Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

Lwaki Abajulirwa ba Yakuwa bakuba ebifaananyi by’omutume Pawulo ng’alina ekiwalaata oba ng’alina enviiri ntono?

Eky’amazima kiri nti tewali muntu n’omu leero amanyidde ddala ngeri Pawulo gye yali afaananamu. Ebifaananyi bya Pawulo ebiri mu bitabo byaffe tebiragira ddala ngeri Pawulo gye yali afaananamu; tebyesigamiziddwa ku ebyo abayiikuula ebintu eby’edda bye baavumbula.

Naye waliwo ebintu ebimu ebiyinza okutuyamba okufuna ekifaananyi ku ngeri Pawulo gye yali afaananamu. Ng’ekyokulabirako, Zion’s Watch Tower eya Maaki 1, 1902, yanokolayo ekimu ku bintu ebyo. Yagamba nti: “Bwe kituuka ku ndabika ya Pawulo: . . . Mu kitabo ekiyitibwa ‘Acts of Paul and Thecla,’ . . . ekyawandiikibwa awo nga mu mwaka gwa 150 E.E., mulimu ekitundu ekyogera ku ndabika ya Pawulo oboolyawo nga kye kisingayo okunnyonnyola obulungi endabika ye era nga kyesigika. Ekitundu ekyo kigamba nti yali mumpi, ng’alina ekiwalaata, nga wa bitege, nga wa kiwago, ng’ebisige bye kyenkana byagala kukwatagana, era ng’alina ennyindo mpanvu.”

Ng’eyogera ku kitabo ekyo, enkuluze eyitibwa The Oxford Dictionary of the Christian Church eya 1997 egamba nti: “Ebintu ebimu eby’omu byafaayo ekitabo ‘Acts’ bye kyogerako bituufu.” Abantu abaaliwo mu byasa ebyasooka baali beesiga ekitabo The Acts of Paul and Thecla. Kino kyeyolekera mu kuba nti waliwo ebiwaandiiko byakyo eby’edda eby’olulimi Oluyonaani 80 awamu n’ebiwandiiko byakyo ebirala ebiri mu nnimi endala. N’olwekyo, ebifaananyi ebiri mu bitabo byaffe byesigamiziddwa ku bukakafu obw’edda obuliwo obwogera ku ngeri Pawulo gye yali afaananamu.

Kyokka tusaanidde okukijjukira nti waliwo ebintu ebikulu okusinga okumanya endabika ya Pawulo. Ne mu kiseera Pawulo we yabeerera ku nsi ng’aweereza, abaali bamuwakanya baagambanga nti: “Bw’aba naffe talabika nga wa maanyi era by’ayogera tebibaamu nsa.” (2 Kol. 10:10) Kyokka tusaanidde okukijjukira nti Pawulo yafuuka Omukristaayo oluvannyuma lwa Yesu okumulabikira. Era lowooza ku bintu Pawulo bye yakola ng’aweereza ‘ng’ekibya Yesu kye yalonda okutwala erinnya lye eri ab’amawanga.’ (Bik. 9:3-5, 15; 22:6-8) Ate era lowooza ku ngeri gye tuganyulwa mu bitabo bya Bayibuli Yakuwa bye yaluŋŋamya Pawulo okuwandiika.

Pawulo teyeenyumiririza mu bintu bye yakola nga tannafuuka Mukristaayo, era teyayogera ku ndabika ye. (Bik. 26:4, 5; Baf. 3:4-6) Yagamba nti: “Nze nsembayo mu batume era sisaanira kuyitibwa mutume.” (1 Kol. 15:9) Era oluvannyuma yagamba nti: “Nze omuntu asembayo okuba owa wansi mu batukuvu bonna, nnaweebwa ekisa kino eky’ensusso, nsobole okubuulira ab’amawanga amawulire amalungi agakwata ku bugagga bwa Kristo obutanoonyezeka.” (Bef. 3:8) Obubaka obwo bukulu nnyo okusinga okumanya engeri Pawulo gye yali afaananamu.