Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Okukangavvula​—Bukakafu Obulaga nti Katonda Atwagala

Okukangavvula​—Bukakafu Obulaga nti Katonda Atwagala

“Abo Yakuwa b’ayagala b’akangavvula.”​—BEB. 12:6.

ENNYIMBA: 123, 86

1. Okukangavvula kwogerwako kutya mu Bayibuli?

BW’OWULIRA ekigambo “okukangavvula,” kiki ekikujjira mu birowoozo? Oboolyawo olowooza ku kubonereza. Naye waliwo ebirala ebizingirwa mu kukangavvula. Bayibuli eyogera bulungi ku kukangavvula, era oluusi ekukwataganya n’okumanya, amagezi, okwagala, n’obulamu. (Nge. 1:2-7; 4:11-13) Ekyo kiri bwe kityo kubanga Katonda bw’atukangavvula kiba kiraga nti atwagala era nti ayagala tufune obulamu obutaggwaawo. (Beb. 12:6) Wadde ng’okukangavvula okuva eri Katonda kuyinza okuzingiramu okubonereza, okukangavvula okwo takutuwa mu ngeri ya bukambwe. Mu butuufu, ekigambo “okukangavvula” okusingira ddala kitegeeza kuyigiriza, okufaananako okwo omuzadde kw’awa omwana gw’ayagala.

2, 3. Okukangavvula kuyinza kuzingiramu kutya okuyigiriza n’okubonereza? (Laba ekifaananyi waggulu.)

2 Lowooza ku kyokulabirako kino: Akalenzi akayitibwa Johnny kazannyira omupiira mu nnyumba. Maama waako akagamba nti: “Johnny, tozannyira mupiira mu nnyumba! Oyinza okwasa ebintu.” Naye Johnny tawuliriza maama we ky’amugamba era yeeyongera okuzannyira omupiira mu nnyumba, n’ekivaamu gukuba akasuwa k’ebimuli ne kaatika. Maama we ayinza kumukangavvula atya? Okukangavvula kw’amuwa kuyinza okuzingiramu okuyigiriza n’okubonereza. Mu kumuyigiriza, maama wa Johnny ayinza okumugamba nti yeeyisizza bubi. Mu kumugamba bw’atyo aba ayagala okumuyamba okukiraba nti kya magezi okugondera bazadde be, era nti amateeka ge bamuteerawo geetaagisa era si makakali. Okusobola okukkaatiriza ebigambo bye, maama ayinza n’okuwa Johnny ekibonerezo. Ng’ekyokulabirako, ayinza okumuggyako omupiira okumala ekiseera. Ekyo kisobola okuyamba Johnny okukiraba nti obujeemu buvaamu emitawaana.

3 Abakristaayo tuli ba mu maka ga Yakuwa. (1 Tim. 3:15) Bwe kityo tukimanyi nti Yakuwa y’alina okututeerawo emitindo egy’okugoberera era nti bwe tugimenya atukangavvula. Ate era ebikolwa byaffe ebibi bwe bivaamu emitawaana, okukangavvula Kitaffe ow’omu ggulu kw’atuwa kutujjukiza nti kikulu nnyo okuwuliriza by’atugamba. (Bag. 6:7) Katonda atufaako nnyo era tayagala tugwe mu mitawaana.​—1 Peet. 5:6, 7.

4. (a) Yakuwa ayagala tutendeke tutya abalala? (b) Biki bye tugenda okulaba mu kitundu kino?

4 Okukangavvula okwesigamiziddwa ku Byawandiikibwa kusobola okuyamba omwana waffe oba omuyizi wa Bayibuli okutuuka ku kiruubirirwa eky’okufuuka omugoberezi wa Kristo. Ekigambo kya Katonda kye kintu ekikulu kye tukozesa mu kukangavvula. Kitusobozesa ‘okukangavvula mu butuukirivu.’ Kitusobozesa okuyamba abaana baffe oba abayizi baffe aba Bayibuli okutegeera ‘n’okukwata ebintu byonna Yesu bye yatulagira.’ (2 Tim. 3:16; Mat. 28:19, 20) Bw’atyo Yakuwa bw’ayagala tubatendeke, nabo basobole okufuula abantu abalala abayigirizwa ba Kristo. (Soma Tito 2:11-14.) Mu kitundu kino tugenda kulaba eby’okuddamu mu bibuuzo bino ebisatu: (1) Okukangavvula Katonda kw’atuwa kulaga kutya nti atwagala? (2) Biki bye tuyinza okuyigira ku abo Katonda be yakangavvula mu biseera eby’edda? (3) Tuyinza tutya okukoppa Yakuwa n’Omwana we nga tukangavvula abalala?

KATONDA ATUKANGAVVULA MU KWAGALA

5. Okukangavvula Yakuwa kw’atuwa kulaga kutya nti atwagala?

5 Olw’okuba atwagala, Yakuwa atuwabula, atuyigiriza, era atutendeka tusobole okusigala mu kwagala kwe ne mu kkubo ery’obulamu. (1 Yok. 4:16) Tatuweebuula era tatuleetera kuwulira nti tetulina mugaso. (Nge. 12:18) Mu kifo ky’ekyo, Yakuwa atunuulira engeri ennungi ze tulina era atuwa eddembe okwesalirawo. Bw’otyo bw’otwala okukangavvula Katonda kw’atuwa k’abe ng’akutuwadde okuyitira mu Kigambo kye, mu bitabo ebikubibwa omuddu omwesigwa, mu bazadde Abakristaayo, oba mu bakadde mu kibiina? Abakadde abafuba okututereeza mu ngeri ey’obukkakkamu era ey’okwagala nga tukutte “ekkubo ekkyamu,” ne bwe kiba nti tubadde tetukimanyi, baba booleka okwagala Yakuwa kw’alina gye tuli.​—Bag. 6:1.

6. Okukangavvula ne bwe kuba nga kuzingiramu okuggibwako enkizo, kyoleka kitya okwagala kwa Yakuwa?

6 Kyokka oluusi okukangavvula kusingawo ku kuwabula oba okubuulirira obubuulirizi omuntu. Omuntu bw’akola ekibi eky’amaanyi, kisobola okumuviirako okufiirwa enkizo mu kibiina. Ekyo ne bwe kibaawo, okukangavvula ng’okwo kuba kulaga nti Yakuwa atwagala. Ng’ekyokulabirako, omuntu bw’aggibwako enkizo, kisobola okumuyamba okulaba obukulu bw’okwongera amaanyi mu kwesomesa, okufumiitiriza, n’okusaba. Ekyo kisobola okumuyamba okunywera mu by’omwoyo. (Zab. 19:7) Ekiseera bwe kigenda kiyitawo, ayinza okuddamu n’afuna enkizo ezaamuggibwako. Omuntu ne bw’agobebwa mu kibiina kiba kyoleka okwagala kwa Yakuwa, kubanga kikuuma ekibiina ne kitoonoonebwa. (1 Kol. 5:6, 7, 11) Era olw’okuba Katonda atukangavvula ku kigero ekisaana, omuntu bw’agobebwa mu kibiina kisobola okumuyamba okulaba nti ekibi kye yakola kya maanyi ne kimuviirako okwenenya.​—Bik. 3:19.

YAGANYULWA MU KUKANGAVVULA YAKUWA KWE YAMUWA

7. Sebuna yali ani, era ngeri ki embi gye yatandika okwoleka?

7 Okusobola okutegeera obukulu bw’okukangavvula, ka tulabeyo abantu babiri Yakuwa be yakangavvula: Sebuna, eyaliwo mu kiseera kya Kabaka Keezeekiya, ne Graham, ow’oluganda ow’omu kiseera kyaffe. Sebuna yali muwanika w’ennyumba, oboolyawo eya Keezeekiya, bwe kityo yalina obuyinza bungi. (Is. 22:15) Kyokka yafuna amalala n’atandika okwenoonyeza ebitiibwa. Yatuuka n’okwezimbira entaana ey’ebbeeyi era ng’atambulira mu ‘magaali ag’ekitiibwa’!​—Is. 22:16-18.

Bwe tuba abeetoowaze, ne tukyusa endowooza yaffe tufuna emikisa gya Katonda (Laba akatundu 8-10)

8. Yakuwa yakangavvula atya Sebuna era biki ebyavaamu?

8 Olw’okuba Sebuna yali yeenoonyeza ebitiibwa, Katonda ‘yamuggyako omulimu gwe,’ mu kifo kye n’azzaamu Eriyakimu. (Is. 22:19-21) Enkyukakyuka eyo yaliwo mu kiseera nga Sennakeribu, kabaka wa Bwasuli, ateekateeka okulumba Yerusaalemi. Nga wayise ekiseera, Sennakeribu yasindika ababaka n’eggye eddene okumalamu Abayudaaya amaanyi n’okutiisatiisa Keezeekiya asobole okwewaayo mu mikono gye. (2 Bassek. 18:17-25) Eriyakimu yasindikibwa okwogera eri ababaka abo, naye teyagenda yekka. Yagenda n’abantu abalala babiri era ng’omu ku bo yali Sebuna, kati eyali aweereza ng’omuwandiisi. Ekyo kiraga nti Sebuna ayinza okuba nga teyasunguwala olw’okuggibwako enkizo, wabula yeewombeeka era n’akkiriza okukola omulimu ogwa wansi ku gwe yalina mu kusooka. Waliwo ebintu bisatu bye tuyinza okuyigira ku Sebuna.

9-11. (a) Biki bye tuyigira ku ebyo ebikwata ku Sebuna? (b) Okwatibwako otya bw’olowooza ku ngeri Yakuwa gye yakwatamu Sebuna?

9 Ekisooka, Sebuna yaggibwako enkizo gye yalina. Ekyo kituyigiriza nti “amalala gaviirako omuntu okugwa, era okwegulumiza kuviirako omuntu okwesittala.” (Nge. 16:18) Bw’oba olina enkizo mu kibiina, oboolyawo ng’ereetera abamu okukutwala nti oli wa mugaso nnyo, onoofuba okusigala ng’oli mwetoowaze? Ettendo onooliwa Yakuwa olw’ekitone ky’olina oba olw’ekyo kyonna ky’aba akusobozesezza okukola? (1 Kol. 4:7) Omutume Pawulo yagamba nti: “Ntegeeza buli omu ku mmwe obuteetwala nti wa waggulu nnyo, naye alage nti alina endowooza ennuŋŋamu.”​—Bar. 12:3.

10 Eky’okubiri, Yakuwa okuwa Sebuna okukangavvula okw’amaanyi, kyalaga nti yali akyamulinamu essuubi nti ajja kukyusa. (Nge. 3:11, 12) Ekyo nga kya kuyiga kya maanyi eri abo ababa baggiddwako enkizo mu kibiina kya Yakuwa leero! Mu kifo ky’okunyiiga, basaanidde okweyongera okuweereza Yakuwa mu mbeera gye baba balimu, nga batwala okukangavvula okwo ng’akabonero akalaga nti Yakuwa abaagala. Kijjukire nti bwe twewombeeka wansi w’omukono gwa Katonda, Katonda tajja kututwala ng’abantu abatasobola kukyuka. (Soma 1 Peetero 5:6, 7.) Yakuwa bw’atukangavvula aba atubumba. N’olwekyo ka tufube okusigala ng’ebbumba eggonvu mu mukono gwe.

11 Eky’okusatu, engeri Yakuwa gye yakwatamu Sebuna erina ky’eyigiriza abo Yakuwa b’awadde obuvunaanyizibwa okukangavvula abalala, gamba ng’abazadde n’abakadde mu kibiina. Kiki kye bayiga? Wadde nga Yakuwa bw’akangavvula omwonoonyi kiba kiraga nti akyawa ekibi, era kiba kiraga nti amufaako. N’olwekyo, omuzadde oba omukadde mu kibiina, bw’oba olina omuntu gw’okangavvula onookoppa Yakuwa n’okyawa ekibi naye ate era n’onoonya ebirungi mu mwana wo oba mu mukkiriza munno?​—Yud. 22, 23.

12-14. (a) Abamu beeyisa batya nga Katonda abakangavvudde? (b) Ekigambo kya Katonda kyayamba kitya ow’oluganda omu okukyusa endowooza ye, era biki ebyavaamu?

12 Eky’ennaku, abamu bwe bakangavvulwa, ebirowoozo babimalira ku bulumi okukangavvulwa bwe kuba kubaleetedde, ne kibaviirako okweyawula ku Katonda ne ku bantu be. (Beb. 3:12, 13) Naye ekyo kiba kitegeeza nti abantu ng’abo tebakyasobola kuyambibwa? Lowooza ku Graham, eyagobebwa mu kibiina n’akomawo naye oluvannyuma n’alekera awo okubuulira n’okujjanga mu nkuŋŋaana. Nga wayise emyaka, yasaba omukadde eyali amukozeeko omukwano okusoma naye Bayibuli.

13 Omukadde oyo agamba nti: “Graham yalina ekizibu ky’amalala. Yali ayogerera bubi abakadde abaali ku kakiiko akaamugoba mu kibiina. N’olwekyo, ku mirundi egyaddako bwe twasisinkana okusoma, twakubaganya ebirowoozo ku byawandiikibwa ebyogera ku malala n’ebiva mu kwoleka amalala. Graham yatandika okwetunuulira mu ngeri entuufu, era n’alaba nti yalina okubaako enkyukakyuka z’akola! Ebyavaamu byali birungi! Oluvannyuma lw’okukkiriza nti amalala gaali gamuzibye amaaso era nti yalina ekizibu ky’okukolokota abalala, yatandika okukola enkyukakyuka ezeetaagisa. Yatandika okubangawo mu nkuŋŋaana obutayosa, okwesomesa Ekigambo kya Katonda, n’okusabanga obutayosa. Ate era yatandika n’okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwe obw’okulabirira ab’omu maka ge mu by’omwoyo, era ekyo kyasanyusa nnyo mukyala we n’abaana be.”​—Luk. 6:41, 42; Yak. 1:23-25.

14 Omukadde oyo era yagamba nti: “Lumu Graham yayogera ekintu ekyankwatako ennyo. Yaŋŋamba nti: ‘Amazima ngamanyidde emyaka mingi, era mpeerezzaako nga payoniya. Naye kati lwe nnyinza okukyogera mu bwesimbu nti njagala Yakuwa.’ Waayita ekiseera kitono, Graham n’aweebwa obuvunaanyizibwa obw’okutambuza akazindaalo mu nkuŋŋaana, era yasiima nnyo enkizo eyo. Ekyokulabirako kye kyanjigiriza nti omuntu bwe yeetoowaza mu maaso ga Katonda n’akkiriza okukangavvulwa, afuna emikisa mingi!”

KOPPA KATONDA NE KRISTO NG’OKANGAVVULA

15. Okukangavvula kwe tuwa abalala bwe kuba okw’okubayamba, kiki kye tulina okukola?

15 Okusobola okuba abasomesa abalungi, ffe ffennyini tulina okusooka okuba abayizi abalungi. (1 Tim. 4:15, 16) Mu ngeri y’emu, abo Katonda b’akwasizza obuvunaanyizibwa obw’okukangavvula nabo bennyini balina okukolera ku bulagirizi Yakuwa bw’atuwa. Bwe bakola bwe batyo, bassibwamu ekitiibwa era baba basobola okutendeka oba okuwabula abalala nga tebalina nkenyera yonna. Lowooza ku kyokulabirako kya Yesu.

16. Kiki kye tuyigira ku Yesu bwe kituuka ku kukangavvula n’okuyigiriza?

16 Bulijjo Yesu yawulirizanga Kitaawe ne bwe kitaabanga kyangu. (Mat. 26:39) Era yagamba abantu nti byonna bye yayigirizanga n’amagezi ge yalina byava eri Kitaawe. (Yok. 5:19, 30) Obwetoowaze n’obuwulize Yesu bye yayoleka byaleetera abantu okumwagala era byamufuula omusomesa omusaasizi era ow’ekisa. (Soma Lukka 4:22.) Ebigambo eby’ekisa Yesu bye yakozesanga byagumya nnyo abantu abaali ng’olumuli olumenyese, oba olutambi olwaka luzimeera. (Mat. 12:20) Abalala ne bwe baakolanga ebimunyiiza, Yesu yayolekanga ekisa n’okwagala. Kino tukirabira ku ngeri gye yawabulamu abatume be bwe baayoleka omwoyo gw’okwefaako n’okwagala obukulu.​—Mak. 9:33-37; Luk. 22:24-27.

17. Kiki ekisobola okuyamba abakadde okulabirira obulungi ekibiina?

17 Abo bonna abalina obuvunaanyizibwa obw’okukangavvula abalala balina okukoppa Yesu. Bwe bakola bwe batyo, baba balaga nti bakkirizza Katonda n’Omwana we okubabumba. Omutume Peetero yagamba nti: “Mulundenga ekisibo kya Katonda ekyabakwasibwa, nga mukola ng’abalabirizi, si lwa buwaze, wabula nga mukikola kyeyagalire mu maaso ga Katonda; era si lwa kwagala kubaako bye mwefunira, naye lwa kwagala kuweereza; era nga temukajjala ku abo Katonda b’alinako obwannannyini, naye nga muba byakulabirako eri ekisibo.” (1 Peet. 5:2-4) Mazima ddala abakadde bwe bagondera Yakuwa n’Omwana we, bo bennyini baganyulwa awamu n’abo abaabakwasibwa.​—Is. 32:1, 2, 17, 18.

18. (a) Kiki Yakuwa ky’ayagala abazadde bakole? (b) Yakuwa ayamba atya abazadde okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe?

18 Omusingi ogwo gukola ne mu maka. Bayibuli egamba emitwe gy’amaka nti: “Temunyiizanga baana bammwe, naye mubakulize mu kukangavvula ne mu kubuulirira kwa Yakuwa.” (Bef. 6:4) Ensonga eyo nkulu kwenkana wa? Engero 19:18 wagamba nti: “Gunjula omwana wo nga wakyaliwo essuubi, oleme kuvunaanyizibwa kufa kwe.” Kyeyoleka lwatu nti Yakuwa avunaana abazadde Abakristaayo singa tebawa baana bwabwe kukangavvula kwetaagisa. (1 Sam. 3:12-14) Abazadde bwe basaba Yakuwa abawe omwoyo gwe omutukuvu era ne banoonya obulagirizi obuli mu Kigambo kye, Yakuwa abawa amagezi n’amaanyi ge beetaaga okusobola okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe.​—Soma Yakobo 1:5.

TUTENDEKEBWA OKUBA OBUMU, EMIREMBE GYONNA

19, 20. (a) Bwe tukkiriza okukangavvula Yakuwa kw’atuwa, kivaamu birungi ki? (b) Kiki kye tujja okulaba mu kitundu ekiddako?

19 Tetusobola kuttottola ne tumalayo birungi biva mu kukkiriza kukangavvula okuva eri Yakuwa n’okukoppa Yakuwa ne Yesu nga tukangavvula abalala. Okukangavvula kiyamba ebibiina n’amaka okubaamu emirembe. Kireetera abalala okuwulira nti baagalibwa, ba muwendo, era nti balina obukuumi. Ekyo kituyamba okuloza ku mikisa gye tugenda okufuna mu nsi empya. (Zab. 72:7) Mu butuufu, okukangavvula Yakuwa kw’atuwa kututeekateeka okubeera awamu emirembe gyonna nga tuli bumu era nga tuli mu mirembe, nga Yakuwa ye Kitaffe. (Soma Isaaya 11:9.) Okukangavvula okuva eri Yakuwa bwe tukutunuulira bwe tutyo kijja kutwanguyira okukukkiriza nga tuli bakakafu nti okukangavvula okwo bukakafu obulaga nti Katonda atwagala.

20 Mu kitundu ekiddako tujja kulaba ebirala ebizingirwa mu kukangavvula okuweebwa mu maka ne mu kibiina. Ate era tujja kulaba engeri gye tuyinza okwekangavvula, tulabe n’engeri gye tuyinza okwewala ekintu ekiyinza okutuleetera obulumi obusinga n’obwo bwe tufuna mu kukangavvulwa.