Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Kikulu Okwoleka Omwoyo ogw’Okusembeza Abalala

Kikulu Okwoleka Omwoyo ogw’Okusembeza Abalala

“Musembezeganyenga awatali kwemulugunya.”​—1 PEET. 4:9.

ENNYIMBA: 100, 87

1. Mbeera ki enzibu Abakristaayo abaaliwo mu kyasa ekyasooka gye baayolekagana nayo?

AWO nga wakati w’omwaka gwa 62 E.E. ne 64 E.E., omutume Peetero yawandiikira “abatuuze ab’akaseera obuseera abaasaasaanira mu Ponto, Ggalatiya, Kapadokiya, Asiya, ne Bisuniya” ebbaluwa. (1 Peet. 1:1) Ebibiina ebyo ebyali mu Asiya Omutono ebyalimu ab’oluganda ab’amawanga ag’enjawulo, byali byetaaga okuzzibwamu amaanyi n’okuweebwa obulagirizi. Ab’oluganda mu bibiina ebyo baali bayigganyizibwa era nga boogerwako bubi. Baali boolekagana ‘n’okugezesebwa okulinga omuliro.’ Era baaliwo mu kiseera ekizibu ennyo. Peetero yawandiika nti: “Enkomerero ya byonna esembedde.” Enkomerero y’enteekateeka y’Ekiyudaaya yali egenda kubaawo mu myaka egyali gitawera na kkumi. Kiki ekyandiyambye Abakristaayo yonna gye baali okuyita mu kiseera ekyo ekizibu?​—1 Peet. 4:4, 7, 12.

2, 3. Lwaki Peetero yakubiriza Bakristaayo banne okusembezeganyanga? (Laba ekifaananyi waggulu.)

2 Peetero yagamba bakkiriza banne abo nti: “Musembezeganyenga.” (1 Peet. 4:9) Ekigambo ky’Oluyonaani ekyavvuunulwa “okusembeza” obutereevu kitegeeza “okwagala, oba okulaga abantu b’otomanyi ekisa.” Kyokka weetegereze nti Peetero yakubiriza Bakristaayo banne ‘okusembezeganyanga,’ kwe kugamba, okusembezanga abo be baali bamanyi era be baali baweerereza awamu nabo. Okusembezeganya kwandibayambye kutya?

3 Okusembezeganyanga kyandibayambye okwongera okunyweza enkolagana yaabwe. Lowooza ku kino. Ojjukira essanyu lye wafuna ng’omuntu akuyise okumukyalirako? Buli lw’ojjukira ekiseera ekyo tekikuleetera ssanyu? Bwe wakyaza omuntu ali mu kibiina kyo, omukwano gwammwe tegweyongera okunywera? Bwe tusembeza bakkiriza bannaffe, kituyamba okwongera okubamanya obulungi. Abakristaayo abaaliwo mu kiseera kya Peetero baali beetaaga okwongera okunyweza enkolagana yaabwe ng’embeera mu nsi yeeyongera okwonooneka. Bwe kityo bwe kiri n’eri Abakristaayo abaliwo mu nnaku zino “ez’enkomerero.”​—2 Tim. 3:1.

4. Bibuuzo ki ebigenda okuddibwamu mu kitundu kino?

4 Mikisa ki gye tuyinza okukozesa okusembeza abalala? Tuyinza tutya okuvvuunuka ebintu ebiyinza okutulemesa okusembeza abalala? Tuyinza tutya okuba abagenyi abalungi ng’abalala batusembezza?

EMIKISA GYE TUYINZA OKUKOZESA OKUSEMBEZA ABALALA

5. Tuyinza tutya okwoleka omwoyo ogw’okusembeza abagenyi mu nkuŋŋaana zaffe?

5 Mu nkuŋŋaana zaffe: Twaniriza bonna ababa bazze mu nkuŋŋaana; tubaaniriza nga bagenyi bannaffe ku kijjulo eky’eby’omwoyo. Yakuwa ne Yesu be baba batusembezza. (Bar. 15:7) Abapya bwe bajja mu nkuŋŋaana, tukolera wamu ne Yakuwa awamu n’ekibiina kye okubasembeza. Tusaanidde okufaayo ku bapya ababa bazze, ka babe nga bambadde batya oba nga beekozeeko batya. (Yak. 2:1-4) Bw’olaba nga waliwo omupya ali yekka, osobola okumuyita n’atuula naawe? Kiyinza okumusanyusa bw’omuyamba okugoberera ebyogerwa n’okubikkula Bayibuli. Bw’okola bw’otyo, oba oyolese omwoyo ‘ogw’okusembeza abagenyi.”​—Bar. 12:13.

6. Okusingira ddala baani be tusaanidde okusembeza mu maka gaffe?

6 Okuyita abalala okuliirako awamu naffe: Mu biseera by’edda, okusembeza abalala kyatwalirangamu omuntu okukyaza abalala mu maka ge n’abawa emmere. (Lub. 18:1-8; Balam. 13:15; Luk. 24:28-30) Omuntu bwe yayitanga abalala okuliirako awamu naye emmere, kaalinga kabonero akalaga nti yali abatwala nga mikwano gye era nti yali abaagaliza mirembe. Okusingira ddala baani be tusaanidde okusembeza? Baganda baffe ne bannyinaffe abali mu kibiina kyaffe. Ng’embeera y’ensi eno egenda yeeyongera okwonooneka, twetaaga nnyo bakkiriza bannaffe. Twetaaga okuba n’omukwano ogw’oku lusegere n’ab’oluganda bonna n’okuba mu mirembe nabo. Mu 2011 Akakiiko Akafuzi kaakyusa essaawa Ababeseri b’omu Amerika kwe batandikira olukuŋŋaana lw’okusoma Omunaala gw’Omukuumi. Edda baali batandika ku ssaawa 12:45 z’akawungeezi, naye kati batandika ku ssaawa 12:15 ez’akawungeezi. Lwaki? Ekirango kyalaga nti olukuŋŋaana olwo okuggwa amanguko, kyandisobozesezza Ababeseri abawerako okusembeza abalala oba okukkiriza okusembezebwa. Ne ofiisi z’amatabi endala nazo zaakyusa mu budde Olukuŋŋaana lw’okusoma Omunaala gw’Omukuumi kwe lutandikira. Enteekateeka eyo ereetedde Ababeseri okwongera okunyweza enkolagana yaabwe.

7, 8. Tuyinza tutya okusembeza ab’oluganda ababa bakyalidde ekibiina kyaffe?

7 Tusobola okusembeza ow’oluganda okuva mu kibiina ekirala aba azze okuwa emboozi mu kibiina kyaffe, oba omulabirizi akyalira ebibiina, oba ow’oluganda aba akiikiridde ettabi aba akyadde. (Soma 3 Yokaana 5-8.) Engeri emu gye tuyinza okusembezaamu ab’oluganda abo kwe kubaako eky’okulya kye tubawa oba okubayita ku kijjulo. Oyinza okukozesa akakisa ako?

8 Mwannyinaffe omu mu Amerika agamba nti: “Okumala emyaka mingi nze n’omwami wange tubaddenga tukyaza ab’oluganda ababa bazze okutuwa emboozi awamu ne bakyala baabwe. Buli lwe tukyaza ab’oluganda abo, tusanyuka nnyo era tuzzibwamu nnyo amaanyi mu by’omwoyo. Tetwejjusangako kubasembeza.”

9, 10. (a) Baani abayinza okwetaaga okusembezebwa okumala ekiseera ekiwanvuko? (b) N’abo abalina ennyumba entono basobola okusembeza abalala? Waayo ekyokulabirako.

9 Abagenyi abamalawo ekiseera ekiwanvuko: Mu biseera eby’edda, okusembeza abalala kyali kizingiramu okusuza abagenyi abeesigika. (Yob. 31:32; Fir. 22) Ne mu kiseera kyaffe obwetaavu obwo weebuli. Emirundi mingi abalabirizi abakyalira ebibiina baba beetaaga aw’okusula. Abo ababa mu masomero g’ekibiina awamu n’ab’oluganda abakola ogw’okuzimba bayinza okwetaaga aw’okusula. Ab’oluganda abamu ababa bakoseddwa obutyabaga bayinza okwetaaga okusuzibwa okutuusa ng’amayumba gaabwe gazziddwawo. Tetulina kulowooza nti abo bokka abalina amayumba amanene be balina okusuza ab’oluganda ng’abo, kubanga ekyo bayinza okuba nga bakikoze enfunda nnyingi. Naawe osobola okuyamba mu kusuza ab’oluganda ng’abo wadde ng’ennyumba yo ntono?

10 Ow’oluganda omu mu South Korea awulira essanyu bw’ajjukira lwe yasuza ab’oluganda abaali mu masomero g’ekibiina. Agamba nti: “Mu kusooka nnali ntidde kubanga twali twakafumbiriganwa ate ng’akayumba kaffe katono. Naye okusuza ab’oluganda abo kyatuleetera essanyu lingi. Okuva bwe kiri nti twali twakafumbiriganwa, kyatuganyula nnyo okukiraba nti abafumbo bwe baweerereza awamu Yakuwa era nga balina ebiruubirirwa eby’omwoyo, baba basanyufu nnyo.”

11. Lwaki weetaaga okusembeza ab’oluganda abapya ababa bazze mu kibiina kyo?

11 Abapya mu kibiina: Ab’oluganda bayinza okuva mu kitundu ekirala ne basengukira mu kitundu kyammwe. Abamu bayinza okuba nga bazze okuweereza awali obwetaavu obusingako. Bapayoniya bayinza okusindikibwa mu kibiina kyammwe. Mu kusooka ab’oluganda abo bonna baba balina okwolekagana n’embeera empya ze baba batamanyiiridde, kwe kugamba, ekitundu ekipya, ekibiina ekipya, oboolyawo olulimi olupya, n’obuwangwa obupya. Bwe tubayita okubaako kye tuliirako awamu nabo, oba bwe tugendako nabo okulambula ebifo ebimu kisobola okubayamba okufuna emikwano emipya n’okumanyiira ekitundu mwe baba bazze.

12. Waayo ekyokulabirako ekiraga nti tetwetaaga bintu bingi okusobola okusembeza abalala?

12 Tetwetaaga bintu bingi okusobola okusembeza abalala. (Soma Lukka 10:41, 42.) Ng’ayogera ku kiseera ye ne mukyala we bwe baali baakatandika okuweereza ng’abaminsani, ow’oluganda omu agamba nti: “Twali bato, nga tetulina bumanyirivu, era nga tulina ekiwuubaalo olw’obutaba kumpi na b’ewaffe. Lumu akawungeezi mukyala wange yali mu kiwuubaalo eky’amaanyi, era nga byonna bye nkola okumuyamba tebikola. Naye awo nga ku ssaawa 1:30 ez’akawungeezi twawulira omuntu akonkona ku luggi. Yali muyizi wa Bayibuli eyali atuleetedde emicungwa esatu. Yali azze okwaniriza abaminsani abapya. Twamuyingiza mu nnyumba ne tumuwa egiraasi y’amazzi. Oluvannyuma twafumba caayi. Twali tetunnayiga Luswayiri ate nga naye tamanyi Lungereza. Naye eyo ye yali entandikwa y’okukola emikwano n’ab’oluganda ab’omu kitundu ekyo.”

OKUVVUUNUKA EBIYINZA OKUTULEMESA OKUSEMBEZA ABALALA

13. Birungi ki ebiva mu kusembeza abalala?

13 Wali otiddeko okusembeza abagenyi? Bwe kiba kityo, oyinza okuba nga wasubwa okusanyukirako awamu n’abalala n’okufuna emikwano egya nnamaddala. Ekimu ku bintu ebisinga okumalawo ekiwuubaalo kwe kusembeza abalala. Naye oyinza okwebuuza nti, ‘Biki ebiyinza okulemesa omuntu okusembeza abalala?’ Waliwo ebintu ebiwerako.

14. Kiki kye tuyinza okukola bwe kiba nti tetulina budde bwa kusembeza balala oba okukkiriza okusembezebwa?

14 Ebiseera n’amaanyi: Abaweereza ba Yakuwa balina eby’okukola bingi. Abamu bayinza okuwulira nti tebalina biseera na maanyi getaagisa okusobola okusembeza abalala. Bw’oba nga naawe bw’otyo bw’owulira, kiyinza okukwetaagisa okubaako enkyukakyuka z’okola osobole okusembeza abalala oba okukkiriza okusembezebwa. Ebyawandiikibwa bikubiriza Abakristaayo okusembeza abalala. (Beb. 13:2) Si kikyamu okufissaawo obudde okusembeza abalala, kubanga ekyo kye kituufu okukola. Kya lwatu nti ekyo kiyinza okukwetaagisa okukendeeza ku budde bw’omalira ku bintu ebirala ebitali bikulu nnyo.

15. Biki abamu bye bayinza okweraliikirira bwe balowooza ku ky’okusembeza abagenyi?

15 Engeri gye weetwalamu: Wali obaddeko awo ng’owulira nga wandyagadde okukyaza abagenyi naye n’owulira nti tosobola? Abamu balina ensonyi era batya nti bayinza okubulwa kye banaanyumya n’abagenyi, oba nti abagenyi bayinza obutanyumirwa nga babayise. Ate abalala baavu era balowooza nti tebasobola kuwa bagenyi ebyo ab’oluganda abalala mu kibiina bye babawa. Kijjukire nti ekisinga obukulu si kwe kuba nti awaka waffe walungi nnyo, wabula kwe kuba nti wategekeddwa bulungi, wayonjo, era wanyuma okubeera.

16, 17. Kiki ekiyinza okukendeeza ku kutya okusembeza abagenyi kwe tuyinza okuba nakwo?

16 Bw’oba ng’otya okusembeza abagenyi, toli wekka. Omukadde omu mu kibiina ekimu mu Bungereza agamba nti: “Oluusi ofunamuko okweraliikirira nga weeteekerateekera abagenyi. Naye nga bwe kiri mu bintu byonna bye tukola nga tuweereza Yakuwa, essanyu n’emiganyulo bye tufuna nga tubakyazizza, bisingira wala okweraliikirira kwe tuba nakwo. Oluusi nfumba bufumbi caayi ne tunywera wamu n’abagenyi nga bwe tunyumya era tunyumirwa nnyo.” Ate era kirungi okufaayo okumanya ebikwata ku bagenyi bo. (Baf. 2:4) Kumpi buli omu ayagala okubuulirako abalala ebintu by’ayiseemu mu bulamu. Ekiseera kye tubeerako awamu n’abalala nga tubakyalidde, kiyinza okuba nga kye kyokka abalala mwe bayinza okutubuuliza ebitukwatako. Omukadde omulala agamba nti: “Okukyaza ab’oluganda ab’omu kibiina mwe nkuŋŋaanira kinsobozesa okweyongera okubategeera obulungi era nneeyongera okumanya ebibakwatako, nnaddala engeri gye baayigamu amazima.” Bwe tukyaza baganda baffe era ne tulaga nti tubaagala, kireeta essanyu lingi.

17 Mwannyinaffe omu aweereza nga payoniya eyakyaza ab’oluganda abaali mu masomero g’ekibiina ag’enjawulo yagamba nti: “Mu kusooka nnali ntya kubanga we mbeera si wa bbeeyi ate nga n’entebe ze nnina nkadde. Mukyala w’omu ku bakubiriza amasomero ago yannyamba okuggwaamu okutya okwo. Yaŋŋamba nti, ye n’omwami we bwe baba bakola omulimu gw’okukyalira ebibiina, wiiki ze basingayo okunyumirwa zeezo ze bamala nga bali n’omuntu ow’eby’omwoyo ayinza okuba nga talina bintu bingi naye ng’alina ekiruubirirwa ng’ekyabwe eky’okuweereza Yakuwa n’obuteetuumako bintu bingi. Ekyo kyanzijukiza ebigambo maama bye yatugambanga nga tukyali bato. Yatugambanga nti: ‘Kisingako okulya enva endiirwa nga waliwo okwagalana.’” (Nge. 15:17) Leka okwagala kube nga kwe kukukubiriza okusembeza abagenyi, mu ngeri eyo tojja kutya.

18, 19. Okusembeza abalala kiyinza kitya okutuyamba okweggyamu endowooza enkyamu gye tuba tubalinako?

18 Endowooza gy’olina ku balala: Waliwo omuntu yenna mu kibiina akumalako emirembe? Mu kusooka omuntu oyo oyinza okuba nga bw’omutunuulira tomulabamu kalungi konna era singa tofuba kweggyamu ndowooza eyo eyinza okweyongerera ddala. Okuba nti engeri zo za njawulo nnyo ku z’omuntu omulala kiyinza okukulemesa kumukyaza. Oba omuntu ayinza okuba ng’alina kye yakukola emabega, era nga kizibu okukyerabira.

19 Bayibuli ekiraga nti okusembeza abalala kituyamba okwongera okulongoosa mu nkolagana yaffe n’abalala ka babe balabe baffe. (Soma Engero 25:21, 22.) Okusembeza abalala kikendeeza ku butategeeragana obuyinza okubaawo wakati waffe n’abalala era kiyinza okumalawo endowooza enkyamu gye tuyinza okuba nayo. Kituyamba okulaba engeri ennungi omuntu gwe tukyazizza z’alina era ng’ezo ze ngeri Yakuwa ze yalaba n’amusembeza gy’ali. (Yok. 6:44) Okwagala bwe kukukubiriza okusembeza omuntu, era ng’ekyo omuntu oyo abadde takisuubira, kiyinza okubaviirako okufuuka ab’omukwano. Osobola otya okukakasa nti okwagala kwe kukukubiriza okusembeza abalala? Engeri emu ey’okukikolamu kwe kukolera ku kubuulirira okuli mu Abafiripi 2:3 awagamba nti: “Mu buwombeefu mukitwala nti abalala babasinga.” Okunoonya engeri baganda baffe ne bannyinaffe gye batusingamu, gamba nga mu kukkiriza, mu kugumiikiriza, mu butatya, oba mu ngeri endala ez’Ekikristaayo, kijja kutusobozesa okweyongera okubaagala n’okubasembeza mu maka gaffe.

OKUBA OMUGENYI OMULUNGI

Abo ababa bagenda okusembeza abalala bafuba okutegekera obulungi abagenyi baabwe (Laba akatundu 20)

20. Lwaki tusaanidde okukiraga nti twesigika nga waliwo atuyise okumukyalira, era ekyo tukiraga tutya?

20 Omuwandiisi wa zabbuli Dawudi yabuuza nti: “Ai Yakuwa, ani ayinza okukyala mu weema yo?” (Zab. 15:1) Mu kuddamu ekibuuzo ekyo, Dawudi yamenya ebintu ebitali bimu Yakuwa by’ayagala mu abo b’akyaza mu weema ye. Ekimu ku byo kwe kuba nti omuntu “atuukiriza by’asuubiza ne bwe kiba nga kimukosa.” (Zab. 15:4) Bwe tukkiriza okukyalira omuntu aba atuyise, tetusaanidde kumala gasazaamu nteekateeka eyo. Oyo aba atuyise ayinza okuba ng’afubye okututeekerateekera, ne kiba nti bwe tutagenda, okufuba kwe kuba kufudde busa. (Mat. 5:37) Abamu basazaamu okugenda eri omuntu eyabayita bwe wabaawo omulala abayita gwe balaba nti asinga ku oli eyasooka okubayita. Naye ekyo kiba kikolwa kya kwagala era kiraga nti tussa ekitiibwa mu balala? Omuntu bw’atuyita, tusaanidde okusiima kyonna ky’aba ategese. (Luk. 10:7) Bwe wajjawo embeera eziteebeereka nga tetusobola kugenda gye baatuyita, kiba kirungi okutegeeza oyo aba yatuyita, amangu ddala nga bwe kisoboka.

21. Okugoberera empisa y’omu kitundu kitusobozesa kitya okuba abagenyi abalungi?

21 Ate era kikulu okugoberera empisa y’omu kitundu. Mu bitundu ebimu abagenyi bagwa bugwi, ate mu bitundu ebirala basooka kuyitibwa. Mu bitundu ebimu abagenyi be baweebwa eby’okulya ebisingayo obulungi, ate mu bitundu ebirala abagenyi n’abawaka balya ku kijjulo kimu. Mu bitundu ebirala, abagenyi balina okubaako eby’okulya bye baleeta ne bigattibwa ku ebyo ababa babakyazizza bye bategese; ate mu bitundu ebirala abo ababa bakyazizza baba tebasuubira bagenyi kuleeta kintu kyonna. Mu bitundu ebimu omuntu bwe bamuyita omulundi ogusooka oba n’ogw’okubiri aba tasuubirwa kukkiriza kugenda. Kyokka ate mu bitundu ebirala omuntu bwe bamuyita n’agaana okugenda kiba kiraga nti tasiima. Ka tukole kyonna ekisoboka okulaba nti abo ababa batukyazizza baba basanyufu okutukyaza.

22. Lwaki kikulu nnyo ‘okusembezeganyanga’?

22 Leero n’okusinga bwe kyali kibadde, “enkomerero ya byonna esembedde.” (1 Peet. 4:7) Ekibonyoobonyo ekinene ekitabangawoko kinaatera okujja. Ng’embeera zeeyongera okuba embi kitwetaagisa okwagalana ennyo. Abakristaayo ffenna tulina okufuba okwoleka omwoyo gw’okusembeza abalala nga Peetero bwe yatukubiriza, era empisa ey’okusembeza abalala tejja kukoma.​—1 Peet. 4:9.