Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EBYAFAAYO

Yakuwa Talekangayo Kunnyamba!

Yakuwa Talekangayo Kunnyamba!

Nze omu ku buwala obuna obwalondebwa okukwasa Adolf Hitler ebimuli oluvannyuma lw’okwogera eri abantu. Lwaki nnalondebwa? Taata wange yali muwagizi nnyo ow’ekibiina ky’Abanazi era ye yali ddereeva w’omu ku bakungu b’ekibiina ekyo. Maama wange yali Mukatuliki mukuukuutivu era yali ayagala mbeere mubiikira. Wadde kyali kityo, saafuuka omu ku b’ekibiina ky’Abanazi era saafuuka mubiikira. Ka mbabuulire ensonga lwaki kyali bwe kityo.

NNAZAALIBWA mu kibuga Graz eky’omu Austria. Bwe nnali wa myaka musanvu, nnatwalibwa mu ssomero erimu erisomesa eby’eddiini. Naye bwe nnali eyo, nnalaba ebikolwa eby’obugwenyufu ebyesisiwaza ebyali bikolebwa bafaaza n’ababiikira. Bwe kityo, maama wange yanzigya mu ssomero eryo nga n’omwaka tegunnaggwaako.

Nga tuli ne taata ng’ayambadde ekyambalo kye eky’amagye

Nga wayise ekiseera, nnatwalibwa mu ssomero ly’ekisulo. Lumu ekiro, taata yajja ku ssomero okuntwala olw’okuba ekibuga Graz baali bakiwandagazaako bbomu. Twaddukira mu kabuga k’e Schladming. Olwali okutuuka mu kabuga ako nga twakamala okuyita ku lutindo olumu, olutindo olwo lwakubibwa bbomu ne lusaanawo. Ate ku mulundi omulala, ennyonyi ennwanyi zaakuba amasasi mu luggya we nnali ne jjajja. Olutalo we lwaggweera, twakiraba nti Ekkereziya ne gavumenti byali bituyiyeeyo.

MMANYA AWAVA OBUYAMBI OBWESIGIKA

Mu 1950, omu ku Bajulirwa ba Yakuwa yatandika okuyigiriza maama Bayibuli. Nnabangawo ng’ayigiriza maama era oluusi n’oluusi nnagendanga ne maama mu nkuŋŋaana. Maama bwe yakakasa nti Abajulirwa ba Yakuwa be baali bayigiriza amazima, yabatizibwa mu 1952.

Mu kiseera ekyo, ekibiina ekyali mu kitundu kyaffe kyali kijjudde bakazi bakulu bokka. Naye lumu twakyalako mu kibiina ekyalimu abavubuka abawerako, okwawukana ku ekyo eky’omu Graz! Bwe twaddayo mu Graz, nnatandika okugendanga mu nkuŋŋaana zonna, era mu bbanga ttono nange nnakiraba nti ebyo bye nnali njiga ge mazima. Era nnakitegeera nti Yakuwa ye Katonda awa abaweereza be obuyambi obwesigika. Yakuwa atuyamba ne bwe tuba nga twolekagana n’ekizibu kye tulaba nga kye tutasobola kuvvuunuka.​—Zab. 3:5, 6.

Nnayagala okubuulirako abalala ku bye nnali njiga. Nnasookera ku baganda bange. Bakulu bange abana baali baava dda awaka nga bakola gwa busomesa. Naye nnabakyalira mu bitundu eby’enjawulo gye baali babeera ne mbakubiriza okuyiga Bayibuli. Oluvannyuma, baganda bange bonna baafuuka Abajulirwa ba Yakuwa.

Mu wiiki ey’okubiri nga ntandise okubuulira nnyumba ku nnyumba, nnasisinkana omukazi eyali mu myaka 30 ne ntandika okuyiga naye Bayibuli. Omukyala oyo yakulaakulana n’abatizibwa, era oluvannyuma omwami we ne batabani baabwe babiri nabo baabatizibwa. Okusomesa omukyala oyo kyannyamba nnyo mu by’omwoyo. Lwaki? Kubanga tewali n’omu eyali ansomesezza Bayibuli. Bwe kityo, nnalina okutegeka obulungi buli ssomo nga sinnagenda kuyigiriza mukyala oyo. Mu ngeri endala, nnasookanga kwesomesa oluvannyuma ne ŋŋenda okusomesa omuyizi wange! Ekyo kyannyamba okweyongera okutegeera amazima. Mu Apuli 1954, nneewaayo eri Yakuwa ne mbatizibwa.

“TUYIGGANYIZIBWA NAYE TETWABULIRWA”

Mu 1955, nnagenda ku nkuŋŋaana ennene ezibeerako ab’oluganda okuva mu mawanga ag’enjawulo ezaali mu Bugirimaani, Bufalansa, ne Bungereza. Bwe nnali mu London, nnasisinkana Albert Schroeder. Yali musomesa mu Ssomero lya Gireyaadi era oluvannyuma yaweereza ku Kakiiko Akafuzi. Bwe twali tulambula etterekero ly’ebintu eby’edda mu Bungereza, Ow’oluganda Schroeder yatulaga ebimu ku biwandiiko bya Bayibuli eby’edda. Byalimu erinnya lya Katonda mu nnukuta ez’Olwebbulaniya, era Schroeder yatunnyonnyola obukulu bwazo. Ekyo kyandeetera okweyongera okwagala Yakuwa n’amazima, bwe ntyo ne nneeyongera okuba omumalirivu okuyigiriza abalala amazima agali mu Kigambo kya Katonda.

Nze (ku kkono) nga ndi wamu ne munnange nga tuweereza nga bapayoniya ab’enjawulo mu Mistelbach, Austria

Nnatandika okuweereza nga payoniya nga Jjanwali 1, 1956. Nga wayise emyezi ena, nnalondebwa okuweereza nga payoniya ow’enjawulo mu Austria. Mu kiseera ekyo, mu kabuga Mistelbach gye nnasindikibwa okuweereza tewaaliyo Bajulirwa ba Yakuwa. Naye waliwo okusoomooza okw’enjawulo kwe nnayolekagana nakwo. Nze ne muganda wange gwe nnali mpeereza naye twali ba njawulo nnyo. Nnali nnaatera okuweza emyaka 19 nga nnakulira mu kibuga; ate ye yali wa myaka 25 era nga yakulira mu kyalo. Nnayagalanga okuzuukukanga nga buyise ate nga ye ayagala kuzuukuka ku makya nnyo. Ate ekiro nnali saagala kwebaka nga bukyali ate nga ye ayagala okwebaka nga bukyali. Naye okukolera ku misingi gya Bayibuli kyatuyamba okukolagana obulungi era ne tusobola okuweerereza awamu obulungi nga bapayoniya.

Kyokka waliwo n’okusoomooza okulala okw’amaanyi kwe twayolekagana nakwo. Ate era twayolekagana n’okuyigganyizibwa, naye ‘tetwayabulirwa.’ (2 Kol. 4:7-9) Lumu bwe twali tubuulira ku kyalo ekimu, abantu baatuteera embwa. Mu kaseera katono nze ne muganda wange twali twetooloddwa embwa eziboggola. Twakwatagana emikono era ne nsaba Yakuwa nti, “Ai Yakuwa, tukwegayiridde, embwa bwe zitandika okutugajambula tuyambe tufe mangu!” Embwa bwe zaatutuukako, zaayimirira, ne ziwuuba emikira, ne zitambula ne zigenda. Twakiraba nti Yakuwa ye yali atukuumye. Oluvannyuma tweyongerayo ne tubuulira ekyalo ekyo kyonna era abantu baatuwuliriza, era ekyo kyatusanyusa nnyo. Abantu abo baatuwuliriza oboolyawo olw’okuba baalaba ng’embwa ze baali batusindikidde tezitukozeeko kabi, oba olw’okuba twasigala tubuulira wadde nga twali tufunye entiisa eyo. Abamu ku bantu abo oluvannyuma baafuuka Abajulirwa ba Yakuwa.

Waliwo n’ekintu ekirala ekyatutiisa ennyo. Lumu omusajja nnannyini nnyumba kwe twali tupangisa yakomawo awaka ng’atamidde era n’agamba nti yali agenda kututta olw’okuba twali tutawaanya abantu b’omu kitundu. Mukyala we yagezaako okumukkakkanya naye nga buteerere. Ebyo byonna ebyali bigenda mu maaso twali tubiwulira nga tuli waggulu mu kisenge kyaffe. Amangu ddala twateeka entebe ku luggi ne tutandika okupakira ensawo zaffe. Bwe twaggulawo oluggi, omusajja oyo yali ayimiridde ku madaala ng’akutte akambe akanene. Twadduka ne tuyitira mu luggi olw’emanju, ne tuyita mu kakubo akayita mu nnimiro, ne tugenda n’ebintu byaffe byonna era tetwadda.

Twagenda ku wooteeri emu ne tusaba okupangisaawo ekisenge. Baatukkiriza okupangisaawo era twamalawo kumpi omwaka mulamba, ekintu ekyatuganyula ennyo mu buweereza bwaffe. Wooteeri eyo yali wakati mu kabuga, era abamu ku bayizi baffe aba Bayibuli baayagalanga okujja tusomere awo. Mu kaseera katono twatandika okufuniranga olukuŋŋaana lw’okusoma ekitabo n’olw’okusoma Omunaana gw’Omukuumi mu kisenge kye twali tupangisa ku wooteeri eyo era abantu nga 15 be baabangawo mu nkuŋŋaana.

Mu Mistelbach twamalayo omwaka ogusukka mu gumu oluvannyuma ne nsindikibwa okuweereza mu kabuga Feldbach, akali mu bukiikaddyo bwa Graz. Nnaweebwa omuntu omulala ow’okubuulira naye, kyokka ne mu kabuga ako tewaaliyo kibiina. Twali tusula mu kasenge akatono ku mwaliiro ogw’okubiri mu nnyumba ey’embaawo. Empewo yayitanga mu miwaatwa gy’embaawo era twafuba okuzibikira emiwaatwa egyo nga tukozesa empapula z’amawulire. Ate era amazzi twagakimanga ku luzzi. Naye twafuna emikisa mingi. Nga wayise emyezi mitono, ekibinja kyatandikibwawo. Oluvannyuma lw’ekiseera abantu 30 okuva mu maka agamu ge twasoma nago Bayibuli baayiga amazima!

Ebirungi ng’ebyo bye twafuna byannyamba okwongera okukiraba nti Yakuwa ayamba nnyo abo bonna abakulembeza Obwakabaka. Abantu ne bwe baba nga tebasobola kutuyamba, ye Yakuwa abaawo okutuyamba.​—Zab. 121:1-3.

KATONDA YATUYAMBA NG’AKOZESA ‘OMUKONO GWE OGWA DDYO OGW’OBUTUUKIRIVU’

Mu mwaka 1958 olukuŋŋaana olunene olubaako ab’oluganda okuva mu mawanga ag’enjawulo lwali lugenda kubaawo mu kibuga New York, mu kisaawe kya Yankee ne Polo. Nnasaba okugenda ku lukuŋŋaana olwo era ofiisi y’ettabi ey’omu Austria yambuuza obanga nnandyagadde okugenda mu Ssomero lya Gireyaadi ery’omulundi ogwa 32. Nnali sisobola kugaana nkizo eyo! Amangu ddala nnabaddamu nti, “Yee!”

Mu Ssomero lya Gireyaadi nnatuula kumpi ne Martin Poetzinger. Martin yali yayita mu kuyigganyizibwa okw’amaanyi mu nkambi z’Abanazi. Oluvannyuma naye yaweereza ku Kakiiko Akafuzi. Bwe twabanga tusoma, oluusi Martin yambuuzanga mu kaama nti, “Erika, ekyo kitegeeza ki mu Lugirimaani?”

Emisomo bwe twali tugituuse mu makkati, Nathan Knorr yatutegeeza wa buli omu gye yali agenda okusindikibwa. Nze nnasindikibwa kuweereza mu Paraguay. Okuva bwe kiri nti nnali nkyali muto, taata yalina okusooka okumpa olukusa okugenda mu nsi eyo. Bwe yamala okumpa olukusa, nnagenda mu Paraguay mu Maaki 1959. Nnasindikibwa okubeera mu maka g’abaminsani mu Asunción, era nnaweebwa omuntu omulala ow’okubuulira naye.

Nga wayise ekiseera kitono, nnasisinkana Walter Bright, omuminsani eyali yagenda mu Ssomero lya Gireyaadi ery’omulundi ogwa 30 era twafumbiriganwa. Buli lwe twayolekagananga n’okugezesebwa, twasomanga ebigambo bya Yakuwa ebiri mu Isaaya 41:10, awagamba nti: “Totya, kubanga ndi naawe. Teweeraliikirira, kubanga nze Katonda wo. Nja kukuwa amaanyi.” Ebigambo ebyo byatukakasanga nti bwe tweyongera okuba abeesigwa eri Katonda n’okukulembeza Obwakabaka, Yakuwa tasobola kutwabulira.

Oluvannyuma twasindikibwa okuweereza mu kitundu ekyali okumpi n’ensalo ya Paraguay ne Brazil. Bwe twali eyo, abakulu b’eddiini baakunga abavubuka okukasuka amayinja ku nnyumba abaminsani mwe twali tubeera ate ng’ennyumba eyo teyali mu mbeera nnungi. Mu kiseera ekyo Walter yatandika okuyiga Bayibuli n’omukulu wa poliisi. Omukulu wa poliisi oyo yassa abapoliisi okumpi ne we twali tubeera ne bamalawo wiiki emu, era abo abaali batuyigganya tebaddamu kututawaanya. Oluvannyuma lw’ekiseera kitono twadda mu nnyumba ennungiko ku luuyi olulala olw’ensalo eyo. Ekyo kyavaamu ebirungi kubanga kati twali tusobola okufunira enkuŋŋaana mu Paraguay ne mu Brazil. We twaviira mu kitundu ekyo, waaliyo ebibiina bibiri.

Nga ndi n’omwami wange, Walter, bwe twali tuweereza ng’abaminsani mu Asunción, Paraguay

YAKUWA YEEYONGERA OKUNNYAMBA

Abasawo baali baŋŋamba nti sisobola kuzaala, n’olwekyo kyatwewuunyisa nnyo mu 1962 okukimanya nti nnali lubuto! Twagenda ne tutandika okubeera mu kitundu ky’e Hollywood, mu Florida, okumpi ne bazadde ba Walter. Okumala emyaka mingi, twali tetusobola kuweereza nga bapayoniya kubanga twalina okukuza omwana waffe. Naye tweyongera okukulembeza Obwakabaka.​—Mat. 6:33.

We twatuukira mu Florida mu Noovemba 1962, kyatwewuunyisa nnyo okusanga ng’ab’oluganda abaddugavu bakuŋŋaana bokka era nga babuulira bokka nga n’ab’oluganda abazungu bakuŋŋaana bokka era nga babuulira bokka, olw’endowooza enkyamu eyali mu kitundu ekyo. Naye Yakuwa tasosola mu langi, era waayita ekiseera kitono abazungu n’abaddugavu ne batandika okukuŋŋaana awamu. Twalaba omukono gwa Yakuwa mu nsonga eyo, kubanga kati mu kitundu ekyo mulimu ebibiina ebiwerako.

Eky’ennaku, mu 2015, omwami wange Walter gwe nnali mmaze naye emyaka 55 yafa kookolo w’obwongo. Yali mwami mulungi nnyo ng’ayagala Yakuwa era yayamba ab’oluganda bangi. Nneesunga okuddamu okumulaba ng’azuukidde era nga mulamu bulungi.​—Bik. 24:15.

Nfunye essanyu lingi mu myaka 40 gye mmaze mu buweereza obw’ekiseera kyonna. Ng’ekyokulabirako, nze ne Walter twasobola okuyamba abantu 136 okuyiga amazima. Kyo kituufu nti twafuna ebizibu ebitali bimu. Naye tetwabikkiriza kutulemesa kweyongera kuweereza Yakuwa n’obwesigwa. Mu kifo ky’ekyo, tweyongera okusemberera Yakuwa, nga tumwesiga nti yandituyambye mu kiseera ekituufu era mu ngeri entuufu. Era yatuyamba.​—2 Tim. 4:16, 17.

Walter yansaala nnyo, naye okuweereza nga payoniya kinnyamba okugumira ennaku gye nnina. Okuyigiriza abalala ebiri mu Bayibuli, nga mw’otwalidde n’ebikwata ku ssuubi ery’okuzuukira, kinzizaamu nnyo amaanyi. Mu butuufu Yakuwa annyambye mu ngeri nnyingi ze sisobola kuttottola ne nzimalayo. Nga bwe yasuubiza, annyambye, ampadde amaanyi, era ampaniridde ng’akozesa ‘omukono gwe ogwa ddyo ogw’obutuukirivu.’​—Is. 41:10.