma lw’enkuŋŋaana. Ebintu bye nnali mpiseemu emabega byandeetera okuwulira nti Katonda tasobola kunjagala. Naye enfunda nnyingi Yakuwa akozesezza ekibiina n’abakadde okunkakasa nti anjagala. Njagala nsigale nga ndi mwesigwa gy’ali.”

EKINTU EKIREETA OBULUMI OBUSINGA OBWO OMUNTU BW’AFUNA NG’AKANGAVVUDDWA

18, 19. Kintu ki ekireeta obulumi obusinga obwo obuva mu kukangavvulwa? Waayo ekyokulabirako.

18 Wadde ng’okukangavvulwa kuyinza okuleetera omuntu obulumi, waliwo ekintu ekireeta obulumi obusingira ewala obwo obuleetebwa okukangavvulwa, nga kuno kwe kugaana okukolera ku kukangavvula. (Beb. 12:11) Lowooza ku Kayini ne Kabaka Zeddeekiya. Kayini bwe yakyawa Abbeeri muganda we, Katonda yagamba Kayini nti: “Lwaki osunguwadde nnyo, era lwaki oli mwennyamivu? Bw’onookyusa n’okola ebirungi toddemu n’osiimibwa? Naye bw’otookyuse kukola birungi, ekibi kibwamye ku luggi, era ojja kufugibwa okwegomba kwakyo; naye onoosobola okukiwangula?” (Lub. 4:6, 7) Kayini teyawuliriza Katonda era yakola ekibi. Nga Kayini yeereetako obulumi bwa maanyi! (Lub. 4:11, 12) Obulumi bwe yandifunye mu kukolera ku ekyo Yakuwa kye yamugamba bwandibadde butono nnyo bw’obugeraageranya ku obwo bwe yafuna ng’akoze ekibi.

19 Kabaka omubi, Zeddeekiya yafugira mu kiseera ekyali ekizibu ennyo mu Yerusaalemi. Nnabbi Yeremiya yamukubiriza enfunda n’enfunda okuleka amakubo ge amabi naye Zeddeekiya n’agaana okuwuliriza, era ebyavaamu byali bibi nnyo. (Yer. 52:8-11) Yakuwa bw’atukangavvula, aba atutaasa tuleme kufuna bulumi obwo obw’amaanyi!​—Soma Isaaya 48:17, 18.

20. Abo abakkiriza okukangavvula okuva eri Yakuwa banaafuna ki, era kiki ekinaatuuka ku abo abanyoomoola okukangavvula okwo?

20 Mu nsi ya leero, abantu bangi banyoomoola okukangavvula okuva eri Katonda era tebakukolerako. Naye mu kiseera ekitali kya wala, abo bonna abanyoomoola okukangavvula okuva eri Yakuwa bagenda kwejjusa. (Nge. 1:24-31) N’olwekyo, ka bulijjo tukolere ku ebyo Yakuwa by’atugamba. Engero 4:13 wagamba nti: “Nywerera ku ebyo ebikuyigiriziddwa; tobivangako. Bikuumenga, kubanga bwe bulamu bwo.”